SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yasindise musajjawe ow’okulusegere era omuwabuziwe ku nsonga z’omu Lubiri munnamateeka Apollo Nelson Makubuya e Kenya okubaako ensonga ez’enkizo zaamaliriza.
Ensonda mu Lubiri e Bbanda zikakasizza ONO BWINO nti wadde ensonga enkulu eyatutte Makubuya e Kenya kwabadde kutwalira munnabyabufuzi Raila Odinga obubaka obwamuweerezeddwa mukwano gwe Kabaka ng’abamu bateebereza nti yabadde amuyita abeewo ku mikolo gy’ebikujjuko bye okuweza emyaka 70 egy’obuto omwezi guno.
Singa Odinga anaalabikako ku mazaalibwa ga Kabaka, gugenda kubeera mulundi ogw’okubiri ng’abeera ku mikolo gya Kabaka ng’omugenyiwe ow’enjawulo. Wabula ng’oggyeko eby’ebikujjuko by’amazaalibwa, ensonda zitubuulidde nti mu butongole Kabaka yaweereza Raila obubaka obumutegeeza nti mutabaniwe alindiridde Nnamulondo ya bajjajjabe Omulangira Richard Ssemakookiro asomera mu Kenya.
Ensonda zongeddeko nti ku ntandikwa ya 2025, Kabaka yasindika Ssemakookiro okusomera mu limu ku masomero agasinga okusomeramu abaana b’abagagga abaakolamu n’abakungu mu nsi yonna e Kenya.
Ono okutwalibwa e Kenya baamuggya mu ssomero ly’omugagga Sudhir Ruparelia erya Kampala International School (KISU) ng’eno gyeyatandikira okusoma oluvanyuma n’atwalibwa e Budo Junior gye baamuggya okumuzza e KISU ng’eno gyeyava okutwalibwa e Kenya.
Ssemakookiro okumuggya e Budo ng’amaze okubatizibwa era eno yali asomerayo n’omutaka Adnan Kalibbala omukulu w’ekika ky’enseenene nga y’omu ku baali basinga okubeera mikwano gye n’abaana wamu n’abazzukulu b’abakulu b’ebika mu Buganda.
ONO BWINO akitegeddeko nti enteekateeka zikyaliwo ez’okutwala Ssemakookiro e Bungereza okweyongerayo n’emisomo gye nga kitaawe ne jjajjawe Ssekabaka Sir Edward Luwangula Mutesa nga bonna baasomerayo n’abaana b’engoma abalala.
Kabaka bweyabeerera omulwadde, obuvunanyizibwa ku Ssemakookiro bwonna yali abukwasizza muto we gw’asinga okwagala Omulangira David Kintu Wasajja nga bweyamutwala e Buddo eby’okwerinda by’essomero byayongerwa okunywezebwa wadde nga waliyo n’abaana n’abazzukulu b’abanene ng’aba pulezidenti Yoweri Museveni, bazzukulu ba Ssaabalamuzi Owiny Dollo n’abalala.
Ensonda zongeddeko nti enteekateeka zikolebwa Ssemakookiro okwetaba ku mikolo gy’okujaguza amazaalibwa ga kitaawe.


