Mukula Asattira: Abakazi Ba NRM Bamulemeddeko Okumugoba Ku CEC…

OMUGAGGA Capt. Mike Mukula asattira abakazi bwe batandise okukola pulaani y’okumwesimbako ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekitundu ky’obuvanjuba- Eastern Uganda basobole okumugoba ku kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko ka Central Executive Committee (CEC).

Sengooba Alirabaki
2 Min Read
Capt. Mike Mukula

OMUGAGGA Capt. Mike Mukula asattira abakazi bwe batandise okukola pulaani y’okumwesimbako ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM atwala ekitundu ky’obuvanjuba- Eastern Uganda basobole okumugoba ku kakiiko k’ekibiina ak’oku ntikko ka Central Executive Committee (CEC).

Mukula abadde asula teyeebase nga yeeraliikirira olwa Muteeso munne era omumyuka wa pulezidenti Jessica Alupo okumwesimbako, y’ensonga lwaki abadde alwana nnyo okutereeza enkolagana ye ne sipiika wa palamenti Annet Anita Among okumuyambako okuwangula Alupo.

Alupo ali mu kabinja e Teso akalwanyisa Among, abalala abakalimu y’eyali omumyuka w’omuduumizi wa UPDF Lt Gen Peter Elwelu, eyaliko omuduumizi wa UPDF nga kati ye minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Gen Jeje Odongo.

Embeera Mukula emutabukidde bwakitegedde nga n’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba Mariam Naigaga bwagenda okumuvuganya ku lukiiko lwa CEC. Ekisinga okutiisa Mukula ku Naigaga kwekubeera omukazi ate ng’alina enkolagana ya maanyi ne Among.

Naigaga eyali mukwano nyo gwa Rebecca Alitwala Kadaga bweyabeerera sipiika, wabula bwe baamuwangula yamusuulawo ne yeegata mu nkambi ya Among ekintu ekyanyiiza enyo abantu b’e Busoga bombi gye bazaalwa.

Ensonda zitubuulidde nti Mukula atya nti Among ayinza okumusaddaaka n’awagira Naigaga ng’ayagala amuyambeko okumuyiggira obuwagizi mu Busoga asobole naye okuwangula Kadaga gweyalagirira edda nti agenda kumwesimbako ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abakyala ku CEC.

Minisita w’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth naye ekifo kya Mukula ekyepikira ng’ono alowooza nti bw’anaakiwangula kigenda kumuyamba okuvuganya ku bwasipiika bwa palamenti mu 2026.

TAGGED:
Share This Article