Eddogo Lya Ssemujju Litandise Okukola: Looya Musisi Amwesimbyeko Bamuloopye Lwa Bufere…

ESSAAWA yonna bambega ku kitebe ekinonyereza ku misango mu Poliisi ekya CID e Kibuli kifulumya ekibaluwa kibakuntumye eri George Musisi omu ku balooya ba pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ku misango gy’obufere.

Timothy Nyanzi
3 Min Read

ESSAAWA yonna bambega ku kitebe ekinonyereza ku misango mu Poliisi ekya CID e Kibuli kifulumya ekibaluwa kibakuntumye eri George Musisi omu ku balooya ba pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ku misango gy’obufere.

Ensonda ez’omunda e Kibuli zitubuulidde nti omubaka wa Kimaanya-Kabonera Dr. Abed Bwanika ye yatwala okwemulugunya ku CID ng’asaba banonyereze ku Musisi gweyalumiriza nti talina bbaluwa emukkiriza kuwolereza bannayuganda wadde ng’alina diguli y’amateeka.

Bwanika yakola sitetimenti n’okuwaayo obujulizi bwe omwali lisiiti ng’ekibiina kya NUP kisasula Musisi olwokuwolereza abantu baabwe mu kkooti z’amateeka, kuno yagattako abajulizi abalala beyatwala ku poliisi okumatiza bambega nti Musisi bamuwa emisango gyabwe n’ensonga z’amateeka okuzibakolerako nga looya.

Bambega okukakasa ebyogerwa Bwanika, baawandikira omuwandiisi wa kkooti omukulu omulamuzi Pamela Lamunu okukakasa nti Musisi baAmuwa ebbaluwa emukkiriza okuwoza, ensonda zitubuulidde nti kkooti yeeganye ebyokuwa Musisi ebbaluwa emukkiriza okuwolereza abantu mu kkooti z’amateeka.

Ensonda zitegeezezza nti Bwanika okugenda mu kkooti kyaddirira obutakkaanya bweyafuna n’obukulembeze bwa NUP nga awakanya ekiragiro Bobi Wine kyeyawa mukwano gwe Mathius Mpuuga Nsamba okuzzaayo obukadde bwa ssente 500 bwe bamuwa ng’akasiimo olwokukolagana obulungi ne gavumenti ya Museveni mu kiseera ng’akyakulira oludda oluvuganya mu palamenti.

Mpuuga ne Musisi bamanyiganye nyo nga baatandikawo kko ne kampuni ya bannamateeka wabula oluvanyuma negwa ng’ekyanyiiza enyo Mpuuga ye muntu gw’amanyi obulungi okuyingira mu lutalo lwe ne Bobi Wine n’atandika okumwogerera ebigambo ebinene nga bbaasi ku mitimbagano ne ku mikutu gy’amawulire nga kino kye kiseera naye okumufukamiza.

ONO BWINO akebedde ku lukalala okuteekebwa amannya ga balooya abawolereza abantu mu kkooti ng’erinnya lya Musisi teririiko wadde nga kampuni gyakolera eya Pace Advocates yo kweri ng’agikulira ne mukwano gwe Benjamin Katana omuwanika wa NUP.

Bino we bituukiddewo nga Musisi alwana okusiguukulula Ibrahim Ssemujju Nganda ku kifo ky’omubaka wa Kira Municipality wadde nga Nganda atandise okuyiwa ssente mu balonzi ekintu abalonzi kye beewunyizza kubanga babadde bamumanyi ng’omusajja atamala gata kasente ke. Nganda awaga nti NUP eyamuwa obwaminisita w’ebyensimbi mu gavumenti y’oludda oluvuganya nga emulabyemu obusobozi ate tesobola kumulwanyisa emugobe mu palamenti nti egenda kufiiriza ekitundu.

ONO BWINO agezezzaako okunonya Musisi okubaako kyayogera ku nsonga eno wabula ng’amasimu ge tegakwatibwa.

Singa Musisi aggulwako emisango mu kkooti, agenda kwegatta ku bawagizi ba Bobi Wine okuli n’abakuumi be nga Eddy Mutwe abali mu kkomera ku misango gyebalumiriza nti Mpuuga n’akabinja ke ak’ekibiina kya Democratic Front -DF be baagifumbye okusanyusa gavumenti ya Museveni ebongere ssente z’okulwanyisa NUP ne Bobi Wine.

Share This Article