Ssente Ya M7 Ekyankalanyizza Opozisoni: Stecia Mayanja, Mpuuga, Bwanika, Nsereko, Mukaku Balukidde Bobi Ekibalo Ekikambwe…

MP Muhammad Muwanga Kivumbi akakasizza nga pulezidenti Museveni bwataddewo obuwumbi obusoba mu 30 okuyambako abanene mu bibiina mu opozisoni okulwanyisa NUP ne pulezidenti waayo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu kalulu ka 2026.

Sengooba Alirabaki
9 Min Read

MP Muhammad Muwanga Kivumbi akakasizza nga pulezidenti Museveni bwataddewo obuwumbi obusoba mu 30 okuyambako abanene mu bibiina mu opozisoni okulwanyisa NUP ne pulezidenti waayo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu kalulu ka 2026.

Kivumbi atubuulidde nti waliwo n’abanene mu opozisoni abatandise edda okulya ku ssente zino ezaatandika okugabibwa mu May wa 2025 nti n’abamu zebakozesa okutegeka ttabamiruka waabwe. Okusanyusa Museveni balwana nyo okulaba nga bavuma n’okwogerera Bobi Wine ne NUP ebigambo ebisongovu okugezaako okubakyaya mu bantu.

Ono anyonyodde nti eno ye nsonga lwaki mu kiseera kino NUP yeekengera nyo abakulembeze b’ebibiina ku opozisoni ababatuukikirira nga babasaba okukola omukago nabo mu kalulu ka 2026 ng’alumiriza nti abasinga bakozesa ssente za Museveni okunonya obuwagizi.

ABATANDIKA EBIBIINA EBIMERUKA NG’OBUTIKO M7 Y’ABASSAAMU SSENTE?

Kivumbi awagiddwa Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP alumiriza nti bannabyabufuzi abasinga abatandiseewo ebibiina by’ebyobufuzi ennaku zino, baagala kulya ku buwumbi 30 Museveni bweyataddewo okulwana Bobi Wine n’anyonyola nti akimanyi nti akalulu ka 2026 bwekaggwa abasinga ebyobufuzi bagenda kubiwummulamu.

Waiswa agenze okwogera bino ng’omuyimbi Stacia Mayanja amanyiddwa nga bwali omuwagizi wa NRM nga ne mu kutegeka ekivulu kye mu June wa 2025, ssente ezimu azamuyambako yaziggya mu NRM nga yaakalangirirwa nga pulezidenti w’ekibiina kya Peasant Party era nga y’agenda okukikwatira fulaga ku bwapulezidenti mu 2026.

EKIBALO KYE BABALIDDE STECIA MAYANJA

Aba NUP balumiriza nti Museveni akkiriza nti Stecia Mayanja okubeera omuyimbi, bayimbi banne n’abakyala bagenda kumuwagira ku bwapulezidenti nga kino okusinga kigenda kunyiga Bobi Wine ng’okubeera nga ye alina ekibiina ky’ebyobufuzi kwagidde kigenda kubeerera kizibu abakazi abalala nga Nancy Kalembe eyavuganya mu kalulu ka 2021 okumutwalako ssente eziteereddwawo okukola omulimu.

NE MUNYAGWA NAYE AJJA KU BWAPULEZIDENTI

Eyali omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa Sserunga naye agenda kwesimbawo ku bwapulezidenti mu kibiina kya Common Man’s Party. Ensonda zitubuulidde nti ddiiru y’okukola ekibiina kino, Munyagwa yagibaddemu ne Moses Bigirwa eyagobwa ku bukulembeze mu NUP e Busoga.

Munyagwa mu 2011 yawangula obwameeya bwa Kawempe Division mu kibiina kya Social Democratic Party (SDP) wabula oluvanyuma yakivaamu ne yeegatta ku FDC ate nayo gyeyavuddemu okukola kino ekipya ky’atembeeya.

BWANIKA AZZE AKYUSA LANGI Z’EBIBIINA

Ensonda zitubuulidde nti okufaananako n’ekibiina kya People’s Development Party (PDP) ekya Dr. Abed Bwanika, ne SDP banyini yo bali mu gavumenti ya Museveni nga tebakkiriza muntu yenna kutambula nabyo ng’eno ye nsonga lwaki ababikulembera bwe baagala okukola emikago beegatta ku bibiina birala.

Mu 2021, Bwanika yeesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Kimanya-Kabonera ku fulaaga ya NUP ate ng’alina ekibiina kye ekya PDP nga mu 2026 yalangiridde dda nga bwagenda okwesimbirawo ku fulaga ya Democratic Front (DF) ekikulemberwa omubaka wa Nyendo-Mukungwe, Owek. Mathius Mpuuga Nsamba.

Mu 2025, Mpuuga yalangirira DF oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya n’obukulembeze bwa NUP era yalangirira nga bwe bagenda okusimbawo abakulembeze ku bifo byonna okuli n’ekya pulezidenti naye ensonda zirumiriza nti agenda kukola omukago n’ekibiina kya Ecological Party of Uganda ekikulemberwa omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko.

NE NSEREKO AMALUZA NTEBE NNENE

Ensonda zitubuulidde nti Nsereko y’asuubirwa okusimbwawo ku bwapulezidenti mu mukago gwebagenda okukola ne DF olwo Mpuuga addeyo e Nyendo-Mukungwe addemu okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti n’okulwana ennyo okulaba ng’omukago gwabwe guwangula ebifo bya palamenti nabo okusobola okugabana ku ssente za IPOD ennyingi.

Kino okutuukirizibwa obulungi, Dr Bwanika akulira ebyensimbi mu DF akakasizza ng’essaawa yonna bwebagenda okuwandikira abakulu mu IPOD ebbaluwa nga basaba okuyingizibwa mu IPOD kubanga balina ababaka ba palamenti okuli ye, Bwanika, Micheal Kakembo, Juliet Kakande abaakyuka okuva mu NUP ne babeegattako era singa bafuna ssente ezo zigenda kubayambako okwetegekera akalulu ka 2026.

NABIRAH AKOMYEWO!

Bannabyabufuzi ababadde baabula nga Nabillah Nagayi Ssempala bakomyewo nga yalangiridde nga bwagenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kampala ku fulaaga ya FDC oba DF. Ensonda zirumiriza nti ono okukomawo bamaze kumusomeramu ddiiru ya ssente za Museveni n’asalawo naye okukomawo okuziryako.

Joseph Kabuleta akulembera ekibiina kya NEED naye alangiridde nti nga 23 July mu butongole bwagenda okutongoza ekibiina kye mwagenda okuvuganyiza ku bwapulezidenti mu 2026 oluvanyuma lw’okufuna satifiketi abakakasa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi okuva mu kakiiko k’ebyokulonda.

Bino okubaawo nga Vicent Mayanja omu ku banene mu mukago gwa DP Block yaakafulumya ekiwandiiko ng’alumiriza banne oluvanyuma abeegatta ku DF okuli Samuel Lubega Mukaaku, Henry Lubowa, Mike Mabikke okukukuta ne bagenda ewa pulezidenti Museveni ne balyayo obuwumbi bwa ssente nga ekigendererwa kyakulwana NUP mu Buganda.

MABIKKE NE MUKAAKU BALYA NGA BALOODI

Mabikke bamulumiriza okugula enyumba n’emmotoka mu ssente ezo ate munne Mukaku yagulako ettaka ewaabwe e Mawokota, okutereeza enyumba ya maamawe n’okugulako emotoka nga ye Lubowa yagulako enyumba ne motoka wabula bonna ebyabogerwako babyegaana.

Ensonda zongeddeko nti Museveni bwanawangula akalulu ka 2026 asuubirwa okukola gavumenti ey’omukago nga akolagana n’ebimu ku bibiina by’ebyobufuzi byavuganyizza nabyo ng’eno ye nsonga lwaki bannabyabufuzi mu opozisoni balwana okubeera n’ekibiina ekigenda okuteekawo okuvuganya basobole okumuteeka mu gavumenti y’omukago.

BAMBEGA BALONDOOLA SSENTE ZA BOBI N’ABANENE MUNUP

Benjamin Katana akulira ebya ssente mu NUP akakasizza nga bambega mu bitongole by’eggwanga ebikessi bwebalondoola ssente zonna eziteekebwa ku akawunta z’ekibiina kyabwe mu banka n’eziteekebwa ku masimu nga bakozesa enkola ya Mobile Money.

Ono ategeezezza nga bwewaliwo sente ze bafiiriddwa abawagizi baabwe zebabadde baweereza ku layinni ya Airtel ng’eno yaggyiddwa ku mukutu. Ensonda zitubuulidde nti abakulu mu NUP baagala okumanya okuva mu Airtel lwaki ennamba eno yaggyibwako.

Mufumbiro gyebuvuddeko yategeeza nti Airtel bambega baagyeyambisa nyo okubega entambula z’abakulembeze ba NUP mu kalulu ka 2021 ng’eno ye nsonga lwaki ye yagaana okuddamu okugikozesa.

Ensonda mu NUP zitubuulidde nti wiiki ewedde bweyagwereddeko nga baakakung’anya ssente ezikunukkiriza mu buwumbi 5 nga zino Bobi Wine yategeeza nti zaakubayambako okukola kampeyini mu 2026.

Ensonda mu securite zitubuulidde nti pulezidenti yalagidde abakulu mu securite obutakola nsobi ze baakola mu kalulu ka 2021 Bobi Wine n’afuna sente nyingi okuva wabweru w’eggwanga ne munda mu ggwanga ng’alumiriza nti ezo ze yeeyambisa okubba obululu bwa NRM naddala mu Kampala n’okuteekawo obunkenke mu ggwanga.

Mu 2021, securite erumiriza nti Bobi Wine yakozesa akawunta za banka ez’ebitongole by’obwannakyewa n’eza bantu ssekinnoomu okuyingiza obuwumbi bwa ssente mu Uganda nga endala baziyingiriza mu bisawo bye baayisa ku nsalo za Uganda ne Kenya wabula bambega bategeezezza nti sente zebayingiriza mu bisawo abanene ba NUP tebazikozesa mu kalulu zo bazigulamu byabugagga.

Abanene mu kampuni ya MTN, Museveni babalumiriza nti bayambako Bobi Wine okutambuza ssente z’akalulu nga ezimu yazifuna okuva mu ggwanga ly’omulirwano nga gino emiwaatwa lyonna Museveni gyayagala okuziba.

Minisita wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao yalangiridde dda nti NUP tekkirizibwa kusolooza sente zisukka bukadde 400 ng’etteeka bweriragira okusolooza mu bawagizi nga aziyisaamu asobola okuggulwako emisango.

Bobi Wine okulangirira okutandika okusonda sente nga Museveni yaakateeka omukono ku tteeka eriremesa ekibiina ky’ebyobufuzi ekiteetaba mu nkiiko za IPOD okufuna ku ssente za gavumenti ezibadde zibaweebwa olw’okubeera n’ababaka mu palamenti.

Mao yalagidde omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama akulira akakiiko k’ebyokulonda okusooka okuyimiriza okuwa ebibiina by’ebyobufuzi ssente ezo okutuusa ng’amaze okufulumya ekiwandiiko ekigenda okumulung’amya ku ngeri gyazigabamu.

Wabula Mufumbiro atubuulidde nti Museveni bino byonna abikola kubanga ayagala ekifananyi kya Bobi Wine nga alayidde nti nebwanagaana okubawa sente, Bobi Wine tagenda kutula ne Museveni mu IPOD nga bwayagala.

Okunonyereza okwakolebwa mu kalulu ka 2021 kwalaga nti Museveni yakozesa sente ezisukka mu buwumbi 900 mu kampeyini ate Bobi Wine ye yasinga banne ku ludda oluvuganya — yakozesa obuwumbi 3.

Share This Article