PULEZIDENTI Museveni yakakasizza nti obuwumbi bwa ssente bw’atumya mu palamenti okuteekebwa mu nsawo etatunulwamu ezikozesebwa okugula eby’okulwanyisa n’okunyweza eby’okwerinda by’eggwanga y’ensonga lwaki Uganda wadde yeetooloddwa amawanga agalimu entalo z’emmundu, yo ekyalina emirembe.
Muhammad Muwanga Kivumbi omubaka wa Butambala, atubuulidde nti mu bajeti ya 2024-25, pulezidenti Museveni yatwala obutabalika (UGX 5.5 TN) nga n’okutuusa kati palamenti tetegeezebwangako mu butongole engeri ssente ezo bwezikozesebwamu wadde ng’amateeka gatondawo akakiiko k’ababaka abatasukka 5 okugitunulamu.
Ono ategeezezza nti akakiiko kano sipiika Annet Anita Among y’akakulira, abalala abakatuulako okuli omwamiwe Moses Magogo, Dan Kimosho ne Kivumbi. Wabula okuva Among bweyayingira palamenti akakiiko kano tekatuulangako okukuba ttooci mu mirimu egikozesebwa mu ssente empitirivu eziweebwayo.
NAYE SSENTE ZE BAWA M7 EZITATUNULWAMU ZIKOLA BIKI?
Ensonda zitubuulidde nti ssente zino ze zeeyambisibwa mu kugula eby’okulwanyisa eby’omulembe ebiriko ebikozesebwa UPDF n’ebitongole by’eggwanga ebikessi, okukola ku misoni ez’omunda, okugeza nga misoni eyakolebwa okukwata n’okuzza Dr Kizza Besigye n’omuyambiwe Hajji Obed Lutale Kamulegeya okuva e Kenya nga babalumiriza nti baali bapanga kuwamba n’okutta Museveni nti n’abamu ku bantu ba famire ye.
Ssente zino era ze zikozesebwa okulwana entalo mu mawanga ageetolodde Uganda okuli South Sudan, Congo, Central African Republic n’amawanga amalala nga bino byonna Kivumbi alumiriza nti si y’ensonga enkulu, wabula Museveni ne bapulezidenti banne okuli Gen Paul Kagame owa Rwanda, Silver Kiir owa South Sudan batya nti entalo ezo bwe bataziwangula gavumenti zaabwe zirina okugwa nabo okuttibwa.
Kivumbi anyonyodde nti eno y’ensonga lwaki Kagame yategeeza ensi nti olutalo ku gavumenti ya pulezidenti Felix Tshisekedi e Congo lutegeeza kinene gyali ng’omuntu n’eggwanga lye nga waakukola kyonna ekisoboka okulaba nga baluwangula.
KAGAME ABOGGOLEDDE ABAZUNGU
Wiiki ewedde, Kagame yategeezezza ensi nti amawanga agateeka nnatti ku banene mu gavumenti ye, ne ku ggwanga lye tebagenda kumutiisatiisa okumulemesa okwerwanako n’abawa amagezi okugenda beetugire ku munyanya oba bagende basiriirire mu geyeena.
Kivumbi ayongeddeko nti ebigambo bya Kagame byennyini bye biri mu bwongo bwa pulezidenti Museveni nga naye akimanyi nti singa bawangulwa e Congo, kigenda kwanguyirwa abalabe baabwe okubalwanyisa obuyinza bwabwe bwe bakuumidde emyaka egikunukkiriza mu amakumi ana [40] babubatwaleko ate nga balina pulaani y’okubukwasa abaana baabwe nga bakaddiye.
Kivumbi ategeezezza nti Museveni ne Kagame balwana nyo okulaba ng’amawanga ageetolodde agaabwe ng’abakulembeze abaliyo batambulira mu nkwawa zaabwe nga bamanyi bulungi nti kino kyekigenda okulemesa abalabe baabwe okubawamba, eno y’ensonga lwaki Tshisekedi bamutaddeko akazito okuteeseganya n’abayeekera ba M23 baalumiriza nti be babawagira.
Kivumbi ayongerako nti Congo okubeera n’ebyobugagga ebingi ebyetaagibwa enyo ku katale k’ensi yonna abagagga bangi okwetoloola ensi naddala ab’e Buwalabu, America, China, Bungereza balwana nyo okulaba ng’obukulembeze obubeerayo be babutegeerera ekintu Museveni ne Kagame kye batakkiriza kubanga kibateeka ku bunkenke.
Okumanya Congo yamugaso nyo eri enkulaakulana y’ensi, Kagame ne Tshisekedi wadde buli omu yalangirira nga bwatasobola kutuula ne munne bateese maaso ku maaso nga ba pulezidenti bannaabwe bwe baali babawabudde, abagagga Abawalabu nga bakulembeddwamu ow’e Qatar baabawalirizza okutuula ku mmeeza bateese kubanga okwerwanya kwabwe kuyiwa ddiiru zaabwe ze balina mu Congo nga bino byonna byakoleddwa ng’abagagga ne bapulezidenti abagagga abalala nga babigoberera butereevu.
Bano okusisinkana nga pulezidenti Tshisekedi yaakagoba babbulooka abaabadde bamukwasaganya n’abanene mu gavumenti ya America nga yategeezezza nga bwatakyayagala babbulooka mu nteeseganya ze ne America gyayagala okuwa eby’obugagga bamuweemu emmundu ne bakomando bamuyambeko okulwanyisa abayeekera abawagirwa amawanga g’omulirwano abaagala okumuwamba.
Gen Muhoozi Kainerugaba aduumira UPDF yalangirira dda nti ebikwekweto byonna bye bakola e Congo batambulira ku biragiro bya Museveni ne Donald Trump owa America nga yalayira nga bwe batagenda kutiisibwatiisibwa ggwanga ly’Abazungu okuva e Congo nti baagendayo kutaasa bantu baabwe Abachwezi abattibwa.
Kivumbi ayongeddeko nti wadde Kagame yalangirira nga bwatasobola kukubira Tshisekedi ssimu nti boogere yabadde tasobola kugaana kumusisinkana e Qatar kubanga akimanyi nti Omulangira w’e Qatar yaasobola okukoma ku Bazungu abamutaddeko akazito okukozesa Congo ne Burundi okutabangula eggwanga lye.
Okumanya Museveni ne Kagame obunkenke balina bw’amaanyi, Kagame olwavudde e Qatar, Museveni n’asindika mutabaniwe era omuwabuzi we ku bikwekweto ebyenkizo Gen Muhoozi e South Africa okutwalira pulezidenti Cyril Ramaphosa obubaka obwenjawulo.
Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira Municipality alumiriza nti South Africa ly’erimu ku mawanga Museveni gaasinga okutya nga tayagala kuganyiiza ng’ensonda zitubuulidde nti Muhoozi yabadde agenze kwegayirira Ramaphosa bakolaganire wamu e Congo wadde ye takkiririza mu kyakuggyako Tshisekedi.
OLUTALO LUGENDA KUJJA MWETEGEKE!
Ensonda zitubuulidde nti ekitundu kya East ne Central Africa omuli Uganda kyateekebwa dda ku mmaapu y’ensi yonna ng’ebitundu essaawa yonna ebigenda okubalukamu olutalo olw’amaanyi enyo, eno y’ensonga lwaki abaduumira ebitongole ebikessi mu America, Bungereza, Yisirayiri baasisinkana William Ruto owa Kenya ku ntandikwa y’omwaka guno nga bamusaba okwetegekera embeera wabula ekyennaku e Rwanda ne Uganda tebaagendayo.
Kenya yakola endagaano ne gavumenti ya America okubakkiriza okuzimba enkambi y’amagye gaabwe mu ggwanga lya Kenya, ensonda zirumiriza nti kino kyakolebwa okulaba nga America esobola okutaasa ebigendererwa byayo ne banywanyi baayo singa olutalo lubalukawo mu kitundu kino.
DDIIRU ENKAMBWE EZIBALWANYA
Ng’oggyeko ddiiru z’okukuuma obuyinza, Kivumbi alumiriza nti Congo lyerimu ku mawanga Uganda gyesinga okutunda ebyamaguzi byayo n’okusuubula nga walina okubeerayo emirembe bizinensi zino okutambula obulungi.
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda ategeezezza nti Uganda ne Rwanda googerwako ng’agamu ku mawanga agasinga okutunda ggolodi ku katale k’ensi yonna wadde ate tegoogerwako ng’agasinga okumusima mu nsi yonna nga kino kitegeeza nti bonna bamuggya Congo.
M7 ALINA OKUFIIRAWO, N’AMAFUTA GEENGEDDE
Ono anyonyodde nti amawanga gonna agalwana e Congo ng’oggyeko Uganda agasinga gateekawo ebitongole ebirondoola eby’obugagga ebibbibwa e Congo nga birina okubeera nga bigatta ku ggwanga kubanga bakozesa ssente za ggwanga okulwana olutalo olwo nga kino kyakolebwa okulemesa abantu ssekinnoomu okubigaggawaliramu nga abantu.
Uganda okutandika okusima amafuta n’okugatambuza obulungi, Kivumbi ategeezezza nti Congo erina okubeeramu emirembe kubanga enzizi ezisinga mwegagenda okusimwa ku nnyanja Albert ziriraanye Congo.
OMUKUGU AWABUDDE
Charles Rwomushana omutunuulizi w’ensonga ategeezezza nti Museveni alina okulwana enyo okunyweza e South Sudan ng’atya nti abakulembeze ababi bwe bakwata obuyinza bayinza okumulemesa okusima amafuta ge [nga bw’alumiriza nti mafuta ge] ng’alumiriza nti waliwo Abawalabu abagagga abasiima amafuta e Sudan abeegwanyiza n’aga Uganda.
Abagagga bano balina pulaani nti basobola bulungi okugatta omudumu ogugenda okutambuza amafuta agava e Uganda okugugatta ku gutambuza agasimwa eS outh Sudan okugatwala e Sudan y’omumambuka nga ddiiru eno ebeera esala Abazungu.
Uganda yateeka dda omukono ne kampuni y’Abafaransa Total okuzimba omudumu ogugenda okutambuza amafuta ga Uganda nga gayita e Tanzania okugatuusa ku katale nga Ddiiru eno Abawalabu gye baagala okuyiwa.
LWAKI M7 NE KAGAME TEBEESIGA RAILA ODINGA NE MACHAR
Kivumbi ategeezezza nti Museveni obulamu bwe bwonna alwanye nyo okulaba nga Raila Odinga takwata buyinza mu Kenya ng’amutya nti ayinza okukozesebwa Abazungu okumugoba ku bwapulezidenti.
Ono anyonyodde nti Raila alina endowooza nti mu Africa ekiseera kituuse abakulembeze bamukwata mmundu bave mu buyinza abantu ba bulijjo batandike okwerondera bapulezidenti baabwe abatalina byafaayo byakuwamba buyinza nga bakozesa emmundu.
Kivumbi ategeezezza nti Raila yawerezaako ne ssente mu Uganda okuyambako okuzimba obukulembeze obutambulira mu nkola ya demokulasiya nga kino Museveni ne Kagame tebakyagala.
Ono okwogera bino nga Raila yaakalumiriza pulezidenti Silver Kiir owa South Sudan nti bweyagenzeeyo ku biragiro bya pulezidenti Dr William Ruto owa Kenya okwetegereza embeera y’obutakkaanya bwalina n’omumyuka we Dr. Riak Machar Teny gweyasibira mu maka ge, yagambye nti okusisinkana omusibe olukusa alina kulufuna okuva ewa Museveni.
Sudan oluvanyuma yawakanyizza ebyayogeddwa Odinga wadde nga n’okutuusa kati tewali muntu yakkiriziddwa kusisinkana Machar nga ensonda zitubuulidde nti ono essaawa yonna waakuggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe.
Museveni bweyabadde e South Sudan wiiki ewedde, ensonda zitegeezezza nti Kiir yabadde amukkirizza okumusisinkana wabula nti Machar ye yaganye okumusisinkana ng’agamba nti ekyo si kye kyabadde ekiseera ekituufu okumusisinkana okwogera kunsonga z’eggwanga lye.
Ensonda zitubuulidde nti Ruto nga ssentebe w’omukago ogugatta amawanga ga East Africa South Sudan mweri nga mmemba, okusindika Odinga e South Sudan yakikoze ng’akimanyi nti alina obusobozi obukkiririzisa Machar okuteesa ne Kiir olwokuba baamukwano.
LWAKI KIIR YAGAANYE ODINGA OKUSISINKANA MACHAR
Kiir yatidde okukkiriza Odinga okusisinkana Machar ng’atya nti agenda kumubuulira ebyama ku busibe bwalimu abitwalire Abazungu bamuteekeko enninga y’okumusumulula ng’ayinza n’okumukozesa okuyunga abasajja be aba White Army abamulwanirako ku bagagga abalala abayinza okubateekamu ssente olutalo ne lunyinyitira.
BAPULEZIDENTI BA EAST AFRICA BATANDISE OKUPANGA OKULEETA ABAANA BAABWE
Ensonda zirumiriza nti e South Sudan, pulezidenti Kiir mu butongole yayanjulidde Museveni mukoddomiwe nnaggagga Dr. Benjamin Bol Mel gwayagala okumusikira ng’awummudde obwapulezidenti.
Mu kiseera kino Kiir embeera y’obulamu bwe tesanyusa ng’atambulira ku muggo nga n’amaaso ge tegakyalengerera wala nga y’ensonga lwaki ayagala omuko eyawasa muwalawe yaabeera amusikira ku bwapulezidenti ng’ensonda zitegeezezza nti kino kisoboka bulungi kubanga y’omu ku bamyuka be.
Ensonda zitegeezezza nti eno y’ensonga lwaki Machar alwana kubanga akimanyi nti Kiir ayagaliza mukoddomiwe entebe nga yagezaako nadda okumulayiza mu nkukutu nga ssaabalamuzi wabula n’abalemesa.
Kiir waayanjulidde mukoddomiwe nga ne Gen Muhoozi yalangirira dda nga bwali omwetegefu okusikira kitaawe ku bwapulezidenti ng’awummudde nga okwogera bino nga Museveni yalabula dda abali bw’enguzi mu gavumenti ye nti Muhoozi bwanaakwata mu kintu bajja kumuwulira nti ye mukambwe ku bali b’enguzi nga talina kisa nga ye nti olumu abasonyiwa.
E RWANDA KAGAME AKUKUSA MUTABANI WE
E Rwanda, ensonda zirumiriza nti Kagame ategeka mutabaniwe omu ku bakomando abamukuuma Ian Kagame okumusikira ku bwapulezidenti.
Ensonda zirumiriza nti enteekateka eno Raila, Machar, Dr Kizza Besigye balwana nyo okulaba nga tetuukirira nga batya nti bwetuukirira kigenda kutondawo obukulembeze bw’ensikirano mu Uganda, Rwanda ne South Sudan.
KAKENSA W’AMATEEKA KY’AGAMBA
Omusomesa w’amateeka e Makerere yunivasite Dr Godber Tumushabe ategeezezza nti ekirina okusooka okukolebwa be bapulezidenti mu Africa okuteeka akazito ku Kiir ne Machar okukkaanya bamalewo obutakkaanya bwabwe nga ne bwekibeera kubawera kwetaba mu nkung’aana z’amawanga kikolebwe okusobola okutaasa okuyiwa omusaayi okugenda mu maaso mu mawanga gaabwe.
Ono anyonyodde nti mu 2018, Machar yagezaako okugaana okuteeka omukono ku ndagaano y’okukkaanya ne Kiir olwokuba Abazungu bali bamuwaga, wabula Museveni n’alagira nti bwatakikola bamukwate bamusibe mu kkomera, bwabeera akozesezza empaka okudda e South Sudan baleme kumukkiriza abeere mu buwang’anguse ng’akazito kano ke kaamuwaliriza okuteeka omukono ku ndagaano ne bamufuula omumyuka wa pulezidenti asooka.


