SSENTEBE w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama Mugyenyi yatongozza omulimu gw’okukebera enkalala z’abalonzi mu ggwanga, okusobozesa abalonzi okukebera amannya gaabwe, n’ebibakwatako okusobola okwetegekera obulungi okulonda kwa 2026 era omutendera guno gwakukomekkerezebwa nga 15 omwezi ogujja.
Mu nteekateeka eno, waliwo ebifo 620, nga yo enkalala z’abalonzi tezigenda kutwalibwayo olw’okubeera nti wakyaliwo akakiiko bye kakyatereeza. Ebifo enkalala gye zitasobodde kutuusibwa ebisinga biri mu disitulikiti eziri mu bitundu bya Buganda, ekiviiriddeko abantu okweraliikirira n’okwekengera nti, akakiiko kandiba nga kakolagana n’ekibiina kya NRM okukendeeza ku buwagizi bwa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu mu bitundu bya Buganda mu kulonda okujja…
Ebimu ku bifo ne disitulikiti omutaatwaliddwa nkalala eziri mu Buganda kuliko Wakiso, Mukono, Buvuma, Kasanda, Kampala, Masaka, Mityana, Buyikwe ne Mpigi, wabula Byabakama yategeezezza nti ekitongole ky’ebyokulonda bwe kinaaba kitereezezza enkala mu disitulikiti ezo, nabo baakuweebwa ennaku 21 ezijjudde nga bwe kikoleddwa ku bitundu ebirala, basobola okwekengera kunkalala n’okuzitereeza. Wabula kino kireeseewo okweraliikirira nti n’abantu abaafa ne basigala ku nkalala bayinza okulonda mu lukwesikwesi lw’ebitongole by’ebyokwerinda okubbira ekibiina ekimu obululu.
Byabakama era atabuse ku bibiina ebibuzaabuza eggwanga ku bammemba be balina.
ONO BWINO: Abantu beemulugunya nti abakozi bammwe batuuka kikeerezi mu bifo awalina okukeberera enkalala z’abalonzi, mugenda kukikola mutya obutabeerawo omulundi guno?
BYABAKAMA: Ng’ekitongole, tumaze okukwatagana n’abemiruka okusobola okulaba ng’abantu abagenda okutimba enkalala zino nga babeera ku kifo ekyo mu budde kubanga abalonzi buli omu alina obudde ye bwayagalirako okukebera enkalala kasita bubeera obudde obwokukola okuva ku ssaawa bbiri ez’okumakya okutuusa ku ssaawa kkumi n’abbiri ez’akawungeezi we balina okunnyukira.
ABALI MU ‘DIASPORA’ BANAALONDA?
ONO BWINO: Omulundi guno ng’ekitongole ky’ebyokulonda, mulina enteekateeka yonna eri banna Uganda abali ebweru okusobola okwetaba mu kulonda kwa 2026?
BYABAKAMA: Banna Uganda abali ebweru, etteeka libawa eddembe okulonda, wabula nga balondera ku miruka gy’ebitundu gye babeera beewandisizza.
EBIBIINA EBYEWAANA ABALONZI ABO BABALINA?
ONO BWINO: Aba NRM bagamba nti balina abalonzi obukadde 18, aba NUP ne bagamba balina abalonzi obukadde 10, aba UPC obukadde 6, DP n’ebibiina ebirala tebinafulumya muwendo gw’abalonzi be balina, kino tekikontana n’abalonzi abeewandiisa obukadde 16 ekitongole ky’ebyokulonda kye mulina, ako ssi kakodyo kubbira Museveni kalulu ng’abantu bwe bagamba?
BYABAKAMA: Ebibiina ebyo bibadde mu kaweefube okuwandiika abalonzi baabwe, naye ffe ng’ekitongole ebyo tebitukwatako kuba ffe tetulina kutambulira ku bivudde mu bibiina ebyo. Obungi bw’abalonzi tugenda kubutegeera nga tumaze omulimu gwetuliko ogw’okutereeza enkalala nga tumaze okusunsula kuba kati waliwo amannya agayinza okuvaamu ng’abantu abo baafa ate n’abo abayinza okweyongeramu oluvannyuma lw’okuweza emyaka egironda, kyokka oluvannyuma ly’okutereeza enkalala, tujja kutegeeza Banna Uganda Omuwendo omutuufu ogw’abalonzi abagenda okwetaba mu kalulu ka 2026. Abantu balina okubeera abakkakkamu kuba enkola zino zonna zetulimu ziyinza okwongera oba okukendeeza ku balonzi, kale baguminkirize.
EBYUMA BYAMMWE NGA TEBIGGWA KUFA!
ONO BWINO: Mu kulonda n’okutereeza enkalala ebizze bibaawo, ebyuma bizze bituusibwa kikeerezi ku bifo awalondebwa ate n’ebimu okufa, vvulugu oyo era tumusuubire mu kulonda okujja?
BYABAKAMA: Abantu kye balina okumanya nti ebyuma bibeera ng’omuntu, bwakeera ku makya nga mulamu kyokka olweggulo nga mufu, n’ebyuma bwebiri. Ng’ekitongole n’affe twagala pulogulaamu zaffe zitambule bulungi nga bwe tubeera tuzitegese, ebyuma bwe bifa, ffe ng’ekitongole ffe tubeera tusinga okufiirwa kuba tubeera twongera kusaaaanya, kati mwe mwagala tukole tutya ng’ebyuuma bifudde, mwagala twewanike ku kalabba!!
ONO BWINO: Lwaki ebifo ne disitulikiti ebitagenda kuteekebwamu kwekenneenya nkalala z’abalonzi bisinze kubeera mu Buganda, kituufu mwagala kunafuya Bobi mu kulonda kwa 2026 ng’abantu bwe bagamba?
BYABAKAMA: Enkola eno teyabadde ng’enderere nti eri mu Buganda oba nti twagala kunafuya buwagizi bwa Kyagulanyi mu Buganda ng’abantu abamu bwe boogera, wabula waliwo ne disitulikiti endala ezigenda okukosebwa ezitali mu Buganda omuli Arua n’endala, ekyokuba nti disitulikiti ezisinga ziri mu Buganda ssi kigenderere ng’abantu bwe boogera, era tukola kyonna ekisoboka okulaba nga tutereeza ebyo ebitono ebikyabula mu disitulikiti ezo.
ONO BWINO: Ekya pulezidenti okusala mu disitulikiti ye Tororo n’agikutulamu disitulikiti endala bbiri, mugenda kukikolera ki?
BYABAKAMA: Ebyo eby’ogerwa nti disitulikiti Tororo pulezidenti Museveni yajitemyetemyemu, ffe ng’akakiiko k’ebyokulonda tetunafuna kiwandiiko kyonna kitongole ekikakasa nti bwekityo bwe kiri, okugyako n’affe okubisomera mu mawulire, sso ffe ng’akakiiko tetutambulira ku by’amawulire, tulina okufunira ddala obukakafu nti ddala ebadde disitulikiti ya Tororo ekutuddeamu ebitundu bwebiri n’amannya bwegati.


