Akasattiro e Mmengo: Lwaki Kabaka Atwala Abataka e Bungereza…

ABATAKA abakulu ab’ebika mu Buganda bali ku bunkenke bw’amaanyi oluvanyuma lw’okufuna ekiwandiiko okuva ew’omukubiriza w’Olukiiko lwabwe omutaka Ssaalongo Augustine Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe ng’abalagira okwetegekera olugendo lw’e Bungereza.

Editor Ono Bwino
11 Min Read

• Mayiga agobye ba MP ba NUP Ssewungu, Kanyike ku CBS; Nsibambi atuuyana

ABATAKA abakulu ab’ebika mu Buganda bali ku bunkenke bw’amaanyi oluvanyuma lw’okufuna ekiwandiiko okuva ew’omukubiriza w’Olukiiko lwabwe omutaka Ssaalongo Augustine Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe ng’abalagira okwetegekera olugendo lw’e Bungereza.

Ekiwandiiko kye yatadde ku mukutu gwabwe ogwa WhatsApp, Mutumba yategeezezza abataka nga Kabaka bw’asiimye okukkiriza enteekateeka y’Abataka okugenda e Bugereza okusisibkana bazzukulu baabwe ng’abo bonna abaagala okugenda abalagidde okutwala ebiwandiiko byabwe mu ofiisi yaabwe ku Bulange okutudde ekitebe ky’Obwakabaka bwa Buganda. Oluvanyuma byakutwalibwa ew’akulira ebya pulotoko mu Bwakabaka omukungu David Ntege abyongereyo ku kitebe kya Bungereza mu Uganda okubyetegereza olwo baweebwe ebiwandiiko kwebagenda okutambulira.

Ekiwandiiko kyanyonyodde nti kino abataka balina okukikola obutasukka February wa 2025 nga kino kyakuyamba okuwa obudde abagenda okukola ku biwandiiko byabwe obumala nga basuubira okusimbula mu May wa 2025 okugenda ku lugendo bonna lwe beesunga mu Bazungu.
Omutaka Allan Nakirembeka Waliggo ng’akyakubiriza olukiiko lw’abataka, Kabaka yagaana abataka okugenda mu America n’omugenzi Hussein Kyanjo eyali omubaka wa Makindye West.
Kabaka yakkiriza abataka okulonda bazzukulu baabwe okubakiikirira mu mawanga g’ebweru wabula Mayiga bweyatwala Obwakatikkiro bano n’abawa ebifo mu bukulembeze bw’Obwakabaka nga bakolera wansi wa ofiisi ya minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga.

Omu ku baasoose okuwaayo empapula mu ofiisi y’Abataka ye mutaka Yusuf Mbirozankya Walusimbi omukulu w’ekika ky’effumbe.Ensonda e Mengo zitutakasizza ng’Obwakabaka bwe buli mu nteekateeka zonna wadde ng’Abataka balina okwesasulira ssente z’entambula era abasinga baatandise dda okutegeeza bazzukulu baabwe abalinamu ku kasente okubasonderako ssente z’entambula, ze banaakozesa nga bali ku lugendo, bye banaalya n’okulekera abantu baabwe ewaka.

Omu ku bataka atubuulidde nti buli mutaka agenda, ekitono enyo alina okusaasaanya obukadde 10 wadde nga basuubira Mmengo okubakwasizaako naddala bwekiri nti baliina essuubi nti e Bugereza basuubira okwogerezeganyamu n’abakulu e Mengo naddala Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi.

LWAKI MAYIGA ATEGESE OLUGENDO LW’ABATAKA EBWERU?
Ensonda zongeddeko nti Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’ali emabega w’olugendo luno ng’ayagala okulukozesa okumalawo obutakkaanya bwalina n’abamu ku bataka abaatandika edda enteekateeka z’okwekutula ku bukulembeze bwa Kabaka Mutebi gwebalumiriza okubasuulirira nga takyabafaako.

Mayiga e Bugereza asuubirwa okwogerezeganya n’abataka bano omu kw’omu oluvanyuma abasisinkane wamu wabula nga Kabaka ekinene enyo basuubira nti bagenda kwogera naye ku ssimu ng’e Bungereza tasuubirwa kubaayo mu buntu.

OBUTAKKAANYA BWA MMENGO N’ABATAKA GYE BWASIBUKA: Obutakkaanya bw’abataka bwatandika bwe bakkiriza Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo minisita omubeezi owa tekinologiya okubatwala ewa pulezidenti Museveni n’abagulira ettaka ku buwumbi 9 okuteekako enkulaakulana mu maaso ga Bulange nga bamaze okumukaabirira nga Kabaka Mutebi weyabeerabira nga bamusaba ettaka okwekulaakulanya n’alibamma.

Abataka okusobola okulumya Mayiga n’abakulu e Mengo, ettaka baaligula mu maaso g’ekizimbe kya Bulange kyenyini ng’omu ku bataka atubuulidde nti buli Kabaka Mutebi lwabeera ayita ku ttaka lyabwe alagira emmotoka ze okukendeeza ku misinde okusobola okwetegereza emirimu egikolerwako.

Abataka era baatambula ne bagenda e Namibia Obwakabaka gye bwali bututte Kabaka okufuna obujjanjabi n’okuwummulako nga tebafunye lukusa okuva e Mmengo, embeera eno yateekawo obunkenke wakati w’olukiiko lw’abataka n’obukulembeze bwa Mayiga, ebiragiro byaweebwa abataka abaagenda e Namibia ne bakwatibwa poliisi yaayo nga baalina okusooka okwenyonyolako enyo okusobola okuyimbulwa.

Ekikolwa kino pulezidenti Museveni yakivumirira nyo n’ategeeza nti kyaswaza nyo Uganda mu Namibia n’asaba bannayuganda naddala abataka okuwa Kabaka ekitiibwa ky’obuntu bamuwe akaseera awummule mu kifo gye baamutwala.

OLUTALO LW’OKUSUULA SACCO ABATAKA MWEBATEREKA SSENTE

Ensonda mu bataka zitubbiddeko nti ensisinkano y’e Bungereza egenda kubayamba abataka okumalawo obutakkaanya bwabwe bwe balina obubaleetedde n’okwerumiriza nti abamu ku bo balina ekigendererwa ky’okusuula SACCO yaabwe gye baatandikawo okwekulakulanya.

Balumiriza nti abataka abatakkiririza mu bukulembeze bwa Mutumba nga bano be baagenda ewa Museveni, nti baatandikawo enkola nga buli eky’emisana bwekituuka nga beesitula ne bagenda ku ofiisi zaabwe ku ttaka Museveni lye yabagulira ne batumya emmere ey’ebbeeyi etakka wansi wa mitwalo 5. Emmere bwe bagituusa nga balagira maneja wa SACCO okusasula nga kino kyabaleetera okusaasaanyanga ssente mu ngeri embi ekyaleetera Mbirozankya okulagira kikome.

OMUTAKA MUTESASIRA AYAGALA OKUWAMBA ETTAKA M7 LYE YABAGULIRA

Obutakkaanya abataka bwebalina n’omu ku bannaabwe omutaka Shaun Keeya Mutesasira Namuyimba akulira ekika ky’engo eyagezaako okuwamba ettaka Museveni lyeyabagulira ng’ayita mu lukujukuju nti bamusalireko akatundu azimbeko ofiisi.
Ono bazzukulu be abakulemberwamu omugagga wa Kyengo Hardware baamugulira ebizimbisibwa okuli omusenyu, seminti n’ebirala wabula abataka ne bamuteekako akakwakkulizo nti okumukkiriza alina kusooka kubawa ssente ezitaka wansi wa bukadde 100 nga zaakumupangisa ekifo waagenda okuzimba nga yalina okukikozesa obutasukka myaka 5.
Ono ssente ze baamusaba zaamubula olwo ebizimbisibwa byeyali aleese okuzimba ofiisi ye n’akkiriza bikozesebwe mu kuzimba ofiisi ennene kati zebali okuzimba ku ttaka lino.
Abataka ku ttaka lino ng’oggyeko we bazimba ofiisi zaabwe ezitannaggwa, ekitundu ekimu baakiwa muzzukulu waabwe banne gwe baakazaako ‘omulimi asinga’ alimireko ennyanya okusomesezaako bazzukulu baabwe bategeere engeri gyebasobola okulimira enyanya mu kifo ekifunda n’ogaggawala.

Ekifo ekirala abataka bakipangisa abagagga abateekawo bakanaabe aboolezaawo emmotoka, okusimbawo emmotoka ezipangisibwa, okuteekako obuyumba ewafumbirwa emmere nga bonna basasula, omu ku bataka atubuulidde nti emirimu gino gyakuyimirira amangu ddala nga Museveni abawadde ssente z’okutandika okuzimbako ekizimbe gaggadde okugenda okubeera ofisi zaabwe n’okukolerako obusuubuzi n’okukigaziya nga bagula puloti ezibeetoolodde okuli n’ekizimbe okuli ofiisi za Posta.

Enteekateeka zonna zikulembedwamu Mbirozankya wabula ensonda zitubuulidde nti okuva bweyali akulembeddemu enteekateeka z’okuggyamu Mutumba obwesige ng’omukubiriza w’olukiiko lw’abataka olwokukuta ne Mayiga, abamukkiririzaamu naye bamuteekako mbeera nga baagala okumugoba ku lukiiko olukulu okuteekerateekera okulakulanya ekifo Museveni kyeyabagulira nga balumiriza nti byakola bibaswaza.

MUTUMBA KY’AGAMBA

ONO BWINO agezezzaako okutuukirira Mutumba okubaako ky’ayogera wabula ng’amasimu ge agamanyiddwa nga tegakwatibwa.

OMUTAKA NAKIREMBEKA ATABUSE KU KABAKA

Jjajja Nakirembeka Waliggo, yalabudde abantu b’omu Buganda okwesunako olw’okubeera nga Kabaka agenda atereera obulwadde obumuluma, n’abasaba babeere baguminkiriza Kabaka ajja kuwona n’agamba nti Empologoma bw’ewuluguma abantu b’omu Buganda babeera basanyufu. Bino yabyogeredde mu kuziika Omutaka Dustan Luboyera e Nsangi- Kyambazzi ku Wiikendi. Luboyera yaliko omukungu wa Kabaka ow’ekitundu ekyo ng’omukolo gwetabiddwako ne Msgr. Gerald Kalumba, Owek. Edward Katimbo Mugwanya eyaliko Minisita w’ebyettaka mu Bwabaka n’abalala bangi. Nakirembeke, ye yeetisse obubaka bw’Omutaka w’Obutiko Gunju Matia Kawere eyakubirizza abaana abaakulembeddwamu Edward Katimbo okubeera obumu n’obutatunda ttaka lya taata waabwe ly’alese. Luboyera yalese abaana 11 n’abazzukulu abawera nga baamutenderezza okubeera omukkakamu n’okwagala Obwabaka n’ekibiina kya DP nti etali ya Mao.

EBYA BA MP SEWUNGU NE KANYIKE BIBI

Ensonda e Mmengo zitubuulidde nti Mayiga yawadde ebitongole by’Obwakabaka eby’amawulire okuli Leediyo ya CBS ne BBS Terefayina obutaddayo kukyaza ababaka okuli Joseph Ssewungu Gonzaga owa Kalungu West ne Evans Kanyike owa Bukoto East.
Bano Mayiga abalanga kwetuminkiriza ne bagenda e Namibia omwaka oguwedde okulambula Kabaka Mutebi nga tebafunye lukusa, ate nga yali amaze okutegeeza Obuganda nga Kabaka bwe yagendayo ku biragiro by’abasawo nga kaabula kata okubakwatirayo.
Bano baali baakavaayo n’abataka abakulu b’ebika ne bagendayo ekintu ekyateeka Mayiga ku mu kattu ng’abantu bwebamulumiriza okukweka Kabaka.

Ensonda e Mengo zitubuulidde nti Mayiga alina obusungu bungi ku bavubuka ba NUP baalumiriza nti baagwa mu katego k’abalabe b’Obwakabaka ne bamulumba ku mikutu gya yintanenti nga bweyakweka Kabaka. Okumanya Mayiga mukambwe eri Ssewungu, yalagidde aggyibwe ne ku mikutu gya WhatsApp egy’Obwakabaka ng’agamba ayinza okubabega.
Mayiga waayisirizza ekiragiro kino nga pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), alumiriza nti abakulu e Mengo tebamukkiriza kumukyaza ku mikutu gy’Obwakabaka egy’amawulire nga Meddie Nsereko Ssebulimba akubiriza pulogulaamu z’ebyobufuzi okuli Kkiriza oba Gaana ne palamenti yaffe, bwe baamubuuza lwaki takyaza Bobi Wine ng’ali e Bungereza, yategeeza nti Mayiga y’alina okwanukula ekibuuzo ekyo.
Mayiga yakakasa nti yakunya Nsereko olwokumulumiriza nti alemesa Bobi Wine ne bannabyabufuzi ba NUP okubeera ku mikutu gy’amawulire egy’Obwakabaka n’ategeeza ng’emikutu egyo bwegirina obukulembeze obwetongodde nga tayingira mu ngeri gye giddukanyamu emirimu gyabwe.

SSEWUNGU AKAKASIZZA

ONO BWINO bw’atuukiridde Ssewungu, atutegeezezza nti
“nagenda mu sabbatical year”. Father Anthony Musaala eyakyaka ennyo olwokuyimba enyimba z’eddiini mu gganduula, yatugambye nti mu Ekelezia balina enkola nti faaza bw’aweereza emmyaka 6, omwaka ogwomusanvu bagumuwa ekiseera naye awummuleko era kino bakikola basinziira kukuba nti Katonda yatonda ensi mu 6, olwomusanvu n’ewummula. Ayongeddeko nti agenda kumala akaseera nga talabikako ku mikutu gya Bwakabaka nga waliwo ensonga ez’enkizo zaatereeza naddala nga yeetegekera kampeyini za 2026.

Ono atubuulidde nga abalonzi be baamusabye okwesonyiwa CBS ne BBS amaanyi agamalire mu kukola ku bizibu byabwe ebibanyiga mu kitundu kyabwe nga eby’obulamu ebibi, ebyentambula n’ebirala. Ssewungu ategeezezza nti bwabeera waakudda ku CBS oba BBS waakuddayo mu kisanja ekijja ng’awangudde abamwesimbyeko abawagirwa abantu abawalana Bobi Wine ne NUP olwokwogera amazima.

EBYA YUSUF NSIBAMBI NABYO BIBI

Ensonda zitubuulidde nti ye omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, Mayiga akyamwagala ku mikutu gy’Obwakabaka wabula nti buli lwabeerako alina akasente kaalina okusasula, era w’osomera bino nga kaweze era bakamubanja.
Ono buli Lwamukaaga alina okubeera ku pulogulaamu ya palamenti yaffe ku CBS wabula ku luno olusembyeyo teyabaddeko. Alinako ne pulogulamu ekwata ku Mawokota empya ebeera ku CBS buli Mmande ng’ensonda zitubuulidde nti anonya ssente okusasula addemu okwegazanyiza ku mikutu gy’Obwakabaka nga banne okuli Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, akulira ekisinde ky’ebyobufuzi ki Democratic Alliance Mathias Mpuuga ne mukwano gwe Abed Bwanika ababeerako nga bakolokota Bobi Wine n’ekibiina kye ekya NUP.

 

BYA HADIJJAH NAMIGAMBE

Share This Article