ABAANA abakulu ab’omugagga Mohan Musisi Kiwanuka nanyinni Radio One, Akaboozi ku bbiri FM era omu ku basinga ebizimbe ebingi e Kololo mu bagagga, nga bali wamu ne nyabwe Beatrice Kavuma Kiwanuka n’aba famire abalala beekubidde enduulu mu State House okubataasa ku mukyala muto era eyali minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka gwebalumiriza okubalemesa okwegazanyiza mu bugagga bwa kitaabwe n’okubikozesa obubi.
Okwemulugunya kuno bano baakututte mu kakiiko ka State House akalwanyisa ekibba ttaka n’okwesenza mu ntobazzi akaduumirwa Brig Gen Moses Lukyamuzi nga baagala okubayambako okusobola okukozesa ebizimbe n’ettaka lya kitaabwe lyebyalumiriza nti nyabwe omuto alibalemesezza okulikozesa.
Bano era baawandiikidde pulezidenti Museveni ebbaluwa nga baagala okubataasa ku Maria Kiwanuka kati gweyalonda ng’omuwabuzi we ku by’ensimbi gwebagamba nti eby’obugagga bya kitaabwe abikozeemu obufere.
Bano okuddukira mu State House, nga balooya ba Kiwanuka aba Buwule, Mayiga and Company Advocates balwana okufuna omulamuzi wa kkooti ejulirwamu okuyimiriza ekiragiro ekyayisibwa kati omumyuka wa ssaabalamuzi nga mu kiseera ekyo ye yali akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Dr. Flavian Zeija ng’akkiriza aba famire okusisinkana omugagga Mohan gwe baali balumiriza nti ali mu mbeera mbi.
Banyina b’omugagga nga bakulemberwamu Jalia Muwanga, Yudaaya Nsereko Nantege, Berti Nsereko Kawooya ne Sarah Nsereko be baatwala Kiwanuka mu kkooti nga bagamba nti mwanyinaabwe yeetaaga obujjanjabi obusingawo, bwafuna okuva ku mukyalawe gwebalumiriza nti amuleka waka n’abakozi abatamusobola ye n’agenda okukola tebumumala.
OMUGAGGA YALI YAGWA EDDALU?
Bano beesigama ku birayiro by’abasawo b’omugagga abakkiriza nti omugagga yagwa eddalu nga takyategeera bulungi ekintu balooya be kye baasooka okuwakanya wabula omulamuzi bweyalagira okumuleeta amulabe balooya nebakkiriza nti omuntu waabwe alina ekikyamu ku mutwe.
Omulamuzi yalagira poliisi okuwerekerako aba famire mu maka g’omugagga e Kololo ekintu Kiwanuka kyeyasooka okuwakanya wabula oluvanyuma yakkiriza ekiragiro kya kkooti okuteekebwa mu nkola ng’atidde nti bayinza okumuyisaako ekiragiro ky’okumusiba mu kkomera olw’okulemesa okuteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti.
Wabula bano baagala kkooti eyimirize ekiragiro ekikkiriza aba famire okusemberera omugagga nga balumiriza nti balemesa abasawo okumukolako ate nga n’embeera gyalimu teyeetaaga kubeera n’abantu bangi nyo nga n’abamu tebeesiga buyonjo bwabwe.
OLUTALO KU BUGAGGA
Bano balumiriza nti okuva kitaabwe bwe yatabuka omutwe, Kiwanuka yafuna ebiwandiiko ebimuwa obuyinza n’abaana be 3 abato ku byobugagga bya kitaabwe byonna.
Ensonda mu famire zitubuulidde nti omugagga obugagga bwonna yabuwandiisa mu makampuni ge nga muno mwemuli n’ekyapa ky’amaka ge amakulu e Kololo nga byonna mu kiseera kino Kiwanuka y’abiddukanya.
Abaana abakulu balumiriza nti Kiwanuka atandise okubaweereza ebiwandiiko ebibasaba ssente z’okubeera mu mayumba ga kitaabwe olwokuba gonna gaawandiisibwa mu mannya ga kampuni zalinako obuyinza n’abaana be.
Bano baagala watondebwewo akakiiko akeetengeredde okuddukanya eby’obugagga bya kitaabwe okutuusa abasawo bwe banaakakasa nti azze mu mbeera ezisobola okubiddukanya nga kino kyakukomya obuyinza Kiwanuka bw’abirinako yekka n’abaana be wabula nga kino okukolebwa balina kusooka kukola mbalirira ku ngeri gyabadde abiddukanyamu.
BALUMIRIZZA ABAANA OBUFERE
Wabula aba ttiimu ya Kiwanuka bagamba nti tebasobola kukkiriza baana bafere kuddukanya mmaali ya mugagga kubanga n’omulenzi omukulu Jodan Kiwanuka yagaana okwetondera kitaawe bweyamutwala mu kkooti ng’ayagala emulangirire nti mulalu alwo bamuwe obuyinza okuddukanya obugagga bwe.
Omugagga yasooka kwegaana abamu ku baana be ng’alumiriza nti maama waabwe Kavuma tabeerangako mu mukwano nabo nga yali mukozi mu makampuni ge ng’okubasomesa yali ayamba bayambe ng’abaana b’omukozi we okutuusa DNA bweyamuwemula n’ekakasa nti abaana y’abazaala.


