Okisanga Mu Bbaala: Engeri Amabaala Gye Gasudde Abayimbi Mu Bizibu Okuviira Ddala Ku Radio, Nina Roz…

KALIRUGAMBO ayitibwa Ssenga Acid, gyebuvuddeko yavaayo n’alangira ebbaala ya Shan e Munyonyo nga bw’ekulembedde mu kwonoona obulamu bw’abayimbi n’abavubuka anti bo essira baaliggya ku mwenge ne baliteeka ku kutunda enjaga.

Editor Ono Bwino
4 Min Read
Omuyimbi Nina Roz. Mu katono be bagenzi AK 47 ne Mowzey Radio
KALIRUGAMBO ayitibwa Ssenga Acid, gyebuvuddeko yavaayo n’alangira ebbaala ya Shan e Munyonyo nga bw’ekulembedde mu kwonoona obulamu bw’abayimbi n’abavubuka anti bo essira baaliggya ku mwenge ne baliteeka ku kutunda enjaga.
Agamu ku mabaala bannayuganda ge basonzeemu olunwe agoonoonye ennyo abayimbi n’ebitone byabwe mwemuli; H2O, Casablanca, Sweet Kid’s bar e Makindye ne Xhub.
Omuyimbi tasobola kwewala bbaala olwensonga nti bizinensi y’enyimba etambulira nnyo mu bbaala, okugeza gye baggya ababakwasizaako omulimu gwabwe ng aba DJ abakuba ennyimba, bamaneja ne bapulomoota era beesanga nga balina okuberayo ne bw’abeera nga wa nzikiriza ya Kisiraamu. N’omuyimbi Darx Kartel Omuryeruba amabaala yagayimbako mu luyimba lwe ‘Baatuzaala mu bbbaala’ ng’alombojja ebibeerayo.
EBIBEERA MU BBAALA OLEMWA
Bingi ebikolebwayo okugeza abamu bagendayo mu bbaala kufuna ssanyu, abalala bagendayo kukola bizinensi era ojja kwesanga ng’abategeka ebivulu ate be banannyini mabaala. Kizibu nnyo okusanga omuyimbi obutaba na bbaaala waakasibira naddala nga talinaayo kivulu oba ng’avudde mu kivvulu anoonya w’awummulira.
ENJAGA MU MABAALA
Amabaala gaayingiramu omulimu gwokutunda enjaga anti abanywi baayo gye beesanga nga bakkirizibwa okukola kyonna kye baagala omuli n’okufuuyirawo emisokoto gyayo era omuntu yenna ayanguyirwa okuyisaawo ekikuba kyonna ky’aba ayagala.
Ennaku zino n’abakukusa ebiragalalagala babeera nnyo mu mabaala awasinga okukyakalirwa abavubuka ate nga ne nnannyini kifo aba akimanyiiko. Osanga mu bbaala ezimu ng’oli bwatumya omwenge bwatumya n’enjaga.
Engeri gyekiri nti omulimu gw’okuyimba si mwangu era abayimbi gubateekako akazito, beesanga ng’ebbaala kyekifo era webawulirira eddembe.
MUTABANI WA CHAMILLI YAMUYISIZZAAMU EGGAALI LWA TTAMIIRO
Okugeza gyebuvuddeko, mutabani w’omuyimbi Jose Chameleon -Abba Mayanja yavaayo n’avumirira ettamiiro lya kitaawe. Omu ku baamwanukula yanyonyola nti Chameleon okuva famire ye lweyamulekawo, ennaku ye yasigaliza kugisindira mu bbaala, anti ne Daniella yamunobako n’addukira mu Amerika. Chammilli amanyiddwa ng’omu ku bayimbi abasinga okuwoomerwa kasigala, era bw’afuna ekifo ng’ebbaala ng’amufuuyira omwo okuwummuza ku birowoozo.
AK47 AFIIRA MU BBAALA
Mu mwaka gwa 2015, omuyimbi AK 47 yasangibwa ng’afiiridde mu bbaala ya DEJAVU e Kansanga. Kigambibwa nti ono yakubibwa ate yasangibwa atamidde omwenge n’ebiragalalagala.
RADIO AFA MU BY’EKISIRU?
Mu mwaka gwa 2018, omuyimbi Mowzey Radio yakubwa bbawunsa mu bbaala ya De Bar ku luguudo lw’e Entebe. Bbaawunsa yamusitula mu bbanga n’amukuba wansi ekyamuviirako okuwunga bw’atyo n’afa.
Kigambibwa nti mutabani wa Bebe Cool omukulu, Allan Hendrix Ssali naye yaggyibwako ewaka ng’atawanyizibwa okunywa ennyo omwenge n’okukozesa  ebiragalalagala.
FILLE MUTONI YAVAAYO LWATU
Omwaka oguwedde, omuyimbi Fille Mutoni yavaayo n’alangirira ng’ebiragalalaga bwebyali byefuze obulamu bwe okumala emyaka mukaaga. Okusinziira ku g’omunkuubo, ono ebiragala yabitandikira mu bbaala.
Nti Nina Roz ye yasingayo essimu mu biseera ebyo ng’enjaga ekyafuga obulamu bwe. Kigambibwa nti ebyo byali mu bbaala emu ku luguudo lwe Salaama.
ABAKAZI BAKYEKOLA MU MABAALA
Amabaala era bifo byankizo nnyo abayimbi abakyala gyebasanga ababateekamu ssente anti eno gyebasanga abasajja abaakolamu ababasigamu ‘enthimbi’ kubanga ebiseera ebisinga enyimba naddala ku muyimbi atandika teziyingiza bulungi ssente. Munabyabufuzi Apollo Kantinti eyo gyeyasanga omuyimbi Shamim Namawa ne bagwa mu mukwano omuzibu anti ne Katinti munywi wa lulango. Bw’obeera oyagala omukazi anyirira ow’okwesanyusaamu wabula nga kibeera kizibu okutuula mu maka, era olina kumusanga mu mabaala ebiseera ebisinga.
Engeri gyekiri nti abayimbi baba bakoze erinnya, bwagenda mu bbaala newankubadde abeera talina luyimba luliko, aweebwa omwenge ogw’obereere, na’nywa n’agangayira. Kati bwasanga ng’enjaga mu bbaala eyo abantu baginywa teri abakuba ku mukono, awo naye ayanguyirwa era bwatyo bwagenda ava ku mulamwa era muddamu okuwulira nti yagwa eddalu.
BALAAM AYOGEDDE
Minisita w’abaana n’abavubuka, Balaam Barugahara ategeezezza nti ensonga y’ebiragalalagala mu bbaala z’e Kampala ekwatibbwako na maanyi era mu kaseera kano eri mu kunonyerezebwako ekitebe kya Poliisi ekya bambega e Kibuli n’ebya seculite ebirala era ekiseera ssi ky’awala ng’abeeyingira mu muze guno bagenda kukwatibwa.
Share This Article