EKIBUUZO: Ssenga, mbeera n’omusajja naye sifuna lubuto…
OKUDDAMU: Ensonga eno muba mulina okusooka ne mugenda okwekebeza ne mumanya obuzibu webuva totandika kwenenya kubanga na basajja nabo oluusi be bavaako obuzibu ng’enkwanso nafu, mpozzi ng’omusajja wamusanga alinayo mwana awo osobola okugamba nti oba gwe alina obuzibu naye oba olina okwekebeza mu basawo abakugu.
EKIBUUZO: Oli otya ssenga, nze Hadija e Kirinya, mbadde mbuuza, ngeri ki gye bakwatamu omusajja na biki byenina okukola nga tutuddeko naye ne byenina okukola nga tuli mu kisenge?
OKUDDAMU: Ebiseera ebisinga abawala basanga obuzibu nga buno naddala ng’omusajja obadde tomumanyi kubanga omusajja w’oba ng’obade omumanyi oba nga omukwano gwo, tofunamu buzibu bubeera naye kubanga oba tomutya kati olina okubeera ggwe okusobola okumalako kubanga waliyo ebintu nga tebasooka kubisomesa y’ensonga lwaki abantu kibanguyira nyo okutandika okubeera bonna nga basoose kweyogereza buli omu n’amanya munne. Bw’otuuka mu kisenge, omusajja mweyabize ate tomutya, mukolere eby’ekisiru byonna by’omanyi n’ebyo eby’obukaaya ne hijabu, mu kisenge tobikwatalayo, mwambalire buli obwalagirwa bukookonyo.
EKIBUUZO: Ssenga nze Kantenge e Kaliro, mbuuza we nakozesa ekitengotengo okusika abalongo byakula naye byazimbye nyo, kaakati nkole ntya kubanga binsobedde?
OKUDDAMU: Obuzibu ekitengotengo byekirina nti kizimbya nyo naye gy’okoma okuzimba gyebikoma okukola, bwoba ng’obwo obulumi osobola okubuguminkiriza kubanga kasita bitoowolokoka era naawe ojja kulaba nga biwanvuye okusinziira nga we wali.Ggwe bireke bijja kukkakkana byokka nga wayise ennaku.
EKIBUUZO: Ssenga gyebaleko, nze Hassan,21, e Busega, naye bbogoya wange mutono nnyo, alinga wa mwana ow’e myaka esatu (3) kiva ku ki?
OKUDDAMU: Ekintu kino kitera okujja ng’omusajja yali yeemazisizzaako, ebiseera ebisinga kwekiva ate osobola n’okusanga omuntu nga ye bwatyo eyo ye sayizi ye nga bweyatondebwa. Wooba nga obade okyemazisa, ekintu ekyo olina okukirekera awo ne weewala okulaba ne firimu z’obuseegu lwa nsonga gy’okoma okuziraba kikuviirako okwagala okufabbakula ate nga togenda kufuna. Ne bwekaba katono, osobola okukozesa sitayiro ezikagyamu omukazi n’omukola ebimunyumira, obuzibu si bwa ssayizi, wabula bukodyo ki bw’okozesezza.
EKIBUUZO: Ssenga gyebaleko, lwaki bwe nneegatta n’omusajja ensulo zange tezijja bulunji, atuuka n’okumala naye ng’ensulo zange tezisumulukuse.
OKUDDAMU: Muwala kisoboka okuba nga tolina mazzi bulungi oba nga omusajja gw’olina tamanyi we bakwata mukazi ensulo ne zisumulukuka wabula w’oba nga tolina osobola okufuna akeeyeeyo n’okayenga bulungi mu mazzi g’okunywa w’omala n’okanywa tojja kuddamu kukaaba bwa nabukalu.
Ekibuuzo/Anoonya, SMS/WhatsApp 0758007311.


