Paapa Agudewo oluggi omuli entaana ya Lucifer! Kituufu yaguddewo geeti z’emagombe 5?

Ku lunaku lwa Christmas nga 25 December 2024, Paapa Francis yaguddewo olumu ku nzogi eziyingira mu Portals 5. Omukolo gw'okuggulawo enzigi zino ez'ekyama gwatandika mu mwaka 1300 era oluggi olusooka olwaguddwa lilu ku St. Peter's Basilica.

Editor Ono Bwino
4 Min Read

Ku lunaku lwa Christmas nga 25 December 2024, Paapa Francis yaguddewo olumu ku nzogi eziyingira mu Portals 5.

Omukolo gw’okuggulawo enzigi zino ez’ekyama gwatandika mu mwaka 1300 era oluggi olusooka olwaguddwa lilu ku St. Peter’s Basilica.

Bwe yabadde aggulawo oluggi olusooka oluyitibwa ‘Holy Door’ mu St. Peter’s Basilica, Paapa Francis yagambye nti, “Ekiro kya leero, nzigulawo oluggi luno okuwa esuubi eri ensi yonna.”

Kigambibwa nti okuggulawo enzigi zino ez’ekyama gwe gumu ku mukolo ogwayingiza Eklezia mu mwaka gwa Jubileewo.

Paapa era yagguddewo enzigi endala okuli: Rebibbia prison okumpi ne Rome nga Dec. 26 (Boxing Day), St. John Lateran nga Dec. 29, St. Mary Major nga Jan. 1 (Olusooka omwaka) ne St. Paul nga Jan. 5.

OKUTYA MU BANTU: Nga Paapa Francis tanaggulawo nzigi zino ez’ekyama, amawulire gaayita n’okutya nti agenda kuggulira mizimu kubanga enzigi ze yagudde tezimala gaggulwa.

Enzigi zino baziggula buli luvannyuma lwa emyaka 25 mu mwaka gwa Jubileewo.

Omukutu gwa New York Post gwawandiika nga gulabula nti Pope Francis agenda kuggulawo emikutu 5 egy’ekyama n’okukola emikolo egitakolebwa bulijjo.

ENTAANA YA LUCIFER! Wabula omukutu gwa Vice.com gwategezezza nti olumu ku luggi lwe bagudde lulimu entaana gye bawandiikako “The Tomb of Lucifer”.

Wabula omusomesa wa Bayibuli Dan McClellan mu kugezaako okutereeza yagambye nti abagamba nti Paapa Francis yagudde Entaana ya Lucifer (Tomb of Lucifer) bakiggye mu katabo “Guide to the Vatican Necropolis” akawandikibwa Michele Basso.

Mu katabo kano, Basso agamba nti mu Vatican mulimu entaana gye bawandikako “Lucifer” era nga etaana eno baagizimba wakati w’ekyasa kya 3 ne 4AD/CE.

Ono agamba nti osanga omuntu gwe baaziikamu baali bamuyita Lucifer.

McClellan era ayongerako nti entaana eno tebagiyita “The Tomb of Lucifer” wabula bagiyita “The Lucifer Tomb”.

Oba enjawulo eri wa?

Paapa ng’agulawo ezimu ku nzigi

Anyway, kw’olina okumanya kiri nti ‘Portal’ oba oluggi olumu Paapa lwe yagudde mulimu entaana y’omuntu gwe bayita Lucifer.

Kyonna Paapa Francis kye yagulidde mu ‘Portals’ etaano (5) kye mulina okumanya mukolo gwamaanyi nnyo.

Y’ensonga lwaki emikolo gino gyakoleddwa mu nnaku 14 (Okuva 23 December okutuuka 5 January) ezisinga okubeera ezamaanyi mu nsinza ya Sol Invictus.

Waliwo ensonga lwaki Oluggi lwa Portal esooka balugudde nga 25 December ku Christmas kwenyini, ate olulala ku Boxing Day nga 26, ate olulala ku lusooka omwaka nga 1 January, waliwo ensonga lwaki, wabula ensonga ezo mugenda kuziraba omwaka gye gweyongera mu maaso kubanga omwaka gunbo ssi mwaka gwa bulijjo.

TEWALI KYANJAWULO, GUNO MUKOLO GWA BULIJJO – VATICAN: Wabula abakungu e Vatican, okuyita mu mukutu gwa Vaticannews.va bagambye nti Paapa teyaguddewo ‘Portals’ oba emikutu egiyitamu amaanyi g’ekizikiza, wabula yaguddewo nzigi (Doors) ez’ebifo ebitatera kuggulwa ng’akabonero k’okuwa abanru esuubi mu buli nsonga ebatawaanya.

Era enzigi z’ebifo bino zigenda kusigala nzigule okutuuka nga 6 January lwe bagenda okuddamu okuzigala ziddemu okuggulwa nga wayiseewo emyaka 25 mu mwaka gwa Jubileewo omulala.

OMUKUNGANYA: Tetugenda kuteekayo byaffe, naye mumanye ekintu kimu, awali omukka tewabula muliro ate naddala ng’emikolo gikoleddwa nga 25, 26 ne olusoka omwaka.

Share This Article