Enkalu Ku kifo Ky’omugenzi Ssegirinya: Lwaki Bobi Asudde Luwemba Omuyambi Wa Ssegi; Aleese Swahabba Gwe Basiiba Basiba…

Bobi alowooza nti singa Magala afuuka omubaka wa palamenti, kijja kumuyamba nnyo okwetereeza mu Basiraamu n’okufuna obuwagizi bwabwe kubanga Magala mukwano nnyo gwa Jjajja w'Obusiraamu Omulangira Dr. Kasim Nakibinge Kakungulu era kigambibwa nti Magara abadde ayamba nnyo Nakibinja okuddukanya bizinensi ze eziri ebweru w'eggwanga. Magala yagenda okukwatibwa nga ye ssaabawandiisi wa NUP mu division y'e Kawempe bino byonna biwa Magala enkizo ku banne Webalwanira kaadi ya NUP okuli Nalukoola ne Luwemba.

Timothy Nyanzi
7 Min Read
Bobi Wine ne Nalukoola ne Magala abagala ekifo ky'omugenzi Ssegirinya

JULIUS MUCUNGUZI nga ye mwogezi w’akakiiko k’Ebyokulonda akakasizza ONO BWINO nga palamenti bwe yabawandiikidde ng’ebategeeza nti bategeke okulonda omubaka anadda mu kifo ky’omugenzi Muhammad Ssegirinya eyali MP wa Kawempe North.

Mucunguzi ategeezezza nti okulonda kulina okubaawo mu nnaku 60, kino kiwadde abantu ab’enjawulo abasoba mu 10 okulaga bwe baagala okulondebwa bamalirize ekisanja Ssegirinya, era bw’otuuka mu Kawempe North ebipandee by’abavuganya ku kifo kino bye bikwaniriza.

B’ANI BE BASIBIDDEKO ENNYO OLUKOBA: Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Umar Magala eyaakayimburwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’obutujju, munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola ne Alex [Muhamad] Waswa Luwemba ng’ono y’abadde omuyambi wa Ssegirinya -bonna balwanira kkaadi ya NUP.

ABA NRM BAWERA
Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Moses Jjemba eyaliko RDC wa Mityana n’e Kasangati ne Juliet Namale.

BOBI WINE ABIGAANYE
Ensonda mu NUP, zitubuuliddeko nti akulira ekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yagaanye okusaba kwa famire y’omugenzi Sseggirinya abaakulembeddwa Maama w’omugenzi Justine Nakajumba abaasabye Bobi kkaadi ya NUP agiwe Alex Waswa Luwemba abadde omuyambi wa Seggirinya avuganye ku kifo ky’omubaka wa Kawempe amalirize pulojekiti z’omugenzi zeyali atandiseewo. Wabula Bobi si musanyufu ne famire y’omugenzi olw’okuba ekukuta ne Kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga Kyagulanyi gweyagoba olw’okulya enguzi y’obukadde 500 ate era Luwemba talina situlago gy’abaddemu eraga nti ekibiina akiyiirawo omubiri.

BOBI AFIIRA KU MAGALA EYAAKAVA MU KKOMERA
Ensonda zitegeezezza nti Bobi amatira nnyo Umar Magala olw’omutima omugumu gwalina mu situlago, kigambibwa nti y’omu ku bavubuka abaavujjiriranga Kyagulanyi ssente mu kalulu ka 2021 zeyasakanga okuva mu bazungu mu mawanga okuli America n’ensi endala. Magala era agambibwa okubeera nga y’omu ku baateekanga ssente mu bavubaka ba NUP abaayokyanga ebipiira ku nguudo mu kwekalakaasa okwaliwo mu 2020 bwe baakwatira Bobi Wine e Luuka mu Busoga.

Bobi alowooza nti singa Magala afuuka omubaka wa palamenti, kijja kumuyamba nnyo okwetereeza mu Basiraamu n’okufuna obuwagizi bwabwe kubanga Magala mukwano nnyo gwa Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kasim Nakibinge Kakungulu era kigambibwa nti Magara abadde ayamba nnyo Nakibinja okuddukanya bizinensi ze eziri ebweru w’eggwanga.

Magala yagenda okukwatibwa nga ye ssaabawandiisi wa NUP mu division y’e Kawempe bino byonna biwa Magala enkizo ku banne Webalwanira kaadi ya NUP okuli Nalukoola ne Luwemba.

Ensonda zongeddeko nti olw’okuba akolagana nnyo n’Omulangira Nakibinge, ebitongole bya securite bimulaba ng’asobola okutunda Bobi Wine mu bazungu kubanga omulangira Nakibinge mu bazungu bamumttira nnyo kubanga musajja yasoma nnyo ate musajja wa kitiibwa era kigambibwa nti Magala okuyimbulwa mu kkomera omulangira yakola nnyo okulaba ng’ayimbulwa.

ABA FAMIRE BALUMBYE BOBI OKUSUULA SSEGIRINYA GWE YALAAMIRA
Ebya Bobi okusuula Luwemba agambibwa nti Ssegirinya gweyalaamira okumusikira mu Kawempe North bitabudde aba famire ya Ssegirinya ne Bobi. John Kasagga omu ku booluganda lwa Ssegirinya ategeezezza nti beewunya obunanfusi obuli mu NUP kubanga abakulu mu kibiina bakimanyi bulungi nti Ssegirinya alese abaana bangi abeetaaga obuyambi, kyokka ekibiina tewali we kyeyamira kubakwasizaako ne basalwo baleete Luwemba nga balowooza nti singa aweebwa amaanyi g’ekibiina n’awangula ajja kwetikka obuvunanyizibwa omugenzi bwalese kyokka Bobi bino tabitunuulidde yeekwasizza ebya Mpuuga, ono alayidde nti Luwemba ne bw’anajja nga talina kibiina, bo gwebagenda okuwagira.

UMAR MAGALA AYOGEDDE
Umar Magala agambye ONO BWINO nti byonna ebimwogerwako byabulimba kubanga ekyamukwasa nsonga za byabufuzi kubanga yali ssaabawandiisi wa NUP mu Kawempe Division era abaserikale abaamunona mu maka ge e Kawempe bajja n’eccupa bbiri eza soda n’ebiwayawaya ne babiteeka munda mu nnyumba ye ne bakimussaako nti bamusanze ne bbomu enkolerere nga baagala omusango gumusinge. Ono agamba nti ye musajja musomesa tasobola kwenyigira mu bikolwa by’obutujju era asuubira nti ye mutuufu okusikira Ssegirinya.

LWAKI BOBI TEYEESIGA NALUKOOLA
Abamu ku basalawo ensonga mu kibiina kya NUP okuli Fred Nyanzi akulira enkola ya Kkunga mu NUP amaanyi babadde bagatadde ku munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola yaba aweebwa kkaadi nga bagamba nti alinawo ku ssente ze yeekoledde mu mateeka zaasobola okuyiwa mu kibiina emirimu mu kibiina gitambule. Kyokka Bobi teyeesiga Nalukoola kubanga asambisa ebiri, yeekulubeeseza ew’omulangira Nakibinge kyokka waliwo newalabibwako ng’akukuta n’ekiwayi kya Old Kampala ekya Sheik Shaban Mubaje ekimulabisa nti teyeesigika ekibiina Bobi atya nti ayinza okumuwa kkaadi n’afuuka nga Kazibwe Bashir Mbaziira owa Kawempe South. Luyimbaazi agamba nti alina obusobozi bw’okubeera omubaka kuba amateeka yagasoma era agataputa mu kkooti.

ABADDE OMUYAMBI LUWEMBA BAMULAGIDDE YEESIMBE KU BWA KKANSALA
Abatunuulizi b’ebyobufuzi mu Kawempe North bawadde Alex Luwemba amagezi asigale ku kifo ky’obwa loodi kkansala wa Kyebando waaba atandikira ng’abadde mukama we Ssegirinya awo waanaava mu kisanja ekiddako 2031 avuganye ku bwa Mp kubanga ajja kuba aggumidde mu by’obufuzi bye, kyokka Luwemba bino abigaanye agamba nti buli kimu ekimufuula omubaka akirina era Kawempe North agimanyi yonna kubanga omugenzi waabeeredde ku bitanda yabadde akola buli kimu era nga y’atuusa n’obuweereza mu bantu n’olwekyo tasobola kuva mu lwokaano kubanga yakyusizza n’eddiini n’ava mu Bukatoliki n’afuuka Omusiraamu nga kati ye Muhammad Waswa Luwemba erya Alex yalyeggyeko nga kino yakikoze okunywerera ddala mu bantu kubanga Kawempe North ng’abasingamu Basiraamu.

ABALALA ABATUUYANA OKUSIKIRA SSEGIRINYA
Ssaalongo Mathias Mulumba amanyiddwa nga Kikumi kya ddoola nga yavuganya mu kalulu akawedde aka 2021 ku kkaadi ya DP n’awangulwa ku mulundi guno agamba nti yeesozze NUP. Muhamood Mutazindwa -Sweet Cake ono mu kalulu akawedde yavuganya ku kkaadi ya FDC kyokka kati wa PFF, agamba nti Kawempe agimanyi bulungi kubanga yakolako ne Ssegirinya nga bonna ba loodi kkansala ng’akiikirira omuluka gwa Kawempe (1).
Abalala kuliko Moses Jemba ne Juliet Nalule nga bano balwanira kkaadi ya NRM nabo bagamba nti kye kiseera Kawempe ave mu buwambe bwa opozisoni edde mu NRM abalonzi beeyagale.

TAGGED:
Share This Article