Akatwa Kasattiza Abataka Ba Buganda: Ebibuuzo Byeyongedde Ku Kyasse Omuyambi W’omutaka Mbirozankya Abadde Akolokota Kabaka…

EBIBUUZO bikyali bingi ku ngeri Vincent Mubiru Njuki abadde omuyambi w’omutaka Yusuf Ntege Mbirozankya omukulu w’ekika ky’effumbe gye yafuddemu ekyaleetedde abamu ku mikwano gye okuwanuuza nti alabika yalidde butwa.

Hadijja Namagembe
4 Min Read
The late Mubiru Njuuki

EBIBUUZO bikyali bingi ku ngeri Vincent Mubiru Njuki abadde omuyambi w’omutaka Yusuf Ntege Mbirozankya omukulu w’ekika ky’effumbe gye yafuddemu ekyaleetedde abamu ku mikwano gye okuwanuuza nti alabika yalidde butwa.

Naserenga Nkunyingi Katikkiro w’ekika ky’effumbe yabuulidde abakungubazi mu kuziika Mubiru e Mityana nti yalwalidde ekiseera ekitaawezezza wiiki bbiri ng’obulwadde bwajja nga obwokusaaga era n’omugenzi yali agaanye okumutwala mu ddwaliro ng’alowooza nti bwa bulijjo bugenda kuwona.

Ono anyonyodde nti Mubiru baasooka ne bamutwala mu kalwaliro akamu e Mulago, eno gye baabategeereza nti ekibumba n’ensigo ze biriko obuzibu bw’amaanyi ne batandikirawo okumuteeka ku ddagala.

BEEWUUNYA OBULWADDE BWA NJUKI!

Ono ategeezezza nti Mubiru okubeera n’ekizibu ku kibumba n’ensigo ze kyabeewunyisa nyo kubanga ekiseera kyonna kye baawangaala naye, yali talagangako bubonero obwo, wabula bwe baamuteeka ku ddagala baafunamu essuubi nti agenda kutereera era n’addayo ewaka we e Lungujja mu Kampala.

Wadde yali mulwadde, naye yeewalirizanga okugendako ku ofiisi zaabwe ezisangibwa e Mmengo ku ttaka pulezidenti Yoweri Museveni lyeyagulira abataka mu maaso ga Bulange ne bawayaamu ne banne okutuusa ku ntandikwa ya wiiki ewedde bwe baafunye amawulire nti obulwadde bumuzzeemu wabula nga ku mulundi guno bw’amaanyi nyo.

Mubiru baamuddusa mu kalwaliro akalala e Nateete ng’eno baamujjanjaba n’atereeramu olwo abantu be ne basalawo okumutwala mu kyalo e Mityana okwongera okumujjanjabira eyo era eno yamalayo ennaku ssatu n’afa.

ABADDE AYANIKA AB’E MMENGO

Mubiru yaliko omuwandiisi w’olukiiko lw’abazzukulu ba Buganda. Enfunda nyingi abadde akola obutambi ku mitimbagano n’okuwandiika emiko mu mpapula za’mawulire ng’akolokota obukulembeze bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’amulumiriza nga bw’avudde ku mulamwa ogwalwanya Abaganda ne pulezidenti Museveni okusobola okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda.

Mubiru abadde akyogera lunye nti kikyamu Kabaka obutasisinkana bataka bakulu ba bika mu Buganda n’okubatwala ng’abantu abatalina mugaso ate ng’akimanyi bulungi nti mpagi nnene okwazimbibwa Obwakabaka bwa Buganda.

Njuki abadde awakanya n’obukulembeze bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga obutunuulira obutunuulizi okukola ssente n’okwegaggawaza bo ng’abantu nga bakozesa Buganda ate nga tebafudde ku nnono n’obulombolombo bwa Buganda.

BATANDIKA OKUMULAALIKA OLW’EBIGAMBO BYE

Ensonda ezimubadde ku lusegere zitubuulidde nti ebigambo bya Mubiru eby’obusagwa byamwawula n’abantu bangi abaali mikwano gye ne bamugoba ne ku kifo ky’omuwandiisi w’olukiiko lw’abazzukulu ba Buganda International bweyagaana okwetonda olw’ebigambo byeyayogera ku Kabaka.

Ensonda zitubuulidde nti waliwo abantu abaatandika okumuweereza obubaka obumulabula okwesonyiwa abakulu mu Bwakabaka n’abe Mmengo ekintu kyeyagaana era waafiiridde nga y’omu ku bali mu nteekateeka z’okukulaakulanya ettaka pulezidenti Museveni lyeyagulira abataka mu maaso ga Bulange e Mmengo.

Mubiru abadde musajja nyo w’omutaka Walusimbi alina obutakkaanya obw’amaanyi n’obukulembeze bwa Kabaka Mutebi ne Mayiga ng’ensonda zirumiriza nti essaawa yonna agenda kugobwa ku bukulu bw’ekika ekyo oluvanyuma lwa kkooti ya Kisekwa okulangirira nti obukulu yabulya mu nsowole.

Okufa kwa Mubiru kuleeseewo obunkenke bw’amaanyi mu lukiiko lw’abataka ba Buganda nga buli omu yeekengera munne, embeera eno weebeereddewo ng’abataka beetemyemu nga waliwo abakkiririza mu bukulembeze bw’omukubiriza waabwe omutaka Ssalaongo Augustine Kizito Mutumba omukulu w’ekika ky’ekkobe gwebalumiriza okutambulira ku ntoli za Mayiga n’abakkiririza mu Walusimbi ow’effumbe.

Njuki abadde munnabyafaayo atawunyikamu okuli ebya Buganda, amawanga amalala n’okwetoloola ensi, era nga watudde n’abikunyimiza ne kacaayi mutumya nga byonna abikuba budinda.

Share This Article