Giwunye! Ebitiisa ku Genero omukambwe gwe baleese okubala akalulu ka 2026…

PULEZIDENTI Museveni ng’akolera ku kuwabulwa kwa Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi we ow’okuntikko ku bikwekweto ebyenkizo, era mutabani we, aleese Maj Gen Don William Nabasa okukuliramu ekitongole ekigatta okuteekerateekera n’okubala embeera z’ebyokwerinda mu bitongole by’ebyokwerinda byonna mu ggwanga ki ‘Joint Staff Policy and Strategy’.

Kisekka Ronald
6 Min Read
Maj Gen Don William Nabasa

• Mbega alabudde ku kibalo kya M7 okuyiwa amagye asibe aba Opozisoni

PULEZIDENTI Museveni ng’akolera ku kuwabulwa kwa Gen Muhoozi Kainerugaba omuduumizi wa UPDF era omuwabuzi we ow’okuntikko ku bikwekweto ebyenkizo, era mutabani we, aleese Maj Gen Don William Nabasa okukuliramu ekitongole ekigatta okuteekerateekera n’okubala embeera z’ebyokwerinda mu bitongole by’ebyokwerinda byonna mu ggwanga ki ‘Joint Staff Policy and Strategy’.

Ensonda mu securite zibuulidde ONO BWINO nti Maj. Gen Nabasa bamuwadde ebiragiro okukola pulaani ebitongole bya securite byonna omuli n’ebikessi gyebirina okugoberera okukakasa nti akalulu ka 2026 tekabeera ka bunkenke nga bwekyali mu 2021.

ONO BWINO akitegedde nti Museveni okulonda Gen Nabasa, yafunye lipooti ya bambega nti waliwo olukwe amawanga g’Abazungu lwe baluse okupangisa abamu ku Bannayuganda abakomyewo okuva mu mawanga ga Buwalabu naddala Iraq gye baali bagenda okukuba ekyeyo nga bakola emirimu gya seculiko okukuba amasasi mu bawagizi b’oludda oluvuganya olwo beekwase abasirikale ba gavumenti.

Bambega bakakasizza nti waliwo akabinja mu ggwanga akakukusa emmundu okuva mu mawanga okuli South Sudan, Congo ne baziyingiza mu mu Uganda mu bumenyi bw’amateeka nga zino ze zikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka ng’okulumba abasuubuzi ne bababbako ssente n’okubatta nga securite erina okutya nti ziyinza n’okukozesebwa okutabula akalulu ka 2026.

Pulezidenti Museveni mu bubaka obuyingira omwaka 2025, yategeezezza nti UPDF yalemesa olukwe olwali lulukiddwa Abazungu ne bannaabwe mu opozisoni okutta abavubuka abeeyiwa ku nguudo okwekalakasa nga bawakanya obuli bw’enguzi obuyitiridde mu bakozi bagavumenti naddala mu palamenti nga baagala sipiika Annet Anita Among n’abanene abalala okuli ne bakomisona nga Mathias Mpuuga okulekulira ebifo byabwe olwokwenyigira mu bikolwa by’obuli bw’enguzi nga bakozesa abakugu mu kukozesa emmundu abaali bakuba ekyeyo mu Iraq.

EBY’OKWEKALAKAASA E KENYA BYABADDE BIJJA MU UGANDA
Museveni yanyonyodde nti akakodyo kano abantu be bamu ke baakozesa mu Kenya mu kwekalakaasa okwaliwo mu 2024 ng’abavubuka ab’omulembe guno oguliko abamanyiddwa ng aba ‘Geneneration Z- Gen Z’ nga bawakanya etteeka ly’omusolo pulezidenti William Ruto owa Kenya lye yali aleese. Museveni alumiriza nti Abazungu be baakuma omuliro mu bavubuka abo era be baategeka n’akabinja akatta abeekalakaasi abasoba mu 50 wabula si basirikale ba Kenya.

Mu 2021, Museveni alumiriza nti Abazungu nga bakolagana n’aboludda oluvuganya wamu ne pulezidenti w’eggwanga erimu eryokumulirwano baayingiza mu Uganda bakkomando be baali bategese okutta abawagizi b’oludda oluvuganya nga babakubira amasasi ku nguudo olwo batabangule akalulu ka 2021 n’okumulemesa okulayira mu kampeyini gye baatuuma ‘Tajja Kulayira’, nga bangi baali balagiddwa okwekwata enfo waggulu ku bizimbe ebiwanvu mu Kampala ng’eno y’ensonga lwaki securite abantu bonna ku bizimbe ebiwanvu mu kiseera ky’akalulu yagobayo abantu n’eteekayo bakkomando baayo bamutasubwa.

GENERO EYADUUMIRA AKALULU KA 2021
Ensonda zitubuulidde nti pulaani yonna ey’okunyweza securite mu kalulu ka 2021 yaduumirwa Lt Gen Kayanja Muhanga n’omugenzi Lt Gen Paul Lokech eyali omumyuka w’omuduumizi wa poliisi nga Gen Muhoozi y’alondola byonna bye bakola.

Mu kusooka Museveni obuvunanyizibwa buno abadde yabukwasa Maj Gen Bob Ogik wabula yeekyusizza n’abukwasa Maj Gen Nabasa abadde aduumira ekibinja kya UPDF 4 ekirwanyisa ababbi b’ente e Karamoja.

Museveni okusindika Maj Gen Nabasa e Karamonja ng’ababbi b’ente batabuse nga naye kennyini yasimattuka okufiirayo abakambwe bwe baasalako ekifo weyali asuze ekiro wabula mu December wa 2024 ng’alambula Karamoja yeebaza nyo Maj Gen Nabasa olw’okuzza emirembe e Karamoja n’ebitundu ebiriranyewo nga Teso, Acholi ne Lango.

GEN. NABASA AZZE ALINNYISIBWA AMADAALA
Maj Gen Nabasa nga tanatwalibwa Karamoja, yaduumirako eggye lya Special Forces Command (SFC) nga lino ly’erikuuma pulezidenti, famile ye, abantu ab’enkizo n’ebifo mu ggwanga, yaduumirako eggye ly’omukago gwa Africa eryali liryanyisa abakambwe ba Al-Shabab e Somalia ne poliisi ya Militale.

Maj Gen Nabasa y’omu ku bakomando Museveni baasinga okwesiga nga yatendekebwako mu America, Russia ne China.

Maj Gen Ogik yatwaliddwa Turkey okuduumira obukessi ku kitebe kya Uganda mu Turkey ng’enkyukakyuka zino bwezibeereddewo nga Dr Kizza Besigye ali mu kkomera ku misango egyekuusa ku kusekeeterera gavumenti ng’akolagana n’abanene mu UPDF ng’ekigendererwa kyakutta pulezidenti Museveni bawambe obuyinza ku lyanyi.

MBEGA ALEESE BWINO KU PULAANI YA M7 OKOMYAWO LDU N’OKUWERA BONDI

Charles Rwomushana omukugu mu nsonga za securite ategeezezza nti Museveni okutiisatiisa nga bwagenda okukonyawo abajaasi ba LDU okulwanyisa obubbi bw’ebisolo nga embuzi, enkokko, ente n’ebirime ng’emwanyi ne vanira akikola kunyweza byakwerinda mu kalulu ka 2026.

Ono anyonyodde nti Museveni alina okutya nti ab’oluda oluvuganya bayinza okutabangula eggwanga nga yeetaaga amagye okubeera ku byalo ng’alumiriza nti abapoliisi tabeesiga.

Ono awagiddwa Mubarak Munyagwa eyaliko omubaka wa Kawempe South ategeezezza nti Museveni agenda kuyita mu lukwe luno akwate abawagizi b’oludda oluvuganya ng’abalumiriza okwenyigira mu bikolwa by’obubbi ku byalo ng’endebe y’emwanyi, ente n’embuzi emu bigenda kukwasisa abavubuka bangi abatawagira gavumenti ye ng’ekigendererwa kyakubalemesa kwenyigira mu kalulu.

Museveni ng’awa obubaka obuyingira 2025, yalagidde poliisi obutaddayo kugaba kakalu kakweyimirirwa (Bond) eri abakwatiddwa ku misango gy’okwenyigira mu bubbi ku byalo nga yakakasizza nga bweyayogeddeko ne ssaabalamuzi Owiny Dollo n’amusaba n’abalamuzi obutayimbula bantu abo.

Wabula munnamateeka Kassim Male Mabirizi ategeezezza ONO BWINO nti obuyinza obw’okulagira poliisi okumenya ssemateeka ng’agigaana okukkiriza abateeberezebwa okuzza emisango okweyimirirwa ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso tabulina nga bwalina bwakuduumira UPDF yokka.

Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka wabula atukakasizza nti obuyinza obwo abulina era n’alumiriza Mabirizi okutambuza obulimba n’obutamanya kutaputa mateeka.

Share This Article