Ekikonde Kinyooka E Lugogo: Baabano Abakubi B’enguumi Abayimirizzaawo Champions League Wa Muhangi…

EMPAKA z'ebikonde eza Champions League ze zimu ezisinga okukwata Bannayuganda omubabiro era buli lwezizanyibwa, ekifo kijjula ne kibooga ne kireka akulira ebikonde Moses Muhangi ng’aliko akamwenyumwenyu ku matama.

Juma Ali
4 Min Read
Reagan Magumba mu mpale njeru

EMPAKA z’ebikonde eza Champions League ze zimu ezisinga okukwata Bannayuganda omubabiro era buli lwezizanyibwa, ekifo kijjula ne kibooga ne kireka akulira ebikonde Moses Muhangi ng’aliko akamwenyumwenyu ku matama.

Empaka zino kati ziri mu sizoni y’akuna era ziddamu ku Lwomukaaga luno ku kizimbe kya Lugogo Indoor Stadium ng’ezimu ku fayiti ezigenda okuzanyibwa kuliko Kemis Ibrahim (Mutajazi) azannya Lubega Derrick (East Coast), Murungi Kasim (East Coast) azannya Musoke Reagan (Brawn), Abwoli Mwajuma (UPDF) azannya Dezu Jilidat (Katrini), Kirwana Sadat (Zebra) azannya Kasujja Richard (Lukanga).

ABAKUBI 300 BATTUNKA
Empaka zino zizannyibwa abakubi abasoba mu 300 wabula waliwo abaziyimirizzaawo nga buli lwebalwana, batunda tiketi nyingi ezivaamu ssente eziyamba mu kuyimirizawo empaka zino…

1-AMBAYO PATRICK (BOGGGIE B.C)
Ono yakyakulembedde sizoni eno mu kutunda tiketi. Ambayo, ng’azanyira mu kiraabu ya Boggie mu buzito bwa ‘Light welter’ atunda tiketi wakati wa 150 ku 200, ekitegeeza aleeta obukadde buna mu federesoni.

2-LUBEGA DERRICK (EAST COAST B.C)
Ono mukubi wa kiraabu ya East Coast ng’azanyira mu buzito bwa ‘Light weight ‘ buli lwazanya atunda tiketi wakati wa 100 ku 200 era aleeta 2,400,000 mu federesoni.

3-TUMUSIIME NERRICK (KOLOLO HIGH B.C)
Ono yeekazaako erya Bulabe nga muyizi mu siniya ey’okutaano ku ssomero lya Kololo High School. Nerrick atunda tiketi wakati wa 90 ku 120 nga ayingiza 2,000,000 mu federesoni buli lwalwana.

4-AZIZ RINGO (KOLOLO B.C)
Ono muzzukulu w’eyaliko Pulezidenti wa Uganda, omugenzi Iddi Amin ng’azanya mu Kololo , ono atunda tiketi wakati wa 100 ku 150 buli lulwana, ekitegeeza aleeta obukadde 2,000,000.

Ambayo Patrick

5-REAGAN MAGUMBA (LUKANGA B.C)
Ono yaakulira eby’okwerinda by’omuyimbi Allien Skin. Magumba azanyira mu kiraabu ya Lukanga mu buzito bwa ‘Light welter’ atunda tiketi wakati wa 80 ku 120 nga ayingiza 2,000,000 mu federesoni buli lulwana.

6-KATO KAZIBWE (KOLOLO B.C)
Ono nga ye kyampiyoni wa ‘Light Fly’ azanyira mu kiraabu ya Kololo atunda tiketi wakati wa 50 ku 100 era aleeta 1,600,000 mu federesoni buli lulwana.

7-RICHARD KASUJJA (LUKANGA B.C)
Ono yeeyita mutabani wa Mama Fina ne Jaja Lukanga ng’azannyira mu buzito bwa ‘Light Heavy’ atunda tiketi wakati wa 60 ku 100 ng’aleeta 1,400,000.

8-KIMULI HENRY (MUTAJAZI B.C)
Kigambibwa nti ono buli lw’azannya, atunda tiketi wakati wa 50 ku 80 ng’ayingiza 1,200,000 mu nsawo ya federesoni.

Tumusiime Nerrick gwe bawanise omukono

9-FARAHAT MANIROLA (LUKANGA B.C)
Azannyira mu kiraabu ya Lukanga mu buzito bwa ‘Light welter’ atunda tiketi wakati wa 60 ku 100 era aleeta 1,200,000.

10-SADAT KIRWANA (ZEBRA B.C)
Azannyira mu kiraabu ya Zebra mu buzito bwa ‘Light Heavy’ ng’atunda tiketi wakati wa 60 -100 era ayingiza 1,200,000.

11-BATTE NUHU (COBAP B.C)
Ono kyampiyoni wa buzito bwa ‘Welter’ ng’azanyira mu kiraabu ya Cobap atunda tiketi wakati wa 50 ku 100 era aleeta 1,000,000 mu nsawo ya federesoni.

OMUKUBI W’OMWEZI ASIIMIDDWA
Omukubi w’ebikonde ow’omwezi gw’omukaaga (June) owa The Site asiimiddwa. Kasasa Isaac owa kiraabu ya Katabi okuva Entebbe azanyira mu buzito bwa ‘Light Middle’ ye yalondeddwa oluvanyuma lw’okukuba Serugo Bashir owa Lukanga mu wiiki ey’okutaano mu mpaka za Champions League.

Kasasa yakwasiddwa ebbaasa erimu ssente wamu n’ekirabo ky’ekifaananyi kye okuva mu kampuni eya Wide Tours International Deals etwala abantu ebweru era maneja Edwin Atukwase ye yakwasizza omuwanguzi ebirabo bye.

Share This Article