ENSONDA ezeesigika zitukakasizza nti abasuubuzi mu butale bwa gavumenti 16 n’obulala obuli wabweru wa Kampala beegasse nebakola ekibiina ekipya ekibagatta awamu ne baleeta mukoddomi wa pulezidenti Museveni, Odrek Rwabogo ate era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z’ebyobusuubuzi n’amakolero okubeera okubeera omuyima waabwe.
Ensonda zitubuulidde nti abasuubuzi beegattidde wamu ne bakola ekibiina kye baatuumye Federation of Uganda Market Vendors Association (FUMVA) ne baleeta Rwabogo bba wa muwala wa pulezidenti Museveni Patience Kokundeka abeere omuyima waabwe abayambeko okutuusa ebizibu byabwe ebibaluma mu bekikwatako mu gavumenti.
Kigambibwa nti abasuubuzi okukola Federation kyaddiridde John Kabanda akulira ekibiina ky’abasuubuzi ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA) okuyingira mu butale bwa Kampala ng’ayagala abasuubuzi ababukoleramu beegatte ku kibiina kye mwebabeera bayita okutuusa ensonga ezibaluma, kyokka abasuubuzi nebamugoba nga bagamba tebategeera bigendererwa bye nebakimussaako nti yatumiddwa minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda amukungire abasuubuzi abasisinkane abankunge bamuwagire mu lutalo lwaliko olw’okunoonya akalulu ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central.
LWAKI BALEESE RWABOGO
Joseph Madhasi akola nga ssentebe w’akatale k’e Nakawa ate nga y’amyuka ssentebe w’ekibiina ekipya ekya basuubuzi b’obutale ategeezezza nti baagala Rwabogo abanguyize batuuke mangu mu banene abakwatibwako ensonga nga tebaziyiziddwa webabeera balina ensonga ezibanyiga mu butale zebagala gavumenti egonjoole. Kyokka abalala bategeezezza nti Rwabogo azze kufunaya minisita Kabanda ne Kabanda John ewa Museveni baleme kumutegeerera ku nsonga ezikwatagana ku basuubuzi abakolera mu butale kubanga beenoonyeza byabwe.
EBIKWATA KU BAALONDEDDWA OKUKULEMBERA AB’OBUTALE
Faridah Kimuli eyaliko ssentebe w’akatale k’e Nakasero ye yalondeddwa nga ssentebe nga yatereddwako abamyuka bataano okuli; Joseph Mudhasi, Nuriat Namagga ng’ono yagugulana ne Robert Kisembo Kasolo ku bwannanyini bw’akatale ka Kisekka, Richard Lubega ssentebe w’akatale ka KCCA aka Smart Buzar mu Kisenyi n’abalala, Khamadha Bukenya musuubuzi mu Owino yalondeddwa ku kifo ky’omwogezi , Robert Mukalazi atunda ngatto mu Owino n’alondebwa nga ssaabawandiisi. Obukulemeze buno bwa kiseera kya myaka ebiri weginaggwako abasuubuzi bajja kulonda obukulembeze obulala nga bayita mu kalulu.
Abamanyi eby’omunda batubbiddeko nti akulira ekibiina ekigatta aba ttakisi ekya UTOF, Rashid Ssekindi ekibiina ky’abasuubuzi akirinamu nnyo omukono kubanga enkiiko zonna ezibadde ziteekateeka okukola ekibiina kino zibadde zituula ku kitebe kye ku Nalubwama Arcade okumpi ne ppaaka enkadde.
Abalala bagamba nti ebibiina ebimeruka ng’obutiko mu kiseera kino ababitondawo beetegekera sizoni y’akalulu babaza ddiiru za ssente ezisuubirwa okuva mu bannabyabufuzi mu kalulu ka 2026 okusingira ddala pukezidenti Yoweri Museveni nga buli kibiina kireeta omunene ajja okukirwanira n’okukyogerera ewa Museveni abayiwemu ebisawo bya ssente.
KABANDA OWA FUTA ADDUKIDDE WA SIPIIKA
Wadde nga Kabanda yagobwa bubi nnyo mu butale, kyokka waliwo abamulabamu omulamwa ne bamulombojjera ebizibu byabwe ebibaluma omuli okuggyibwako emidaala, okutulugunyizibwa ba Market Masters KCCA beyasindika mu butale nga bino babiyisa mu kiwandiiko kye baakwasa olukiiko lwa FUTA era n’abasuubiza ensonga zaabwe okuzituusa mu palamenti. Kabanda n’olukiiko lwe baagenze ku palamenti okusisinkana sipiika Annet Anita Among okumuwa ekiwandiiko ekirimu ebizibu by’abasuubuzi palamenti ebeeko kyekolawo wabula tebamusanzeeyo ekiwandiiko nebakiwa omu ku bakozi be.
EBIBIINA EBIRALA EBIKULEMBERA ABASUUBUZI BISATTIRA
Bino we bijjidde nga waliwo okulwanagana okw’amaanyi mu bibiina ebikadde ebikulembera abasuubuzi wakati FUTA ekya John Kabanda ne UNATA ekya Godfrey Katongole, nga Kabanda alumirizza abakulira UNATA okusinziira mu ng’endo zebalimu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo gye basisinkanira abasuubuzi ne bakonjera aba FUTA nti bafere abeenonyeza ebyabwe, ekiri mu KACITA abanene mu kibiina kino bakyalemedde ku ssentebe w’ekibiina Thadeus Musoke Nagenda ategeke olukiiko lw’ekibiina olwa wamu bategeke okulonda obukulembeze obupya obw’ekibiina kubanga obukulembeze bwe bwali bwa kiseera ate nga bwaggwako dda kyokka alemereddwa okutegeka olukikko okutegeka amagenda ge.
Kigambibwa nti waliwo ekibiina ekipya ekirala ekitondeddwaawo okukulembera abasuubuzi abakolera mu akeedi ekya Kampala Central Traders Cooperative Society ekikulemberwa Yiga Charles nga kigambibwa nti omukolo gw’okukitongoza gusuubirwa okubaawo nga 8 omwezi ogujja ku Hotel Africana.


