Sitaani azeemu okutabula ekkanisa z’abalokole nga ku luno ayise mu bakulembeze. Olutalo lubaluseewo mu basuumba b’abalokole oluvannyuma lw’abasumba abanene abaagala okubeera Bapaapa b’obulokole okuluka olukwe abamu ku bannabwe lwe balabudde nti lugenderedwaamu okubba ettaka, ebizimbe n’obugagga bw’ekkanisa z’abalokole nga beefudde ababakulira.
Mu lukwe luno, mulimu n’okubaza ssente za Pulezidenti Museveni ez’akalulu eri amakanisa g’abalokole.
OLUTALO LWAVUDDE WA
Kigambibwa nti waliwo olukwe okugaana ekkanisa z’abalokole okuddamu okuwandiisibwa Uganda Registration Service Beareau (URSB) ne NGO, okuwandisibwa kuno kudde mu mikono gy’abasumba abeeyita bakabona b’obulokole mu ggwanga lyonna.
Kigambimbwa nti bakabona bano bawandiikira Ssabawolerereza wa Gavumenti ebbaluwa nga bamusaba nti akkanisa z’abalokole teziddamu kwewandiisa wansi wa URSB ne NGO Board ng’ekigendererwa baagala beekolemu akakiiko akaziwandiisa n’okuzifuga.
Oluvannyuma lw’ebbaluwa yaabwe eri Ssabawolerereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka, naye yabazeemu mu bbaluwa gye ywandikidde Robert Kayanja owa Rubaga Miracle Centre ne Joshua Lwere owa akola nga Overseer wa National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches ng’abategeeza nti ensonga yaabwe yagyogeddemu ne Pulezidenti Museveni era n’amuwabula nti mu kiseera kino (Eky’akalulu) bagira bayimiriza okuwandiisa ekkanisa z’abalokole mu URSB ne NGO Board okumala ekiseera ekigere.
ABASUMBA ABALALA BAKUBA EMEEZA
Bino bye byagudde mu matu g’abasumba abamu abagaana okwegatta mu kibiina kya National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches ekikulemberwa Joshua Lwere ne Joseph Sserwada nga bagamba nti ekibiina kino kijjuddemu abasumba abalina omululu era abeeyagaliza okubeera Bapaapa b’obulokole mu Uganda, baakubye emmeeza ne basaba Kiryowa Kiwanuka obutakkiriza bulimba bwaabwe..
BUJJINGO ALYA OBUWUKA
Bano nga bakulemberwa Omusumba Aloysious Bujjingo, balabudde nti tebagenda kukkiriza bannakigwanyizi kusanyaawo mulimu gwa Katonda.
Mu kusaba okwabadde ku kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere Kikoni, Bujjingo yalabudde nti sitaani ali mu kukozesa basajja bano abeeyita abasumba abakulu okusanyaawo ekkanisa.
“Sitaani anoonya engeri gy’asobola okusanyaawo ekkanisa ya Kristo egoba emizimu. Tuze tuwabula eggwanga lino mu mutima mulungi.
Nga tuwabula gavumenti kubanga ewabulikika. Kati wiiki ewedde twagenze okulaba mu mpapula z’amawulire ababadde balowooza nti ekiteeka tukiwonye, nga bannadiini bonna bawandiise okuyita mu Inter Religious Council of Uganda (IRCU) nga bawandiikira Directorate of Religious Affairs mu Ministry ya Presidency, awali ababadde bakukuta n’enkola (Policy) ne babategeeza nti babadde babayise mu lukiiko lwa validation okuyisa enkola eyo.
Wabula ne bagamba nti nedda, tetugenda kulwetabamu. Era nga n’okuteesa kwaffe kwe kuno, nti amateeka n’enkola eriwo emalira ddala. Enkola eriwo okuwandiisa ekkanisa z’abalokole y’eno, atagenda mu NGO agenda mu Registrar of Companies (URSB), ategenda mu registrar of campanies agenda mu Trustee, gye yeewandiisiza. Buli muntu yeewaansiisa nga bw’ayagala kubanga mu Uganda mulimu eddembe ly’okusinza, n’amateeka agatukkiriza,” Bujjingo bwe yategezezza.
Bujjingo yayongeddeko nti, “Ekyo nga kikyali awo, waliwo ebbaluwa eyavudde ewa Ssabawolereza wa gavumenti (Attorney General) era n’abamawulire baagiwandiseeko ng’egamba nti obulokole tebwagala kwewandiisa nga kkampuni, ate era tetukyayagala kwewandiisa nga NGO.
Ebbaluwa yayise ku mpapula z’amawulire, ng’eraga nti mu kaseera kano, waliwo abaasobola okumatiza Attorney General, naye n’amatiza Pulezidenti Museveni nti mu kaseera kano ak’obululu ekkanisa z’obulokole tezikyagala kwewandiisa mu NGO ne URSB. Mu bbaluwa eno, Ssabawolereza wa gavumenti yagambye nti Pulezidenti yamugambye nti agambe aba NGO n’aba URSB bagire nga balekedde awo okuwandiisa amakanisa ‘Until further notice’.”
“Ekyo kya bulabe nnyo, era twagala okuwabula gavumenti nti tosobola kuggalawo zaaliro ng’ate abantu bali mbuto. Kyabulabe nnyo amakanisa okutandikibwa nga tegalina we gawandikibwa. Ekkanisa okuwandikibwa nga NGO oba Company ssi kibi n’akatono.
Nze ne bannange abategeera nga nze tutegeera nti ekkanisa ssi kitongole kya gavumenti; Ekkanisa mulimu gwa Katonda, omulimu gwa katonda guno, bwe muba munagutambuza, muteeka okugwanjulira gavumenti.”
BANNAKIGWANYIZI BAAGALA KUSUULA KKANISA
Bujjingo yagambye nti, “Katonda bwe yagendanga akola omuli mu bantu be, Abalokole twafuna banakigwanyizi. Abantu bano bagenda e Bulaaya nga balya, nga bagenda mu Amerika nga balya, ez’e Bulaaya ne mu Amerika tezibamaze, kati baagala kutegeeza gavumenti, nti abantu 2,3,4 be balina obwananyini ku bakkiriza 14.5% mu ggwanga.
Era ye nsonga lwaki mu kaseera kano, baasobodde okumatiza Ssabawolerereza wa gavumenti. Nsaba okutegeeza Ssabawolerereza wa gavumenti, tuleke twewandiise mu nkola ebaddewo kubanga abantu abo baagala kulaga nti be batuvunaanyizibwaako.
Bali mu kibalo. Muzeeyi ng’agenda okunoonya akalulu, ssente ezinagenda mu balokole, eriyo abeefudde abakulu b’abalokole. Beefuula abakulu b’abasumba bonna era kati bamulaga nti nga ffe tubalina eno. Baagala okulimba Muzeeyi nti abantu abali wansi waabwe bali bubi, beetaga okuzimba amakanisa n’abamu bambi abaana baabwe beetaga okusoma.
Kati bano baagala batuuke ewa Museveni nti bakimye omugambo gw’abalokole bonna. Muzeeyi tukulabula, tewali n’omu atulinako buyinza, wabula mukama waffe Yesu.”
EDDEMBE GAVUMENTI LYE YATUWA OKUSINZA LITUMALA
Bujjingo yayongeddeko nti, “Njagala okutegeeza gavumenti ya Pulezidenti Museveni nti tetubaagala olw’okuba waliwo aggyayo ssente n’azituwa. Tetwagala gavumenti owlokuba waliwo eyeefula omukulu waffe.
Twesabira, twekozesa, tukozesa eddembe ly’okusinza, n’eddembe eriri mu Ggwanga ne tutuuka ku ddala eriddako.
N’olwekyo ekiteeso kyonna ekigamba nti wabeewo Boodi ennawaandisanga ekkanisa z’abalokole (nga ssi NGO oba URSB) ekiteeso ekyo kiva magombe mu geyeena.”
TETUGENDA KUKKIRIZA BABBI NA BASIYAZI KUTWANDIISA
Bujjingo yalidde obuwuka n’alabula nti, “Twagala gavumenti y’ebeera etuvunaanyizibwaako so ssi gabbi, gasiyazi, ssi gantu agenoonyeza ebyaago. Gavumenti y’ekuuma emirembe, ssi gabbi, gasiyazi.
Basooke bamaliririze emitawaana gyaabwe (mu kkooti) naye ekkanisa bagireke ng’eri mu mukono gya gavumenti ng’eri mu mikono gya Kristo. Ffe abaagala katonda mu mulembe guno tetugenda kusirika ng’eriyo abantu abavunnamirwa buli omu n’avaayo n’abasinza nga bye boogera bikyamu, ffe tetuggya kuvunnamira Baali.”
“Mu mulembe gwaffe tetugenda kuvunnamire kibumbe, tetugenda kuvunnamira kifaananyi kyonna.
Fenna tulina ebizibu, kati abalina ebizibu tosobola kubakkiriza ate beevunaanyizibweeko era bewaandiikke. Tulina ebizibu ebitumala.
Era tusaba Oweekitiibwa Attorney General Kiryowa Kiwanuka owulire eddoboozi lyaffe lino nti abakyala bali mbuto, naye ate ezaaliro ebbaluwa wo yaliggaddewo. Ekkanisa ya Kristo ezaalibwa buli lunaku, n’olwaleero waliwo abatandise Church.
Kyakabenje nnyo abantu okutandika ekkanisa nga gavumenti temanyi. Mugguleewo oluggi lwa NGO kubanga ffe tuli NGO emirembe gyonna, era tuli kkampuni za bwannanyini emirembe gyonna. Atuvunanyizibwako ye Gavumenti n’amateeka ga gavumenti.”
“Tusaba gavumenti eno, obutakkiriza bannakigwanyizi kutuuza bubina bwaabwe ku mitwe gy’abantu beelokokera. Tulokoka kugenda mu ggulu ssi mu nnyumba z’abantu. Tulokoka kuyingira kika kitukuvu so ssi famire z’abantu.
Kyakabenje okuba nga ekkanisa tewandisibwa mu URSB ate nga tewandisibwa mu NGO olwokuba wabaddewo okuyimieroa enteekateeka, ssente zibeera zigenda kuyingira mu ggwanga mu bukyamu.
Tetwagala muntu kutwekakatikako nti y’atuwa ebbaluwa egenda mu bbanka.”
BAAGALA KUBBA TTAKA NA KKANISA ABANTU ZE BASONZE
Omusumba Bujjingo yalabudde nti, “Abalokole n’abasumba abali eyo mbalabula, abantu bano bwe munabagayalirira, bagenda kubba ettaka lyonna abantu bammwe lye baasonda. Bagezaako okukyuusa obulokole bufuuke ediini, nga n’ediini eyo be bagikulira. Kati Obulokole bwe bufuuka ediini, ettaka lye mwagula mu bitundu gye mubeera, empapula mulina okuzireeta ku kitebe.
Bagenda okukuwandiisa basooka kwetegereza oba mulina ettaka, ekkanisa mwamala okugizimba, eri ku bugazi bwenkana butya, ani mukulembeze w’ekkanisa eyo.
Bagenda kubba ettaka bagenda kubba ebizimbe kubanga buli kye bakola bakikola mu mutima mubi. Kyokka nga URSB ne NGO ze bavumirira, ate ze zibaleze okutuuka wano we batuuse. Ffe tugamba ekkanisa tetekwa kubeera mu mikono gyaabwe, esigale mu mikono gya gavumenti.”
Yayongeddeko nti, “Abantu abo okumanya babbi, bakoze zi NGO ne babba ba mulekwa n’abazungu. Bagamba nti bayamba ba mulekwa naye be basinga okubeera bamulekwa. Bakoze buli kyabusiru era ne gavumenti ekimanyi. Bamulekwa be bakunganyiza bababbye era babasiyaze.
Gavumenti kino ekimanyi. Ssebo Attorney General tukusaba owandikeyo ebbaluwa etambule mu bekikwatako bonna, ng’eragira buli azaala ekkanisa agende mu NGO oba URSB agiwandiise gavuimenti esobole okubeera ng’egiraba.
Weewale okulwana n’omukono gwa Katonda ng’owandiika ebaluwa esobola okugaana ekkanisa okukula. Omulimu gw’ekkanisa gw’abantu emitwalo n’emitwalo, era abakulimba nti be bafuga emitwalo egyo balimbira ddala kubanga emnitwalo egyo gifugibwa Mukama Katonda.”
Kyokka nga ne Uganda Muslim Supreme Council yeewandiisa nga kampuni emyaka Obusiraamu gye bumaze mu Uganda.
Nga bwe bwasooka n’Obukulisitaayo mu Uganda. Buli mu URSB nga kampuni. House of Prayer ne UMSC zeekana amaanyi mu kwewandiisa. Ero lye ddembe ly’okusinza lye tulina mu Uganda.


