Fitina, Okufa N’obufere Mu Bank of Uganda: Bambega Bafunzizza Ba MP, Aba Minisitule Y’ebyensimbi Ababba Ssente Y’omuwi W’omusolo…

Ensonda ez’omunda mu State House, zitubuulidde nti yali Gen Salim Saleh eyalemera ku Museveni okugoba Muhakanizi mu minisitule y’ebyensimbi ng’ono okuwabulwa kwe kwawagirwa lipooti ezaakolebwa ebitongole by’eggwanga ebikessi ebyalumiriza nti obufere bwalimu bannabyabufuzi, bannamateeka ab’amaanyi mu Kampala n’abanene mu securite wabula nga bonna bakozesa Muhakanizi okuggusa misoni zaabwe.

Sengooba Alirabaki
8 Min Read

OKUGOBA omugenzi Keith Muhakanizi mu kifo ky’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, kyayamba pulezidenti Yoweri Museveni okuzuula engeri bamafiya munda mu gavumenti ye gye bakozesa minisitule y’ebyensimbi ne banka enkulu okufera obuwumbi bwa ssente y’omuwi w’omusolo.

Ensonda ez’omunda mu State House, zitubuulidde nti yali Gen Salim Saleh eyalemera ku Museveni okugoba Muhakanizi mu minisitule y’ebyensimbi ng’ono okuwabulwa kwe kwawagirwa lipooti ezaakolebwa ebitongole by’eggwanga ebikessi ebyalumiriza nti obufere bwalimu bannabyabufuzi, bannamateeka ab’amaanyi mu Kampala n’abanene mu securite wabula nga bonna bakozesa Muhakanizi okuggusa misoni zaabwe.

Okuwabula kwa Gen Saleh ne lipooti z’abakessi, baakyusa ekirowoozo Museveni kyeyalina eri Muhakanizi okumulonda okukulira banka enkulu okudda mu kifo ekyalimu omugenzi pulofesa Emmanuel Tumusiime Mutebile eyafa mu 2020.

M7 ALEETA GGOOBI MU MINISITULE Y’EBYENSIMBI

Muhakanizi, Museveni yasalawo okumutwala mu ofiisi ya ssaabaminisita ng’omuwandiisi w’enkalakkalira, mu minisitule y’ebyensimbi n’ateekayo Ramathan Ggoobi eyali omuyambi wa Gen Saleh. Omulimu omukulu gweyamuwa ogwasooka gwali gwakuziba miwaatwa bamafiya we bayisa nga ssente za gavumenti mu bufere.

KIZIBU OKUKWATA ABABBI!

Ensonda zongeddeko nti kyali kizibu okuzuula emiwaatwa abafere mwebayisa ssente ze babba mu ggwanika ly’eggwanga olw’obukugu bwebakozesa okugizimba, akajegere kaabwe kakolagana butereevu ne boofiisa mu ofiisi ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti, akulira eby’ensimbi mu gavumenti n’abanene mu palamenti.

Mu 2012, abaazimba obufere buno baafunamu obutakwatagana ng’ensonda zirumiriza nti kyava ku ngabana nga gye byaggwera nga Godfrey Kazinda omu ku baali ababalirizi b’ebitabo omukulu mu minisitule y’ebyensimbi nga bamuwaddeyo, ono baamuggulako emisango gy’obufere gy’akyawerennemba nagyo n’okutuusa kati mu kkooti z’amateeka ng’akyali na mu kkomera e Luzira.

Mu busungu obungi, Kazinda yagezaako okulonkoma abanene abalala beyali akolagana nabo mu bufere buno, wabula Museveni ekinene kyeyakola kwali kubakyusa n’abawa obuvunanyizibwa obulala mu bitongole ne minisitule za gavumenti era bakyakola.

Bano baagenda ne mukkooti okuwa obujulizi ku Kazinda ng’ensonda zitubuulidde nti kye baagala kwekulaba nga tava mu kkomera nga kino bakimuwa ng’ekibonerezo nga n’ebyobugagga bwe okuli amamotoka ag’ebbeeyi, ettaka n’ebizimbe kaliisoliiso wa gavumenti Beti Namisango Kamya yateekayo okusaba mu kkooti enkulu ng’ayagala bamuwe olukusa bitundibwe ku nyondo gavumenti okusobola okuzza ku ssente zaalumiriza Kazinda okufera.

Kazinda yagezaako naye okwerwanako n’atuukirira abamu kub aggaga mu nsi yonna mikwano gye n’agisaba okwogerezeganya ne pulezidenti Museveni ng’omu ku bo ye nnagagga eyali aguze tiimu y’omupiira e Bugereza eya Manchester City.

OMUGAGGA AKUBIRA M7 ESSIMU OKUTA KAZINDA

Omugagga wa Manchester City yakubira Museveni essimu n’amwegayirira okuyimbula musajjawe ng’alumiriza nti emisango gye baamuggulako mifumbirire kubanga banne mu minisitule y’ebyensimbi be bamulwanyisa olw’okubalemesa obufere. Wabula Museveni n’amutegeeza nga bwatasobola kusonyiwa Kazinda kubanga bambega be bamuwadde obujulizi obulaga nti obugagga bwalina asobola bulungi okubukozesa okusuula gavumenti ye.

LWAKI SSEMAKULA BAMWAGALA MU KKOMERA

Lawrance Ssemakula y’akulira eby’ensimbi mu minisitule y’ebyensimbi (Accountant General), y’omu ku banene mu minisitule y’ebyensimbi abaakwatiddwa ku bufere bw’obuwumbi 60 obwabbibwa mu banka enkulu, abagezi bwe baazibba nga bakozesa ebyuma mu ddakiika emu yokka, n’aggulwako emisango gy’obufere, obuli bw’enguzi n’asindikibwa e Luzira.

Abalala kuliko Paul Lumala, Jennifer Muhulizi, Mubarak Nsamba, Mark Kasuku, Tony Yawe, Deborah Kusiima, Betinah Nayebare ne Judith Ashaba, ensonda mu kitongole ekinonyereza ku misango mu Poliisi- CID, zitubuulidde nti bano okukwatibwa n’okutwalibwa mu kkooti nga fayiro yaabwe tennaggwa kyaddiridde okugwa mu lukwe nga bwe baabadde baagala okudduka mu ggwanga.

OLUKWE LW’OKUBBA SSENTE Y’OMUWI W’OMUSOLO LUGAZI

Ensonda zongeddeko nti obufere bw’okubba ssente za gavumenti lugazi nga lulimu abagagga Abazungu, abanene mu bitongole by’eggwanga ebikessi era amawulire agamu galaga nti abamu badduse dda mu ggwanga nga batya okubasiba.

Racheal Nakyazze omulamuzi mu kkooti y’abafere n’abali b’enguzi, yayisizza ekibaluwa okukwata Pedson Twesigomwe omumyuka wa kamisona w’okubala ebitabo mu minisitule y’ebyensimbi eyateekeddwa ku fayiro n’adduka ng’ensonda zirumiriza nti ono okutoloka yayambiddwako abanene mu bitongole bya securite ng’ayinza n’okuba nga yadduse mu ggwanga.

Ssemakula ne banne bwe baasimbiddwa mu kkooti wiiki ewedde, yasanze akaseera akazibu nga balooya b’abawawaabirwa abaakulembeddwamu Peter Kabste loowa ow’amaanyi mu kkampuni ya bannamateeka eya Kampala Associated Advocates (KAA) okulemerako nga baagala ekiwandiiko ekijjudde ekinyonyola emisango gy’abantu baabwe ekyabadde kitanaggwa okusinziira ku Richard Birivumbuka omuwaabi w’emisango gya gavumenti.

Ensonda zongeddeko nti abanene bangi mu gavumenti bakyakwatibwa ku bufere buno, wiiki ewedde ttiimu y’abawaabi ba gavumenti ng’ekulembeddwamu omulamuzi Jane Frances Abodo yalinnye ennyonyi okugenda e Poland, Bungereza ne Japan okwongera okuzuula obujulizi obusiba Ssemakula ne banne kubanga eno gye baabadde bayisa omunyago gwabwe.

Ensonda mu ofiisi ya ssaabawaabi wa gavumenti zitubuulidde nti ebiwandiiko ebinyonyola emisango gya Ssemakula, ssabawaabi waakubiwa balooya baabwe nga bakomyewo mu kkooti kubanga agenda kuba amaze okugatta obujulizi obwamuweereddwa bambega ba CID abaduumirwa Maj. Dr Tom Magambo ne bweyafunye okuva mu Bazungu gyeyabadde.

BUUBUNO OBUJULIZI OBUTIISA

Obujulizi bulaga nti ku buwumbi 60 ezabbibwa mu banka enkulu, akawumbi 1 n’obukadde 400 ze zitannanulibwa, ezisigadde ekitongole kya Financial Intelligence Authority (FIA) kyazinunudde okuva mu makampuni nga MJS Internation ey’e Bungereza ne Roadway Company Limited ey’e Poland, Abajapani be bakyebuzaabuza okusesema omunyago.

Ensonda zongeddeko nti kigenda kubeera kizibu Ssemakula okusimattuka emisango egyamugguddwako kubanga yakolagananga nyo n’omugenzi Muhakanizi wamu ne Kazinda. Abamuli ku lusegere batubuulidde nti kino naye abadde akimanyi nyo ng’abadde asabirira Katondawe awumule mu 2028 lw’aliweza emyaka 60 abakozi ba gavumenti kwebawummulira nga tanakwatibwa ekitaasobose.

Ensonda zongeddeko nti Ssemakula nga tanakwatibwa, yawandikira Museveni ebbaluwa ng’amutegeeza nga bwakolera mu bugubi, banne baakola nabo bamulwanyisa ng’amusaba ayingire mu nsonga ze ng’atya nti okulwanagana okwali kugenda mu maaso kwali kuyinza n’okumuviirako okusibwa mu kkomera ku myaka gye emikulu.

Ensonda mu State House zitegeezezza nti tewali bukakafu bulaga nti Museveni ebbaluwa ya Ssemakula yagiddamu, mu kutya okungi Ssemakula era yawandikira mukamawe Ggoobi ng’amutegeeza nga bweyali azudde obufere mu minisitule ye nga waliwo sente ze baali bagezaako okubba mu ggwanika ly’eggwanga nga zino ky’ekitundu ku buwumbi 60 ezabbibwa.

Ono mu bbaluwa gye yawandikira Ggoobi, yategeeza nti Twesigomwe ye yali amuwadde lipooti y’okugezaako okubba ssente mu ggwanika ly’eggwanga wabula bambega balumiriza nti kino Ssemakula yakikola okwagala okukweka obujulizi obumusiba ng’obufere bumaze okukolebwa alaga nti yabulengererawo n’aloopa mu bakama be ne batabaako kyebakola.

Wabula bambega bwe baabadde bakunya Ggoobi, ensonga zitubuulidde nti yeewakanye okufuna ku bbaluwa yonna okuva ewa Ssemakula ng’emulabula ku bufere buno wadde Ssemakula yali yategeeza bambega nti ebbaluwa ye Ggoobi yagifuna n’awandiikako buwandiisi nti akitegedde.

Ssemakula webamutwalidde mu kkomera nga minisita omubezi ow’ebyesimbi Amos Lugolobi yakalumiriza nga okulwanagana bwekuli okungi mu minisitule mwakolera nga yesonga lwaki ye bamugulako emisango gy’okuba amabaati agalina okutwalibwa eKaramoja ate banne okuli Henry Musasizi ne Matia Kasaija nebatabakwatako wadde nga nabo amabaati bagatwala.

OBWAVU BULUMA BAMAFIYA

Ensonda zitubulide nti abafere mu minisitule y’ebyensimbi ennaku zino obwavu bubaluma olw’emiwaatwa egisinga mwebabadde bayisa ssente z’obufere ng’okudumuula ssente enyingi mu bbajeti y’eggwanga zebabadde bagabana ne ba MP, bye bimu ku byakwasa omubaka omukyala ow’e Lwengo Cissy Namujju ne banne.

Obufere obulala abaminisitule y’ebyensimbi babadde babukolera mu sente gavumenti ze yeewola mu mawanga g’Abazungu n’ebitongole by’ensi yonna nga muno babadde bakwatagana n’abafere Abazungu ne baduumuula amagoba gavumenti g’erina okusasula, muno bateekamu n’ezaabwe.

TAGGED:
Share This Article