AKASATTIRO keeyongedde mu bavuzi ba BODA olw’ekibiina kya boda boda ekipya ekyatongozeddwa kyebagamba nti ebigendererwa byakyo bifaananira ddala ebyaliwo ku mulembe gw’ekiwayi kya boda boda 2010 ekyali kikulemberwa omusajja omukambwe Abdallah Kitattta.
Ekibiina ekyatongozeddwa kiyitibwa United Boda Boda Riders Cooperative Union nga kikulemberwa Frank Mawejje agambibwa nti y’omu ku baali abakulembeze mu kiwayi kya boda boda 2010. Omukolo gw’okutongozza ekibiina kino gwakoleddwa minisita wa gavumenti z’ebitundu Raphael Magyezi ku Serena Hotel mu Kampala. Ku mukolo gwe gumu, ab’ekiwayi kino bagguddewo SACCO gye baatuumye National Boda Boda Development Model nga minisita Magyezi yabateereddemu obukadde 10.
Kigambibwa nti SACCO eno egenda kuyimirirawo ku ssente ezigenda okusoloozebwa mu ba boda boda nga buli wa boda mu ggwanga lyonna yalagiddwa okusasula nnusu 1000 buli lunaku, wiiki 5000. Ssente zino buli owa boda agenda kuzitwala ku ofiisi ya SACCO ezaateereddwa mu bitundu ebyenjawulo. Owa boda anaalemererwa okusasula ssente zino ajja kukwatibwa avunaanibwe, piki piki ewambibwe ekitadde aba boda mu kusattira n’okwemulugunya nga bagamba nti ebigendererwa by’ekibiina kino bifaanagana n’ebya Boda Boda 2010 gye balumiriza nti yabalabya ennaku, abamu ne battibwa, okubbibwako boda, okusalibwako engalo.
EBITIISA KU BAKULEMBEZE N’ABANENE ABAKUTUZI BA DDIIRU BE BAAWADDE AGAFO
Frank Mawejje ono yalondeddwa ku bwa ssentebe, wabula mu 2010 ye yali akulira ekiwayi kya boda boda 2010 mu Kawempe era bagamba nti musajja mukambwe singa abeera alina ky’agoba. Siraje Mutyaba ono y’amyuka Mawejje, abamanyi Mutyaba bagamba nti KCCA n’ebitongole bya securite gwebikozesa nga mbega okumanyisa securite abamenyi b’amateeka, Rashid Kawaawa, ye mwogezi -ono yasimattuka okuyoolebwa securite ku bigambibwa nti y’omu ku baali batulugunya aba boda, Fred Ssenoga ono ye dayirekita wa Baasi za Tondeka, era yaliko mu kibiina kya UTODA ekyatulugunya ennyo aba ttakisi wabula ewali ddiiru erinnya lye libeerawo nga mu boda yaleeteddwa ng’omuwi w’amagezi wa SACCO, David Luyimbaazi Sali eyali amyuka akulira KCCA ng’abadde yaakava mu kkomera e Luzira ku misango gy’okulagajjalira kasasiro w’e Kiteezi n’atta abantu abasoba mu 35, kigambibwa nti obulagajjavu bwava ku ssente ezisoba mu kawumbi ze beezibika, bakkansala ku City Hall baggyirayo Luyimbaazi ennyondo nga baagala okumukuba nga baagala abalage aba China KCCA beyali ewadde ddiiru y’okukola enguudo mu Kampala.
BABAZA SSENTE ZA M7 EZ’AKALULU?
Kyokka abamanyi eby’omunda batubuulidde nti abatandisi b’ekibiina kino babaza ssente za pulezidenti Museveni zaagenda okuyiwa mu bibiina by’obwegassi byagenda okusisinkana ng’anoonya akalulu ka 2026 era y’ensonga lwaki baleese minisita Rapheal Magyezi eyabadde omugenyi omukulu nga baagala abapangire ddiiru ebatuusa ewa Museveni bamukube oluseke. Magyezi yasuubizza abakulembeze ba boda nti gavumenti nneetegefu okubakwatirako okubayamba okwetandikirawo bbanka mwebasobola okwewola ssente bawone kampuni ezibawola piki piki ku buseere.
Mu kalulu akawedde aba boda baalumiriza Charles Ndugwa omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za boda boda okubakung’aanya n’abatwala ewa pulezidenti kyokka pulezidenti weyabawa ssente beekulakulanye Nduggwa n’azibabbako n’abasuulawo.
BALEESE LOOYA ATABWEKEBERA Abakulembeze b’ekibiina kino baakansizza munnamateeka w’omu Kampala Fred Muwema nga munna mateeka waabwe abawolereza emisango egiyinza okubaggulwako. Ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kino, Muwema yalabudde nga bwagenda okusiba abanaavaayo okuwakanya emirimu gy’ekibiina kubanga byonna ebyakoleddwa okutandika ekibiina kino byayise mu mateeka.
ABAKULEMBEZE BEEWOZEZZAAKO
Frank Mawejje ssentebe w’ekibiina ekipya awakanyizza ebyogerebwa nti bazze kutulugunya bavuzi ba boda boda n’ategeezza nti ekyabakozesezza SACCO baagala kugoba kampuni ezibawola piki piki ku buseere kubanga kampuni zino zibawola piki piki ku bukadde 6 kyokka ne bazzaayo obukadde 11 ekibadde kibanyigiriza naye kati batandiseewo SACCO mwebagenda okutereka ssente ze bajja okwewola nga basubira nti singa pulaani yaabwe enaagaziwa basuuubira okukola bbanka ya boda boda mwebajja okwewolera ssente ku kibanja mpola. Ku nsonga y’abanene abaaleeteddwa mu kibiina ekipya, Mawejje ategeezezza nti buli munene yaweereddwa obuvunanyizibwa mu kibiina okusobozesa ekibiina okutambula obulungi so si nti bazze kukutula ddiiru.


