NEW WORLD ORDER ETIISA: Pulaani okutemamu ensi ebitundu 10 byokka…

Mu maapu y'ensi eno empya gye baafulumya, balaga nti ensi baagala bagitememu ebitundu (Poloti) 10 byokka. Era nga ensi zonna 195 zirina kubeera wansi wa ekimu ku itundu bino 10.

Editor Ono Bwino
17 Min Read
Ensi yonna baagala kugitemamu ebitundu 10 byokka wansi wa Omukulembeze omu
    • Lwaki bagenda kugoba bapulezidenti 195 abafuga amawanga
      g’ensi balonde 10 bokka; Ani agenda okufuga Uganda?…

Twabagamba okuva Omwaka gwa Gregory ogwa 2025 bwe gwatandika, tugenda kuyiga ebintu bingi kubanga sitaani ayongeddemu sipiidi mu pulaani ze eza New World Order. Kati emboozi tugenda kubawa nyingi buli wiiki.

Njagala olwaleero ntandike n’ebigambo bya Omusajja Eustace Mullins.

Mullins yawandiika obutabo bungi ku basajja n’abakazi abafuga ensi eno wabula ng’ekigendererwa kyaabwe kuleeta amaanyi ga kizikiza (Sitaani ne banne) bafuge ensi.

Mullins yawandiika obutabo omuli: Murder by Injection (akalaga engeri gye bakozesa empiso okutta abantu), New History of the Jews, The World Order, Our Secret Rulers ne Curse of Canaan.

Mu katabo ke Curse of Canaan, mu Chapter 1, ku Page 6, Eustace Mullins agamba nti, “Bw’oba oyagala okutegeera ebigenda mu maaso mu nsi essaawa ya leero, olina okudayo emabega mu bitabo by’ebyafaayo naddala ebyawandikibwa nga ekitabo kya Enoch, ekitabo kya Noah n’ebirala. Togenda kutegeera b’ani abafuga ensi, bagifuga batya, ani abawa aebiragiro, lwaki ekibi, n’okufa bingi ku nsi, nga tozeeyo mu byawandikibwa. Ensi tugitegeera tutaddeko galubindi z’ebyawandikibwa, nga tusoma ebitabo eby’edda ebyogera ku lutalo lwa Omutonzi ne Sitaani.”

Kino ndowooza bulijjo tukibagamba. Era bulijjo tubagamba nti eno y’ensonga lwaki twasalawo okutandika Amazima Agakaawa. Mu Mazima Agakaawa, tubabuulira ebintu ebigenda mu maaso mu nsi, ne tubiteeka ne mu byawandikibwa musobole okubitegeera.

Kubanga buli ekigenda mu maaso mu nsi ey’omubiri (Physical world) bisooka kutesebwaako mu nsi ey’omwoyo (Spiritual World). Kati okutegeera ebigenda mu maaso mu nsi ey’omubiri, olina okusooka okutegeera ebigenda mu maaso mu nsi ey’omwoyo.

Kati ffe mu Amazima Agakaawa kye baatutuma okukola. Batutuma tugatte ensi zino ebbiri, musobole okutegeera ebigenda mu maaso, OKUTAASA EMYOYO GYAMMWE N’OKUSIKIRA OBWAKABAKA BWA OMUTONZI kubanga tuli mu biseera ebisembayo eby;ensi eno.

TWEYONGEREYO NE MULLINS: Mu katabo kano Curse of Canaan, Mullins ayongerako n’agamba nti, “Bwe tusoma ekitabo kya Enoch, tulaba bulungi nti sitaani bwe baamugoba mu Ggulu, obusungu bwonna yabwolekeza Adam n’abaana be. Abantu bwe beeyongera ku nsi, bamalayika abaagwa ne sitaani nga bakulembedwaamu malayika Samyaza balumba abawala abali bazaaliddwa Adam ne batabani be ne beebaka nabo ne bazaala abaana ebikulekule abaafuukira ensi ekizibu. Abaana ba Basitaani bano olwokuba byali bitonde ebyali tebirina kuzaalibwa, baalina obukyaayi bungi nnyo, baakola obuvuyo bungi nnyo ku nsi, balumbanga n’okutta abantu. Era olwokuba bali bajjudde ekizikiza n’okwonoona kwokka, batukanga n’ekiseera ne batandika bbo benyini okwelumba n’okwetta. Bano balyanga abantu n’okubanwaamu omusaayi. Gye bali, okutta n’okusanyaawo kyali kya bulijjo. Omutonzi yakoowa ebikolwa by’ekizikiza n’abasanyaawo bonna (Mu Mataba mu biseera bya Noah).”

Mullins ayongerako nti, “Kye ngezaako okubangamba nye kino, Ne wankubadde abantu bano basanyizibwaawo mu biseera bya Noah, baakomawo ku nsi, era okuva mu biseera ebyo, abantu balwana n’abaana ba sitaani bano. wabula ate mu bantu benyini, ate mulimu abakolera abaana ba sitaani bano. Ebyafaayo by’ensi, bitambulira ku lutalo wakati wa w’abaana ba Omutonzi, n’abaana ba sitaani. Abaana ba sitaani ba mirundi ebiri;
1. Bali abazaalibwa nga bamalayika beebase n’abakazi (Nephilim/Demons/evil spirits). Bano tebalina mubiri era tebalina musaayi kubanga emibiri gyaabwe Omutonzi yagisanyawo mu mataba mu biseera bya Noah; nga kati myoyo;
2. Ababakolera okukomyaawo ekizikiza ku nsi, bano bbo balina emibiri.”

Mullins agamba ku Page 7 nti, “Omuntu yen na bw’ategeera engeri abaana ba sitaani bano gye bakolamu, kigenda kumwanguyira okutegeera lwaki: Ensi ejjuddeko ebikoloberpo nga obutemu, okusanyaawo, okusadaaka abaana mu mikolo gy’ekirogo, okutta ebikumi n’ebikumi by’abantu mu ntalo, ebibamba ebifiiramu abantu abangi nga obubenje, amataba, omukwano ogw’ebikukujju (Homosexuality), obulogo n’obusamize bingi nnyo mu nsi. Byonna bye mbagambye, tewali mulala abireeta okuggyako abaana ba sitaani bano nga bayita mu bantu ababakolera abalina emibiri. Omulimu gw’abaana ba sitaani bano kulaba nga ekiseera kituuka, ng’ensi yonna, na buli kitonde ekiri ku nsi, BAJEEMERA OMUTONZI mu bikolwa byaabwe byonna (Nga bwe baali bakipanze mu biseera b ya Noah). Era eno ye New World Order gye baagala okuleeta. New World Order, etalimu kintu kyonna, nkola yonna, oba muntu yenna agondera Mutonzi.”

LWAKI NTANDISE BWENTI: Mullins yawandiise ebintu bingi mu Chapter 1 eno, naye mbifunzizza musobole okubitegeera obulungi era musobole okutegeera emboozi ya leero gye mbaleetedde.

Ebintu bino byonna by’ayogerako tuludde nga tubibagamba, naye abasinga mulowooza tutunda mawulire, olutalo essaawa yonna lutuuka eri buli muntu ali ku nsi, WABULA EKISEERA KYE TULIMU KYA BULI MUNTU KULONDAKO, OGENDA KUBEERA KU LUDDA KI MU LUTALO LUNO.

Tulina sayidi bbiri zokka;
1. Abaana b’ekitangaala (Sons of Light) nga bano be baana ba Kitaffe ali mu ggulu YaHUaH Omutonzi era Omuyinza w’ebitonde byonna. Era bano bagenda kusikira obulamu obutagwaawo.
2. Abaana b’ekizikiza (Sons of Darkness) nga bano be baana ba sitaani abagaana okugondeera ekigambo kya kitaffe ali mu ggulu ne basalawo okukola eby’obujeemu.

Buli sayidi eri mu kweteekateeka. Abaana b’ekizikiza bali mu kweteekateeka, ne Omutonzi ali mu kuteekateeka abaana b’ekitangaala (Ffe abaana b’ekitangaala Taata y’atuteekateeka). Era bano bagenda kusikira okufa.

Ssebo oba nnyabo kuno kulabula, LONDAKO SAYIDI LEERO. Mu lutalo luno, tewali agenda kubeera wakati. Buli ayagala okubeera wakati, ogenda kufa, ate ogende mu geyeena kubanga buli agenda okufa nga tuli ku sayidi y’abaana b’ekitangaala, ogenda kuzikirira; obutalondako sayidi gy’ogwa, kikutwala butereevu ku sayidi y’ekizikiza.

KAMBABUULIREYO EKYAMA EKIRALA: Ekyewuunyisa kye kino, abantu abasinga ababeetoolodde, abali mu kubuza ebikumi n’ebikumi by’abantu, balondako dda oludda. Kati omulimu gwaabwe ogusinga obukulu bakama baabwe gwe babawa guli gumu, OKULABA NGA BAKUKUUMIRA MU BUTAMANYA MAZIMA, OLEME KULONDAKO LUDDA.

Kubanga bakimanyi, buli muntu afa nga talonzeeko ludda, abeera mwana wa kizikiza kubanga abeera ku ludda lw’ekizikiza.

Omutonzi era Omuyinza w’ebintonde byonna tayagala batasalawo, era bw’otasalawo tobeera ku ludda lwe. Oba nmtegerekeka! Ayagala bnuli muntu asalewo yekka nga takakiddwa. Kati bw’osigala nga tosazeewo, TAKWETAAGA!

Kino Musa kye yagamba abaana ba Yisirayiri ng’abatuusizza ku nsi ensuubize mu Ekyamateeka Ekyokubiri/Deuteronomy 30:19, “19 Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo.”

Era ne Joshua kye yagamba abakadde b’abaana ba Yisirayiri mu Yoswa/Joshua 24:15, ” 15 Naye bwe muba temwagala kuweereza YaHUaH Omutonzi, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga YaHUaH Omutonzi.”

Era kino YaHUSHA Ha MaSHaCH kye yagamba ab’omulembe gwe mu Matayo/Matthew 6:24, “24 “Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”

Ha MaSHaCH yagamba ab’omulembe gwe kye tuli mu kubanga kati, MUSALEEWO! Togenda kuweereza Omutonzi YaHUaH ate owereze ne bakatonda b’ensi eno. Mu bufunze, TOSOBOLA KUTAMBULIRA WAKATI (OBUTASALAWO).


TRUMP MULOGO? Bwe twabagamba nga n’okulonda kwa Amerika okwakagwa nti Trump yalondebwa dda amaanyi g’ekizikiza okubeera Pulezidenti addira Joe Biden mu bigere, waliwo abawakana.

Ne wankubadde twabawa obujulizi. Bwe yeesimbawo ne batandika okuzannya katemba nti babadde bamukubye amasasi, era twabagamba katemba. Baali bagezaako kukakasa bantu nti Trump ali mu kulwanyisa Joe Biden gwe baali bakooye. Kati nga baagala afune obuwagizi obuwera nga omununuzi wa Amerika. Byonna byali ku pulaani.

MAGA MUMANYI KYE KITEGEEEZA? Okuva Trump bwe yatandika okwesimbawo mu 2017 ne 2024, abadde akozesa engombo ya MAGA. MAGA kigwaayo nti Make Amerika Great Again. Abadde agamba nti abakulembeze ba Amerika mu kibiina kya Democrats basudde Amerika n’ekitiibwa kyaayo, kati ayagala addemu asitule Amerika n’ekitiibwa kyaayo.

Ekyo Make Amerika Great Again (MAGA) kye yabagamba kye kitegeeza. Wabula waliwo ekirala kye yatabagamba.

Olulimi oluzungu, luva mu lulimi olulatini. Mujjukire twabagamba, nti ekigambo kyonna, kikola amakulu mu lulimi olwasooka.

Kati MAGA kigambo kya Lulatini era kitegeeza Omulogo (Witch), Obulogo (Witchcraft), Omufuusa (Enhantress).

Okusinziira ku Latin Lexicon oba ekitabo ekivvunula amakulu g’eebigambo bya Olulatini: The Latin word maga is a feminine noun that translates to “witch,” “enchantress,” or “(female) magician” in English. The masculine form of the word is magus, which means “a Magian, a learned man and magician”

Kyewuunyisa nti ku buli lukungaana, abawagizi ba Trump baali bayimba; MAGA, MAGA, MAGA, nga tebamanyi nti bali mu kuwa Trump buyinza atuukirize obulogo n’obufuusa bwa bakama be mu bwakabaka bw’ekizikiza abatalina mubiri abaamulonda edda.

Era Trump, alina omulimu munene gw’alina okukola okutuukiriza enteekateeka za New World Order ng’ayambibwaako munne Elon Musk (ono tumulinako emboozi nyingi).

TRUMP ATANDISE OKUKOLA: Ne wankubadde tanayingira White House kubanga tanalayira, Trump yatandiise okukola era nga buli kimu akikolera mu maka ge aga Mar-a-Lago agasangibwa ku Palm Beach, mu ssaza lya Florida mu ggwanga lya USA.

Mu bamu ku bantu be yasisikanye, kwabaddeko Prime Minister wa Canada Justin Trudeau. Trump bwe yamaze okusisinkana Justin Trudeau, yafulumiza ekiwandiiko ng’agamba abantu ba Canada bakirize Canada bagigatte ku ggwanda lya USA.

Yabagambye nti singa Canada bagigatta ku ggwanga lya USA, abantu baabwe bagenda kubeera bulungi nnyo oklusinga ne bwe bali.

Trump bwe yamaliririza okusaba Canada yegatte ku USA, yafulumizza era obubaka obulala ng’agamba nti n’eggwanga lya Greenland eriri wagulu wa Canada nalyo lyegatte ku ggwanga lya Amerika.

EBIRI EMABEGA WA OBUBAKA BWA TRUMP? Kino abantu kye batamayi, Trump tali mu kweyogeza, by’ayogera abimanyi, era nga biri mu pulaani ennene eya New World Order.

Pulaani y’okugatta Canada, Greenland, Mexico ku USA eri mu kiwandiiko kya “The Club of Rome” ekyafuluma mu 1990 mu kye baayita okukola North American Union (NAU).

Baateesa amawanga gonna agali mu North Amerika (Amerika eyomumambuka) gegatte, gakole ekibiina kimu (Block) kye bagenda okutuuma North American Union nga bw’olaba European Union (EU) ne African Union (AU).

Pulaani eno yatandika nga January 1, 1994; Amerika, Mexico, Canada bwe beegatta ne bakola ekibiina kya North Amerika Free Trade Agrement (NAFTA) nga bagamba nti baagala okweyambagana mu busuubuzi nga baggyawo emisoso gyonna era nga bakolera wamu ng’amawanga agali mu Mambuka ga Amerika.

Wabula Trump bwe yafuuka pulezidenti mu January wa 2017, yateesa nti NAFTA bagiggyewo bagisikize United States–Mexico–Canada Agreement (USMCA). Era nga July 1, 2020, NAFTA yavaawo ne bagisikiza USMCA.

Kati ate Trump y’omu ayagala USMCA yeeyubule oba bagikyuuse efuuke North American Union (NAU). Nga kino kye kibiina ekigenda okugatta amawanga gonna agali mu Mambuuka ga Amerika (Northn Amerika) gafuuke eggwanga limu.

WALI OWULIDDE KU CLUB OF ROME: Mu m waka gwa 1968, abasajja ba Brotherhood baakola ekibiina ky’abasajja n’abakazi 100 abalina okutunuulira entambula y’ensi ne bagiyiyiza ekiddako.

Ekibiina kino kyatuumibwa Club of Rome era nga kyatandikibwaawo omwamu Omuyitale Aurelio Peccei. Club of Rome etuulako abantu 100 okuva mu mawanga agamaanyi abayiya ebiseera by’ensi eby’omumaaso mu: Ebyobufuzi, eby’enfuna, science ne technology, obutonde bw’ensi, Obusuubuzi, ebyobulamu, ebyobulimi na buli nsonga ekwata ku bantu. Nga bwe tubagambye, Club of Rome basajja n’abakazi abayiyiza ensi, ne bateekateeka ebiseera byayo eby’omumaaso.

Era oyinza okubayita ba ‘Master Planners’ ab’ensi.

BAFULUMYA MAAPU Y’ENSI YONNA EGENDA OKUTWALA ENSI MU NEW WORLD OREDR: Mu mwaka gwa 1973, ekibiina kya Club of Rome kyafulumya maapu empya ey’ensi egenda okutwala ensi mu New World Order.

Mu maapu y’ensi eno empya gye baafulumya, balaga nti ensi baagala bagitememu ebitundu (Poloti) 10 byokka. Era nga ensi zonna 195 zirina kubeera wansi wa ekimu ku itundu bino 10 (nga bwe mulaba ku maapu).

1. North American Union (NAU)
2. European Union (EU)
3. Japan European Union (JEU)
4. Pacific Union (PU)
5. Asia Cooperation Dialogue (ACD)
6. South American Union (SAU)
7. Arab Customs Union (ACU)
8. African Union (AU)
9. Southeast Asian Nations (ASEAN)
10. Shanghai Cooperation Organisation (SCO)

KIKI KYE BAGEZAAKO OKUKOLA: Baagala obuyinza ku nsi bubeera mu bantu balubatu abatono ennyo. Bino eby’amawanga 195 bonna okubeera n’obukulembeze baagala kubiggyawo.

Baagala ensi yonna bagitememu ebitundu (Blocks) 10 byokka. Buli ‘Block’ ebeere n’omukulembeze omu.

Kitegeeza ensi yonna egenda kubeera n’abakulembeze 10 mu kifo ky’abakulembeze 195.

Buli obuyinza bwe bubeera mu bantu abatono, kibeera kyangu okubafuga n’okubawa ebiragiro.

Kati kubamu akafaananyi nga mukifo kya UN okuwa abakulembeze b’amawanga 195 ebiragiro, babiwa abakulembeze 10 bokka. Kigenda kubanguyira.

Ekiseera kigenda kutuuka ebitundu bino 10 bigenda kwegatta, bigatte obuyinza bwabyo bwonna, babuwe United Nations, eyinza okufuuka gavumenti emu. Era nga efugibwa omukulembeze omu (Antichrist).

PULAANI ENO Y’ERI MU BYAWANDIKIBWA? Bwe tusoma ebyawandikibwa, tulaba pulaani efaanana bweti nga bagiraga Yokaana mu Okubikkulirwa/Revelation.

Mu Okubikkulirwa/Revelation 17: 9-14, “12 “Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu. 13 Bonna bassa kimu era baliwa ekisolo ekikambwe, amaanyi n’obuyinza bwabwe. 14 Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.” (Musobola okusoma okuva ku Chapt 17, Verse 1).

Ffe tulowooza nti amayembe 10 nag be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga bye bitundu 10 bye baagala okutemamu ensi buli kitundu bakikwase omukulembeze omu.

Wabula bano bagenda kutuuka ekiseera basse kimu, bakwate obuyinza bwonna bwe balina ku bitundu byaabwe babuwe ensolo.

Ensolo, ebeere n’obuyinza ku bantu bonna, mu nsi yonna. Bino bye musomye olwaleero biri mu kugenda mu maaso kubanga abaana b’ekizikiza (The Sons of Darkness bali mu kwetegeka).

Namwe abaana ba Omutonzi, Abaana b’ekitanmgaala (Sons of Light) kye kiseera muwulirize Omutonzi kubanga ali mu kubateekateeka. Abateekateeka ng’abazaayo ku kigambo kye omuli; Amateeka ge, ebiragiro bye n’okulamula kwe.

Nga mukuza embaga ze, ne sabiiti ze.

MUTUBUUZA BULIJJO: Abantu bangi batubuuza bulijjo, naye ebintu binoi mubijja wa? Era mumanya mutya ebintu ebimu ne mubitugamba ate ne bituukawo.

Okuddamu kuli kumu, twamanya ekigambo kya Omutonzi kitaffe ali mu ggulu, era ne tumanya nti tulina kusooka kumanya bya Mwoyo, bwe tubeera bakutegeera eby’omubiri.

Y’ensonga lwaki emboozi ze tubawa ez’Amazima Agakaawa, zibeerako ebyawandikibwa. KUBANGA BULI KINTU KIRI MU BYAWANDIKIBWA. Eby’omubiri byangu okumanya, kasita otegeera eby’omwoyo.

Share This Article