BAMUKOOYE! Omugole Wa Minisita Mao Asattiza Abakozi Mu Gav’t…

MARIAM ZANDYA omu ku bayambi ba minisita w’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao yataddeyo okusaba kwe mu minisitule y’abakozi ba gavumenti ng’asaba okukyusibwa okutwalibwa mu kitongole kya gavumenti ekirala oluvanyuma lw’okulemererwa okutondawo enkolagana ey’amaanyi ne mukama we gwalina kati.

Editor Ono Bwino
3 Min Read
Mao ne mukyala we Beatrice Kayanja

MARIAM ZANDYA omu ku bayambi ba minisita w’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao yataddeyo okusaba kwe mu minisitule y’abakozi ba gavumenti ng’asaba okukyusibwa okutwalibwa mu kitongole kya gavumenti ekirala oluvanyuma lw’okulemererwa okutondawo enkolagana ey’amaanyi ne mukama we gwalina kati.

Zandya okusaba okukyusibwa kyaddiridde okufuna amasimu n’okulabulwa okuva mu bakama be nga bamulumiriza okwebakira ku mulimu n’alemererwa okulung’amya mukamawe minisita Mao ku ngeri gyalina okwogeramu eri abantu, kubanga ebiseera ebisinga by’ayogera biswaza eggwanga ne gavumenti ya Museveni.

Zandya y’avunanyizibwa ku kuwandikira minisita byalina okwogera omulimu gwalumiriza nti agukola bulungi ddala wabula ekizibu kyalina nti mukamawe by’amuwandira okusinziira ku mukolo gwabeera agendako si by’ayogera n’ayongeramu ebigambo bye ng’ebisinga binyiiza banne mu gavumenti omusango ne baguteeka ku ye amuwandiikira eby’okwogera.

Abanene mu gavumenti balina obuzibu bw’amaanyi ne Mao nga balumiriza nti akyeyisa ng’ali ku ludda oluvuganya ate nga yakola endagaano okukolagana ne gavumenti ya Museveni wadde ng’akyali pulezidenti wa DP.
Mao enfunda nyingi avumirira ebikolwa bya gavumenti ya Museveni naddala ebityoboola eddembe ly’obuntu ng’okuwamba abavubuka ku ludda oluvuganya ate nga banne baagala buli kimu agambe bugambi nti ‘Yes’.

ABAKOZI BEETAMIDDWA MUKAZI WA MAO

Ng’oggyeko Mao okuva ku by’ayogera ebinyiza banne mu gavumenti, abakozi mu minisitule gy’akulembera beetamiddwa mukyalawe omugole Beatrice Kayanja gwebalumiriza nti naye ayagala bamuyise nga mukama waabwe n’okusingawo ate nga talina ky’ali.

Bano batubuulidde nti buli Kayanja bwaleetera Mao emmere oba ng’azze okumulabako mu ofiisi, abeera yaakayingira bwati, ng’ayagala abakozi bonna bamubuuze kubanga ye mukyala wa Minisita Mao etali nkola ya gavumenti kubanga buli omu abeera ku mirimu gye.

Batubuulidde nti yababuulirirawo nti balina okumuwa ekitiibwa kubanga essaawa yonna agenda kufuuka ‘FIRST LADY’ nga Mao alidde Obwapulezidenti bwa Uganda.

Mao yasigula Kayanja okuva ku musajja Munnayuganda nkubakyeyo e Bugereza mu kiseera bwe yeesimbirawo ku bwapulezidenti mu 2021, teyakomawo awo, yamuwa ne kkaadi yeesimbe ku kifo ky’Obwaloodi Mmeeya bwa Kampala, n’okwewandiisa baagenda bonna e Kyambogo wadde ng’omusajja yali akyalumiriza nti baali tebanayawukana mu butongole ng’abafumbo abalina n’abaana.

Omusajja yalumiriza nti Mao yamukolako ejjoogo nga buli kiro, abeera ali mu buliri ne mukyalawe Kayanja, nga Mao amukubira amasimu ne boogerera ekiseera ekiwanvu ng’oluvanyuma yamuyambako n’akomawo e Uganda.

Okufaananako Mao, ebyokwerinda by’omukazi byanywezebwa nga n’okuyingira ku minisitule kati baateekawo ekyuma ekikebera ebiwandiiko ebitwalibwa ewa minisita ne mukyalawe gweyakuba embaga mu 2024. Beatrice wa Mao yamufunira n’omukuumi akakasa nti tatuusibibwako bulabe.

Mao okuwasa Kayanja yasooka kwawukana ne maama w’abaana be abakulu Naomi Achieng Odongo eyali omukozi mu State House.

Share This Article