Bakazi Ba M7 Batadde Gen. Saleh Awazibu: Kadaga Ne Sipiika Among Basumuludde Ebisawo Bya Ssente Obwakyabazinga Bwa Busoga Ne Bukyankalana…

GEN SALIM SALEH embeera emutabuseeko n’okutuusa kati ensonda ezimwetoolodde zitukakasizza nti akyalemeddwa okusalawo ku bakazi ab’amaanyi mu gavumenti ya mukulu we pulezidenti Museveni abamulemeddeko nga buli omu amwegayirira nti gw’abeera awagira ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abakyala ku lukiiko lw’ekibiina olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC).

Hadijja Namagembe
7 Min Read
Sipiika Anita Among, Minisita Kadaga ne Gen. Saleh

GEN SALIM SALEH embeera emutabuseeko n’okutuusa kati ensonda ezimwetoolodde zitukakasizza nti akyalemeddwa okusalawo ku bakazi ab’amaanyi mu gavumenti ya mukulu we pulezidenti Museveni abamulemeddeko nga buli omu amwegayirira nti gw’abeera awagira ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM akiikirira abakyala ku lukiiko lw’ekibiina olw’oku ntikko lu Central Executive Committee (CEC).

Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM ategeezezza nti abakiise abapya ku CEC basuubirwa okulondebwa mu Ttabamiruka w’ekibiina agenda okutuuzibwa mu June wa 2025 mu kisaawe e Namboole nga mu kiseera kino bonna abeegwanyiza obukulu mu kibiina bali mu kampeyini eza kaasammeeme nga bamatiza abalonzi nti be balina obusobozi okutwala ebifo bye beegwanyiza.

OBUNKENKE MU KAMPU YA AMONG NE MAAMA BUSOGA KADAGA

Okuvuganya okw’amaanyi okusinga kuli wakati wa sipiika wa palamenti Annet Anita Among eyalangirira edda nga bwagenda okuvuganya omumyuka wa ssaabaminisita asooka era minisita w’ensonga za East Africa Rebecca Alitwala Kadaga (Maama Busoga) ku kifo ky’okukiikirira abakyala ku CEC.

Among olwamala okulangirira n’asisinkana abakulembeze ba NRM abakulembera gavumenti z’ebitundu n’ebibuga nga bano baamukakasa nga bwe bagenda okumuyiggira akalulu asobole okuwangula Kadaga oluvanyuma lw’okumumatiza nti sipiika wa palamenti bwabeera mukyala yaalina okukiikirira bakyala banne ku CEC nga bwegubadde ekiseera kyonna Kadaga waabeeredde sipiika.

LWAKI AMONG AFIIRAWO?

Ensonda mu palamenti zitubuulidde nti Among alwana okulaba ng’atuula ku lukiiko lwa CEC oluvanyuma lw’abamu ku bakulembeze mu CEC okuwakanya eky’abakulembeze mu gavumenti okutuula mu nkiiko zaabwe ate nga si bammemba nga bano baali baagala ssentebe waabwe pulezidenti Museveni enkiiko zaabwe azigobemu Among, omumyukawe Thomas Tayebwa, ssaabaminisita Robinah Nabanja, omumyuka wa pulezidenti Jesicca Alupo nga balumiriza nti balina kulindirira bye basazeewo mu nkiiko balyoke babiteekese mu nkola.

Okusaba kwa bano pulezidenti yakugoba n’abategeeza nti wadde abantu abo si bamemba wabula olwokuba NRM ky’ekibiina ekiri mu buyinza nga bo kye baweereza beetaagibwa okubeera mu nkiiko za CEC okuwabula ku bibeera biteesebwako, ensonda zirumiriza nti Kadaga y’omu ku baali emabega w’ekiteeso kino ng’okwesasuliza ku Among olw’okumulwanyisa n’amuwanguza ku bwasipiika bwa palamenti mu 2021.

Ensonda zitegeezezza Among okuwangula ekifo ku CEC kigenda kumuyamba okuddamu okuvuganya obulungi ku bwasipiika naddala mu kiseera kino ng’abanene bangi mu kibiina baagala ave ku kifo ekyo olwa nnatti ezaamutekebwako gavumenti z’omukago gwa Bulaaya, Dubai, Bungereza, America ne’nddala nyingi nga zaawamba obugaggabwe bweyali yakukulira mu mawanga gaabwe nga zirumiriza nti yabufuna mu bikolwa by’obuli bw’enguzi, obufere n’okutulugunya bannayuganda. Among n’omwamiwe Moses Magogo pulezidenti w’ekibiina kya FUFA ekiddukanya omuzanyo gw’omupiira mu Uganda era tebakyakkirizibwa kulinnya mu mawanga agamuteekako nnatti.

Baminisita Norbert Mao owa ssamateeka n’essiga eddamuzi, Jacob Oboth Oboth be bamu ku beegwanyiza ekifo ky’obwasipiika bwa palamenti wadde nga Among yalayira dda nti waakukivaamu ng’amaze okukiwezaako emyaka 20 nga bwegwali ku Kadaga.

GEN SALEH BAMUTADDE MU KATTU

Among okuva bweyalangirira nga bwagenda okuvuganya Kadaga, yaakasisinkana Gen Saleh emirundi 2 nga buli lwamusisinkana abantu be bakakasa nti amuwanzeeko eddusu.

NE KADAGA TATUDDE

Kadaga okusobola okusirisa ttiimu ya Among, wiiki ewedde yagenze e Gulu Gen Saleh gye yagumba nga yeekubya ebifaananyi nga Gen Saleh amugudde mu kafuba n’ategeeza nti y’omu ku bannyina abasinga okumukkiririzaamu n’okumuwagira nga ttiimu Among erowooza nti kino yakikoze kubalumya.

Kadaga ewa Gen Saleh yawerekeddwako omu ku balwanyi be abakambwe enyo era minisita w’ebyobulambuzi mu bwakyabazinga Hallen Namutamba nga beekubya ebifaananyi nga bali mu kafubo ka bantu 3 nga Namutamba oluvanyuma yakakasizza banne nti Genero ow’ensonga abawanzeeko eddusu.

Wabula abali ku lusegere lwa Gen Saleh batukakasizza nti omukulu yabawulirizza naye nga talina gweyalangiridde nga gwagenda okuwagira nga banyonyodde nti okutwala akaseera akawanvu ne Kadaga baabadde bakubaganya birowoozo ku nsonga enkulu ezikwata ku by’enkulakulana, eby’obulamu n’Obwakyabazinga bwa Busoga okutwaliza ewamu.

BIIBINO SALEH BY’ABALA E GULU

Ensonda e Gulu zitubuulidde nti ennaku zino ebiseera bye ebisinga, Sale asisinkana bannabyabufuzi abaagala okwesimbawo mu kalulu ka 2026 nga agezaako okubawabula ensonga zebalina okusimbako essira nga banonya obululu bwabwe kubanga ze zigenda okukulembera mu manifesito ya NRM eri mu kuwandiikibwa.

Emmanuel Lumala Dombo ayogerera NRM akakasizza nti ttiimu y’abakugu yatandika dda okuwandiika manifesito ya NRM ng’olukiiko lwabwe olwa Ttabamiruka werunaatuukira mu June wa 2026 ng’ewedde.

EBISAWO BYA SSENTE BITABUDDE AB’E BUSOGA

Ensonda zongeddeko nti obutakkaanya obugenda mu maaso wakati w’obukulembeze bwa Kyabazinga wa Busoga ne Kadaga buleetebwa bisawo bya ssente byalumiriza nti abamuvuganya babisindika mu bakulu okubayambako okumulwanyisa bamuwangule ku bwa CEC ne ku kifo ky’omubaka omukyala akiikirira Kamuli mu palamenti.

KYABAZINGA ADDUKA E BULAAYA

Ensonda zongedddeko nti olwokutya okuswala ng’akitegedde nti abamu ku bakungu baakulembera nabo Obwakyabazinga balidde ssente okulwanyisa Kadaga gw’atwala nga maama we, Kyabazinga yasalawo okwetegula n’agenda e Bulaaya nemukyalawe nga batubulide nti eno omukyala gyagenda okuzaalira omwana waabwe asooka.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi naye omwana waabwe asooka ne Nnaabagereka Sylivia Nagginda Luswata baamuzaalira mu Bazungu nga ne pulezidenti Museveni bazzukulube abasinga babazaalidde wabweru wa ggwanga nga tekyewunyisa omuntu ow’amaanyi nga Kyabazinga okugenda ebweru omwana we asooka bamuzaalire eyo.

KATUKIRO AWABUDDE

Joseph Muvawala Katukiro wa Busoga awakanyizza ebigambo bya Kadaga nti Obwakyabazinga bumulwanyisa n’anyonyola nti bo tebenyigira mu byabufuzi byawulayawula mu bantu nga baakuwagira oyo yenna ateeka ekitiibwa mu Bwakyabazinga.

Embeera y’ebisawo bya ssente ebyasindikiddwa e Busoga bireetedde ababaka ba palamenti okuli Mourice Kibalya, Milton Muwuma okuliira ku nsiko ng’ababaka babalumiriza okulya mu Kadaga olukwe ne bawagira Among ayagala okumutwalako ekifo kya Maama Busoga.

Kinajjukirwa nti Kibalya y’omu ku baali ababaka abaawagira enyo Kadaga nga akyali sipiika wamu ne Mariam Naigagga wabula bonna baamusuulawo nga bawagira Among okuva bweyalya obwasipiika bwa palamenti.

Brandon Kintu omubaka wa Kagoma ng’ono y’omu ku baanonyeza Kadaga akalulu k’obwasipiika mu 2021 wabula nawangulwa omugenzi Jacob Oulanyah atubuulidde nti ye afiira ku Kadaga era alina essuubi ddene nti agenda kuwangula Among.

Ensonda zitubuulidde nti Gen Saleh ne Museveni okuwagira Kadaga kubwa CEC balina okusooka okukakasa nti takyalina nkolagana y’amaanyi ne pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) eyawangula Museveni mu kalulu ka 2021 e Busonga.

Museveni bweyali alambula Busoga abavubuka baamuteeka ku nninga ababuulire Kadaga kyeyamukola okutuuka okumulwanyisa n’abategeeza nga bwatalina buzibu bwonna ku Kadaga era tasindikanga ku muntu yenna okumulwanyisa.

Share This Article