OBUTAKKAANYA bweyongedde abamu ku bataka abakulu b’ebika mu Buganda bwe bagaanye okuteekesa mu nkola ebiragiro Kabaka Ronald Muwenda Mutebi byeyabawa ku ttaka pulezidenti Museveni lye yabagulira mu 2023 e Mmengo mu maaso ga Bulange ekintu abasinga kye batutte ng’okujeemera mukama waabwe.
Omutaka Ssaalongo August Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe yakakasA ONO BWINO nga bweyafuna ebiragiro okuva ewa Kabaka ng’omukubiriza w’olukiiko lw’abataka abakulu b’ebika mu Buganda ow’okuntikko ng’amulagira okuwaayo ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka eryo nga yayimiriza obutabaako kintu kyonna kikolebwa kuttaka eryo okutuusa nga bamaze okufuna okuwabulwa okuva gy’ali.
Ensonda mu ofiisi ya Kabaka zikakasizza ONO BWINO nti n’okutuusa kati akabinja k’abataka abatereka ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino nga kakulemberwamu Yusuf Ntege Mbirozankya omukulu w’ekika ky’effumbe, bakyagaanye okuwaayo ebiwandiiko ebya baasabibwa nga n’emirimu gy’okukulaakulanya ekifo kino ekisangibwa mu maaso g’ekizimbe kya Bulange kukyagenda maaso.
MBIRO NE MUTUMBA BABALA KAKI?
Mbirozankya ne Mutumba tebaasobose kufunika kubaako kye boogera ku nsonga eno wabula omu ku bataka abali mu kabinja ka Mbirozankya atubuulidde nti ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka lino bakubyanjulira Kabaka olunaku lwalibakkiriza okubasisinkana ng’olukiiko lw’abataka wabula sikubikwasa Mutumba gwebalumiriza nti akolera ku biragiro bya Katikkiro Charles Peter Mayiga.
Wabula Mutumba yategeeza ONO BWINO nti bakkaanya mu lukiiko lw’abataka okutwalira Kabaka ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka lino, era lwe baasisinkana kwali kumuloopera lutabaalo n’obuwanguzi bwe baatuukako ewa Museveni nga yalina okukkiriza nti banne tebagenda kukalubya nsonga.
BALEETA MUSEVENI KU TTAKA
Ensonda mu bataka zitukakasizza nti enteekateeka zonna ziwedde pulezidenti Museveni okulambula ekifo kino mu June wa 2025. Wasuubirwa n’okubeerawo omukolo gw’okusaba n’okusomesa abantu ku ngeri y’okukozesa ekifo ekifunda okwekulaakulanya.
Pulezidenti era asuubirwa n’okutongoza enteekateeka y’okuzimba ekizimbe ekinene eky’obyobuusubuzi kyeyasuubiza abataka ng’abakwasa ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino nga omulimu gw’okuzimba gwakukolebwa bayingiyina b’eggye lya UPDF. Ekizimbe kino kyogerwako ng’ekigenda okubeera ekinene ennyo ekitamanyi Bulange na Masengere, era abamu ku bataka beewaana nti bajjanga kusinziira okwo waggulu balabe ebigenda mu maaso n’ebikolebwa ku Bulange.
Ensonda zikakasizza nti enteekateeka zonna zikulembeddwamu minisita omubeezi owa tekinologiya Owekitiibwa Joyce Nabossa Ssebuggwawo era wiiki ewedde abakola ku securite ya pulezidenti baalambudde ekifo kyonna nga baatandikidde mu kifo we booleza emmotooka ne babaako ebiragiro bye baawadde.
Kabaka ne Katikkiro Mayiga baavumirira nyo abataka okugenda ewa Museveni nga tebasoose kubabuulirako nga kino bo bakiraba ng’ekyakolebwa okugezaako okwawulayawula mu bukulembeze bw’Obwakabaka n’okubunafuya.


