ENNAKU zino abantu beegumbulidde omuze gw’okuyingirira obufumbo n’omukwano gwa bannaabwe nga bokezesa eng’ombo mbu ‘teri musajja w’omu’, ate ng’abasajja bagamba mbu bakaabasajja banyuma okuzaama anti aba tateekamu nnyo, oba obutateekeramu wadde ennusu kubanga ebyetaagisa ebisinga nannyini mukazi aba abissaamu.
Bwekituuka ku bakazi b’ebbali, bo baba bagumu nti tebagenda kuweebwa mateeka nga gebawa bakyala b’awaka era basigaza eddembe lyabwe.
Nga tonaba kuganza nnamba ya muntu mulala, kyandibadde kirungi obutafa ku ssanyu lyokka ly’ogenda kufuna wabula n’oteekateeka omubiri gwo, ebirowozo byo, n’obwongo bwo obutalumwa nyo ng’oli mu mukwano ogwekika ekyo.
BINO BY’OLINA OKUSOOKA OKWEGENDEREZA
Olina okumanya nti omuntu oyo ne bw’onaamwagala ennyo ebyenkana wa oba okumufiirako, aliko nyini ye era oba olina okussa ekitiibwa mu muntu gwomusanze naye naddala singa oyo gwoganza aba takukwese n’akugamba nti alina omuntu we era si mwetegefu kumuta. Oluusi gw’oganza asobola okukulimba nti enkolagana wakati waabwe egenda eggwawo naye ekyo tekikuwa lyanyi kuyita we wandikomye era bwomanya nti munno gyali, ne bwebaba bakulimbalimba nti bakuza baana, kiwe ekitibwa. Okugeza, bwabeera azze ewaka ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro, lwaki obeeera omuweereza bummesegi nti mukwano watuuse bulungi, bye wampaddeko byampoomedde…. lindako enkya bukye nga tali na muntu wew olyoke omuweereze mesegi eziringa ezo! Munnanga weebeereremu.
WEETEGEKE NTI ESSAAWA YONNA BANDIKUGWAMU: Weetegeke okufuna obulumi obwengeri zino. Gamba nga okuswala nga bangi bakuguddemu nti ggwe akyankalanya amaka ga bano, okwejjusa naddala nga tebitambudde bulungi kubanga bangi basigula bannaabwe oluusi ekiviirako obutabanguko mu maka gaabo be babasanze nabo, n’okweraliikirira nti essaawa yonna babagwamu, jjukira bibeera bya kukukuta nga ne gye Mugenda mulina kubeera nga kkapa nga Mugenda musotya, okugeza nga mu loogi oba ebbaala okwesanyusaamu.
Manya nti omukwano gwolina ne munno essaawa yonna gubaleetera emiteeru nga babaguddemu ate obulumi buba bwakugabana ba nnaalumanya ne bassaalumanya bubatwaliramu.
Olina okukitegeera nti ggwe tebalikukulembeza mu kusalawo kwonna. Buli ekikolebwa mu bulamu bwoyo gwoganza kisalibwawo ye n’omwagalwa gwalina awaka. Ate oba oyinza n’okwagala omugulire ekirabo n’akigaana kubanga kijja kumuloopa ewa munne omulala. Ggwe oluusi asobola obutafaayo oba anyiiga era ne byoyagala ayinza obutabikola nga agamba nti madaamu oba omwami ewaka ajja kunyiiga. Gamba nga okukubaakuba amasimu g’ekiro.
Manya nti omukwano gwa mu bubba era kino ne bwoba tokirinaamu buzibu ku ntandikwa kimala ne kikuluma kuba wabaawo akaseera nga oyagala kubeerako ne munno mu bifo ebisanyukirwamu ng’ebivvulu by’enyimba, emizannyo naye ne bitasoboka kuba abeera atya okumulaba n’omuntu omulala atali mutongole, era abamulaba bayinza okumuloopayo.
Obudde bwo ne muganzi wo omufumbo buba butono nnyo era ebiseera ebisinga mubimala mu kifo wemugabanira essanyu ly’omukisenge gamba nga loogi oba enyumba gyemwapangisa nga gyemusisinkana, ng’eyo mwagipangisa kwesanyusizaamu.
TONYIIGA NGA BAKUMMYE: Bw’oba mukyala tonyiiga nga bakummye ssente kuba z’abeera alina entono ziba za mukyala w’ewaka.
Beera mwetegefu okuwulira ebinyuma n’ebitanyuma okuva eri mikwano gyo, abeng’anda zo, ssaako naabo w’obeera anti abantu tebasirika ate basunzi, era bajja kulutambuza olugambo nti ggwe oli mubbi wa bakaabasajja oswaleswale ekitiibwa ky’obadde olina kikuggwemu.
Omuyimbi omu yayimba nti; …ewanga teri Poliisi, ng’ategeeza nti ali ‘SINGLE’ -obw’omu talina mwagalwa amuliko, wabula bw’oba onaaganza omuntu aliko Poliisi ate nga ggwe tolina, manya nti ne bwokola otya oyo omuntu gw’olina alina weyapakinga era bwokikaka ennyo oyinza okumufiirwa anti tebatera kuleka baamumaka singa babeera babaguddemu era ggwe abeera tasobola kukuyiirawo omubiri.
Engeri gyekiri nti muganzi wo alina famire, kiteeke mu bwongo nti tagenda kukukulembeza mu bulamu bwe ate era beera mwegendereza nnyo kubanga bwaba yakugamba nti aliko poliisi, asobola okukozesa ensonga eyo essaawa yonna nga tayagala kukumalira byetaago byo n’ejjakirizi.
N’ekisinga byonna, mumanyise ebigendererwa byo naye akumanyise ebibye muleme kutuuka mu maaso eyo nga mufunye obutakkaanya ate buli omu atandike okusonga mu munne olunwe.


