Pulaani Y’okugatta Ediini Zonna Bakole Ediini Emu! Batandise Okulongoosa Ensi Ekitebe Kya Anti-Christ Gye Kigenda Okubeera!

Mu bigambo bye, Trump yagambye nti, "Namugambye nti njagala ayaongere okutwala Abapalestine abawera mu ggwanga lye kubanga Gaza yonna eri mu kavuyo tekyafanika. Njogera ku bantu nga akakadde kamu n'ekitundu kubanga twagala kweera ggwanga eryo lyonna."

Doreen Menezer
7 Min Read

Pulezidenti wa Amerika Donald J. Trump yategezezza ku Lwomukaaga nti yayogedde ne Kabaka wa w’eggwanga lya Jordan Abdulah III n’amutegeeza nti ayagala eggwanga lya Jordan ne Egypt batandike okuzimba amayumba okubudamya abantu ba Palestine bonna kubanga eggwanga eryo baagala kulyeera lyonna (Clean Out).

Mu bigambo bye, Trump yagambye nti, “Namugambye nti njagala ayaongere okutwala Abapalestine abawera mu ggwanga lye kubanga Gaza yonna eri mu kavuyo tekyafanika. Njogera ku bantu nga akakadde kamu n’ekitundu kubanga twagala kweera ggwanga eryo lyonna.”

Trump ebigambo bye yakozesezza biri mu ngero, era abantu bangi tebategedde kye yabadde ategeeza ne wankubadde ye Trump bye yabadde ayogera abimanyi.

KIKI EKIGENDA MU MAASO MU GWANGA ERYO? Mujjukira omwaka oguwedde mu mwezi gwa Octoter olutalo wakati wa Palestine ne Yisirayiri bwe lwatandika? Twabagamba nti Abasajja ba Brotherhood nga bakulembedwaamu ba Khazarians balimba ensi nti abayeekera ba Hamas bali balumbye Israel era okukakana nga mu kwesasuza, Isreal esse abaana 13,000 mu Gaza.

Era okuva olunaku olwo, Gaza tedangamu kubeeramu mirembe. Basiiba bagyoonoona buli lunaku, era Abapalestine kumpi baweddemu nga baduukidde ku mawanga agabaliranye nga Jordan ne Egypt.

Batandika olutalo luno n’ekigendererwa kimu; Okulaba ng’abantu ba Palestine bonna bamalamu mu ggwanga lyaabwe era okulaba nga eggwanga lino baligatta ku Yisirayiri efuuke ensi emu. Mumanyi lwaki? Okuddamu tugenda kukubawa mu maaso eyo.

ATE ABA HAMAS? Kati okutegeera Hamas y’ani, tulina okuddayo ku nkola y’abasajja ba Brotherhood of the Illuminati eyitibwa; Problem, Reaction, Solution.

Mu nkiola eno, abasajja bateekawo ekizibu, ate bwe bamala okutekawo ekizibu ne baleeta eky’oikuddamu eri ekizibu ekyo.

Hamas yatekebwaawo abasajja ba Brotherhood. Bwe twogera ku Brotherhood mulina okukimanya nti Yisirayiri ne Amerika banene nnyo mu Brotherhood.

Kati Hamas baagireekawo nga kanyeebwa ke balina okukozesa nga ekyekwaaso bwe banaaba baagala okuggyawo eggwanga lya Palestine.

Era Hamas aba Brotherhood be babadde bagiteekamu ssente okubeerawo. Kati ekiseera bwe kyatusee nga baagala ettaka lya Palestine lyonna okuitwakla baliwe Yisirayiri, babadde balina okwekwasa nti bagobamu ba Hamas kubanga balabe ba Yisirayiri.

Kati essaawa eno, Trump, omusajja wa Brotherhood agamba nti Abapalestine banokon ye we badda kubanga eggwanga lyaabwe lyonna bagenda kulyeera.

MUSOOKE MWEBUUZE: Njagala tusooke twebuze, lwaki Trump teyagambye nti bagenda kutereeza Palestine bagigobemu aba Hamas, bagitereeze bagiddize Abapalestine?

Ye lwaki agamba amawanga agaliranye Palestine galina okufuula Abapalestine abatuuze baabwe baleme kuddayo mu ggwanga lyaabwe?

Kubanga Trump pulaani yonna agimanyi. Akimanyi nti essaawa yonna ettaka lya palestine lyonna ligenda kutwalibwa Yisirayiri era Yisirayiri baagala kugifuula kitebe ekikulu ekya New World Order nga Antichrist gy’agenda okutula.


LWAKI PALESTINE BAGIREMESA OKUBEERA MEMBA OMUJJUVU OWA UN? Okumanya bano abasajja ekintu kino baakiteekateeka dda, amawanga gonna agali mu nsi bagamba nti gali 195, wabula amawanga 193 gali wansi wa United Nations.

Amawanga abiri gokka ge gatali bamemba abajjuvu aba UN, amawanga gano ye Vatican ne Palestine.

Vatican olwaleero njagala tugireke twogere ku Palestine. Palestine tebasobola kugikkiriza kubeera mmemba omujjuvu owa UN.

MUMANYI LWAKI? Okuddamu ekibuuzo kino, njagala mbatwaleko mu United Nations. Alemesa kino kyonna lye ggwanga lya USA.

Mu UN, waliwo amawanga 5 agalina obuyinza obw’enkomeredde (Veto Powers).

Amawanga gano kuliko; China, France, Russia, United Kingdom, ne United States.

Eggwanga lyonna eririna Veto Powers libeera n’obuyinza bungi okusinga amalala.

Omwaka oguwedde, Palestine yaddamu okusaba UN efuuke Mmemba wa UN omujjuvu.

Nga 10 May 2024, olukiiko lwa UN General Assembly lwategeeza nti Palestine yali etuukiriza ebisaanyizo byona okubeera memba wa UN omujjuvu, wabula eggwanga lya Amerika, olwokuba balina ‘Veto Powers’, baakozesa amaanyi gano okulemesa Palestijne okufuuka Memba omujjuvu.

Mumanyi lwaki? Kubanga Amerika akolera Yisirayiri.

Bbo mu kibalo kyaabwe ekya New World Order, Palestine tebagirabawo kubanga balina pulaani okugisimuula ku maapu.

ANI AGENDA OKUTWALA ETTAKA LYA PALESTINE? Nga Trump bw’agambye, Amawanga nga Egypt, Jordan n’amalala bwe ganatwala abantu ba Palestine ne gababudamya, Yisirayiri egenda kweddiza ettaka lya Palestine lyonna baligatte ku ggwanga lya Yisirayiri.

Kitegeeza Palestine ejja kubeera nga tekyaliwo.

Tujja kubeera nga tetukyalina ggwanga lya Palestine ne Yisirayiri mu kitundu ekyo. Tujja kubeera na Yisirayiri yokka.

LWAKI BINO BYONNA BABIKOLA: Kuno kwe kulowooza kwange, bino byonna babikola kubanga baagala Yisirayiri y’ebeera efuuka ekitebe kya Anti-Christ.

Era baagala Anti-Christ asinziire mu Yisirayiri okufguga ensi yonna egenda okubeera ne; Ssente emu (One world Curency), Gavumenti emu (One world govenment), Ediini emu (One World Religion) n’omukulembeze omu (One World leader) agenda okubeera Anti-christ).

Trump ne banne aba Brotherhood bakimanyi era baakuba ekirayiro okulaba nga kino kituukirira.

Yisirayiri egenda kutwala ettaka lya Palestine lyonna, bagenda kuzimba yeekaalu ya Antichrist, era bagenda kuzimba ekitebe kya Anti-christ gy’agenda okutuula okufuga ensi nga omukulembeze omu ow’ensi yonna.

Era bagenda kugatta ediini zonna zifuuke ediini emu abasinga gye bagamba nti bagenda kugiyita Chri-Islam. Nga bonna basinza omuntu omu “Anti-Christ” oba ‘False Messiah’.

Pulaani eno y’emu y’eri mu kinusu kye twabanyonyolako mu ndagaano ya ‘Abraham Accord’.

PULAANI YA NEW WORLD ORDER NE ANTICHRIST EGENDA MU MAASO: Twabagamba mu omwaka oguwedde nti eggwanga lya Israel essaawa ya leero bali mu kutegeka kuddamu kuzimba yeekalu empya sitaani mw’agenda okutuula nga katonda w’ensi yonna.

Essaawa eno, bali mu kuteekateeka mikolo gya kusima musingi gwa yeekalu eno.

Omukolo ogusinga obukulu mu kusima omusingi gwa yeekalu eno gwe gw’okusaddako ente emyuufu (Red Heifer oba Para Aduma) nga ssadaaka esima omusingi. Emboozi eyo nayo twagibanyumiza mu bujjuvu omwaka oguwedde.

Share This Article