Ddiiru Y’okutwala Besigye Mu State House Ateese ne M7: Abanene Basattira, Ab’e Rukungiri Gye Bazaala Dokita Batabuse…

PULEZIDENTI Museveni akazito kaamususseeko ng’abanene e Rukungiri balumiriza nti bwatayimbula mwana waabwe Dr. Kizza Besigye okuva mu kkomera gye yamusibira ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi ye olukwe akalulu ewaabwe akeerabire.

Hadijja Namagembe
5 Min Read
Kizza Besigye

PULEZIDENTI Museveni akazito kaamususseeko ng’abanene e Rukungiri balumiriza nti bwatayimbula mwana waabwe Dr. Kizza Besigye okuva mu kkomera gye yamusibira ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi ye olukwe akalulu ewaabwe akeerabire.

Lt Gen Henry Tumukunde eyaliko minisita wa securite nga yakulirako n’ekitongole ky’eggwanga ekikessi ki Internal Security Organisation (ISO) y’akulembeddemu okuteeka akazito ku Museveni ng’atubuulidde ku ssimu nti abantu b’e Rukungiri baalwana nyo okuleeta gavumenti ya Museveni mu buyinza n’okugikuumiramu.

Ono anyonyodde nti ye kenyini ne banne okuli Dr Besigye, Maj Gen Jim Muhwezi, omugenzi Gen. Aronda Nyakairima nga bakyali bavubuka baasalawo okuyingira ensiko okulwana ne Museveni era ne bweyawangula baasigala bakolagana naye nga tekibeera kyabwenkanya okubasuulawo mu kiseera kino n’atandika okutinkiza n’abalala nga n’omu ku bannaabwe amusibidde mu kkomera.
Tumukunde ategeezezza nti Museveni alina okugenda e Rukungiri ayogere n’abakulembeze baayo bamubuulire ensonga ezibaluma balabe engeri bwe bakkaanya naye nga kino bwatakikola ebiddirira tamunenya nga.

Ono atubuulidde nti balwana nga bwe basobola okulaba nga Besigye bamuyimbula nga gye buvuddeko yagenda e Luzira mu kkomera gye baamusibira ne boogerezeganya n’amwegayirira akkirize ayogerezeganye ne Museveni amusonyiwe ave mu kkomera kubanga emyaka gye tegikyasobola kutemeza mabega wa mitayimbwa.

NE BANNADIINI BAGENDA OKUPOLOOTA BESIGYE MU KKOMERA ATEESE NE MUZEEYI

Ensonda zitubuulidde nti bannaddiini abakulu e Rukungiri nga bakulemberwamu Bishop Onesimus Asiimwe bazze bagenda mu kkomera enfunda eziwera nga baperereza Besigye ayogere ne Museveni nga balinda kigambo kye olwo balyoke batuukirire Museveni wabula akyagaanye okukkiriza enteeseganya zonna okusobola okuyimbulwa ng’alumiriza nti ye talina musango gwonna gweyazza.

Omu ku basirikale baamakomera e Luzira atubuulidde nti Besigye mumalirivu ne bwekubeera kufiira mu kkomera mwetegefu okufiirayo ng’eno y’ensonga lwaki yatabuka ne mukyalawe Winnie Byanyima eyali amuperereza akkirize asabe okweyimirirwa nga bakyamuwoleza mu kkooti y’amagye e Makindye.

Besigye yategeeza Byanyima nti okukkiriza okusaba okweyimirirwa mu kkooti y’amagye kyali kigenda kukakasa nti akkiriza nti kkooti emuvunaana erina obuyinza okumuvunaana n’alagira balooya be abakulemberwamu Munnakenya Marth Karua okulwana okumuggya mu kkooti eyo.

NE BYANYIMA AYAGALA KUSISINKANA M7

Byanyima yategeeza dda nga bwayagala okusisinkana Museveni boogere ku nsonga y’okusiba bannabyabufuzi abamuvuganya naddala Besigye n’abavubuka ba NUP ng’alumiriza nti okuvuganya obukulembeze bwe tegubeerangako musango.

Omu ku banene mu State House atubuulidde nti Museveni mwetegefu okusonyiwa Besigye wabula nga kino okukikola alina kusooka kukkakkana n’akkiriza nti yakola ensobi bwe yeekobaana mu lukwe lw’okugezaako okumutemula n’omulambo gwe agubuzeewo.

Guno si gwe mulundi ogusoose abakulu e Rukungiri okuteekawo embeera okulaba nga Besigye ayimbulwa ku misango gy’ebyobufuzi, mu 1999 Museveni bweyamusiba baamwegayirira n’amusonyiwa ng’olwava mu kkomera n’alangirira nga bwagenda okumwesimbako.

Besigye abuulira abagendayo okumusaba okwetonda nti tasobola kuyingira nteeseganya zonna ng’akyali mu kkomera ng’ayagala omulamuzi Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu ateekewo olunaku awulirize okusaba kwe okweyimirirwa omulundi ogw’okubiri oluvanyuma lw’omulamuzi Comfort Kania okugaana okumuyimbula n’omuyambiwe Hajji Obed Lutale Kamulegeya wadde baali batuukirizza ebisaanyizo byonna okweyimirirwa.

Okumanya Besigye mukambwe yatutte n’omulamuzi Christine Nantege owa kkooti y’e Nakawa mu kakiiko akakwasisa abalamuzi empisa aka Judicial Service Commission ng’amulumiriza obutamanya mateeka era tagwanidde kubeera mulamuzi nti olw’okugaana okumuyimbula ku kakalu ka kkooti ate ng’awezezza emyezi 6 mu kkomera ng’amateeka bwegalagira, okumusindika mu kkooti enkulu okutandika okuwooza nga balooya be tebaliwo n’okumukomyawo okuwulira okusaba kw’oludda oluwaabi okukebera amasimu ge ate nga fayiro yagiweereza dda mu kkooti enkulu.

Era kino kyewunyisizza nnyo Looya wa Besigye Erias Lukwago, nti emyaka gy’awolezza amateeka abadde takirabangako omulamuzi okutegeeza nti fayiro agisindise mu kkooti enkulu, ate ne bakomawo ng’akyagirina.

Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF yategeeza nti Besigye emisango bweginamusinga ekibonerezo baakumuwa kyakukubwa masasi mu lujjudde nga bakumutwala ku muti ogumu mu Acholi gye babeera bamuttira olw’okugezaako okutta kitaawe pulezidenti Museveni.
Emisango gyonna Dr Besigye gye baamuggulako egyegaana ng’alumiriza nti Museveni amusiba olwokuba amuvuganya mu byobufuzi.

Share This Article