BANNAMWANDU b’eyali omubaka wa Kawempe North omugenzi Muhammad Sseggirinya bongedde okuteeka nyazaala waabwe Justine Nakajumba ku ninga nga weyalina omukono mu kufa kwa bba waabwe wabula kati abeefuulira olwa mabugo ne mmaali y’omugenzi gyeyaleka.
Ensonda mu ba namwandu okuli Twahira Akandinda, Nalongo Joy Nalule ng’ono ye yaleeta Bebi mu lumbe ng’agamba nti mwana wa mugenzi kyokka mu kukebera DNA byalaga nti abaana baabwe si ba mugenzi Ssegirinya, wabula ba Namwandu bano ebya DNA babiwakanya ensonga ne bazikwasa ba looya bqabwe baddemu babakebeze omusaayi.
Bannamwandu bategeezezza nti nga baakamala okuziika Ssegirinya, nyazaala yabalabulirawo nti emmaali omwana we gyalese yiye yekka abalowooza okugiryako babyerabire kubanga y’atobye n’omwana we okutuusa weyafa era nti emivuyo gyonna egya DNA ye yagizanya akendeeze ku muwendo gw’abaana asobole okulya ekiwera.
EBYAVUDDE MU DNA Z’ABAANA BA SSEGI
Mu ku kebera DNA abaana 8 be baakera ebyava mu musaayi byalaga nti abaana 4 tebaali ba Ssegirinya, Nakajumba n’alagira abakyala bano banoonye ba taata b’abaana bano mu bwangu.
NAMWANDU ALAMEDDE MU MAKA G’OMUGENZI
Mu ngeri yeemu aba famire ya Ssegirinya baalagira namwandu Akandinda ave mu maka g’omugenzi amakulu agasangibwa e Namere kubanga DNA yawandula abaana be ababiri, kyokka n’okutuusa kati Akandida akyagaanye okwamuka amaka gano ng’agamba nti tafunangako kiwandiiko kiva mu ba famire ya Ssegirinya abatuufu abamugoba mu nnyumba.
Omugenzi yaleka enyumba ya kalina gyeyali yaakagula e Kasangati, ettaka e Kalagi mu Mukono n’amaka e Namere nga bino bye bitabudde ba Namwandu ne nyazaala wabwe abibagobamu.
MAAMA AGAMBA KI
ONO BWINO waatuukiridde ku maama Ssegirinya ku banamwandu bye bamwogerako agaanye okubaako kyabyogerako essimu ze n’aziggyako.
BANNAMWADU BALUMIRIZZA NYAZAALA
Kyokka bannamwandu nyazaala baagobesa abaaba nabo bamuddizza omuliro ne bamulumiriza nga weyalagajjalira obulamu bwa bba waabwe weyasalawo okuzunza omugenzi mu basamize e Masaka ne Tanzania bamusawule ng’alowooza nti waliwo abaloga Ssegirinya abatamwagaliza kifo ky’omubaka wa palamenti owa Kawempe North ate nga ekirwadde ekyali kiruma omugenzi yali akimanyi bulugi ekyamuviirako okunafuwa n’afa.
Ensonda mu bannamwandu zongedde okututegeeza nti bategese olukiiko olw’amaanyi mwebagenda okulaga ensi engeri nyazaala waabwe ‘gyeyaferamu’ amabugo ku mukolo gw’okuziika omugenzi e Masaka. Kigambibwa nti nyazaala yaleeta abamu ku bawala be n’abafuula banamwandu ba Ssegirinya asobole okufuna ku ssente.
NYAZAALA NE LUSWA BEESWANTA KUFUNA BUKADDE BWA PALAMENTI
Ensonda zitutegeezezza nti palamenti enaatera okuwaayo ensimbi ezisoba mu bukadde 300 ababaka ze beesondamu ng’amabugo nga buli mubaka yasalibwako 300,000. Ekibadde kirindiriddwa kwekufuna agenda okuweebwa ssente zino, wabula ebiriwo biraga nti ssente zino zandituukira mu ngalo za Justine Nakajumba kubanga omukyala owa waka Twahira Akandinda ebya DNA byamuwemudde ate abakyala DNA beyakakasizza abaana baabwe bonna baali bayawukana dda n’omugenzi. Nakajumba yaagenda okutematema omusimbi eri bamulekwa ng’ayambibwako Muhammad Luswa Luwemba eyali omuyambi w’omugenzi.


