MUNNAMAWULIRE ow’erinnya Stanley Ndawula ng’ono kafulu mukunonyereza ku mawulire g’obumenyi bw’amateeka, ategeezezza ONO BWINO nti mu kiseera kino Gen Edward Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi, y’omu ku bantu abasinga okwetaaga okusabirwa enyo olw’okweraliikirira kwayitamu ng’essaawa yonna ayinza okukwatibwa n’ateekebwa mu kkomera olw’ebikolobero basajja be bye baakola mu kiseera ng’ali mu ofiisi.
Ndawula okwogera naffe, nga bambega mu bitongole ebikessi nga bakulemberwamu Maj Gen Christopher Ddamulira akulira obukessi mu poliisi, baakutte basajja ba Kayihura okuli Nixon Agasirwe, Abdul Noor Ssemujju (Minaana). Ate n’abalala bakyayiggibwa ku misango gy’okutemula Joan Namazzi Kagezi eyali omuwaabi w’emisango gya gavumenti mu 2015 e Kiwatule bweyali aliko byagula.
Ono baamuttira mu maaso g’abaana be era omu yawa obujulizi mu kkooti ewozesa bakalintalo nti omutemu yamutunuulira nyo nga tannakuba maama we masasi.
BAMASEEKA BANGI BAMBI BATTIBWA
Kagezi baamuttira mu kiseera eky’obunkenke enyo nga bamasheikh Abasiraamu Abatabuliiki battibwa ate nga Kayihura yenyini alagira bakwate bamasheikh bannaabwe nti balina kyebamanyi ku ttemu eryali likolebwa ku bannaabwe ng’alumiriza nti balwanira byabugagga bya Busiraamu n’obukulembeze.
Sheikh Yunus Muhammad Kamoga akulira Abatabbuliiki mu ggwanga lyonna ne bakulembeze banne baakwatibwa era Kayihura yagezaako n’okulagira babagguleko emisango gy’okutemula Kagezi wabula ne babateekako okutta bannaabwe okwali Sheikh Ibrahim Kirya eyali ayogerera Obusiraamu bw’e Kibuli, Sheikh Mustafah Bahiga ne Sheikh Maj Muhammad Kiggundu.
Bannamateeka ba Kamoga abaakulemberwamu Fred Muwema baawakanya abantu baabwe okubateekako emisango gy’okutta Kiggundu ate ng’okumutta kwabasanga mu kkomera, wabula omulamuzi eyali akulembeddemu banne Ezekiel Muhanguzi [kati yawummula] n’amutegeeza nti okutta tekitegeeza kukwata kissi n’otta omuntu, wabula oyinza okupanga nga Kamoga kyali tekimwetaagisa kubeera bweru okutta.
KAMOGA BAAMULUMIRIZA MU KKOOTI
Kkooti yeesigama nyo ku bujulizi obwaweebwa Sheikh Muhammad Kakomo ow’e Masaka eyalumiriza nti yalabira ddala n’amaaso ge nga Kamoga yeewera n’akuba n’ekikonde mu kifuba kye nga bwe yeewera nti ye awunya musaayi nga mwetegefu okutta banne olwokuwakanya obukulembeze bwe nga kino kyamumalamu amaanyi okumumatiza okuteesa. Wabula bino byonna yabyogera Kamoga amunyenyeza mutwe n’okumubuuza bwagenda okusisinkana Allah we ng’ayogedde obulimba bwebutyo ku nsi.
Abajulizi abalala kwaliko bamasheikh Harunnah Jjemba, Sheikh Nagib Sonko, Sheikh Umar Sudick Ndawula, Sheikh Muhamood Kibaate abaalumiriza Kamoga, wade nga nabo baali ku lukalala lwa Bamasheikh abaalina okuttibwa nga babalumiriza okusigula bakyala ba bannaabwe, okubba omuceere gw’Abasiraamu, okubba bbaasi y’Abasiraamu n’okulemera ku bukulembeze bw’omuzikiti gwa William Street ebintu Muwema byeyagamba nti bya kito nga byali tebisobola kuleetera kutta muntu.
Abaana b’abagenzi ne bannamwandu baawa obujulizi nga balumiriza nti Sheikh Bahiga bweyali afa mu kalwaliro akamu e Bwebajja ku luguudo lw’Entebbe, yasembayo kwogera bigambo nti ‘Kamoga onzise’, wabula omusawo eyamuliko n’abuulira kkooti nti omusajja ebigambo byeyali ayogera byali tebiwulikika nga byali bya Luwalabu.
NAKIBINGE YAGAANA OKUMUTEEKA MU BINTU BYABWE!
Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu, yagaana okuwa obujulizi wadde ng’oludda oluwaabi olwakulemberwamu Lino Anguzo lwamulemerako nga balumiriza nti obujulizi bwe engeri bwali omukulembeze w’Obusiraamu ow’amaanyi ate ng’ali ku lukalala lw’Abasiraamu abalina okuttibwa, bwali bugenda kubayamba nyo okuwangula omusango wabula n’agaana ng’ategeeza nti Allah waabwe yaagenda okusalawo oba ddala Kamoga Omusiraamu yatta Basiraamu banne.
Kamoga mu bukambwe obw’ekitalo enyo, yalagira Muwema ne banne obutamala biseera kutegeka kwewozaako kwabwe oluvanyuma lwa kkooti ewozesa bakalintalo okusalawo nti balina omusango gw’okuddamu era baasalawo kusirika busirisi nga kyaleeteera abalamuzi okubasingisa emisango ne babawa ekibonerezo ky’okusibwa amayisa, wabula mu 2021 abalamuzi ba kkooti ejulirwamu nga bakulemberwamu ssaabalamuzi Owiny Dollo ne babejjeereza.
DDALA KITATTA NE KIYIMBA BALINA KYEBAMANYI KU BY’OKUTTA BAMASHEIKH?
Embeera ng’ebatabuseeko, Abatabbuliiki b’e Nakasero ne William Street, baddukira ewa Abdallah Kitatta eyali akulira abakambwe b’akabinja ka bodaboda 2010 ne Hajji Abdul Kiyimba eyali mmeeya w’e Nsangi okubataasa okubatwala ewa Gen Kayihura akomye okubasiba.
Mu mbeera y’okupakuka, Kamoga yaddukirako ewa Mufuti Sheikh Ramathan Shaban Mubajje e Kampalamukadde okumutaasa ng’ono yamukakasa nti yali agenda kwogerezeganya ne pulezidenti Museveni balekere awo okubasiba, wabula waayita ennaku ntono ng’amaze okumusisinkana ate abakambwe ba Gen Kayihura ne bamuyoola mu ngeri eswaza enyo nga baamutwalira wansi w’entebe za kabangali za poliisi.
Ensonda ezinonyereza ku fayiro y’okutemulwa kwa Bamasheikh Abasiraamu zitukakasizza nti ono yenna yali katemba ng’olukwe lw’okusiba Sheikh Kamoga ne banne, Kitatta, Mubajje ne Kiyimba baaluli wakati ng’ekigendererwa kyabwe kyali kyakukola bugagga ng’eno ye nsonga lwaki bwe baamala okubateeka mu kkomera obukulembeze bw’omuzikiti gwa William Street awasinga okung’anyizibwa ssente enyingi Mubajje n’agutwala ku lyanyi wadde ate nga ye yali yagutunda oluvanyuma pulezidenti Museveni n’agununula.
Bambega batubuulidde nti bamasheikh bonna abattibwa okuviira ddala ku Sheikh Abdulkarim Ssentamu, Sheikh Bahiga, Sheikh Kirya be balina ebiwandiiko n’okumanya ebikwata ku byobugagga by’Obusiraamu okwetoloola eggwanga lyonna nga n’olutalo lw’okubinunula be baali balukulembeddemu nga bayambwako Sheikh Nuuhu Muzaata Batte naye eyaffa mu ngeri etategeerekeka.
ABASIRAAMU BAALI BAKUNG’AANYA SSENTE EZITAGAMBIKA
Abasiraamu bwe baakwatira abakulembeze baabwe, baali bakunganyizza ssente ezikunukkiriza mu kawumbi nga zino baali bateeseteese okuzikozesa mu kuzimba ekizimbe kya ‘UMMER HOUSE’ ekyali kigenda okubeerako ekitebe ky’Obutabbuliiki mu Uganda wabula ssente ezisinga baaziwa Kitatta ne Kiyimba zibayambeko mu lutalo lw’okubanunula mu kkomera endala ne baziwa balooya abaali ab’ebbeeyi enyo mu kubawolereza.
Ensonda zitegeezezza nti ddiiru y’okusiba Kamoga ne banne, baakozesa Abdul Ssemujju (Minaana) eyakwatiddwa mu by’okutta omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi gwe baakozesa okulumiriza nti basheikh abaali battibwa baaliko abayeekera ba ADF nti era baali bakyawuliziganya butereevu ne ssaabayeekera Jamil Mukulu ekintu Sheikh Kirya kyeyafa awakanya.
Eyali adumira poliisi y’e Bweyogerere webattira Sheikh Kirya yawa obujulizi mu kkooti nti bweyawulira envuga y’amasasi, yamanyirawo nti emmundu eyali akozesebwa mu butemu buno yali y’amaanyi ate nga n’agikozesa alina obukugu mu kukigozesa nga kyeyakola ne basajjabe kwekudduka ne bagenda e Mukono ku poliisi okufuna obuyambi kubanga baali tebasobola kwang’anga mulabe mukugu bwatyo.
Bambega balumiriza nti abatta bamasheikh baali basajja ba Flying Squad abali baateekebwawo Gen Kayihura okulwanyisa ababbi ab’omutawaana nga bali baduumirwa Nixon Agasirwe kati ali mu kkomera ku misango gy’okutta Kagezi. Ensonda zitegeezezza nti Agasirwe ye yatambulirwako pulaani yonna ey’okutemula bamasheikh nga ddiiru yali yakumusasula ku ssente ezitundibwa mu mmaali y’Obusiraamu.
Omu ku balooya Agasirwe beyaleese okumuwolereza y’omu ku balooya mikwano gya Mubajje ababadde wakati w’okumuyambako okukola emivuyo n’okutunda obugagga bw’Obusiraamu nga bambega batubuulidde nti kino yakikoze okuweereza obubaka banne baabadde akolagana nabo nti bwe batamutasa naye abawaayo.
Looya ono wa bbeeyi nyo nga bambega batubuulidde nti bwe baakwatidde Agasirwe ssente ezimusasula yabadde tazirina kubanga obugagga bwe obusinga yabukozesa mukwenunula bwe baamukwata mu 2017 ku misango gy’obutemu n’okulya mu nsi olukwe.
Ensonda zitubuulidde nti Sheikh Kamoga olwamanya byonna yanyiiga nyo mu kkomera nga waliwo ne weyagaana okukwata Mubajje mu ngalo bweyagendayo okumukyalira ng’omuntu yenna gw’atwala ng’omununuzi we ye Imam Idi Kasozi eyasalawo okumweyimirira okuva mu kkomera.
ENGERI OMULANGIRA NAKIBINGE GYE YASIMATTUKA OKUTTIBWA
Bambega bongedde okutubuulira nti Omulangira Nakibinge aliko Allah we, era yeetaaga okusala enkoko ye, kubanga pulaani yonna abatemu gye baali baluse yali yakusooka kujjawo ye nga bakakasa nti gwe mugongo okutambulira Abasiraamu abawakanya okutunda obugagga bw’Obusiraamu ng’abantu ssekinnoomu babukoleremu bugagga bwabwe.
Abanene mu gavumenti olwakitegeera nti okuttibwa kwa bamasheikh kulimu abanene mu poliisi kwekulwana enyo okumatiza Museveni Omulangira akuumwe bakomando ba UPDF mu kifo kya bapoliisi Gen Kayihura beyali amuwadde nga bano Omulangira yali atandise n’okubeekengera.
Ensonda zitubuulidde nti amagye bwegatwala obuyinza bw’okukuuma Nakibinge, lwerunaku lwenyini basajja ba Agasirwe lwe baali bapanze okumusanyawo nga baagezaako n’okukola obulumbaganyi ku maka ge e Kibuli wabula abamagye ne babazzaayo entyagi nga tebeesiikidde na kanywebwa.
NAKIBINGE YAGAANYE OKUZIIKA NDIRANGWA
Ensonda zitegeezezza nti eno ye nsonga lwaki Omulangira abeera mukambwe nyo ku muntu amuliddemu olukwe nga yagaanye n’okwetaba mu kuziika Sheikh Silimani Kasule Ndirangwa eyaliko Supreme mufuti e Kirayangoma, mu Ggombolola y’e Kisekka, Lwengo District ng’ono amulanga kumulyamu lukwe.
Yatabuka ne Sheikh Obed Kamulegeya eyeeyogerako nga Kafulu wa ffitina, Sheikh Abdul Ssemmambo n’abagagga abamu mu Kampala abaali baagala okumukozesa ng’ekyobusuubuzi okulya ssente ewa Museveni ng’akitegedde nti waabiyingiriramu entaana ye nga basima.
Bambega batubuulidde nti abantu bonna be bafunyeko obujulizi nti benyigira mukutemula bamasheikh babalondoola nga waliwo omu ku baali abayambi ba Gen Kayihura gwe balondoola nga bakitegedde nti alina pulaani y’okufuluma eggwanga.


