Katikkiro Mayiga Asattira: Ebyabadde Mu Kafubo Nga Kabaka Yeebuuza Ku Nakibinge e Kibuli Bimusattiza…

OKUVA pulezidenti Museveni bweyatongoza okuzimba ekizimbe LWATTAMU okugenda okubeera ofiisi z’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, bambega mu bitongole ebikessi bakyanonyereza ebyayogerwa mu kafubo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ke yalimu n’Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu ku lunaku olwo lwenyini.

Hadijja Namagembe
8 Min Read
Mayiga ng'asisinkanye Omulangira Nakibinge e Kibuli

OKUVA Pulezidenti Museveni bweyatongoza okuzimba ekizimbe LWATTAMU okugenda okubeera ofiisi z’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, bambega mu bitongole ebikessi bakyanonyereza ebyayogerwa mu kafubo Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ke yalimu n’Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu ku lunaku olwo lwenyini.

Ensonda zaffe eziri Mengo zitubuulidde nti enkeera ya 27 July 2025, Kabaka abayambi be baamukakasa nga Museveni bweyali agenda okusisinkana abataka n’okutongoza ekizimbe kye yabasuubiza okuzimbibwa ku buwumbi 58. Wabula bano beewuunya Nnantabipingwa okubaddamu ku by’abataka bye baali bamubuulidde nti, “Kale”.

Ku Lwokutaano omukolo lwegwaliyo, ensonda zitubuulidde nti Kabaka yeewunyisa abayambi be bweyabategeeza nga bwagenda mu Lubiri e Mengo okukola, wabula nga balina kusooka kugendako Kibuli ng’agenda kwogerezeganyamu n’Omulangira Kakungulu.

KABAKA AGENDA EWA NAKIBINGE

Ensonda zitegeezezza nti Kabaka ne Kakungulu, akafubo kaabwe ak’ababiri kaatwala essaawa nga bbiri (2) mu maka g’Omulangira Kakungulu e Kibuli, Kabaka yakafulumamu ng’alabika akkakkanye ebirowoozo nga n’okuseka aseka.

OBUNKENKE NGA KABAKA AYINGIRA OLUBIRI

Emmotoka za Ccuucu olwava e Kibuli zaavuga butereevu nga zigenda Mengo wabula obunkenke bwali bw’amaanyi ng’abayambi be balowooza nti securite ya pulezidenti eyinza okumulemesa okuyingira Olubiri lw’e Mengo engeri ekitundu kyonna bwekyali kisaliddwako bakkomando ba SFC nga tebakkiriza mmotoka yonna kuyita ku nguudo ezo.

Wabula emmotoka za Kabaka bwe zaatuuka ne bazikkiriza okuyitawo era byonna ebyayogerwa ku mizindaalo omwali ne Museveni okusuubiza nga bwagenda okutwala abakulu b’ebika n’Abalangira ba Buganda e Kyankwanzi okubasomesa mwoyo gwa ggwanga Uganda Kabaka yabiwulira.

LWAKI BAMBEGA N’ABAKOZI E MMENGO BASATTIRA

Ensonda zongeddeko nti Kabaka okusisinkana Kakungulu mu buntu, alina okubeera nga baliko ensonga enkulu gye baayogerako ng’okutya okuliwo nti Kabaka okusalawo kwe kuyinza okukosa pulezidenti Museveni n’abanene e Mengo naddala Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Kabaka okugenda okwebuuza ku Kakungulu, ng’amaze ekiseera ng’asisinkana basajjabe ab’omunda naddala abaaliko bakatikkiro nga JB Walusimbi, Dan MuliIka abamanyiddwa nti balina obutakkaanya ne Mayiga.

Ensonda zitegeezezza nti omugenzi Nelson Kawalya eyaliko sipiika w’Olukiiko lwa Buganda, yagenda okufa ng’enfunda eziwera asisinkanye Kabaka e Mengo mu Lubiri lwe nga balumiriza nti alina enteekateka z’ayagala okukola mu bukulembeze bw’Obwakabaka naye nga yeetaaga okuwabulwa enyo, ate ng’abantu abamuwabula bategeera ensonga za Buganda.

ABATAKA BEETEMYEMU EBIWAYI

Bino we bibeereddewo ng’Olukiiko lw’abataka abakulu b’ebika beetemyemu, waliwo abakkiririza mu bukulembeze bwa Mayiga n’ababuwakanya nga bano bakkiririza mu Owekitiibwa Joyce Nabbosa Ssebuggwawo minisita w’amawulire ne tekinologiya mu gavumenti ya Museveni.

‘TEAM’ MAYIGA

Abalangira nabo beetemyemu, waliwo abakkiririza mu Mayiga nga bano bakulemberwa Omulangira David Kintu Wasajja wamu n’abo abalowooza nti Mayiga awabya omusika wa kitaabwe Ssekabaka Mutesa ng’ono ye Kabaka Mutebi okusobola okwekomya obugagga bwe baasikira n’okubakutulamu nga famire.

KABAKA AYAGALA KUGOBA MAYIGA?

Wadde abamu balowooza nti enkiiko Kabaka z’atuuza n’okwebuuza kwaliko nti ayagala kuleeta Katikkiro mupya agobe Mayiga, wabula abamanyi ebyomunda batubuulidde nti Mayiga akyaliwo olw’engeri gy’ayambyemu Kabaka okununula obugagga bw’Obwakabaka, okumukolera ssente ng’atandikawo amakampuni agaleetera Obwakabaka ssente.

KABAKA AYONGEDDE OKUTABUKA KU MUKAZI WA STATE HOUSE

Kabaka ayogedde okutabuka ku mukazi Phiona Birungi omuyambi wa pulezidenti Museveni ku nsonga ez’enkizo bw’amugguddeko omusango omulala mu kkooti enkulu e Wakiso ng’amulumiriza okwekobaana n’abamu ku balangira ba Buganda okwagala okuwamba ettaka ly’Obwakabaka.

Kabaka yasooka kutwala Birungi mu kkooti enkulu ekola ku nsonga z’ettaka mu Kampala ng’ono yamuwawaabira ne minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr Sam Mayanja olw’okusalimbira ku ttaka lye e Kaazi ne baliwaako n’ebiragiro eri omuwandiisi w’ebyapa okusazaamu ebyapa bya Kabaka biwandiisibwe mu bafamile ya ssekabaka Daudi Chwa.

Mayanja yalagira ekitongole ekiwandiisa amakampuni ki Uganda Registration Service Bureau -URSB okusazaamu layisinsi y’ekitongole kya Buganda Land Board-BLB ekivunanyizibwa ku kuddukanya ettaka ly’Obwakabaka ng’alumiriza nti kikolera mu bumenyi bw’amateeka.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Bonny Teko yayisa ebiragiro ebiyimiriza byonna ebyali byasalibwawo Mayanja ne Birungi okutuusa nga kkooti emalirizza mu butongole okuwuliriza okwemulugunya kwa Kabaka ng’alumiriza nti ye nnanyini ttaka ly’e Kaazi.

BAAGALA KUTWALA TTAKA LY’E NAGGALABI

Mu biwandiiko bya kkooti ONO BWINO byeyalabyeko, Kabaka alumiriza nti Birungi yeekobaanye n’Omulangira Robert Sewava omu ku bakulu mu mu mutuba gwa Ssembizzi abasibuka mu Lulyo lwa Ssekabaka Ssuuna okumutwalako ettaka erisangibwa ku Busiro Block 342 plot 1, Busiro Block 342 plot 3, Busiro Block 342 plot 4 ng’ettaka lino lisangibwa mu bitundu okuli Buddo gye batikkirira Kabaka ne Nabbingo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Balooya ba Kabaka abakulembeddwamu ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika balumiriza nti ettaka eryogerwako lyerimu kweryo eryawambibwa gavumenti ya Milton Obote mu 1966 ng’aweze Obwakabaka wabula mu 1993 gavumenti ya Museveni n’eriddiza Obwakabaka bwa Buganda nga liddukanyizibwa BLB.

Bano baagala kkooti erangirire nti Birungi okuyita bonna bekikwatako ku ttaka lino okubakunya, okutiisatiisa abatuuze abaliko Kabaka b’amanyi obulungi nga babadde bamuwa n’obusuulu kimenya mateeka nga kirina okuyimirizibwa mu bwangu.

Kabaka ayagala kkooti erangirire nti ye nnanyini ttaka eryogerwako nga ofiisi ye yaligabana mu ndagaano 1900 nga ky’ekitundu ku mailo 350 ofiisi ya Kabaka zeyagabana.

ABA SSEMBIZZI BAWERA

Robert Sewava akkiriza nti ddala yafunye ebiwandiiko bya kkooti ebikakasa nti Kabaka amugguddeko emisango n’awaga nga bwagenda okutwala mu kkooti obujulizi obugenda okwabya abanene e Mengo nga mwotwalidde ne Katikkiro Mayiga, aba Buganda Land Board okubeera mu mivuyo gy’ettaka lino nga balitunda mu bufere nga bwe bamala okulya ssente ne babuzaabuza Kabaka.

Ono atubuulidde nti ettaka lino jjajjabwe Omulangira Juma Sembizzi Lwembaawo Naddibanga omu ku baana ba Ssekabaka Ssuuna yalifuna nga n’endagaano 1900 Mengo gyeyogerako nga tenakolebwa, abajja bamusikira oluvanyuma baalikolako ebyapa ebikyaliyo mu biwandiiko bya gavumenti nga tebikuyusibwanga.

Ono ategeezezza nti olwategeera nti Mengo egabira abatuuze b’e Buddo ne Nabbingo ebyapa ebifu, ensonga baazitwala ewa Mmeeya w’e Nsangi Mathius Mulumba Walukagga okubataasa nga bweyawandikira aba Buganda Land Board okujja okwenyonyolako ku biboogerwako baagaana okulabikako. Okuva olwo puleesa y’amaanyi ku bagula ettaka lino naddala amasomero nga baagala ebiwandiiko ebituufu kubanga ssente zaabwe baazisasula.

Ssewava ayongeddeko nti ab’e Mengo bwe banyooma Walukagga, kwekuddukira ewa Birungi okubataasa ng’ono bweyayita aba Buganda Land Board baasindika balooya baabwe abaamutegeeza nga Kabaka bwali omwetegefu okuteesa nabo kubanga abamanyi ng’ensonga yazikwasa Mayiga ne Bwanika okuzikolako wabula bwe baava mu lukiiko Bwanika n’awaga buwazi nti ettaka eryogerwako lya Kabaka.

Ono ategeezezza nti okuwawaabira Birungi, ab’e Mengo baagezaako okumutiisatiisa okumulemesa okuyamba abanaku nga bo nga pulezidenti bweyamulagira kubanga ye tafaanagana bakozi ba gavumenti abalala bwe babadde beekobaana ne babulankanya ettaka ly’abantu nga beekwese mu Kabaka n’akakasa nga bwebagenda okuleeta obujulizi obulaga nti obufere ku ttaka lyabwe bwatandika nga Kiwalabye Male akyakulira Buganda Land Board.

Share This Article