Kayihura Atuuyana: Obujulizi Bw’okutta Kaweesi, Kirumira, Okuwamba Gov’t Bumutwala Luzira Ku Nkumbi!

BAMBEGA abaakwasiddwa fayiro okunonyereza ku musajja kanywamusaayi gwe bateebereza okwenyigira mukutemula abanene mu ggwanga Nixon Agasirwe, bazzeemu okwetegereza entambula n’enneeyisa ze wakati wa 2012 okutuuka mu 2017 bwe baamukwatira ne bamuggulako emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe mu kkooti y’amagye.

Editor Ono Bwino
9 Min Read
Nizon Agasirwe and his former boss Kale Kayihura

BAMBEGA abaakwasiddwa fayiro okunonyereza ku musajja kanywamusaayi gwe bateebereza okwenyigira mukutemula abanene mu ggwanga Nixon Agasirwe, bazzeemu okwetegereza entambula n’enneeyisa ze wakati wa 2012 okutuuka mu 2017 bwe baamukwatira ne bamuggulako emisango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe mu kkooti y’amagye.

Muno bambega bakunonyereza ku bantu beyatambulanga nabo, beyayogeranga nabo, abaamuyambangako okubaako emirimu gyakola. Bataddeko n’okuddayo okuwuliriza amasimu geyayogererangako mu biseera ng’akyaduumira ebikwekweto ebyenkizo mu poliisi ku mulembe gwa Gen Edward Kale Kayihura ng’omuduumizi.

OKUNOONYEREZA KUKANGA

Ensonda zitubuulidde nti okunonyereza okwakolebwa Col Frank Bagyenda Kaka ng’akyaduumira ekitongole kya ISO ekibegera munda mu ggwanga, kyayingirira ebyuma bya kampuni y’amasimu ne bafunayo emboozi z’amaloboozi abanene mu poliisi nga banyumya ku nsonga ez’enjawulo.

Ensonda zitegeezezza nti erimu ku ddoboozi bambega lye bazzeemu okuwuliriza, lyeryo lye baatwalira pulezidenti Museveni ng’omugenzi Andrew Felix Kaweesi omwogezi wa poliisi nga yaakattibwa mu 2017.

Mu ddoboozi lino, bambega abaasooka okunonyereza ku ttemu lino balumiriza nti Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad yakubira mukamawe Gen Kayihura essimu mu bwangu nga baakatemula Kaweesi, omukuumiwe Kenneth Erau ne dderevawe Godfrey Mambewa n’amukakasa ng’omulimu bwegwali guwedde okukolebwa ate nga muyonjo nnyo.

Obujulizi bw’eddoboozi lino bambega ba Kaka baabwesibako nyo nga balumiriza nti bwali bugenda kubayamba okusingisa Gen Kayihura ne banne emisango gy’okutemula Kaweesi wabula balooya ba Gen Kayihura aba kampuni ya Kampala Associated Advocates (KAA) obujulizi buno baabuwakanya nga bategeeza nti Museveni okukkiriza omuntu waabwe okuggyibwako emisango, Yamala kuzuula nti obujulizi bwali bufu nga n’amaloboozi agoogerwako baali bagafumbiridde.

Ensonda zitegeezezza nti Gen Kayihura ayinza okuba nga teyamanyako ku pulaani y’okutemula Kaweesi, wabula nga basajjabe baakikola okumutaasa asigale ku mulimu oluvanyuma lw’okukitegeera nti Museveni yali apanga Kaweesi okumulonda ku bwassaabaduumizi bwa poliisi okudda mu kifo kya Kayihura.

Joseph Ssewungu omubaka wa Kalungu West n’okutuusa kati alumiriza nti okutemula Kaweesi abaakikola bagenderera kumulemesa kulya bwassaabadumizi bwa poliisi nga yategeeza ku gimu ku mikolo gw’okusabira Kaweesi nti singa tebaamutta, Masaka we waalibadde wava ssabaduumizi wa poliisi.

WE BAATEMULIRA KAWEESI NGA MU POLIISI MULIMU OKWEKUBA ENKOKOLA

Kaweesi we baamttemulira mu March wa 2017, e Kulambiro, nga mu poliisi mulimu obubinja bw’abanene abalwanira ddiiru n’obuyinza, abanonyereza balumiriza nti eno y’ensonga lwaki Museveni mu maka g’omugenzi Kaweesi yalagira Kayihura okutereeza poliisi nga tanayingirawo.

Ensonda zongeddeko nti obubinja obwali bulwana mu poliisi baali batya nyo Kaweesi olw’enkolagana ennungi gyeyalina ne Gen Muhoozi Kainerugaba kati omuduumizi wa UPDF, Brig Gen Christopher Ddamulira akulira obukessi mu poliisi nga balumiriza nti bano Gen Muhoozi beyali asibiddeko olukoba okukulembera poliisi.

Kaweesi akabinja ke mu poliisi mwe mwali abagenzi Muhammad Kirumira, Sam Omara ng’ensonda zitegeezezza nti bano baalina obutakkaanya n’obukulembeze bwa Gen Kayihura nga tekyewunyisa nti Kaweesi okumutemula yali amaze okufuna olunaku okusisinkana Museveni nga kirowoozeka nti abaamutta bamwanguyira okumulemesa okusisinkana omukulu okubaloopayo.

Kaweesi bwe baamutta, Gen Kayihura yalumiriza nti batujju ba ADF be baali bamusse wabula ensonda zirumiriza nti akakodyo k’okubuzaabuza abatemu kyayamba nyo ebitongole ebirala obutategeererawo mangu nti obutemu bwa munda nga bwe batta Kagezi, Museveni baamugamba nti omutemu yaddukira mu mawanga g’Abazungu nti yaliko omusibe mu kkomera e Luzira ekintu ekyali eky’obulimba n’okubuzaabuza omukulembeze w’eggwanga.

EBY’OKUWAMBA GAVUMENTI

N’okutuusa kati, Col Kaka akyalumiriza nti Kayihura yalina pulaani y’okuwamba gavumenti ya Museveni ng’ayambwako eggwanga erimu ku mulirwano nga basajjabe okukola ebikolobero byonna bye baakola ku Bannayuganda baali bagezaako kunyiiza bannansi bakyawe obukulembeze bwa Museveni beekalakaase bamuggyeko.

Okutemula bamashiekh naddala Abatabuliiki abakambwe nga Sheikh Hassan Ibrahim Kirya, Sheikh Mustafah Bahiga, Sheikh Abdulhakim Ssentamu, baali baagala kubanyiza bayingire ebikolwa by’ekiyeekera nga beegatta ku bayeekera ba ADF abaali baduumirwa omu ku bannaabwe Sheikh Jamil Mukulu Kyagulanyi okutandika okulwanyisa gavumenti ya Museveni.

Kayihura ne banne baakola ejjoogo ku Basiraamu okwali n’okuyingiza engatto mu muzikiti gw’e Nakasero nga zonna zijjudde ebikyafu, okukwata Sheikh Muhammad Kamoga ng’omubbi w’essimu ne bamusindika wansi wa kabangali n’okumutulugunya ne bamasheikh baabwe abakulu nga bino byonna byali bigenderedwamu kunyiza Basiraamu.

KAYIHURA AZIMBA OBUBINJA BW’ABAKAMBWE

Kayihura yazimba obubinja bw’abakambwe mu bavuzi ba bodaboda ng’aka Bodaboda 2010 akaali kakulirwa omusajja omukambwe mu biseera ebyo Abuddalah Kitatta, abalala n’abateeka mu butale okwetoloola eggwanga lyonna n’atandikawo n’akabinja k’abavubuka ba Crime Preventors nti bano bonna yali abategese okunyweza ekintu ng’amaze okukwata ku manduso.

Basajja ba Gen Kayihura babalumiriza okukolagana nga n’obubinja bw’abatujju ng’aka Al-Shabab akatta abantu abakunukkiriza mu 75 n’abalala ne bagendera ku bisago eby’amaanyi mu bbomu ezaabwatukira e Lugogo ne Kabalagala mu 2010.

AGASIRWE ALINA OKUTUBUULIRA KAZAMBI GWE BAAKOLA

Obujulizi bwajja mu kkooti mukuwozesa abatujju abenyigira mu bbomu za 2010 ng’omupiira gw’akamalirizo ogwa World Cup gubindabinda nti abanene mu poliisi baamanya ku bulumbaganyi buno wabula ne basirika nga kati abanonyereza ku Agasirwe baagala ababuulire oba nga ddala baalya sente z’abantu abo okutega bbomu ezo.

Ensonda zongerako nti enkolagana ennungi basajja ba Kayihura gye baali batonzeewo n’obubinja bw’abatujju ye yabayamba okukwata Jamil Mukulu mu 2015 e Tanzania.

ABANENE BE BAAKOLAGANANGA NABO BASATTIRA

Okusobola okuggusa obulungi misoni zaabwe, ensonda zitegeezezza nti basajja ba Kayihura baakolagananga nyo ne balooya ab’amaanyi abaabuzaabuzanga abasibe be baakwatanga ku misango gy’abantu be batemudde ne babawa amagezi amafu n’ekigendererwa ky’okulaga ensi nti ddala be bazzizza emisango egyo nga kino kyayamba n’okubuzaabuza ebitongole ebirala ebikessi okuva ku mulamwa gw’okunonya abatemu abatuufu.

Baakolagana n’abalamuzi naddala aba kkooti za wansi gye baatwala nga abantu baabwe be bakutte ne babakaka okukola sitatimenti ezikkiriza emisango gye bamanyi obulungi nti tebaagizza.

Mu Kampala n’okutuusa kati mukyalimu abagagga abasuubuzi abamaanyi abakozesa ssente z’abasajja ba Kayihura ze baggya mu musaayi nga bano essaawa yonna baakukwatibwa securite.

Abagagga beeyambisa nga basajja ba Kayihura okutulugunya n’okwavuwaza abo bonna be baavuganyanga nabo mu bizinensi, wabula ensonda zitegeezezza nti abasinga baagenda bava mu bizinensi olwa basajja baabwe okuva mu ofiisi ez’amaanyi mu poliisi.

HAJJI KIYIMBA NE KITATTA BABAFUNZIZZA

Okutya kweyongedde ku Kitatta bwe bamuggyeko obukuumi obubadde bwamuweebwa ku biragiro bya pulezidenti Museveni bweyamusisinkana n’amwetondera wabula n’amutegeeza nti obulamu bwe buli mu matigga.

Kitatta obukuumi buno bwamuggyiddwako, omu ku banene mu securite atubuulidde nti abakuumi Kitatta baabadde atambula nabo n’okukuuma mu makaage baamuggyiddwako okuva bwe baamuwangudde ku kifo kya ssentebe wa NRM e Lubaga.

Ensonda zongerako nti Kitatta ne Hajji Abdul Kiyimba abadde ssentebbe wa NRM mu disitulikiti y’e Wakiso, era eyaliko Meeya w’e Kyengera, be bamu ku banene mikwano gya basajja ba Gen Kayihura abanonyerezebwako ng’essaawa yonna bayinza okukwatibwa bayambeko bambega mukunonyereza okugenda mu maaso.

Kiyimba ne Kitatta baakola obugagga bungi mu kiseera nga Kayihura yaduumira poliisi, baalina abakuumi b’emmundu nga balumiriza nti baali banonyeza Museveni kalulu wadde bambega balumiriza nti bano baali batuukiriza pulaani za Kayihura engazi ennyo.

Ebizibu bya Kayihura ne basajjabe okuttuka, kyaddiridde obujulizi Daniel Kiwanuka Kisekka bweyawadde mu kkooti enkulu ewozesa bakalitalo n’alumiriza nti omunene mu gavumenti eyatambuliranga mu mmotoka y’ennamba emmyufu ye yateeka ssente n’okulagira okutemula Joan Namazzi Kagezi eyali omumyuka wa ssaabawaabi w’emisango gya gavumenti.

Kisekka yakkiriza emisango gy’okutemula Kagezi mu 2015 bweyali agula emiyembe e Kiwaatule mu Kampala ng’okumutemula yasooka kufuna butakkaanya ne Agasirwe ku ngeri gye baali batambuzaamu omusango gw’abatujju ba bbomu za 2010.

Mike Chibita omulamuzi wa kkooti ensukkulumu nga mu kiseera Kagezi we baamuttira ye yali ssaabawaabi wa gavumenti, yawera mukusabira Kagezi nti bagenda kulwana nyo okulaba nga abatemu bakwatibwa ng’ensonga eno omulamuzi Jane Frances Abodo olwayingira ofiisi kweyatandikira nga bawagirwa Museveni.

Share This Article