Kyabazinga Asattira: Balumirizza baminisita be, ba MP b’e Busoga okulya  ssente za sipiika Among okulwana Kadaga

MU LUKIIKO lwa baminisita olwasembayo mu 2024, pulezidenti Museveni yasuubiza omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwala Kadaga ng’essaawa yonna bwagenda okumufunira obudde amukubire ku ssiimu boogere ku nsonga enyingi zaamunonyeza.

Editor Ono Bwino
4 Min Read
Kyabazinga wa Busoga ne Inebantu. Mu makati ye Minista Kadaga
MU LUKIIKO lwa baminisita olwasembayo mu 2024, pulezidenti Museveni yasuubiza omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwala Kadaga ng’essaawa yonna bwagenda okumufunira obudde amukubire ku ssiimu boogere ku nsonga enyingi zaamunonyeza.
Museveni okukola okusuubiza kuno, kyaddirira Kadaga okumusitukiramu mu lukiiko lwa kabinenti nga baminisita banne bonna nga batunula n’amutegeeza bwalina enyiike ku mutiima ne nnaku olwa pulezidenti okugaana okumuwa obudde okubaako ensonga enkulu ze boogerako nga buli kiseera bwamutuukirira amutegeeza nga bwewaliwo ensonga enkulu ezimutawanya ng’ajja kumufunira akadde boogere.
Kadaga yawagirwa baminisita banne abategeeza Museveni nga bwe balina ensonga z’obuntu ze baagala okumutegeeza wabula takyabawa budde, bano Museveni yabagumya n’abasaba okukkakkana nga bwabanyonyola nti okusaba kwabwe okumusisinkana mu buntu abadde akufuna wabula ng’alina bingi ebimutawaanya n’abasuubiza nga bonna bwagenda okubafunira obudde mu ggandaalo lya ssekukkulu ayogereko nabo.
Museveni yanyonyola baminisita nti ekiseera bwe babadde bamunonyeza babadde bakimanyi nti abadde mu byalo ng’alondoola nkola ya Perish Development Modal gavumenti ye gye yateekawo okulwanyisa obwavu mu Bannayuganda.
ONO BWINO tekakasa oba Museveni yafunye obudde n’ayogerako ne Kadaga nga ku nkomerero ya wiiki ewedde yabadde Kenya mu nkung’aana z’Abajaluwo ate ennaku za ssekukulu yali asisinkana abantu ab’enkizo mu bitundu okuli Ankole ne Kigezi nga basala amagezi ku ngeri y’okumuyambamu okuwangula akalulu ka 2026.
LWAKI BAMINISITA BAYIGGA M7 BUBI
Ensonda mu State House zitubuulidde nti baminisita abasinga abayigga Museveni baagala abataase ku bannabyabufuzi mu NRM abaagala ebifo byabwe nga Kadaga asattira olw’omusimbi omungi sipiika wa palamenti Annet Anita Among ne ssaalongo we Moses Magogo gwe bayiye mu Busoga okumulwanyisa mu kalulu ka 2026.
Among yalangirira dda nga bwagenda okuvuganya Kadaga ku kifo ky’omumyuka wa ssentebbe wa NRM mu ggwanga lyonna akiikirira abakyala ku lukiiko lw’ekibiina olw’okuntikko olwa CEC.
Kadaga yakakasizza nti Among ayiye ssente nyingi mu Busoga okumulwanyisa ng’akozesa omubaka wa Kigulu South Milton Kalulu Muwuma okuzitambuza nga yamulabudde nga bwagenda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga Among tamuwangula mu Busoga.
Ensonda zitubuulidde nti Kadaga alumiriza Mariam Naigaga omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Namutumba naye okwetikka ebisawo bya ssente za Among nga waliwo n’abanene okuli ne baminisita ku lukiiko lwa Kyabazinga Wilberforce Gabula Nadiope abaaziridde edda ne balangirira nga bwebagenda okulwanyisa Kadaga.
Kadaga yategeezezza nga bano bonna bw’abamanyi nasaba Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala okukola kyonna ekisoboka okulaba ng’akola olukiiko lwa baminisita bwa Kyabazinga olulala kubanga abamu batandise okuyisa amaaso mu bantu nga ye abaayiwawo omubiri okulaba nga Gabula alya Obwakyabazinga bwa Busoga.
Kadaga agenze okuta akaka nga Among yaakava mu kafubo ne pulezidenti Museveni akaabadde mu makage e Rwakitura.
Among yategeezezza nti baakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri olukiiko lwa baminisita bwerugenda okwataganamu ne palamenti okukola emirimu gy’eggwanga mu 2025.
NAMUGANZA ALABUDDE AMONG
Minisita omubeezi ow’ebizimbe mu minisitule y’ebyettaka Persis Namuganza akakasizza nga bwatagenda kuddamu kwesimbawo ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abakyala ku CEC n’alangirira nga bwagenda okuwagira Kadaga.
Ono anyonyodde nti bwe yeesimba ku kifo kino mu 2020 wadde Kadaga yamuwangula, wabula okuvuganya kwabwe kwakutulamu nyo ekitundu kya Busoga ne banafuwa ne mu lukiiko lwa kabinenti nga tayagala mbeera eyo kuddamu nga balina okukola enyo okugatta abantu ba Kyabazinga.
Ono yakunze Abasoga okukozesa omuwendo gwabwe omungi okulemesa Among okuwangula Kadaga mu kalulu akasuubirwa okukubwa omwaka guno.
Share This Article