Emmese Ensolima Ezikyalemesezza Situlago: Baabano Bannabyabufuzi Abatandise Okupanga Ddiiru Z’okulya Mu Gav’t Eddako Nga Bannayuganda Bwe Bafa…

OMUBAKA wa Mukono Municipality, Betty Nambooze Bakireke alumiriza nti bwe baawagira omugenzi John Ssebaana Kizito ku bwapulezidenti bw’ekibiina kya Democratic Party (DP), amangu ddala nga yaakalangirirwa ku buwanguzi, Jaberi Bidandi Ssali eyali munnabyabufuzi omugundiivu yamuyita ne banne n’abanenya nyo olw’okukwasa ekibiina kyabwe omusuubuzi nga bw’abakakasa nti essaawa yonna omuntu gwe baali bawadde obuvunanyizibwa bw’okubakulembera agenda kubatunda ewa pulezidenti Museveni okumusobozesa okufuna bizinensi ne ddiiru z’obuwumbi bwa ssente okuva mu gavumenti.

Sengooba Alirabaki
15 Min Read

OMUBAKA wa Mukono Municipality, Betty Nambooze Bakireke alumiriza nti bwe baawagira omugenzi John Ssebaana Kizito ku bwapulezidenti bw’ekibiina kya Democratic Party (DP), amangu ddala nga yaakalangirirwa ku buwanguzi, Jaberi Bidandi Ssali eyali munnabyabufuzi omugundiivu yamuyita ne banne n’abanenya nyo olw’okukwasa ekibiina kyabwe omusuubuzi nga bw’abakakasa nti essaawa yonna omuntu gwe baali bawadde obuvunanyizibwa bw’okubakulembera agenda kubatunda ewa pulezidenti Museveni okumusobozesa okufuna bizinensi ne ddiiru z’obuwumbi bwa ssente okuva mu gavumenti.

Nambooze anyumya nti tebaasooka kukkiriziganya na bigambo bya Bidandi okutuusa akalulu ka 2011 nga kawedde okukubwa, Museveni bwe baamulangirira ku buwanguzi, yategeeza nga bwagenda okusisinkana bonna beyavuganya nabo ku bwapulezidenti nga wano baafuna okutya nti owaabwe Ssebaana ayinza okugenda ewa Museveni wabula baaguma nti olukiiko Museveni lwe yalina okubasisinkanirako baali balutadde ku lunaku nga Ssebaana ali mu America ku mirimu emitongole.

Nambooze anyumya nti n’okutuusa kati tamanyi ngeri Ssebaana gye yava mu America mu bwangu ne bamwekangira mu bifaananyi by’amawulire nga bamulaga ng’omu ku baali mu kafubo ne pulezidenti Museveni era ne bamusuubiza okukolagana naye obulungi ng’okuva olwo omulamwa gwa DP okulwanira obukulembeze bwa Uganda gwafa era abalembeze bonna abazze babeerawo okuva olwo, bakozi ba ddiiru ezibayamba ng’abantu ne famire zaabwe okubeera obulungi.

OWA BESIGYE ALEESE BWINO KU BANNAKIGWANYIZI MU OPOZISONI

Nambooze awagiddwa Robert Mayanja omu ku bayambi ba Dr Kizza Besigye ow’ebyobufuzi atubuulidde nti ebbanga ery’emyaka 20 gye yaakamala mu lutalo lw’okununula Uganda, akizudde nti bannabyabufuzi abasinga abalwana Museveni babeera beenonyeza byabwe ng’ono awadde eky’okulabirako kya Dr Abed Bwanika eyavuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2006 wabula Dr Besigye bweyagenda mu kkooti, ate Bwanika n’akuba ekirayiro mu kkooti ng’awagira obuwanguzi bwa Museveni era mu kumulayiza e Kololo, Bwanika yatuuzibwa ku mwanjo ate omukolo yagumalako yenna amwenya nga kino Museveni yakikola okulaga ensi nti akalulu yali akawangudde mu mazima n’obwenkanya.

Fred Mukasa Mbidde omumyuka wa pulezidenti wa DP ategeezezza nti ekimu ku bintu Museveni byasinga okwagala kwekuwakanya obuwanguzi bwe mu kkooti nga bwe babeera bakyawoza mu kkooti tafuluma ggwanga okutuusa nga kkooti ewadde ensala olwo n’agenda nayo mu Bazungu okubalaga nti obuwanguzi bwe bwabadde bw’amazima n’obwenkanya nga n’ekkooti zaabukakasizza.

Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP yategeeza nti Museveni okuleeta Bwanika okumuvuganya ku bwapulezidenti, yamusanga Makerere gye yali asomesa nga ky’ayagala kwekulaba nga Dr Besigye tabeera waggulu awasooka ku kakonge kwe bateeka abeesimbye ku bwapulezidenti ng’ayagala bamufuutiike mu beesimbyewo abalala wakati baleme kumulaba bulungi, ate ye Museveni abeere wansi w’akakonge ng’ayambadde ekikoofiira kye nga kino kiyamba abalonzi be okwanguwa okumutegeera amangu.

DDIIRU ZE ZIKYALEMESEZZA OPOZISONI OKUMEGGA OMUSAJJA

Saddam Ggayira pulezidenti wa People’s Progressive Party (PPP) akakasa nti ddiiru ezibeera mu kwesimba ku bwapulezidenti enfunda nyingi ze ziremesa ab’oludda oluvuganya okusimbawo omuntu omu okuvuganya Museveni kubanga naye akimanyi nti bwe beegatta basobola okumuwangula nga kino okukiremesa ateekawo embeera ebalwanya nga gy’ataddewo mu kiseera kino nga buli omu alwanyisa munne.

MBU ABASINGA ABEESIMBAWO M7 Y’ABAVUJJIRIRA!

Mayanja ayongeddeko nti abantu abasinga abeesimba ku Museveni yaabasasulira ne ssente z’okukozesa mu kalulu n’okwewandiisa era ono olunwe okusinga alusimbye ku John Katumba eyeesimbawo mu 2021 ng’alumiriza nti baamuleeta nga balowooza nti agenda kunafuya obuwagizi bw’abavubuka pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bweyalina obungi naye gye byaggwera nga ddiiru eyiise.

DDIIRU Z’AKALULU KA 2026 BATANDISE OKUZIKUTULA

Mayanja atubuulidde nti banabyabufuzi baatandise dda okubala ddiru ze bagenda okukutula mu kalulu ka 2026 ng’alumiriza nti Muhammad Nsereko olwategedde nti tagenda kuwangula kifo ky’omubaka wa Kampala Central mu kalulu akaddako kwekusalawo okwesimba ku bwapulezidenti mu kisinde kye kye yatuuma ‘Revolutionary Front’ nga kyabala bwaminisita oba obwambasada mu gavumenti ya Museveni eddako.

Ono anyonyodde nti okuva Nsereko bweyayingira eby’obufuzi mu 2011, abadde abitambuliza ku ddiiru nga tategeerekeka oba wa NRM oba avuganya nga n’omukululo gwe ku by’akoze mu palamenti okuggyako etteeka erisibya abavubuka olw’okulaga endowooza zaabwe ku mitimbagano lye yaleeta neriwagirwa nyo Museveni tewali kirala ky’amaanyi ky’akoze ng’okwesimba ku bwapulezidenti anoonya waawummulira.

Nsereko yalangirira dda nga bwagenda okwesimba ku bwapulezidenti ng’essira yategeeza nti waakuliteeka ku byanjingiriza n’okugaggawaza abantu nga balina emirimu n’akookuzza ewaka.

NSEREKO NE MPUUGA BYE BABAZA BYEBIMU

Mayanja atubuulidde nti ekibalo kya Nsereko kifaananira ddala n’ekya Owek. Mathias Mpuuga ekisinde kye eky’ebyobufuzi ki Democratic Alliance -DA essaawa yonna gwekigenda okulangirira okukikwatira bendera mu kalulu ka 2026.

Micheal Mabikke omukungu mu DA akakasizza nti mu kalulu ka 2026 bagenda kusimbawo omuntu ku bwapulezidenti ne ku bifo by’obukulembeze ebirala okwetoloola eggwanga lyonna.

MPUUGA YATANDIKA BULUNGI NAYE OBUKADDE 500…

Mayanja ategeezezza nti Mpuuga yali akozesezza bulungi ekifo ng’akulira oludda oluvuganya mu palamenti ne yeetunda mu Bannayuganda nga kino kibadde kigenda kumuyamba nyo okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi wabula omusooto ogwamusiigibwa nti yalya obukadde 500 mu ddiiri Museveni zaayisa mu palamenti kyamukola bubi nyo nga mu kiseera kino buli amulaba amuyeeya nti mubbi wa ssente ya muwi wa musolo.

M7 AYAGALA NNYO ABAMUGATTAKO

Ono kyalina okukola kwekukolagana obulungi ne Museveni n’amuwa ekifo ky’obukulembeze mu gavumenti eddako singa anaabeera awangudde wabula munnamateeka Edward Ssansa ategeezezza nti Museveni asembeza abo bokka abalina omuwendo gw’abantu gwe bamugattako era ensonda zitegeezezza nti eno y’ensonga lwaki Bwanika wadde amuzanyidde emizanyo mingi mu kalulu akoma ku kumuwa ssente naye ebifo ebisava mu gavumenti tabimuwa kubanga talina kyamugattako.

ABDULNOOR KYAMUNDU Ono musomesa w’ebyobufuzi ku ttendekero ly’Obusiraamu erya IUIU atubuulidde nti ng’oggyeko ddiiru za pulezidenti Museveni zaawa abeesimbyewo, wabula abamu babeerako abagagga Abazungu be bafera nga babasabye ssente okubawagira ku bifo ebisava nti bwe bakwata obuyinza babayambe okuyisaawo ddiiru zaabwe ze baagala mu Uganda.

Abamu baagala kugenda mu byafaayo nti bavauganyako ku bwapulezidenti nga bwe babaako ensonga ze baggusa mu bitongole by’ensi yonna ne mu Bazungu ne babategeeza nti beesimbawo ku bwapulezidenti kibongerako omuwendo ku ddiiru gye babeera bagoba.

ENGERI M7 GYE YEETEGEKEDDE BOBI OBUTAMUGGYA KU ‘MAIN’

Julius Katongole akulira abavubuka ba NUP mu Lubaga Division, ategeezezza ONO BWINO nti Museveni alina pulaani nnene gyayagala okukozesa okunafuya pulezidenti waabwe Bobi Wine obutateekawo mbeera mu kalulu ka 2026 nga y’ensonga lwaki muk iseera kino ali mu kwogerezeganya n’abantu nga Moses Nsereko eyawangulwa Erias Nalukoola ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North oluvanyuma lw’okufa kwa Muhammad Ssegirinya.

ABALALA ABALI MU DDIIRU

Ibrahim Kasozi eyalangiridde okuvuganya Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago ku bwameeya bwa Kampala bamulumiriza nti omugagga Hamis Kiggundu yaamuleese okuwangula Lukwago amulemeddeko obutazimba buyumba ku myala mu Kampala n’okwagala okumusiba mu kkomera nti amenya amateeka g’ekibuga.

Kasozi bweyabuuziddwa yategeezezza nti ye alina abawagizi bangi nga tamanyi oba Kiggundu y’omu ku bo wabula naawera nti wakutambulira mu bigere by’abagenzi Al-Hajji Nasser Ntege Ssebaggala ne Ssebaana nga bwe baakola nga bali ku bwameeya.

Kasozi yabuulira ONO BWINO nti Omulangira Dr Kassim Nakibinge Kakungulu yamusaba okulekera Lukwago obwaloodi mmeeya addeyo yeesimba e Makindye East avuganya Derrick Nyeko owa NUP.

Ono mu kiseera kino alumiriza nti Lukwago ye yamugamba okwetegeka okumuddira mu bigere nga Loodi meeya wa Kampala ng’akakasa nti bino yabimugambira Kibuli ku muzikiti nga basaalira mayiti ya Sheikh Anas Kariisa nga omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda yaliwo era asobola okumuweera obujulizi.

Kasozi ategeezezza nti okuva olwo Lukwago tamutegeezangako nti akomawo ku bwaloodi meeya ate nga basisinkana enfunda nyingi ekimuleetera okukkiriza nti omusajja akyayimiridde ku kigambo kye.

Kasozi bweyali mu kutongoza akatabo ka mukwano gwe Damba Ismail ayagala obwakansala bwa Kabowa ne Mutundwe aka ‘Nsalessale Vva mu Birooti, yategeeza ONO BWINO nti Lukwago ekibuga kimulemye nga buli kaseera abeera akaaba nga KCCA bwetalina ssente, ate nga bammeeya nga Ssebaana baakola n’azimba n’omwala gwa Nakibubo nga ssente mu bajeti alina ntono, ono yeewuunya n’oluguudo lwa Diniya okutuuka e Wankulukuku lw’agamba nti lujjudde kasasiro nga Lukwago atunula butunuzi.

PULAANI EKOMYAWO BESIGYE MU KALULU KA 2026 ETANDISE OKULUKIBWA

Mayanja atubuulidde nti mu kisinde kyabwe eky’ebyobufuzi ki People’s Front for Freedom (PFF) batandise ku nteekateeka nabo okusimbawo omuntu ku bwapulezidenti nga bonna mu nkiiko ezaasoose bakkiriza nti Dr Besigye ali mu kkomera yaasobola okubaggusiza omulimu ogwo.

Ono atunyonyodde nti baagala bafune satifikeeti ebakakasa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi okuva mu kakiiko k’ebyokulonda ng’enteekateeka zonna basuubira nti ziggwa wiiki eno.
Mayanja atubuulidde nti bwekubeera kuwandisiza Besigye mu kkomera okusobola oluvuganya ku bwapulezidenti bagenda kukikola era si gwegugenda okubeera omulundi gwe ogusoose nga kyali kimutuuseeko mu kalulu ka 2005 bwe baawandiisa ekifaananyi kye.

NAYE OPOZISONI KU LUNO ENAASIMBAWO OMUNTU OMU?

Mayanja ategeezezza nti tasuubira oba wanaabeerawo okukkaanya oludda oluvuganya okuleeta omuntu omu okuvuganya ku bwapulezidenti ng’alumiriza nti NUP eyalikulembeddemu kino yeeyagaliza nyo okubeera nga yeekulembera n’omuntu waayo Bobi Wine obutafaanagana nga bwegwali ku banabyabufuzi ku luda oluvuganya abaaliwo mu kusooka.

Mayanja okwogera bino nga Dr Besigye yalangirira dda nga bwatagenda kudda mu kalulu akategekeddwa Museveni nga akubiriza abantu situlago bagirwanire mu kuguguba.

DDIIRU EZ’OBULABE ABANENE MU NUP Z’E AKOLA EZIWAMBISA N’OKUTTISA BA FOOT SOLDIERS

Charles Rwomushana eyakulirako obukessi mu State House alumiriza nti abakulembeze ku ludda oluvuganya bakozesa abavubuka n’abantu abalala abalwanirira enkyukakyuka mu ggwanga lyabwe bo okukola obugagga n’okusanyusa famire zaabwe.

Ono ategeezezza nti Bobi Wine n’abavubuka be abamuwagira yateekawo embeera ey’obunkeke ku Museveni mu kalulu ka 2021 nga mu kutya okungi Museveni alina abantu abamuli ku lusegere beyamusindikira okumusaba obutagezaako kukunga bavubuka be kutabangula mirembe mu kiseera ky’akalulu ne nga kawedde.

Ono alumiriza nti Bobi Wine yagaana okusisinkana abantu ba Museveni ekyanyiiza Museveni n’alagira securite okutandika okukwata abavubuka abamuli ku mwanjo enyo abaali basuubirwa okuteekawo obunkenke nga mwe mwafiira abamu, abalala nebagendera ku bisago eby’amaanyi, nga waliwo n’abakyali mu makomera.

Ono ategeezezza nti ddiiru eno Museveni yagisasula ssente nyingi zeyawa abakulembeze ab’amaanyi mu NUP okutundayo abavubuka abaakabenje mu nkambi ya Bobi Wine nga kino omubaka wa Butambula Muhammad Muwanga Kivumbi olwakitegeera n’atuukirira omunene oyo ava mu kitundu ky’e Masaka okumunyonyola amazima gaakyo.

Omunene yali w’amazima okusinziira ku Rwomushana nti olwokuba baali bamaze ebiseera bingi nga bazannya ebyobufuzi ku luda oluvuganya ne Muwanga yamubuulira buli kimu wabula n’amutegeza nti ensonga eno ne Bobi Wine agimanyiko.

Rwomushana ategeezezza nti embeera yazitowa ku Muwanga eyali alwana okukyusa obuyinza bw’eggwanga n’atuukirira Bobi Wine okumubuuza ku nsonga ezo, Bobi Wine yatabuka nyo wabula n’amukkakkanya n’amuwa amagezi okubeera omwegendereza eri omunene oyo amulabule ne ku bantu abamwetoolodde.

Rwomushana alumiriza nti okukwata abawagizi ba NUP ku bizinga by’e Kalangala nga ekikwekweto kyaduumirwa omugenzi Lt Gen Paul Lokech eyali omumyuka w’omuduumizi wa poliisi abanene mu NUP baakimanyako era baakiri wakati okusobola okutaasa embeera Museveni alangirirwe ku buwanguzi n’okulayira alayire nga tewali kwekalakaasa kwonna nga byonna baabikola nga bamaze okulya sente ze eziri eyo mu buwumbi okusinziira ku Rwomushana.

Rwomushana ategeezezza nti Bobi Wine olwakitegeera nti abasajja abamwetoolodde baamutunda dda ewa Museveni yasalawo abaana be okubaddusa mu ggwanga ng’atya nti bayinza okutuusibwako obulabe.

Bobi Wine ensonga eno yagyogerako mu America gyebuvuddeko n’ategeeza nti alina obujulizi nti baagenda okubalumba e Kalangala ng’omu ku banene mu NUP ennaku bbiri emabega yali yasisinkanako Museveni nga akakasa nti ensonga eyo gye baali boogerako.

Mufumbiro alumiriza nti ekikwekweto ky’e Kalangala kyaliko ebiragiro nti bwe bateekawo embeera babattireyo nga ekintu ekyo kyanyiza nyo Bobi Wine era okuva olwo yalayira obutasonyiwa munene oyo.

BE BATWALA MU KKOOTI ATE BADDUKIRA WA M7 N’OMUTABANI

Rwomushana ategeezezza nti bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya bangi bwe bawangula akalulu wabula nebabatwala mu kkooti ate baddukira ewa Museveni ne mutabaniwe Gen Muhoozi Kainerugaba okubataasa boogerezeganye n’abalamuzi era bangi emisango bagiwangula.

ENSOLIMA EZAABENGA BESIGYE

Mubarak Munyagwa eyaliko omubaka wa Kawempe South alumiriza nti ekyalemesa Besigye okukozesa okuguguba zaali nsolima Museveni zeyamuteekamu ezaamulooperanga pulaani zonna nga muno mwalimu n’abakulembeze beyawagira okukulemberamu enteekateeka zino.

Gen Edward Kale Kayihura yakkiriza nti bwe yabeerera omuduumizi wa poliisi yateeka bambega be mu nkambi ya Besigye ng’abamu bamuli ku lusegere nyo nga bano be baamuwanga amawulire agamuyamba okutaasa gavumenti ya pulezidenti Museveni.

Mpuuga y’omu ku boogerwako ng’abagezi abazze bakulemberamu enteekateeka z’okuteeka ku pulezidenti Museveni embeera nga bayita mu kalulu n’okuguguba ku mulembe gwa Dr Besigye ne Bobi Wine, Ono Bwino agezezaako okumunonya okubako kyayogera ku nsonga eno wabula n’alemererwa.

MUWANGA AKAKASIZZA DDIIRU

Muwanga ategeezezza nti mu kalulu ka 2021, bingi ebyaliwo ebyakolebwa abantu be baayitanga bannaabwe ebyaviirako abaana baabwe ababawagira bangi okubasiba mu makomera.

Share This Article