ENNAKU zino abantu bakeera kumakya ne bakyawa bannaabwe awatali nsonga kumbe akaseera kabeera katuuse buli omu akwate lirye anti waba tewabaddeewo mukwano gwa nnamaddala.
Era wano omuyimbi Betty Mpologoma kye yava yayimba nti, “…omukwano teguzibirwa kkubo, atakwagala ob’omulaba, oba agaanye ta, ta ebintu bite…!”
Abaagalana bangi babeera ne bannaabwe olw’ebirungi bye babafunako, olwobulungi bw’emitima gyabwe, n’ensonga endala eziringa ezo. Leero tukuleetedde obubonero obuyinza okulaga nti omuntu takwagala mu bujjuvu naye nga tayagala kukufiirwa…
YEEWALA OKUNYUMYA EMBOOZI EZ’AMAKULU
Omuntu akumalira ebiseera yeewala nnyo okunyumya emboozi enzito naawe era yeewala nyo okunyumya naawe embozi ezaamakulu. Enkolagana yammwe ebeera ya kungulu. Ekinene ennyo kyemugabana ziba mboozi za kunyumirwa kwegatta mpozzi n’okwegatta nga ekikolwa ng’olwo biggwa tewabeera ky’amaanyi nnyo kirala kibagatta.
Omuntu atakwagala kyokka nga tayagala kukuta aba tassaamu nnyo maanyi mu bintu ggwe byolaba ebibatwala mu maaso. Emirundi gyokka gy’assaamu amaanyi gyegyo nga kyemuliko tekimwetaagisa kuteekamu nnyo oba nga akiganyulwamu. Kati buli lwe yeetaba mu ekyo ekiteetaagisa maanyi mangi, gwe olaba nga ye afaayo.
Abantu abo baba balonzalonza okukola enteekateeka oba okweyama ekintu kyonna ekikwatagana n’ebiseeramu by’omu maaso. Babeera baagala okumanya enteekateeka zo ate babeera baagala okuwulira amannya gaabwe mu nteekateeka zo ez’omumaaso kuba bo banonya webafunira.
ABANTU BWEBATYO BABA BAKYETWALA
Obeera mu mukwano naye kyokka nga ye alinga ali yekka ate buli kye bakukola bafuba nnyo okulaba nga gukusinga. Bw’otandika okwemulugunya nti beeyisa nga bakyetwala, olwo nga banoonya ensonga eziraga nti buli kibi kyebakola kiva ku nneeyisa yo. Mu mbeera eyo omuntu eyandinyize ate olaba nga gwe gwegusinga.
EBINTU BYABWE TEBIBA BIRAMBULUKUFU
Babeera n’ekyokwekwasa buli kaseera. Asobola okubeera mu mukwano akaseera akamu ate akaddako n’akulaga nti ali ku birala nnyo, era bwoteegendereza olekebwa mu bbanga n’osigaza kwemagaza.
Abaagalwa ekika ekyo tebawagira biruubirirwa byo, ebirooto byo, oba enneewulira zo. Bw’omunyumiza w’ofunira nga ye alaba talina waafunira era nga ogenda kumuyitako, afuba okukukkakkanya era bwoba wa mutima munafu okomekkereza byobala obivuddeko.
BEEWALA NNYO ENKAAYANA
Kimanyikiddwa nti ebimu ku bigumya omukwano z’ennyombo n’obutakkaanya ebibalukawo wakati w’abaagalana anti bibayambako okwemanya n’okwetegeera. Naye omuntu nga takwagala era nga akwagalako bibyo yeewala nnyo enkaayana wakati wammwe. Bwatuuka okukwabulira nga byakwagalako abifunye ofuna ekyekango anti bulijjo oba olaba muli mu mukwano omuyitirivu era temulina buzibu yadde.
Tolimanya butuufu bwe bawulira ne bwoba okola otya kuba tebalaga ki kyebali kituufu. Omusajja oba omukazi asobola okukulaga nti munakuwavu, emirimu gye gyesibye era obulamu bwe tebutambula bulungi olwokuba yategeddeko nti mune yakutudde ddiiru ya ssente. Oba asobola okukusanyukira n’okukusanyusa olwensonga nti alina kyalengedde kyagenda okukufunako.
EBIBUUZO BYA SSENGA: Kiki ekireetera akantu kange okwagala okukutukako nga twesabula?
EKIBUUZO: Ssenga nsaba kundagirirako ku ddagala erigoba embalabe kubanga zinnemeddeko.
OKUDDAMU:Ebiseera ebisinga okuba ng’abakazi babonaabola olw’embalabe, kiviira ddala munda mu mubiri. Tosobola kubeera ng’olina obuzibu mu lubuto okugeza ng’eddwadde z’obukaba, n’ebitundu mu lubuto n’obeera n’olususu olulungi era wano olina okusooka okwejjanjaba kubanga munda wo we walongooka osobola okufuna ekintu kyonna oluusi ebizigo bya herbal ne bikulongoosa.
EKIBUUZO: Ssenga, lwaki nfuna nyo ebirowoozo nga nneegatta n’abakazi ab’enjawulo?
OKUDDAMU: Kisoboka okuba ng’ebirowoozo ebyo bijja lwa nsonga oba oluddewo ebbanga nga teweegatta na mukazi yenna, olina kwegatta oba woba tolina akutaasa olina okufuba okulaba nga weefuula bbize okukendeeza ku birowoozo byo.
EKIBUUZO: Nze Isa, siri mufumbo era ndwawo okwegatta n’omukazi yenna, wabula bwe nkyamuka mpulira ng’akantu kange kaagala kukutukako.
OKUDDAMU: Nedda bambi, kizibu akantu ko okukutukako, engeri gye kalimu ebinyamanyama, wabula ggwe okuwulira ng’akalinga akaagala okukutukako kiva ku busungu obw’amaanyi bwe kabeera kawulira olw’okulwawo nga tekeegatta. Osaanidde obutamala bbanga ddene nga teweegatta okuggyawo embeera eyo.
EKIBUUZO: Nze Shuraha, nkole ntya okusanyusa omwami wange mu buliri kubanga buli wetumaliriza okwerya agamba siwooma?
OKUDDAMU: Ebitawoomesa bakazi bingi okusinziira ku musajja gw’aba ali naye wabula w’oba nga oyagala nabunya yo ewunze omusajja olw’obuwoomi, kwata akeeyeeyo okakunye bw’omala okasiigeko omubisi gw’enjuki, oneebaza luvanyuma n’ekirala olina okutegeera bbaawo biki by’ayagala mu kaboozi obimukolere ng’ate nga bw’oleeta n’obupya.
EKIBUUZO: Ssenga ndi lubuto lwa myezi kati 6 naye lwaki njagala nyo okwegatta n’omusajja kubanga nze buli wemulabako mba njagala tugenderewo mu kaboozi?
OKUDDAMU: Ekyo tekirina buzibu wadde, kubanga omukazi w’abeera olubuto buli omu lulina werumuyisa kubanga waliyo abakazi bo nga obwagazi bw’akaboozi aba tabulina wabula era ne wabaawo n’ababeera nabwo, ky’ova olaba nti omukazi w’aba ng’ali lubuto, kirungi n’abeera ne bbaawe.
Ekibuuzo/Anoonya, SMS/WhatsApp:0743467377/0774602433.


