JOHN KABANDA akulira ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya Federation of Uganda Traders Associations (FUTA) empalana gy’alina ku mukulembeze munne Thadeus Musoke owa Kampala City Traders Associations (KACITA) agitadde ku bbali n’alangirira nti agenda kumusaggulira akalulu ku kifo ky’obwa loodi meeya.
Ensonda mu basuubuzi zitubuulidde nti Kabanda okulangirira okunoonyeza Musoke akalulu, yasinzidde ku mikutu okwegattira abasuubuzi n’abakunga bonna mu Kampala okuwagira Musoke ku bwa loodi meeya kubanga y’amanyi obulumi abasuubuzi bwe bayitamu omuli emisolo emingi gavumenti gy’ebabinika egyagala okubagoba mu bizinensi, abatembeeyi abalejjesa emmali yeemu gyebatunda mu maduuka nga byonna Musoke ajja kubimalanga ng’atuuse mu ntebe.
AKAKUKU KA MUSOKE NE KABANDA KAVA WA?
Kabanda ne Musoke baludde nga beerwana nga Kabanda alumiriza Musoke n’olukiiko lwe mu kibiina kya KACITA okukukuta n’abanene mu bitongole bya gavumenti ne bayisa ebiteeso ebinyigiriza obusuubuzi n’ebigendererwa byabwe, ate Musoke alumiriza Kabanda okwesiba ku basuubuzi nga yeerangirira nga pulezidenti waabwe kyokka ng’abasuubuzi si be baamulonda ate nga taliina dduuka lyonna mu Kampala, wabula akozesa busuubuzi okukutula ddiiru ze.
ABASUUBUZI BEETEMYEMU
Akakuku k’ababiri bano, katemyemu abasuubuzi bangi ekiviiriddeko ebibiiina by’abasuubuzi ebiwerako omuli KATA, UATEA ekya Edward Ntale n’ebirala okumeruka ng’abasuubuzi bagamba bakooye okulwanagana mu bakulembeze baabwe.
KITUUFU KABANDA ABAZA MUSIMBI NRM GWEGENDA OKUWA MUSOKE MU KAMPEYINI?
Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr. Tanga Odoi yakasizza nti ku nsimbi obuwumbi 7 ze bakung’aanyizza mu bannabyabufuzi abeewandisizza okuvuganya mu k’akyenvu ka NRM ku bifo ebyenjawulo, bagenda kuggyako omutemwa gwebagenda okuwa abo abanaakwatira ekibiina bendera nga kati abamu kwekugamba olw’okuba Kabanda musajjja mujagujagu nnyo, abaza kufuna ku buwumbi NRM bwegenda okuteeka mu nkambi ya Musoke zimuyambeko ku kampeyini wadde nga baludde nga baagala kwetta olw’enjawukana zaabwe ze balina mu bukulembeze bw’abasuubuzi.
MUSOKE AKYALEMEDDE MU NTEBE
Bino we bijjidde nga Musoke akyagaanye okuwaayo entebe y’obwa ssentebe wa KACITA ng’abamu ku batuula ku lukiiko olw’okuntikko mu kibiina kino we baamulagira nga bamulumiriza okusuulawo obuvunanyizibwa bw’ekibiina ne yeemalira mu by’obufuzi ekizing’amizza emirimu mu kibiina nga baagala entebe bagifunire omulala atali mu byabufuzi.
Musoke, mu 2021, yeesimbawo ku kifo ky’obwa MP ekya Mukono North wabula n’awangulwa munna NUP, Abdallah Kiwanuka ‘Mulimamayuuni’, nga kati awera nti engeri gy’alina akakwate ku kisinde kya Gen. Muhoozi Kainerugaba, ajja kumusobozesa okuwangula mu buli ngeri.


