Essanyu N’okufa Mu Mabaala: Babbulooka B’abakazi Abakyekola N’abasajja Beetala, Emirambo Gikyagwa…

KU NKOMERERO y’omwezi oguwedde, amawulire g’okufa kwa mwana muwala Omunyankole omulungi Martha Ahumuza Murari gaawawaaza amatu g’abangi bwekyazuulibwa nti ku bimu ku byakyankalanya obulamu bwe kwe kuteeka ebiragalalagala mu by’okunywa bye n’oluvannyuma n’asobezebwako.

Zahara Nangendo
4 Min Read
Abawala mu bbaala nga beesanyusaamu

KU NKOMERERO y’omwezi oguwedde, amawulire g’okufa kwa mwana muwala Omunyankole omulungi Martha Ahumuza Murari gaawawaaza amatu g’abangi bwekyazuulibwa nti ku bimu ku byakyankalanya obulamu bwe kwe kuteeka ebiragalalagala mu by’okunywa bye n’oluvannyuma n’asobezebwako.

Omuze gw’okuteeka ebiragalalagala mu by’okunywa by’abakyakaze gweriisa nkuuli ensangi zino.

PULOMOOTA AYOGEDDE

Okusinziira ku Fahd Kasibante, munnamawulire era pulomoota w’abayimbi, agamba nti ebbaala tezikola nga temuli bakazi olwensonga abasajja baba baagala abakazi abagenda okubabeesabeesa nga banywa. Abasajja abasinga tebagenda na bakazi baabwe mu mabaala. Kati abategeka emicakalo gy’ekiro batandika okukwana abawala b’oku mmeeza z’omu bbaala, abagenda okusikiriza abasajja bagule omwenge.

Ekigendererwa ekisooka kya bbaala kubeeramu bakazi kuba ebintu ebikulu mu bbaala biri bibiri; mwenge n’abakazi. Nti abantu abava ewaka ebiseera ebisinga okugenda mu bbaala, bwaba mutamiivu, aba ayagala kugenda kunywa mwenge. Bwaba mwenzi aba ayagala kugenda kulonda mukazi. Ensonga lwaki abasajj baagala nnyo abakazi b’omu mabaala baba bangu, omuntu omusanga awo n’omubuuza ekyokunywa kyayagala, n’okigula, n’omufuna n’omutwala ne kiggwera mu loogi ate nga nabwo bubeera awo kumpi.

Waliwo babbuulooka b’amabaala abasinga be bayita ba ‘Hosts’, abaleeta abawala bano mu mabaala, kubanga bano bakimanyi nti bwobeera n’abawala abalungi mu bbaala yo, abasajja bagula omwenge okukamala n’okufunamu. Emmeeza ezo tezibaako bantu balala kuba ziba z’abawala abo be bakung’aanya n’ekigendererwa.

BASAGGULA ABASAJJA ABAKWANYI

Kati abawala abo babeera n’omulimu gw’okunoonya abasajja abasobola okubakwana mu abo ababa bazze nga tebalina babeezi mu bbaala. Bwabakwana, nga bamusudiya okugula omwenge. Awo ebbaala eba ekola. Omusajja bwamala okute3kamu ez’omwenge aba ayagala okugendako n’omuwala omu. Oluusi omuwala asobola okukKiriza obukKiriza naddala oyo aba atamidde oba okweramula omusajja n’aba ng’agenda kugula mugule.

Kati abasajja balina kye baayiga nti bwomanya omuntu agenda okubatwaliriza mu kiro ekyo, mu bbaala gyoba olonze, osobola okumutuukirira n’omugamba akufunire omukazi. Okugeza omukubira n’omugamba nti ng’enda kugula emmeeza naye njagalako abawala basatu. Kati guba mulimu gwa kalabaalaba oyo okufunira kasitoma we abakazi kuba aba akimanyi nti agenda kusaasaanya nyingi era ogw’okutunda abakazi bwegutyo bwegutandika kuba omusajja abeera yeeronze nga anyonyola enkula n’emyaka gy’abawala baaba ayagala okumubeesabeesa ekiro ekyo. Ebiseera ebisinga amugamba gyebirina okuggwera era omuwala oba abawala abaleetebwa babeera bakimanyi.

Kalabaalaba anonya abawala era n’abayitiramu. Omusajja agenda okutuuka nga buli kimu kyateredde dda. Omugagga asasula kalabaalaba era oluvanyuma atoolako ezize n’omuwala n’amuwa ezize oba aziwa omuwala ye n’asasula eyaleese ddiiru.

BASSA EBIRAGALALAGALA MU BY’OKUNYWA

Ono ayongera okunyonyola nti abasajja baatandika omuze gw’okuteeka ebiragala mu by’okunywa by’abakazi kubanga bafuna nnyo abawala abayaaye ababera n’ekigendererwa eky’okubakuula ebinnyo. Agenda n’ayingira ebbaala, n’asanga abawala ku mmeeza n’abegomba. Ebiseera ebisinga abawala bano oluusi bo baba bazze kunyumirwa bunyumirwa ate nga tebaagala kugaana mwenge gwa bwereere ate oluusi mikwano gy’abawala bano gibaleeta tegibabuulidde kituufu nti waliyo okwetunda era bassaalumanya bwebatyo bwe bafuna ebizibu.

Omuwala bw’amaliriza okunywa n’okulya ssente y’omusajja ate n’atayagala kubisasulira, omusajja ayiiya engeri y’okumutwalamu endala. Abamu babatamiiza kyokka bw’akizuula nti gwagezaako okutamiiza tatamiira, nga olwo amuteeramu ebiragalalagala ebimuggya mu mbeera n’atandika okuyoya okwegatta oba n’abeera nga tamanyi kigenda mu maaso ku nsi.

Asobola okumuteera enjaga mu ky’okunywa oba n’okwogera n’atabula Shisha, n’amuwa ekyojamumiro, ne sisha ne bamutabulamu ebiragala ebirala ebikubira ddala. Ate olumu bakozesa abantu abaweereza mu mabaala ne babitabika mu by’okunywa.
Agamba nti newankubadde abawala boolesa obukujukujju, bo abasajja abamu baba baagala bwagazi kulya bye batasasulidde ng’ekigendererwa kye kyakulya bya bwereere era bano batera kukimalira mu mmotoka.

Abalala bateekera bannaabwe ebiragala mu by’okunywa lwa ntalo. Omuwala asobola okuteeka ebiragalalagala mu by’okunywa bya munne olwokuba beerinako entalo mu mabaala ate abalala olwokuba nga baagala kukozesa bannaabwe mukwano ogw’ebikukujju ate nga be baagala baabagaana dda.

Share This Article