Kkaadi Ya NUP Ku Luno Ya Ng’uumi: Rubongoya Agobye Kataabu Ne Sserunjogi N’abasindika Ku Bwakansala…

WAABADDEWO okukubagana ebikonde wakati w'enkambi ya ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya n'eya loodi kkansala Moses Kataabu nga buli nkambi egamba yeerina okukwata kkaadi ya NUP ku kifo ky'omubaka wa Kampala Central mu kalulu ka 2026

Timothy Nyanzi
3 Min Read

WAABADDEWO okukubagana ebikonde wakati w’enkambi ya ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya n’eya loodi kkansala Moses Kataabu nga buli nkambi egamba yeerina okukwata kkaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central mu kalulu ka 2026

Ensonda mu NUP zitubbiddeko nti Kataabu weyamaliriza okulayira nga loodi kkansala wa Kampala Central, yategeeza nti emyaka 15 gyamaze ng’akiikirira Kampala Central ku City Hall kino kye kisanja kye ekisembyeyo.

Yalangirira nti mu kalulu ka 2026 agenda kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central, era enteekateeka zonna abadde azikwasizza maanyi omuli okukubisa ebipande ebiraga nti agenda kwesimba ku kifo ekyo, kyokka ne David Lewis Rubongoya yavaayo n’alangirira nti agenda kuvuganya ku kifo kino ekitaasanyusa nkambi ya Kataabu ne basaba Rubongoya anywerere mu ofiisi ya ssaabawandiisi kubanga gyategeera.

EKIKONDE KINYOSE NGA RUBONGOYA YEERANGIRIRA KU KKAADI

Rubongoya n’abanene mu NUP baakoze enkyukakyuka mu bifo ne bakakasa Rubongoya nga wafunye kkaadi ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central, Katabu abadde yewera ku kifo kye kimu ne bamulagira avuganye ku bwa meeya bwa Kampala Central ate Musoke Sserunjoji eyaliko mmeeya wa Kampala Central ku kkaadi ya DP, Rubongoya n’amulagira ekifo kino akiveeko waaba ayagala kkaadi ya NUP alwanire ekifo ky’obwa kkansala wa Kampala Central ekibaddemu Kataabu era alwane nnyo okulaba nga Ronald Balimwezo awangula obwa Loodi meeya bwa Kampala amuwe eky’omumyuka we.

Kyokka enkyukakyuka zino zanyizizza nnyo enkambi ya Kataabu ne bakubagana n’abawagizi ba Rubongoya ababadde babayeeyereza nti babawangudde. Aba Kataabu bagamba bakooye abanene ba NUP abatalina buwagizi mu bantu okwesooka ebifo gyebatalina buganzi nti Rubongoya amaanyi gaalina yandigatutte ewaabwe mu Ankole oba mu Bunyoro n’agaziya obuwagizi bw’ekibiina so si kwesimba mu Kampala kubanga waliwo abaawo nga Katabu abalina amasannyalaze.

Eng’uumi ze beefukiridde, zaalese abawagizi bangi ku kitebe e Makerere Kavule nga bawulubadde ffeesi.

RUBONGOYA ALEESE ABASOMESA OLUGANDA BONGERE OKUMUKWATAMU

Ensonda mu nkambi ya NUP zitegeezezza nti Rubongoya yaleese abasomesa Oluganda bongere okumusomesa okubanguka mu Luganda kubanga kampeyini zinaatera okutuuka ate ng’alina okwogera obulungi Oluganda olutali lwa bikukujju Bannakampala bamuyiire obululu.

MINISITA KABANDA AZIMBYE EGGAALI YA BAVUBUKA 500 BATTUNKE NE BA FOOT SOLDIERS

Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda Nabbengo olwamalirizza okunsunsulibwa akakiiko k’ebyokwerinda aka NRM e Kyadondo yategeezezza nga waazimbye eggaali ya bavubuka abasoba mu 500 abagenda okumusaggulira akalulu nga bano be bagenda okufaafaagana n’ebibiinja bya foot Soldiers abagambibwa nti be bagenda okukulembera kkampeyini za Rubongoya bwe basuubirwa okuttunka ku kifo kye kimu. Kabanda yategeezezza nti Kampala mwakulidde era yaliko omukulembeze ku ddaala lya kkansala ate kati minisita, n’olwekyo tagenda kukkirizza mugwira kumuwambako buyinza.

Ebibiina ebirala omuli FDC nakyo kiteekateeka kandidenti era agaliwo galaga nti Farouk Minaawa ssentebe wa FDC mu Kampala Central gwe baleeta. DF ekya Mpuuga, DP ne PFF nabyo biyise abaagala okuvuganya ku bifo eby’enjwulo okutandika okuggyayo empapula ku ofiisi.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *