Olutalo Mu Paaka Enkadde: Omugagga W’omu Kikuubo N’owa Park Enkadde Mall Baagala Kwetta…

NNAGGAGGA Ahmed Zziwa nanyini kizimbe kya Skylight Shopping Arcade mu Kikuubo atutte mugagga munne Abdul Kasaayi owa Paaka Enkadde Mall mu kkooti ng'amulumiriza okuwamba emmaali ye.

Timothy Nyanzi
3 Min Read
Park Enkadde Mall

NNAGGAGGA Ahmed Zziwa nanyini kizimbe kya Skylight Shopping Arcade mu Kikuubo atutte mugagga munne Abdul Kasaayi owa Paaka Enkadde Mall mu kkooti ng’amulumiriza okuwamba emmaali ye.
Ensonda zitubuulidde nti olutalo lwa Zziwa ne Kasaayi, luvudde ku kukaayanira ttaka mu kifo ekimanyiddwa nga mu kajja, erisangibwa ku poloti 43 ku luguudo lwa Ben Kiwanuka mu Kampala okuliraana paaka ya ttakisi enkadde.
Kigambibwa nti omugagga Zziwa yaddukidde mu kkooti enkulu etaawuluza ensonga z’ettaka n’awawaabira Kasaayi okusaalimbira ku ttaka lye n’atandika okulikolerako, ettaka lino liriko abatembeeyi, obuyumba, abafumba emmere nga bonna kigambiwa nti Kasaayi y’abasolooza nga Zziwa ayagala kkooti emuyimirize.

Omusango guno guwulirwa omulamuzi Bernad Namanya owa kkooti enkulu ewulira emisango gy’engasi (Civil) era okusinziira ku nsala ya kkooti eyasalibwa nga 11/03/2025, omulamuzi yayisa ekiragiro ekiyimiriza buli kimu ekikolebwa ku ttaka lino, era n’alabula akulira akakikko k’ebyettaka mu Kampala obutagezaako kukyusa kyapa okukiggya mu mannya gekirimu okudda mu mannya amalala okutuusa nga omusango oguli mu kkooti gusaliddwa nga nanyini ttaka ly’akaggya omutuufu ategeerekese.

OMUGAGGA KASAAYI AZIIMUDDE EBYA KKOOTI

Kigambibwa nti omugagga Kasaayi ekiragiro kya kkooti yakiziimudde n’alemezaawo abantu mu kifo kino
era abamanyi ekifo kino bagamba nti Kasaayi akung’aanya buwumbi okuva mu mu kifo kino. Embeera eno yaviiriddeko oludda lwa Zziwa okutabuka ne balumba ofiisi ya RCC wa Kampala nga baagala ateeke mu nkola ekiragiro kya kkooti ayimirize emirimu gyonna egikolebwa omugagga Kasaayi nga kkooti weyalagira kubanga ekifo kikyaliko enkaayana.

ABAGAGGA KYE BAGAMBA

ONO BWINO bwatuukiridde omugagga Kasaayi ku nsonga z’okumenya ekiragiro kya kkooti agaanye okubaako kyayogera nti ensonga zikyali mu kkooti.Ate omu ku bamaneja b’omugagga Zziwa ategeezezza nti ekifo ekikaayanirwa kya Zziwa kubanga akirinako n’ekyapa wabula Kasaayi yakola olukujjukujju ne yeddizaawo olw’okuba ekifo kiriraanye ekizimbe kye ekya Paaka Enkadde Mall, y’ensonga lwaki Zziwa ensonga yazitwala mu kkooti yeeba emuddiza obwananyini.

ENTALO ENDALA KASAAYI NE ZZIWA ZE BALWANA

Kasaayi y’omu ku bagagga abasuza aba ttakisi abakolera mu paaka ya ttakisi enkadde nga bakukunadde olw’okuba y’omu ku bagagga b’omu Kampala abalina poloti mu ppaaka ya ttakisi enkadde abaagala okugizimbamu akeedi, kyokka kigambibwa nti pulezidenti Museveni yayimiriza bagagga bonna abalina poloti mu ppaaka ya ttakisi enkadde n’asuubiza okubasasula nga bano baali batandise ku nteekateeka z’okuzimbamu.

Zziwa abadde n’ebizibu by’amabanja agabadde gamutudde mu kifuba agabadde gagenda okumuviirako okwetundako ebimu ku bizimbe bye, embeera eno yaleeta omugagga Drake Lubega abimuguleko asasule ku mabanja, kyokka Zziwa ne yeekyusa n’agaana okuguzza Drake ebizimbe n’anoonya ssente ewalala n’asasula ku mabanja n’ataasa emmaali ye, kyokka kino kyanyizza Drake eyali yeeswanta okumugula.

Share This Article