MARIAM NATASHA omwogezi w’akakiiko akanonyereza ku buli bw’enguzi mu maka g’Obwapulezidenti akukulirwa Brig. Gen Henry Isoke, akakasizza nga bwe bazinzeeko omugagga JohnBosco Muwonge ku by’okukweddiza emmaali y’omugagga Lweza Kizito ow’omu Kampala.
Natasha ategeezezza nti omugagga Muwonge baamuyise abanyonyole ku ngeri gye yaggye ebiragiro by’okweddiza emaali ya mugagga munne Lweza n’okumenya omuzikiti gwa Dabu Iman ebisangibwa mu Kisenyi ogugambibwa nti gwazimbibwa Lweza.
Ensonda zongeddeko nti omugagga Muwonge olwafunye amawulire g’okuyitibwa kwa Brig Gen Isoke, yafunye okutya okwamanyi olwa lipooti ezizze zimukolebwako abakulembeze b’omu Kampala nga bw’asusse okutulugunya abantu n’abasuubuzi ng’abagoba ku ttaka era buli ewali enkaayana mu Kampala erinnye lye teribulawo. Natasha agamba nti singa banaakizuula nti obugagga bwa Muwonge buli amaziga g’abantu, baakuwalirizibwa okubibowa bongere okumunonyerezaako ku ngeri gye yabifunamu.
LWAKI BULI AWABEERA EMIVUYO GY’ETTAKA ERINNYA LYA MUWONGE TERIBULAWO?
Hajji Muhammad Katanyoleka ng’ono mukulembeze w’abasuubuzi abakolera mu akeed,i agambye ONO BWINO nti Muwonge abanene mu gavumenti bamukozesa nga bbulooka waabwe abanonyeza ettaka ery’okugula n’okuwamba mu Kampala. Katanyoleka ayongeddeko nti waliwo abanene abawa Muwonge ebiragiro era nga kigambibwa nti bano baakolera omuli mutabani wa pulezidenti Muhoozi, Gen Salim Saleh n’abalala. Kyokka
Gen Salim Saleh yasinziira ku mukolo ogwali ku Mestil Hotel ne yeegaana ebimwogerwako nti y’omu ku basinga okubeera n’ettaka eringi mu Kampala n’ategeeza nti si kituufu kubanga mu Kampala alinamu yiika bbiri zokka.
DDIIRU EREETEDDE BRIG. GEN ISOKE OKUKUNYA MUWONGE
Ensonda zitubuulidde nti omugagga Muwonge yamenye omuzikiti gwa Dabu Iman ku bigambibwa nti yasinziira ku birango bya Tropical Bank egambibwa nti omugagga Lweza yeewolayo ensimbi ezisoba mu kawumbi ayongere okugaziya bizinensi ze omuli n’ebizimbe. Kyokka bweyali yeewola yasingayo ettaka okwali omuzikiti n’ebizimbe oluvannyuma ssente zino nezimulema okuzzaayo mu bwangu olwo bbanka gye yeewola ne yeddiza omusingo gw’ettaka gweyateekayo nga yeewola.
Kigambibwa nti bbanka yalanga ettaka Lweza lye yasingayo mu mawulire omugagga Bosco Muwonge kweyasinziira n’atuukirira aba bbanka ne bamuguza ettaka eryo okwali omuzikiti n’amuyumba n’abisendawo azimbewo ebizimbe. Kigambibwa nti Muwonge okusenda yakukola kiro ekikontana n’amateeka ekiraga nti ekikolwa kyeyaliko kyali kimenya amateeka.
BABIYINGIZZAAMU RCC WA KAMPALA
Abamu ku Basiraamu abasaalira mu muzikiti ogwamenyeddwa, balumirizza RCC wa Kampala Jane Muhindo agambibwa nti ye yawa omugagga obukuumi era naye akakiiko ka Brig Gen Isoke kamunonyerezaako okuzuula ebimwogerwako.
RCC YEEWOZEZZAAKO
Wabula RCC ategeezezza nti yakola nnyo okuyimiriza Muwonge okumenya kubanga yakubira DPC ku poliisi ya Old Kampala ayimirize okumenya okwali kugenda mu maaso kyokka poliisi yatuukawo ng’okumenya kuwedde abakimussaako nti naye yali mu lukwe baagala kwonoona linnya lye.
OMUGAGGA LWEZA YEERWANAKO OKUTAASA EMMAALI NEBIGAANA
Kigambibwa nti Lweza yawandikira aba bbanka bamwongereyo obudde asobole okumalayo ebbanja kubanga yali asasuddeko ekitundu kya ssente ekisinga obunene. Kyokka aba bbanka ne baagaana okumuwuliriza, yaddukira mu kkooti enkulu ne yeekubirayo enduulu n’aggulawo omusango era kkooti n’eyisa ekiragiro ekikugira omuntu yenna obutabaako kyakolera ku ttaka lino, wabula olw’okuba omugagga yali yakwatagana ne bbanka okumuguzza ettaka nga n’ebyokusasula yali abimalirizza, yaleeta tulakita n’asenda buli kintu omwali n’omuzikiti ekyawalilizza Lweza okuddukira ewa Brig Isoke amuyambeko.
OMUGAGGA BOSCO MUWONGE AYOGERA KI?
Omu ku bamaneja b’omugagga Bosco Muwonge agambye ONO BWINO nti eby’akakiiko ka Brig Gen Isoke okuyita Muwonge akunyizibwe ku by’okumenya omuzikiti tebabitegeera kubanga ekifo baakigula mu mateeka oluvannyuma lwa bbanka okulanga ekifo. Maneja ayongeddeko nti ensonga z’ebbanja zimaze emyaka egisoba mu 18 nga Lweza ebbanja limutudde mu kifuba nabo kwekuvuganya n’abalala nebakigula mu mateeka era balina ekyapa ekikakasa nti be bananyini kifo abatuufu, abagamba nti waliwo omuzikiti balimba ekifo kyalimu kiyumba Abasiraamu we baafuniranga wuzu so si nti gwali muzikiti, n’olwekyo ababalopye ewa Brig Gen Isoke baagala kubaggya ku mulamwa nakusanyalaza mirimu gya mukama we.
Muwonge ye nnanyini kizimbe kya Ggwanda Shopping Mall mu Kisenyi, era abamumanyi bagamba y’omu ku basinza ebizimbe mu Kisenyi wabula ng’ono asinga kubizimba ku myala n’entobazzi.


