Obufere Mu Kununula Obugagga Bwa BMK: Bamulekwa Bawunya Kkomera Lwa Kujingirira Mukono Gw’abakozi Ba Kabaka

MUNNAMATEEKA era omwogezi w’ekitongole kya Buganda Land Board-BLB ekivunanyizibwa ku kuddukanya ettaka ly’Obwakabaka, Denis Bugaya akakasizza ng’ebitongole by’eggwanga ebinonyereza ku buzzi bw’emisango bwe batandise okunonyereza ku bantu abaabadde emabega w’okujingirira emikono gy’abakungu mu Bwakabaka okusobola okubikozesa ng’obujulizi ku ntalo ezigenda mu maaso ku mmaali y’omugagga omugenzi Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK).

Sengooba Alirabaki
3 Min Read

MUNNAMATEEKA era omwogezi w’ekitongole kya Buganda Land Board-BLB ekivunanyizibwa ku kuddukanya ettaka ly’Obwakabaka, Denis Bugaya akakasizza ng’ebitongole by’eggwanga ebinonyereza ku buzzi bw’emisango bwe batandise okunonyereza ku bantu abaabadde emabega w’okujingirira emikono gy’abakungu mu Bwakabaka okusobola okubikozesa ng’obujulizi ku ntalo ezigenda mu maaso ku mmaali y’omugagga omugenzi Bulaimu Muwanga Kibirige (BMK).

Bugaya ategeezezza ng’Obwakabaka bwe bwawalirizza olumu ku mpapula z’amawulire mu ggwanga okwetonda oluvanyuma lw’okufulumya ekirango nga kiteereddwako omukono gw’akulira BLB omukungu Simon Kaboggoza nga kinyonyola nga Obwakabaka bwe bwabadde bwatadde envumbo ku ttaka ly’omugenzi BMK.

Ono ategeezezza nti bo ng’Obwakabaka ekirango ekyafulumidde mu mawulire tebakimanyiko wadde nga bakkiriza nti ettaka eryogerwako erisangibwa ku Kyadondo Block 273 Plot 46 ne 44 ku Mulamula Road ne Kyadondo Block 254 Plot 770 e Kansanga n’ekibanja ekisangibwa e Katuuso mu Makindye Division mu kibuga Kampala lyakyusibwa mu bufere.

Bugaya anyonyodde nti ettaka eryogerwako lya Bwakabaka ng’omugenzi BMK baali baamuwaako liizi nga bakkanyizza mu ndagaano nti talina kulitunda oba okulyewolerako nga tasoose kwebuuza ku Kabaka oba abakulu mu kitongole kya BLB ekintu ekitaakolebwa.

Ono ategeezezza nti baasaba omuwandiisi w’ebyapa okusazaamu ebyapa byonna ebyakolebwa ku ttaka n’ekibanja ky’omugenzi BMK ng’alumiriza nti byonna ebyakolebwa byali bimenya mateeka nga byalimu n’obufere wabula eky’okuteeka ekiwandiiko mu mawulire nga kuliko omukono gw’abakulu mu Bwakabaka kyo tebakimanyiiko.

Bugaya akkiriza nti Haruna Kalule Muwanga omu ku bamulekwa ba BMK baamugobesa ebbaluwa gyeyali abatwalidde mu BLB ng’akakasa nti yali ewandiikiddwa omugenzi kitaawe ng’asaba Kabaka amubeerere wakisa akkirize ebiwandiiko byonna byeyawandiika ku ttaka eryo biteekebwe mu mannya ga mutabaniwe gweyali abasindikidde.

Ono anyonyodde nti mulekwa baali baakamugobesa ebbaluwa ate ne bafuna ebbaluwa endala okuva mu banka ya Equity nga nayo esaba bakkirize mulekwa y’omu okwewolera ku ttaka n’ekibanja kya kitaawe ekintu era kye baagaana nga beekengedde nti muyinza okubeeramu obufere.

Bugaya ayongeddeko nti bonna abagula eby’obugagga bya BMK balina okukimanya nti bakikola mu bumenyi bw’amateeka olwokuba tebafuna lukusa okuva ewa nanyini ttaka Kabaka Mutebi.

Bino we bibeereddewo nga Ali Kibirige Muwanga omusika wa BMK alwana okutaasa obugagga bwa kitaawe banka ya Equity, Yeko n’omugagga Balaam Bagaruhare nga ye minisita w’abavubuka n’abaana babiremeddeko okubitwala nga balumiriza nti baagala kununula ssente zaabwe bamulekwa ze baabyewolerako.

Kkooti bano yabakkiriza dda okukozesa bawanyondo okununula ssente zaabwe nga bayita mu kutunda obugagga bwa BMK ku nyondo wadde nga pulezidenti Museveni yali yasuubiza okutaasa bamulekwa.

Balaam alumiriza nti bamulekwa ba BMK bafere abataagala kusasula ssente zaabwe ng abo abaabawola obuwumbi obusoba mu 4 pulezidenti Museveni bweyabawa okusasula ku mabanja bazikozesaamu byabwe, wabula n’awera nga bwagenda okutunda ebimu ku by’obugagga bya BMK.

 

Share This Article