FRED Mukasa Mbidde -amyuka pulezidenti wa DP mu ggwanga lyonna, akakasizza Bannayuganda nti akalulu ka 2026 naddala ku kifo kya pulezidenti tekagenda kubeera ka bulijjo. Mbidde agamba Bannayuganda abali ku ludda oluvuganya akalulu ka 2026 balina okuketegekera ennyo nga kwe bagasse obukodyo bw’okubayamba okukavaamu nga tebaswadde nyo.
Ono anyonyodde nti pulezidenti Museveni gwebagenda okuvuganya akimanyi nti alina okuteekawo embeera ekakasa ensi yonna nti akalulu akanonyezza mu buli disitulikiti ya Uganda ng’agenda amatiza Bannayuganda okukamuwa ng’embeera eno si bweyali mu 2021 akalulu bweyakanonyeza mu mikutu gy’amawulire nga ku Leediyo, ku TV, emitimbagano n’empapula z’amawulire n’okusisinkana abantu abatonotono abakulira NRM mu disitulikiti beyasisikananga ng’abasaba okwetikka obubaka bwe okubutwalira abalonzi. Kino kyava ku byagambibwa nti ekirwadde kya COVID-19 nti kyali kisobola okuyitira awo ne kyongera okusaasaaana mu bantu.
Mbidde ategeezezza nti Museveni yatya okusisibkana abantu bangi ng’alowooza nti bagenda kumusiiga ekirwadde kya Covid-19 wabula ku mulundi guno tewagenda kubeerawo bukwakkulizo bumulemesa n’abamuvuganya okukuba enkung’aana z’abantu abangi nga banonya akalulu era alina okuteekawo embeera yonna okumatiza ensi nti y’asinga.
OBULIPPO M7 BW’ATEZE ABA OPOZISONI
Mbidde asabye abavuganya Museveni okuteekawo embeera egenda okubasobozesa okubuuka obulippo bwa Museveni okubalemesa okumuvuganya obulungi naddala nga bo abasinga bakyali bavubuka ate nga ye akaddiye emyaka ali mu gya kawungeezi ke nga kyagenda okukola kwekulaga ensi nti bakyenkana amaanyi n’okubala ebyobufuzi.
Ono ayongeddeko nti mu kampeyini ze, Museveni agenda kukozesa nyo abavubuka okuteekawo embeera ewakanya pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) asuubirwa okuteekawo embeera y’obunkenke emutiisatiisa okuwangulwa.
BYABAKAMA ABALA AKALULU ABOGGODDE
Mbidde okwogera bino, ng’omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama akulira akakiiko k’ebyokulonda yaakalangirira nga bwebalina enteekateeka empya zebagenda okuteekawo okusobozesa abavuganya ku bwapulezidenti obutamenya mateeka nga banonya obuwagizi ku kalulu k’obwapulezidenti.
Obumu ku bukwakkulizo Byabakama bweyategeezezza obugenda okuteekebwawo mwemuli bonna abeesimbyewo ku bwapulezidenti okusooka okuteeka emikono ku biwandiiko nga bakakasa nga bwebagenda okugoberera ebiragiro n’amateeka gonna agateereddwawo nga banonya akalulu kaabwe.
ABAAGALA OBWAPULEZIDENTI BASUNSULWA DDI?
Ono yategeezezza nti abaagala okuvuganya ku Bwapulezidenti, baakusunsulwa okutandika nga 23-24 September 2025 olwo kampeyini zitandike nga October 4 2025 zikomekkerezebwe nga 12 January 2026.
Byabakama yalangiridde nti abeesimbyewo bonna balina okukung’aanya emikono gy’abalonzi ababasemba okwesimbawo ku bwapulezidenti egitakka wansi wa 100 okuva mu buli disitulikiti. Kuno baakugattako obuyigirize obutakka wansi wa S.6.
BYABAKAMA AYAGALA KULEMESA BOBI WINE KUVUGANYA BULUNGI MUSEVENI?
Looya Kassim Male Mabiriizi ategeezezza nti omulamuzi Byabakama okulagira abeesimbyewo ku bwapulezidenti okusooka okuteeka emikono ku mateeka amapya akikoze okulemesa Bobi Wine okuvuganya Museveni obulungi kubanga mu kalulu ka 2021 yaswaza nyo Museveni n’abantu be ng’ayanika obufere bwe benyigiddemu nga bakulembera Uganda.
Mabiriizi atutegeezezza nti Byabakama agenda kugaana eyeesimbyewo okwogera ku munne gw’avuganya naye ebigambo ebimuswaza, akakiiko k’ebyokulonda okubeera nga ke kasalawo waalina okukuba olukung’aana ng’anoonya akalulu nga kino bwataakikole nga bamuggya mu kalulu.
NAYE EBIBIINA BY’OBUFUZI NGA BISUSSE OBUNGI
Ono anyonyodde nti omupango guno munene nga ye nsonga lwaki Museveni akkiriza ebibiina by’ebyobufuzi ebiwera okuwandiisibwa n’okuleeta abantu abagenda okwesimba ku bwapulezidenti nga ku bino kuliko Ecological Party of Uganda eky’omubaka Muhammad Nsereko, Democratic Front-DF eky’omubaka Mathius Mpuuga, Common Man’s Party ekyeyali omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa ‘Mugaati gwa bbata’ n’ebirala nga Bobi Wine bwe banaamuggya mu kalulu abalala baakusigalamu nga bamuvuganya olwo alage ensi nti yavuganyiziddwa.
Mabirizi atubuulidde nti akakodyo Byabakama kagezaako okukozesa, kafaananira ddala munne akulira akakiiko k’ebyokulonda e Tanzania ke yakozesa n’asiba mu kkomera Tundu Lissu akulira oludda oluvuganya gavumenti ya pulezidenti Samia Suluhu Hassan.
Tundu baamuggulako emisango gy’okulya mu nsi olukwe era obukulembeze bwa Suluhu ne bumulumiriza okukuma omuliro mu balonzi okubalemesa okwetaba mu kalulu akasuubirwa okubaawo mu October wa 2025 ng’abagaana okugoberera amateeka agateereddwawo akakiiko k’ebyokulonda.
Tundu tebaakoma kumusiba mu kkomera, n’ekibiina kye ekya CHADEMA baakigaana okwenyigira mu kalulu ka 2025 okuvuganya Chama Cha Mapinduzi nga kino kye kiwagira pulezidenti Suluhu.
KU LUNO TERI KUGGYAKO YINTANENTI MU KALULU
Mabirizi yatadde dda omusango mu kkooti ng’ayagala omulamuzi wa kkooti enkulu ayise ekiragiro ekigaana gavumenti ya Uganda okuggyako emitimbagano gya Yintanenti, Mobile Money mu kiseera ky’akalulu nga bwezze ekola. Ssaabawolereza wa gavumenti gwe baawaabidde ku lwa gavumenti tannateekamu kwewozaako kwe.
BAGENERO BAGAANYE EBIRAGIRO OKUSIBA BOBI NGA BWEBAKOLA KU EDDY MUTWE
Ensonda zitubuulidde nti omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku bikwekweto ebyenkizo Gen Muhoozi Kainerugaba munyiivu nyo olwabagero ab’amaanyi mu bitongole bya securite okugaana okuteekesa mu nkola ebiragiro okukwata Bobi Wine bamugguleko emisango nga bwe baakola ku ttiimu ya securite ye emukuma.
Ensonda ez’omunda enyo zitubuulidde nti Muhoozi yasooka kulagira ssaabaduumizi wa poliisi Abas Byakagaba okukwata Bobi Wine, wabula ono wadde yakkiriza ebiragiro ebyamuweebwa, olwava ku ssimu n’akubira Museveni eyamulonda okwongera okumuwabula ku biragiro Gen Muhoozi byeyali amuwadde.
BOBI WINE TEMUMUKWATA SINGA…
Museveni yamulagira obutakwata Bobi Wine bwe babeera nga tebalina musango gwonna gwe bamuvunana era Byakagaba teyaddira Muhoozi ekintu ekyamunyiiza enyo n’agenda ku bibanja bye eby’emitimbagano n’ategeeza abapoliisi nti balina okukimanya nti okuduumira UPDF nabo yaabeera omuduumizi waabwe ow’oku ntikko.
Byakagaba olwagaana okukwata Bobi Wine, n’ayita bakomanda mu Militale poliisi n’abalagira okumukwata nga bano olwebuza ku Byakagaba n’ababuulira Museveni byeyamugamba nabo ne batandika okwebuzaabuza.
MUHOOZI YEEWERA KUKWATA BOBI
Muhoozi enfunda nyingi azze awera nti essaawa yonna agenda kukwata Bobi Wine, nga ebiseera ebisinga ku mitimbagano amweyitira ‘Kabobi’ amutwale mu ‘Basement’ amukoleko nga bweyakola ku musajja we Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) gweyagamba nti yamusomesa Olunyankole.
Securite erumiriza nti Bobi Wine alina olukwe lw’okutabangula Uganda mu biseera by’akalulu ng’ayita mu nkola ya ‘Protest Vote’ gyeyalangirira n’okuzimba eggaali ng’akozesa abavubuka abaasalawo abatatya biduduma ba foot soldiers.
Bobi Wine era bamulumiriza okubeera n’enkolagana ey’amaanyi n’abagagga mu nsi yonna be bagamba nti be bateeka ssente mu bibiina by’abatujju nga bano be bagenda okumuwa ssente z’akalulu ka 2026 okuzikozesa okutabangula Uganda.
Mu May, bakkomando baataayiza Mutwe mu bitundu by’e Mukono ne bamuwambira mu mmotoka za Drone ne bamutwala mu kifo gy’alumiriza nti baamutulugunya nga bwe bamulagira okwogera Olunyankole ekintu ekyavumirirwa enyo abakulu mu ggwanga abaakulemberwamu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga. Wabula oluvanyuma baamutwala mu kkooti e Masaka ne bamuggulako emisango gy’okubbisa eryanyi nga bakimussaako nti yabba essweta, akasimu ne ssente.
MUHOOZI NE MUTWE YASOOKA KUMWEWERERA
Mutwe okumukwata nga Muhoozi amaze ekiseera ng’amwewerera oluvanyuma lw’ababiri bano okuwaanyisiganya ebigambo ebisongovu ku mitimbagano nga Mutwe ng’alwanirako mukamaawe Bobi Wine, Muhoozi gweyali ayisaamu eggaali.
Ensonda mu State House zongeddeko nti okuva Museveni bwe baamutomeza mu kukwata Dr Kizza Besigye n’omuyambiwe Al-Hajji Obed Lutale Kamulegeya, kati yeegendereza nyo era yaasalawo ku nsonga zonna ezirimu Bobi Wine n’abanene ku ludda oluvuganya nga Omuloodi Ssaalongo Erias Lukwago n’omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda.
BAAKWATA WINE NGA M7 TAMANYI EGGWANGA NE LIKYANKALANA!
Mu 2020, nga Museveni tamanyi, aba securite baakwata Bobi Wine e Luuka mu Busoga mu kikwekweto ekyaduumirwa AIGP Frank Mwesigwa ne bamuggulako emisango gy’okutyoboola ebiragiro bya pulezidenti ku kusaasaanya Covid-19.
Okukwatibwa kwa Bobi Wine kwanyiza abantu ne beekalakasa era kigambibwa abasukka mu 50 battibwa n’abalala bangi ne basimattuka n’ebisago ebyamanyi. Okukkakkanya embeera, Museveni yagoba eyali omumyuka wa ssaabaduumizi wa poliisi Maj Gen Sabiiti Muzeyi wabula ng’ensonda zirumiriza nti ono naye baatomeza mutomeze nga waliwo omunene eyalagira okukwatibwa kwa Bobi Wine e Luuka.
BOBI WINE AWANDA MULIRO
Bobi Wine abadde South Africa gyeyagenze okunonya ssente z’akalulu n’ategeeza nga bw’amanyi byonna ebigenda mu maaso mu pulaani y’okumusiba mu kkomera n’okumukolako obulumbaganyi kubanga alina abantu be munda abamubuulira n’akakasa nga bwali omwetegefu okufa naye nga takkirizza kutiisibwatiisibwa.
Ono ategeezezza nti baasooka kugezaako kumulemesa kufuluma ggwanga nga beekwasa nti bwafuluma eggwanga by’ayogererayo byonoona Uganda nti era Museveni yali apanga Norbert Mao minisita w’amateeka n’essiga eddamuzi okumukolako n’okumuyisaako ekiwandiiko ekimugaana okufuluma Uganda.
‘TERI KUTUULA NA M7’
Wine alayidde nga bwatagenda kukkiriza kutuula ne pulezidenti Museveni mu mukago gwa IPOD nga bwayagala beekubye ebifaananyi wabula n’akakasa nti zzo sente za gavumenti bagenda kuzifuna nti etteeka likakata ku gavumenti okuzibawa nga bwetaazibawe bagenda kugiwawaabira mu kkooti.
BOBI ALAZE LWAKI SITULAGO EKYAKONYE
Bobi nga tannasitula kugenda South Africa, yasooka kutegeeza ONO BWINO ng’asinziira ku kitebe ky’ekibiina kya Uganda Law Society -ULS e Kololo, nti ekimu ku biremesezza okuggya Museveni mu ntebe, be Bannayuganda okutikkanga omuntu omu omugugu nti abalwanireko, okugeza nga Paul Kawanga Ssemwogerera, Dr. Kizza Besigye nga kati buli omu agamba twafuna Bobi Wine twamala ne beerabira bonna okulwanira awamu. Bobi yategeezezza munnamawulire wa ONO BWINO Ronald Kisekka, eyamusoyezza ekibuuzo ku bukodyo bw’agenda okukozesa okuggya Museveni mu buyinza, nti, “… Bannayuganda temwanfuna, nange nnabafuna”.
Yayongeddeko nti luno lubimbi lwa buli omu kukwatira wamu, n’acoomera nnyo ne balooya nti be babaga buli mateeka amabi agayita mu ssiga effuzi, ne gajja palamenti n’egayisa. Wano we yalumirizza ssaabawolereza wa Gavumenti, Kiryowa Kiwanuka nti ono woofiisi ye eri kumpi ne ULS, era looya awedde emirimu, naye y’omu eyakomyawo etteeka abantu ba bulijjo okuddamu okuwozesebwanga mu kkooti z’amagye!


