ABASUMBA b’Abakatuliki bongedde okutabukira Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala, Paul Ssemwogerere, okubeera nga y’omu ku bawagira n’okusenza baffaaza bakyewaggula okuva mu masaza g’eklezia gye babeera bagobeddwa oluvannyuma lw’okumenya ebiragiro ebikambwe bye balina okugoberera n’okutambulirako.
Baffaaza bangi abazze bayimirizibwa abasumba baabwe ku mirimu gy’eklezia mu masaza gye babeera abamu olw’obwenzi, okubba ssente z’eklezia, ate n’abamu okunyooma abasumba babawe, kyokka abasinga bwe bagobebwa, basalawo kuddukira mu masaza gye babeera batabamanyi, ate abalala mu ssaza ekkulu ery’e Kampala awabeera mikwano gyabwe be babeera baasoma nabo.
Ensonda mw’eklezia zaategeezezza ONO BWINO nti mu lukiiko lw’abasumba olwatudde ku kitebe ky’Obukatuliki e Nsambya, abasumba bonna nga bali mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Uganda Episcopal Conference, ekikulirwa Bishop Joseph Anthony Ziwa, baayatulidde Ssabasumba Ssemwogerere nga bw’aviiriddeko baffaaza abafere okweyongera mu Kampala, olw’obutakoma ku baffaaza be mu ssaza lino okubasenza. Bano bagamba nti, waliwo abeeyita baffaaza, ate n’abaaliko baffaaza abadduka n’ebyambalo mwe baferera Abakristu.
Abasumba bagamba nti, Abakristu nga beetegeka okulamaga e Namugongo okukuza olunaku lw’abajulizi nga 3 June, bazuula era ne bakakasa nga waliwo faaza abafere bangi abeeyiwa ku kiggwa e Namugongo mu biseera by’okulamaga abamu ne bakozesa ebyambalo ebitukuvu bye babeera bambadde ne baggya sente ku balamazi, ekintu buli mulamazi omulundi guno kyalina okwegendereza.
Embeera y’ekifere eno yawalirizza Ssemwogerere okutegeeza ba faaza be bonna n’abakristu mu ssaza lino, ku lunaku baffaaza mu ssaza lino mwe bakulizza olunaku lwabwe mwe bakubira ebiragaano nga bwe bagenda okwongera okugumira obutawasa, okumusuubiza okumuwulira ate n’okuzza obujja ebiraamo byabwe, Ssemwogerere n’asaba era n’alagira abakristu mu ssaza lino okusaba baffaaza naddala be batamanyi mu bitundu byabwe ne bwe babeera mu bifo eby’okulamaga omuli Kigungu, Namugongo n’ebifo ebirala ebiwandiiko ebibakwatako nga tebanasoma mmisa, kuba bangi babeera bafere abaagala okubaggyamu ssente.
Ssemwogerere era yaweze abakristu okuddamu okuyita baffaaza erinnya lya ‘Bwanamukulu’, era n’awera ne ba faaza okukomya n’abo okweyita erinnya eryo. Yabasabye okusigala nga beeyita ekya omukulu w’ekifo, ate n’okukimanyiiza Abakristu.
Ono yategezezza nti, olukiiko lw’abasumba olw’atudde gye buvuddeko, bonna abaamutabukidde okubeera nga yasinza ba faaza bakiwagi, era ne bamulabula okukoma ku baffaaza be bonna mu ssaza lye Kampala. Ssemwogerere era yategeezezza Abakristu ng’abasumba bwe beemulugunya olwa ba faaza abasindikibwa mu okusoma, kyokka ne bakomekkereza mu bitundu gye babeera baasookera, ekintu ekiviiriddeko amasaza naddala agali mu byalo okubeera n’ebbula ly’aba ffaaza n’obutafuna masakaramentu.
AZZEEMU OKULUMBA KIBUUKA
Mu ngeri yemu, Ssaabasumba yazzeemu okulumba Bishop Jacinto Kibuuka, owa Mmamre International Church e Namugongo, ono nga yasooka kuweerereza mw’eklezia Katulika, wabula bwe yatabuka n’abali bakamaabe, n’asalawo okuyingira mu nzikiriza ya Evangelical orthodox Church, ng’amulabula obutaddamu kwambala byambalo byefaananyiriza byabwe, okusoma mmisa ng’ezisomebwa mw’eklezia ate n’okukomya okukozesa ebitabo byabwe mu nzikiriza ye, era n’alabula nti singa taabikomya, eklezia agenda kukolawo akatiisa kuba y’omu ku bafere, abasinga okutabula Eklezia n’okuwaganyaza ba ffaaza mu masaza gonna agali mu Uganda.
KIBUUZA AZZIZZA OMULIRO
Wabula bishop Kibuuka yategeezezza ONO BWINO nti Ssabasumba Ssemwogerere aliko abanene mu gavumenti abaamuwadde ssente okuzuukusa entalo ezaayita n’ekigendererwa eky’okumukyayisa ebweru wa Uganda n’okumulemesa obuyambi, ekintu naye ky’atagenda kukkiriza kuba naye kakonge ka ku kkubo, amwekoonako y’agwa, kale naye yeerinde okugwa. Abantu abazze balwana ne Kibuuka ab’amaanyi omuli Ssabasumba Kizito Lwanga, Mukaajanga ne Msgr.Magembe n’abalala bazze bafa mu ngeri ez’ekikangabwa.


