JAJJA Omutaka Ssaalongo Augustine Kizito Mutumba omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka mu Buganda, akakasizza ONO BWINO mu mboozi ey’akafubo nga bweyafunye ebbaluwa okuva ewa Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi ng’aliko okulung’amya kwamulagira okukola ku ttaka ly’abataka pulezidenti Museveni lyeyabagulira okwekulaakulanya.
Jjajja Mutumba eyeewunyizza engeri gyetwafunyemu amawulire g’ebbaluwa eno, yatutegeezezza nti Kabaka yagiwandiise mu kyama nga tasobola kugikubaganyako birowoozo mu mawulire n’atusaba nti mu kiseera ekituufu buli kimu kigenda kubuulirwa Obuganda.
Ensonda ez’omunda mu ofiisi ya Kabaka zitubuulidde nti ebbaluwa eno Kabaka yagiwandiise ng’ayita mu Katikkiro we Charles Peter Mayiga ng’alagira Omutaka Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe mu bwangu okumuweereza ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka yikka 3 pulezidenti Museveni lye yabagulira okuva ku John Kakembo ku buwumbi bwa ssente za Uganda obukunukkiriza mu 9 mu 2023.
BEENE AYAGALA EBIKWATA KU KAMPUNI Y’ABATAKA
ONO BWINO akitegeddeko nti Kabaka yasabye n’ebiwandiiko byonna ebikwata ku kampuni y’obwananyini abataka gye baakozesa okuwandisizaamu ekyapa kino ng’Omutaka Mutumba y’omu ku bayima baayo. Kabaka yalagidde obutabaako nkulaakulana yonna ekolebwa ku ttaka lino okutuusa nga by’asabye bimaze okumuweebwa.
ABATAKA BAKOMYE KU MUNAABO?
Kabaka waawandiikidde ebbaluwa eno, ng’essaawa yonna abataka bateekateeka omukolo ogw’amaanyi okuggulawo ofiisi ezaazimbiddwa ku ttaka lino erisangibwa mu maaso ga Bulange kwebagenda okukolera emirimu okuli n’okuddukanyizako SACCO yaabwe gye baatandikawo okutereka n’okwewolamu ssente z’okwekulaakulanya.
Mu March wa 2025, minisita omubeezi owatekinologiya mu gavumenti ya Museveni Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo yalambula ekifo kino n’asanyukira nyo enkulaakulana eyali ekolerwako okwali okuteekako ennimiro abantu kwe baali bagenda ne basomesebwa ennima ey’omulembe naddala okulimira ewafunda, ekifo we booleza emmotoka, obuduuka ne ofiisi ze baali bazimbyeko, omutaka Yusuf Mbirozankya eyakulemberamu okulambuza minisita yamutegeeza nti ku ofiisi ezaali zizimbiddwa kwaliko n’eya mukama waabwe Kabaka.
Abataka baasaba Ssebugwawo okwanguyiriza okuteekesa mu nkola ekiragiro kya Museveni okukwatagana ne Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF, bayinginiya mu UPDF batandike okuzimba ekizimbe ky’ebyobusuubuzi ekyemyaliro egikunukkiriza mu 30 nga kino kitegeeza nti ekizimbe kigenda kubeera kiwanuvu nnyo nga kisinga Masengere ne Bulange ebya Kabaka, nga kuno kwekugenda okubeera ofiisi z’abataka abakulu b’ebika bya Buganda bonna nga ne ssente ezisoolozebwamu zaakuyamba mu kwekulaakulanya ne bazzukulu baabwe.
Museveni abataka balumiriza nti yabasuubiza okukola ku by’okuzimba byonna n’abasaba okukozesa obulungi ekizimbe kyeyali abawadde okukunga bazzukulu baabwe naddala abavubuka okuwagira enkola za gavumenti eziteereddwawo okulwanyisa obwavu.
LWAKI KABAKA ASABA EBIWANDIIKO BY’ETTAKA LY’ABATAKA
Mutumba wadde nga teyagenda mu State House okusaba n’okufuna ettaka lino, ategeezezza nti banne abaagenda nga bakulemberwamu omutaka Mbirozankya, bwe baakomawo baabasanyukira olw’ettu lye baggya ewa pulezidenti era ne basalawo mu lukiiko lwabwe nti ettu lino balina okulyanjula ewa Kabaka ng’ekiseera kyonna babadde balindirira olunaku okumusisinkana balimwanjulire.
Ono anyonyodde nti ebbaluwa Kabaka gyeyamuwandiikidde agezaako okubalung’amya ku ngeri gyebasobola obulungi okukozesa ettaka lyabwe nga mu kiseera kino kyaliko kwe kukung’anya byonna ebyamusabiddwa ebitwale embuga.
ABATAKA BAKUKUTA NE M7 OKUNJEEKERA
Ensonda mu ofiisi ya Kabaka zitubuulidde nti Kabaka yalagidde okuwandiika ebbaluwa eno oluvanyuma lw’okukitegeera nti abataka omuli ne Mutumba bamuyeekera nga bakolagana ne Museveni mu nkukutu nga bakulembeza Mbirozankya ng’eno y’ensonga lwaki baamuteeka mu kampuni eyawandiisibwamu ekyapa ky’ettaka lino.
Mutumba yeegaana mu maaso ga Mayiga nga bw’atamanyaako ku nteekateeka z’akafubo ka Museveni n’abataka ate nga ne Kabaka teyakimanyako wadde nga banne abataka balumiriza nti bakkaanya wamu ng’enkuyege okugenda ewa pulezidenti kubanga ye mukulu w’eggwanga.
MINISITA NABBOSA BAMUYIGGA
Ensonda zitubuulidde nti Mutumba ali mu kattu kubanga ebiwandiiko byonna Kabaka byeyamusabye talinaako kyalina nga byonna abataka abaagenda ewa Museveni baabiteresa minisita Ssebugwawo.
Omu ku bataka atubuulidde nti ebiwandiiko bino baabiteresa Ssebuggwawo kubanga yaalina securite ey’amaanyi nga baali batya nti ttiimu ya Mayiga eyinza okubibabbako engeri gyeyali yeewera nti tewali nkulaakulana egenda kukolebwa ku ttaka eryo nga Obwakabaka tebukkiriza.
Okukyusa obwananyini bw’ettaka lino okudda mu mikono gy’abataka gaali maanyi ga Ssebuggwawo eyagenda ewa Museveni n’amutegeeza nga minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba ng’akolera kubiragiro bya Mayiga bweyali agaanye okukyusa obwananyini bw’ettaka lino okutuusa ng’abataka bafunye olukusa okuva ewa Kabaka.
Museveni yalagira Nabakooba mu bwangu obwananyini bw’ettaka lino bukyusibwe kubanga ssente ezaaligula yali amaze okuzisasula ng’era gaali maanyi ga pulezidenti okuwandiisa kampuni omwawandiisibwa ekyapa nga mu kusooka ssaabawolereza w’Obwakabaka Owek. Christopher Bwanika yali awandikidde ekitongole kya gavumenti ekiwandiisa amakampuni obutagezaako kuwandiisa kampuni y’abataka okutuusa nga bafunye olukusa okuva mu bakulu mu Bwakabaka.
OBUNKENKE BWEYONGEDDE
Ensonda zongeddeko nti mu kiseera kino obunkenke bw’amaanyi nga banonya omuntu gwebatuma ewa Ssebuggwawo okubawa ebyapa oluvanyuma lw’obutakkaanya obwabalukawo wakati we n’abakulu mu Bwakabaka baalumiriza obutakola kimala ng’afiiriddwa omwamiwe Eng Ssebuggwawo ku ntandikwa y’omwaka guno, kyokka ng’omugenzi yali yakola nyo okukomyawo Obwakabaka n’okubuyimirizaawo.
FITINA YA MAYIGA NE SSEBUGGWAWO YEEYONGERA
Obutakkaanya bw’obukulembeze bwa Mayiga ne Ssebuggwawo bwatandika Ssebuggwawo bweyatwala abataka ewa Museveni nga tamutegeezezzaako ate nga ye akakasa nti bali wansi we nga buli kyebakola balina okumutegezaako. Ssebuggwawo olwatuuka ewa Museveni n’amutegeeza ng’abataka bwe bali abantu ab’amaanyi mu Bwakabaka wabula abakulu e Mengo tebabalabawo nga beetaaga okuyambibwa.
Ssebuggwawo era alina obusungu ku Mayiga gwalumiriza okulwanyisa mukwano gwe maama Nnaabagereka wa Buganda Syvia Nagginda Luswata nga ne bweyawandiika ekitabo ekikwata ku bulamu bwe Obwakabaka tebwakiikirirwa ne bagaana n’okusoma amawulire ago ku Leediyo ya CBS ng’ensonda zirumiriza nti ekiragiro kyava wa Kabaka yenyini eyagaana mukyalawe okufulumya ekitabo mu kiseera kye yakifulumizaamu naye n’agaana n’akifulumya ng’omukolo gwali ku Shelton Hotel mu Kampala.
WALUSIMBI OMUKULU W’EKIKA KY’EFFUMBE KABAKA AMUGOBYE
Ensonda zitukakasizza nti Kabaka Mutebi yakkiriziganyizza n’ensala ya kkooti ya Kisekwa eyagoba omutaka Mbirozankya ku bukulu bw’ekika ky’effumbe nga balumiriza nti yalya nsowole.
Ensonda zitegeezezza nti mu wiiki ntono emabega, Kabaka yasisinkanye abakulu mu kika ky’effumbe abaakulembeddwamu eyali Katikkiro we Owek. JB Walusimbi n’abalagira mu bwangu okunonya omuntu agenda okukola ng’omukulu w’ekika kyabwe ng’enteekateeka z’okunonya n’okutuuza omukulu w’ekika omutuufu bwezikolebwa.
Ensonda zitubuulidde nti mu lukiiko luno, Kabaka yali mukambwe nnyo nga yabategeeza nti ekiseera kituuse akamanyiiro ku bukulembeze bwe kakome. Beene yalagira Mbirozankya obutaddamu kuteekebwa mu biwandiiko by’Obwakabaka ebitongole nga nemukatabo akatongole ak’Obwakabaka omwabadde obubaka obwensonga nga Ccuucu ajaguza emyaka 70 Mbirozankya teyabaddemu wadde ate ng’abataka abalala baabaddemu.
MUTUMBA KU KUGOBWA KWA MBIRO
Mutumba agaanye okubaako ky’ayogera ku kugobwa kwa Mbirozankya n’ategeeza nti Kabaka bwabeera yakoze ensala ng’akakasa eya kkooti ya kisekwa bagenda kumuwaako kopi ng’omukubiriza w’olukiiko lw’abataka ate n’Abaganda bonna bagenda kugisoma kubanga kasita efuluma kibeera kifuuse kiwandiiko kya lwatu.
MBIRO AGAMBA KI?
ONO BWINO agezezzaako okunonya Mbirozankya okubaako kyayogera ku nsonga eno wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa nga tegakwatibwa, omuyambiwe atubuulidde nti mukamawe mu butongole tanafuna nsala ya Kabaka wadde ng’abiwulira nti yafulumye era nti yamugobye ku bukulu bw’ekika.
Ono anyonyodde nti mukamawe obutafulumira mu katabo k’Obwakabaka tekirina kye kimugattako wadde okumutoolako kubanga ye omulimu gwaliko gwakulwanirira kika kya ffumbe ekintu kyagenda okukola wadde nga Kabaka anaabeera asazizzaamu obuyinza obwamuweebwa bazzukulu be okubakulembera.
Ono atubuulidde nti JB Walusimbi alina obusungu ku Mbirozankya ng’omuntu nga y’ensonga lwaki yakulemberamu abantu abaamuwaabira mu kkooti ya Kisekwa n’okubayambako okukola obujulizi obw’ekifere nga byonna byatandikira ku ddiiru y’okutunda ettaka ly’ekika gyeyali amuguza n’agigaana.
BEENE BAAMUTOMEZA?
Ono ayogedde okunyonyola nti Kabaka baamuwa amawulire amafu nti Mbirozankya ye yakulemberamu banne okubatwala ewa Museveni nga yakozesa Ssebuggwawo okuyiwa enkonge Mayiga zeyali yasimba mu State House okubalemesa okutuuka ewa Museveni nga tebayise mu ofiisi ye.
Ono ategeezezza nti abaagala okutwala ettaka Museveni lyeyawa abataka baliteeke mu kitongole kya Buganda Land Board balowooza nti okumugoba ku bukulu kyekigenda okubayamba ekitali kituufu kubanga ne bwe bamugoba ku bukulu bw’ekika wakusigala n’omugabo gwe ng’omuntu ku ttaka eryo.
Omuyambi atubuulidde nti Kabaka bweyalwala, abataka ne bagenda okumulambulako e Namibia mu mutima omulungi, Mayiga ensobi yonna yagiteeka ku Mbirozankya nti ye yanonya ssente n’okukola enteekateeka ezaabatwala ekitali kituufu kubanga ye teyagenda yakoma ku kisaawe Entebe.
Ensonda zitubuulidde nti Mbirozankya alina enteekateeka y’okuwakanya ensala ya Kabaka era wakusigala nga mukulu wakika akulembeera abazzukulu abanaasigala nga bamukkiririzaamu kubanga si y’agenda okubeera asoose.
Ebika nga eky’enkima, enyonyi enyange, engabi byonna birina abakulu b’ebikka babiri.
AYOGERERA OBWAKABAKA AGAANYE OKUKWATA AMASIMU GAFFE
ONO BWINO agezezzaako okufuna Owekitiibwa Isreal Kitooke Kazibwe minisita w’Obwakabaka ow’amawulire n’okukunga okwongera okutangaaza ku nsonga eno wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa tegakwatibwa.


