KYADDAAKI Diana Museveni Kyaremera, omu ku bawala ba pulezidenti Museveni abasembayo obuto yafunye omusajja amupya okusanyusa omutima n’okumuweesa ekitiibwa mu bakadde be ng’omuwala eyakuzibwa n’awona empewo y’ekiro eyo ebadde emusuza nga yeezinze ng’eggongolo!
Mu 2022, omumyuka wa ssaabalamuzi Dr. Flavian Zeija yalangirira mu butongole nga mutabani we Geofrey Kamuntu bw’atakyali mu bufumbo obutongole ne Diana nga kino kyali kitegeeza nti buli omu waddembe okuddamu okufuna omubeezi omulala atambuze obulamu, wabula nga baakusigala nga bakwatagana mu kukuza abaana be baazaala mu bufumbo bwe baamalamu emyaka 18.
Ensonda zitubuulidde nti Diana okwawukana ne Kamuntu, enkiiko nyingi nga n’ezimu bataata b’abafumbo okuli Museveni ne pulofesa Ephraim Kamuntu ow’e Sheema mu Ankole baazituulamu wabula neb alemererwa okukkaanyisa abaagalana okuddamu okusula mu kasolya k’enyumba akamu ng’omwami n’omukyala.
MUWALA WA M7 APANGISA LOOYA ATASAAGA AMWAWUKANYE NE BBA
Diana yapangisa looya Edwin Karugire omu ku basinga okumanya amateeka mu Uganda okukulemberamu balooya be abaatwala omusango mu kkooti ng’asaba okwawukana ne Kamuntu era okusaba yakuteeka ku nsonga n’okutuusa kati ezikyakuumibwa nga za kyama nyo.
Mu 2024, Diana yawandikira ekitongole kya NIRA ekiwandiisa bannayuganda n’okugaba endangamuntu ng’abasaba ku mannya ge okuggyako erya Kamuntu ekintu nabo kye baakola mu bwangu, oluvanyuma yateeka obubaka ku mutimbagano gwe ng’akakasa nga bwe bayawukanye mu butongole ne Kamuntu n’asaba bannayuganda okuwa okwawukana kwabwe ekitiibwa kubanga okusalawo kwebakoze tekwali kwangu naddala nga mu bufumbo babaddemu n’abaana.
Okuva olwo, Diana amanyi ge abadde agatadde mu kudukanya byabugagga bya famire ya Museveni, okuddukanya kampuni ze ezitunda Uganda ekkula mu mawanga g’Abazungu okusobola okusikiriza abalambuzi n’okuwummulamu nga bwasaba ennyo.
AFUNYE OMUSAJJA OMULALA
Wabula ensonda ez’omunda zitubuulidde nti Diana musanyufu nyo olw’omusajja omupya Katonda gweyamulabidde ng’ono yamwanjudde ne mu bazadde be wadde nga waabaddewo okusika omuguwa ne kalumanywera.
Ensonda zitubuulidde nti omusajja wa Diana omupya Genero w’amaanyi nyo mu UPDF nga maama Janet Museveni yamusimye wadde nga taata yabadde ataddewo embeera olw’ensonga ONO BWINO zaasirikidde wabula oluvanyuma yapondoose n’akkiriza okuwa obufumbo bwa muwalawe emikisa.
Ensonda zongeddeko nti ekimu ku bintu Museveni by’asinga okulwanirira be bawalabe era yeegendereza nyo abasajja ababafumbirwa n’okukakasa wa gye bazaalibwa, ani abazaala, baakuzibwa batya n’ebiringa ebyo, kino Karugire yakikakasa ku mukolo gw’amazaalibwa ga mukoddomiwe Gen Muhoozi Kainerugaba n’ategeeza nti olunaku lweyasooka okusisinkana Museveni okumusaba muwalawe Natasha Museveni, Karugire talyerabira bunkenke bweyamuyisaamu.
Ono anyumya nti Natasha yasooka kumwanjula wa maama Janet gwe baasanga mu State House e Nakasero ng’ono ye yamuwerekerako okumutwala mu ddiiro gyeyasanga Museveni eyamutunuulira okumala ekiseera nga talina ky’amugamba. Embeera gyeyateekawo yaleetera Natasha ne Janet okufuluma ne babaleka mu ddiiro babiri bokka.
Karugire yategeeza nti yagezaako okutandika emboozi, wabula Museveni n’amusirisa ng’akozesa bikolwa n’amutegeeza nga bwakyanyumirwa firimu y’entalo z’emmundu gyeyali alaba ku TV.
Nga firimu ewedde, Museveni kyeyasookerako okumubuuza oba anywa omwenge oba okukozesa ebiralagalalagala, olwamuddamu nti tabikozesa n’amubuuza oba muwalawe amwagala, olwamukakasa nti amwagala n’amusiibula.
Karugire anyumya nti Muhoozi ye yamuyamba okusisinkana Natasha n’amwegomba ate ne Natasha anyumya nti yakiriza Karugire olw’embeera ze n’endabika ye nga musajja mutono muwanvu omugoggofu.
Diana anyumya nti Kamuntu yamusanga wa Natasha mukulu we okumukwana nga yamwesiga kubanga yali mukwano nyo gwa Karugire ate n’endabika ye okubeera omulenzi omutono omuwanvu yamusikiriza nyo.
Ensonda zitubuulidde nti ensonga enkulu eyayawula Diana ne Kamuntu lwerukambwekambwe omusajja lweyalina era mu kiseera kino omusajja ali mu bizinensi ze ez’okusuubula amafuta n’okwenyigira mu nteekateeka z’okusima amafuta ga Uganda e Bunyoro.
BAZZUKULU BA MUSEVENI NABO BATANDISE OKUFUMBIRWA
Museveni ne maama Janet batandise okufumbiza abazzukulu. Wiiki ewedde muzzukulu waabwe Tasha Kunzi Karugire, muwala wa Natasha, yakakasizza ku mutimbagano ng’omulenzi we bweyamutaddeko empeta ya nkusibidde awo.
Ensonda zitubuulidde nti omulenzi agenda okuwasa Kunzi mutabani wa munamagye Maj Gen Sam Kavuma nga mu kiseera kino yasindikibwa Somalia okuduumira ebikwekweto ebirwanyisa abatujju ba Al-Shabab
Mu bifaananyi Kunzi byeyatadde ku mutimbaganno gwe, omulenzi we muwanvu ate mutono abavubuka benyini kojjawe Gen Muhoozi aduumira amagye ga UPDF baagamba nti be balina okuwasa ewaabwe, abampi abalina enyindo ennene tabaagalira ddala.
Muhoozi yateeka obubaka ku mutimbagano gwe ng’alabula abasajja abampi obutagezaako kusemberera muwalawe n’ategeeza nti yenna gwanaakwatako waakumulaawa ate nga abaagala okuwasa muwalawe balina okuyita mu mitendera nga basooka wa maama ne bassenga.
Omusajja alina okubeera n’obusobozi obugula muwalabe ente ezisoba mu 100. Okulabula kuno kwakuba wala abavubuka ku mitimbagano abaali batandise okumwepikira, waliwo ne RDC w’e Mbarara amanyiddwa enyo okuganza obuwala bw’amasomero gwebalabula obuteesembereza muzzukulu w’embuga.
MP Ibrahim Ssemujju Nganda yategeeza nti Muhoozi okuvuma omuntu enyindo ennene n’obumpi kimusanyusa nyo kubanga ewaabwe mu Ankole okubeera n’enyindo ennene bakulabira ddala nga atalina mugaso ku nsi.
Ssemujju, pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), omubaka Theodora Ssekikubo be bamu ku bantu Muhoozi baasinga okuvuma ku mitimbagano olw’ennyindo zaabwe era yeewunya Munyankole munne Barbar Itungo Kyagulanyi kyeyanonya ku Bobi Wine n’atuuka n’okumufumbira nga ensobi eno tayagala eddemu okusinziira ku ye mbu kukolebwa.


