MUNNAMATEEKA Kassim Male Mabiriizi alagudde nti obubonero bwonna obuliwo ng’eggwanga lyetegekera okutuuka ku nkomerero y’obukulembeze bwa pulezidenti Yoweri Museveni obukunukkiriza okuwera emyaka 40 nga ye pulezidenti omulonde, abavubuka 2 abalwana okutwala entebe ye bandisimbwa mu kkooti y’ensi yonna (The International Criminal Court-ICC) nga baggulwako emisango gy’okwenyigira mu kitta bantu n’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu Uganda.
EKISEERA KYA M7 OKUWUMMULA KITUUSE
Mu mboozi ey’akafubo ne ONO BWINO, Mabirizi ategeezezza nti Museveni ne bw’abeera ayagala nnyo, ekiseera kye eky’okuwummula kituuse nga takyasobola kwongezaayo kusalawo kwa Katonda amukaddiyizza n’amunafuya omubiri nga kino naye akimanyi bulungi nga y’ensonga lwaki yasaba abasuubuzi mu 2024 abaali bamuwakanya ku nkola y’omusolo gwa EFRIS okwagala ennyo eggwanga lyabwe kubanga be bakyali abavubuka nti ye essaawa yonna agenda mu Ggulu okusisinkana Omutonzi we nga ky’akoledde bannayuganda akikoze bulungi.
Mabiriizi ategeezezza nti wadde Museveni awaga nga Uganda bw’agikoledde ebirungi era Katonda musanyufu gyali, wabula tataddeewo nteekateeka nnung’amu esobola okuyitibwamu okukyusa obuyinza mu mirembe nga bannakigwanyizi abalowooza nti be balina okumusikira batandiise okukozesa omuwaatwa ogwo okutondawo obubinja bw’abavubuka obukozi bw’effujjo okubayambako okutwala obuyinza bw’eggwanga ekintu kyagamba nti kyamutaawaana nyo eri Uganda.
BOBI ALINA OKWEGENDEREZA BA FOOT SOLDIERS BE
Mabirizi ayongeddeko nti enfunda nyingi azze alabula pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu(Bobi Wine) n’obukulembeze bwe okwegendereza ku bikolwa by’abavubuka be baakazaako ba Foot Soldiers –‘amagye ag’oku ttaka’ baazimba ng’alumiriza nti enneeyisa yaabwe yeegenda okumuleetera okutwalibwa mu kkooti y’ensi yonna avunaanibwe asibwe ne mu kkomera nga basajja ba ssaabayekera Joseph Kony owa Lord’s Resistance Army(LRA) eyali alwanyisa gavumenti ya Museveni ng’asinziira mu bitundu bya Acholi, Lango, Karamoja, West Nile ne Teso.
Ono alumiriza nti enneeyisa ya ba foot soldiers yonna eraga nti beetegekera lutalo nga bambalira ddala n’okweyisa ng’abajaasi nga ku yunifoomu zaabwe kuteekebwako ennyota eziraga ranka nga bwegubeera mu magye, engato zaabwe ze bambala zambalibwa balwanyi, balina n’essimu za Radio Call ze bakozesa okuwuliziganya. Nti bano balina n’obuduumizi ku mitendera egyenjawulo okutuukira ddala ku Bobi Wine omuduumizi ow’oku ntikko nga ye yunifoomu ye baagiteekako (Commander 1).
Ono ategeezezza nti enfunda nyingi Bobi Wine ng’atambula, ba Foot Soldiers bakola effujjo mu makubo nga beefudde abanyweza securite y’omukulu asooka okubawa ebiragiro n’okuduumira dduyiro. Abagenda okusimba Bobi Wine mu kkooti y’ensi yonna ebyo byonna baakubikozesa ng’obujulizi okukakasa abalamuzi nti ba foot soldiers balina obutendeke obw’enjawulo enyo mu by’ekijaasi.
SECULITE EGENDA KUTANDIKA OKUKIMAKO ABAVUBUKA BA BOBI
Ono awagiddwa Moses Bigirwa ategeezezza ONO BWINO nti Bobi Wine okwambaza ba Foot Soldiers ng’abajaasi n’abasimbisa paleedi nga bwe bayimba enyimba z’abalwanyi abalwana okutwala obuyinza bw’eggwanga nga bwe baakoze nga bakuza amazaalibwa ge ku kitebe kya NUP e Makerere- Kavule wiiki ewedde, yasudde abavubuka be mu buzibu kubanga securite egenda kutandika okubayigga ebagguleko emisango gy’obufere n’okulya mu nsi olukwe kubanga Museveni abatya nti bayinza okumukola kye baakola munne omugenzi Muammar Gadaffi eyali pulezidenti wa Libya mu 2011.
AKALULU KA 2026 KAGENDA KUBEERA KA KUFA NA KUWONA
Bigirwa atubuulidde nti Bobi Wine n’obukulembeze bwa NUP okutendereza ba Foot Soldier olw’okulemesa palamenti eyali ekiikiriddwa Kamisona wa palamenti Mathias Mpuuga Nsamba okukulemberamu emikolo gy’okuziika eyali omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya kyayongera okumukakasa nga ye aludde mu byobufuzi nti ebyaliwo mu kalulu ka 2021 abavubuka abawagizi ba NUP abawerako bwe battibwa nga n’abamu n’okutuusa kati tebaddangamu kulabwako, abangi ne basibwa mu makomera nga abamu byakyaliwo nga n’abalala okufuna obuvune obutagenda kuva ku mibiri gyabwe, bigenda kuddamu mu kalulu ka 2026 Bobi Wine keyalangirira edda nga bwagenda okukeetabamu nga gavumenti egenda kubang’anga ng’abayeekera abakugu ennyo mu kulwana.
Munnamawulire Andrew Mwenda atubuulidde nti ebitongole bya securite okukozesa obusungu obw’amaanyi ku bavubuka ba NUP, baali bakimanyi nti balina pulaani y’okutabangula eggwanga balemese akakiiko k’ebyokulonda okulangirira abawanguzi mu kalulu ka 2021 n’okwokya Kampala.
Bigirwa alabudde abavubuka abapya mu ttiimu y’aba Foot Soldiers okubeera abeegendereza enyo ng’alumiriza nti abeeyita abaduumizi baabwe abasinga bakolera Museveni nga bamuyambako okutegeera abo abalina omutima omugumu oguyinza okutabangula eggwanga ng’alina okutya nti essaawa yonna securite egenda kutandika okwata abavubuka ba NUP okusinziira ku kyabadde e Kavule nga Bobi alambula ennyiriri z’abavubuka bano nga bw’agooma n’okulya oluvimbo.
NE MUHOOZI BAMUTWALA MU KKOOTI Y’ENSI YONNA
Mabiriizi atubuulidde nti omuduumizi wa UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba olwokuba akimanyi nti be balina obuyinza, agenda kukozesa obubinja bw’amagye mu UPDF ng’aka bakkomando ba Special Forces Command (SFC), agavubuka ge baawandiisizza mu ggye ekkuuma byalo erya Local Defence Unit (LDU) okukubagana ne ba foot soldiers ba Bobi Wine era gye binaggwera ng’omusaayi guyiise.
SFC ETWAZA MUHOOZI MU KKOMERA
Mabirizi ayongeddeko nti ekigenda okusibya Muhoozi kwekubeera nti egye lya bakomando ba SFC n’aba LDU tebamanyiddwa mu ssemateeka wa Uganda nga mu kiseera kino batwalibwa ng’obubinja bw’abavubuka abakozi b’effujjo abakozesebwa okutta n’okutulugunya abo abatakkaanya na bakama baabwe.
Mabiriizi atubuulidde nti Abazungu okutandika okulabula abantu baabwe okwegendereza entambula zaabwe mu ggwanga erimu nga bwe baakola ku Uganda, babeera batandise okufuna obujulizi ku balikulembera n’abavuganya bwe basobola okukozesa mu kkooti y’ensi yonna singa wabeerawo ekittabantu oba okutyoboola eddembe ly’obuntu.
BESIGYE MMUTWALA KU KALABBA- MUHOOZI
Gen Muhoozi n’okutuusa kati akyawera nga bwagenda okuwanika Dr Kizza Besigye ku kalabba ng’ekibonerezo olw’okwegeza mu kutta kitaawe pulezidenti Museveni nga kuno yagattako n’okusalako Bobi Wine omutwe n’anyonyola nti kitaawe yaakyamulemesezza olwokuba alina ekisa ku Bobi Wine nga buno bwonna bujulizi obugenda okumusiba mu kkooti y’ensi yonna obw’okugezaako okutta abantu.
Mabirizi ategeezezza nti Muhoozi okukozesa enyo olulimi olusosola mu mawanga nga buli kiseera akulembeza Abahima n’Abanyankole nga bwe bali ab’amaanyi enyo abalwanyi abatawangulwa nga bw’akkakkanya amawanga amalala ku mitimbagano gye nabwo bugenda kukola ng’obujulizi obumusiba n’ebisimuluzo babikasuke mu nnyanja.
Ono ategeezezza nti okutta abantu okwaliwo mu November wa 2020 olw’okusibwa kwa Bobi Wine e Luuka mu Busoga mu kampeyinni z’Obwapulezidenti ku misango gy’okutyobola ebiragiro bya Museveni ku kulwanyisa okusaasaana kwa Covid-19, okutta abantu mu kwekalakaasa okwaliwo mu 2009 nga Museveni alemesezza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi okugenda e Bugerere n’okwekalakaasa okulala kwonna okubadde kubaawo mu bukulembeze bwa Museveni, kugenda kukola nga obujulizi obusiba Muhoozi mu kkooti y’ensi yonna.
ABAWUJJA OBUNYAMA BAGENDA KULUWONA
Mabirizi ayongeddeko nti kkooti y’ensi yonna tegenda kukwata bakadeeyideyi nga Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) akulira securite ya Bobi Wine ne banne nga Saudah Madada eyeetimba ennyota z’abajaasi n’okutiisatiisa nga yeeyisiza ddala nga munnamagye oba Achileo Kivumbi abakolera Bobi Wine ne boofiisa mu LDU ne SFC abakolera Muhoozi, wabula yaakutwala abakulu benyini abaduumira okuzza emisango.
Mabirizi atubuulidde nti mu kitta bantu e Kenya mu 2007, abantu bangi baali bamanyi nti kkooti y’ensi yonna egenda kusiba Mzee Raila Odinga eyali alwanira Obwapulezidenti n’omugenzi pulezidenti Mwai Kibaki, wabula obujulizi bwasiba Dr. William Ruto kati pulezidenti wa Kenya ne munne Uhuru Kinyatta eyaakavaako kubanga be baali baduumira obubinja bw’abavubuka obwenyigira mu kittabantu nga bakadeyideyi tebabakwatako.
Uhuru yaduumira abavubuka abawagizi ba Odinga ate Ruto n’aduumira abawagira Kibaki ng’olutalo baaluteekamu n’amawanga bannansi ne batting’ana bubi nyo okukkakkana nga Ruto ne Uhuru bagguddwako emisango mu kkooti y’ensi yonna.
NUP EWAGA OBUYINZA OKUBUTWALA MU NGERI YONNA
Julius Katongole omu ku bakunzi ba NUP, ategeezezza ONO BWINO nti eby’okutisatisa nga bwe bagenda okutwala mukama waabwe mu kkooti y’ensi yonna olw’ebikolwa byaba Foot Soldiers tebigenda kubaggya ku mulamwa ng’awaga nti byonna bye bakola biruubirira kubayambako okutwala obuyinza bw’eggwanga nga kye kyabaleeta mu byobufuzi.
BA FOOT SOLDIERS SSI BA FFUJJO
Katongole awakanyizza ebya Mabirizi nti ba foot soldiers baabwe bakozi ba ffujjo n’ategeeza nti abavubuka baabwe bayigirize nyo ate abalina empisa nga yenna asiiwuuka empisa nga baliiko omulimu gwa Bobi Wine gwebaliko akangavulwa mu kakiiko kaabwe akakwasisa empisa.
Katongole atubuulidde nti ba foot soldier bayawulwamu emitendera ne babakwasa n’obuvunanyizibwa obwenjawulo nga mulimu abo abakwasibwa securite ya Bobi Wine n’abakulu mu kibiina kubanga bakimanyi nti waliwo ababi abaagala okubatuusaako obulabe.
Abalala omulimu gwabwe omukulu gwakunonyeza kibiina buwagizi nga bano bali mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, baweebwa byonna ebyetaagisa okutunda ekibiina mu bantu nga bakozesa empisa ennungi nga Bobi Wine waabakalaatira n’akakasa nti eby’okubasiba tebibatiisa kubanga okuyingira situlago y’okulwanyisa Museveni baakimanyirawo nti balina okusibwa mu makomera oba okufa naye nga Uganda enunuddwa.
Katongole ategeezezza nti ebyambalo ba foot soldiers bye bambala biringa abaana bamucakamucaka bye bayambala mu masomero nga Bobi Wine yabakakasa nti okwambala ebyambalo byabwe tebaliiko tteeka lya ggwanga lyebamenya nga balina okubyeyagaliramu.

OBUBINJA BW’ABAVUBUKA KATI BUZIBU OKWEWALIBWA BW’OBEERA OYAGALA OKUWANGULA AKALULU
Katongole atubuulidde nti kizibu nyo okwewala okukozesa abavubuka nga ba foot soldiers mu byobufuzi bya Uganda kati kubanga be bayamba okukuuma n’okunyweza obuwanguzi bwa munabyabufuzi. Ekizibu akitadde ku Museveni gwalumiriza nti asse obwesimbu mu kakiiko k’ebyokulonda nga bangi tebakyakeesiga.
Ono awagiddwa Bigirwa ategeezezza nti obubinja bw’abavubuka butaasa bannabyabufuzi obutatyoboolebwa n’okukolwako effujjo be bavuganya nabo era oyo abulina buli waatuuka bamutya nga tebasobola na kumulemesa kwogera ku mikolo ng’enyimbe n’embaga.
Omubaka Mpuuga bweyafuna obutakkaanya n’obukulembeze bwa NUP ate ng’alina pulaani y’okutandika okutalaaga eggwanga, yakwatagana n’omuyimbi Patrick Mulwana(Alian Skin) ne bakola endagaano okukolera ewamu ng’asaasaanya engiri y’ekisinde kye eky’ebyobufuzi ki Democratic Alliance.
Ensonda zirumiriza nti Mpuuga okupasula Skin ng’ayagala agavubuka gaatambula nago nga ganywa enjaga okumuyambako okumutaasa ku ba foot soldiers ba NUP singa bagezaako okumwang’anga.
MP Ibrahim Ssemujju Nganda owa Kira Municipality yategezea nti obubinja bw’abavubuka bwebapangisa okubakuuma mu kampeyini zaabwe tebeesigika kubanga effujjo lyebakola linyiiza abawagizi olwokuba babanyakulako obusawo bwebabeera abakazi, okubabbako amasimu.
Katongole ayongeddeko nti okwewala Ssemujju byayogera, munnabyabufuzi alina okuzimba akabinja k’abavubuka be okumukolera eby’obufuzi nga kino Bobi Wine kyakola mu ba foot soldiers.
MUHOOZI ATANDISE OKUWANDIISA ABAVUBUKA MU MASOMERO N’EBYALO
Col Chris Magezi omuyambi era omwogezi omutongole owa Gen Muhoozi, akakasizza nga mukamawe bwalagidde abanene mu UPDF okutandika okulondoola abaana bonna abaakoze obulungi mu bigezo bya S-4, S-6 okuwandiisibwa batandike okutendekebwa mwoyo gwa ggwanga.
Ensonda mu kisinde ky’ebyobufuzi ki Patriotic Legue of Uganda (PLU) ekikulemberwa Gen Muhoozi zitubuulidde nti baatandika ne ku pulaani y’okuwandiisa abavubuka okuviira ddala ku byalo okubeegattako nga balina okusooka okwerondamu obukulembeze obugenda okubakwanaganya n’obukulembeze bwabwe waggulu nga banonyeza mukama waabwe obuwagizi bw’okumutuusa mu ntebe nga Museveni awummudde.
Kinajjukirwa nti Gen Edward Kale Kayihura bweyali akyaduumira poliisi, yatondawo akabinja k’abavubuka keyatuma Crime Preventors keyategeeza nti omulimu gwabwe gwali gwakulwanyisa bumenyi bw’amateeka, wabula ensonda zirumiriza nti yakatondawo nga yeetegekera okutwala obukulembeze bw’eggwanga.
Gen Kayihura bwe baamugoba, Museveni yalagira Gen David Muhoozi eyali aduumira UPDF mu kiseera ekyo okuwandiisa ba Crime Preventor ba Kayihura mu ggye ly’eggwanga ezzibizi.
UPDF ERANGIRIDDE EKIDDAKO
Maj Gen Felix Kulayigye abuulidde ONO BWINO nti bagenda kutandika ekikwekweto ku bantu bonna abatandise okweyisa n’okukola ebikolwa ebyefaananyiriza eby’amagye gaabwe.
Ono ategeezezza nti kkooti ensukkulumu okuwera okuvunaanira abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye tekitegeeza nti abantu batandike okumenya amateeka g’amagye n’awera nti bonna abakikola baakutuukibwako era omukono gw’amagye omuwanvu gubakoleko.
HAJJI NADULI ALABUDDE
Al- Hajji Abdul Nadduli alabudde bannabyabufuzi okwewala okukunga abavubuka okubayingiza mu bikolwa by’effujjo ebiyinza okubaleetera okusibwa n’okufiirwa obulamu bwabwe n’ategeeza nti eby’obufuzi kazannyo ka bwongo ng’ebiseera by’okukozesa eryanyi byakoma ku bo bwe baakwata emmundu okugenda mu nsiko okulwanyisa gavumenti ya Milton Obote mu 1981 ne bawamba obuyinza mu 1986.
Nadduli abavubuka abasabye amaanyi okugalagira mu kalulu ng’alumiriza nti wadde bakiteeka ku kakiiko k’ebyokulonda akakulirwa omulamuzi Simon Mugenyi Byamukama okubba obululu bwabwoe bonna bajjuze bokisi n’obululu bw’omuntu waabwe.
MUBIRU NJUKI OMUTUNUULIZI W’EBYOBUFUZI
Ono ye asabye abakulu mu ddiini, abakulembeze b’ennono ne bannayuganda bonna okwanguyira embeera y’okuyiwa omusaayi esuubirwa okubaawo ku nkomerero y’obukulembeze bwa Museveni bateekewo embeera egitangira nga bukyali.
Ono atubuulidde nti okukubaganya ebirowoozo ku biseera bya Uganda eby’omumaaso ky’ekiseera etandike bakkaanye ku ngeri Museveni gyasobola okuwaayo obuyinza mu mirembe nga bannansi tebattiddwa olw’okuba ye akyayagala entebe.


