Olutalo Ku Nsolima Ewa Pulinsipo: Bobi Ayungudde Ttiimu Okukola Ku Ba MP Ne Bakansala Abamuyeekera…

OMUMYUKA wa pulezidenti wa NUP atwala Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi akakasizza nga bweyafunye ebiragiro okuva ewa mukamawe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okukulemberamu tiimu egenda okwetegereza abakulembeze abalina okuweebwa tiketi y’ekibiina mu 2026.

Hadijja Namagembe
4 Min Read
Bobi Wine n'akulira abakuumi be Eddie Mutwe. Mu katono ye MP Muwanga Kivumbi

OMUMYUKA wa pulezidenti wa NUP atwala Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi akakasizza nga bweyafunye ebiragiro okuva ewa mukamawe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okukulemberamu tiimu egenda okwetegereza abakulembeze abalina okuweebwa tiketi y’ekibiina mu 2026.

Ono ategeezezza nti tiimu ye yatandise wiiki ewedde okutalaaga ekitundu kya Buganda nga batandise na bitundu by’e Kasanda, Mubende bazzeeko Masaka, Gomba n’ebitundu ebirala.
Kivumbi ategeezezza nti kino bakikoze okuzuula abakulembeze abalina okukkiriza n’obumalirivu okutambulira ku mulamwa gw’ekibiina nga si beetegefu kuddamu kukola nsobi ze baakola mu kalulu akawedde ne bawa abantu abalina akakwate ku pulezidenti Museveni gye biggweredde nga babaliddemu olukwe n’okukola ebintu ebibaswaza.

Kivumbi anyonyodde nti omuyaga oguliwo nga banne bwe bamaze ekiseera mu byobufuzi nga bamwogerera olw’ebiragiro byeyawadde ku banne okuli Mathius Mpuuga Nsamba, Abed Bwanika, Joyce Bagala Ntwatwa, Bashir Kazibwe Mbaziira n’abalala okwetonda olw’ebikolwa byabwe oba okukkiriza okubasimbako owa NUP zaabike emipiira mu kalulu ka 2026 tegugenda kumulemesa kutuukiriza biragiro byamuweeredwa Bobi Wine.

Kivumbi ategeezezza nti banne abamyuka ba pulezidenti mu bitundu by’eggwanga ebirala bakoze omulimu mulungi nga bakunze abantu okwegatta ku kibiina era ku mulundi guno basuubira okusimba abakulembeze mu bifo by’obukulembeze ebiwerako okusinga nga bwegwali mu 2021.

Mu Buganda, Kivumbi ayongeddeko nti agenda kulwana nyo okulaba ng’ekibiina kiweza ababaka 100 be bagenda okusimba mu bifo Museveni gy’alowooza nti w’amaanyi nga Ssembabule, Nakasongola, Kiboga, mu lukoola lw’e Bugerere era bawangule kubanga obuwagizi obwetaagisa babulina.

NE KU DISITULIKI NUP ERUMBYE

Ono ategeezezza nti olutalo lwaduumidde terugenda kukoma ku babaka ba palamenti, wabula baakutwaliramu bassentebbe ba zidisitulikiti, bakkansala, bammeeya b’ebibuga n’abakulembeze ku byalo nga Buganda yonna ayagala ekulemberwe NUP.

AYOGEDDE KU MPUUGA OKUMUTEEKAMU SSENTE

Kivumbi akkirizza nti bweyali yaakayingira eby’obufuzi abantu bangi abaamuyamba okumubeezaawo nga bamuwa ssente kubanga yali talina mulimu gw’akola era mu bano mwalimu n’abantu abaali bakolagana ne Museveni nga Charles Rwomushana ne Ahmed Kateregga Musaazi RDC w’e Butambala kati.

Ono akkiriza nti Mpuuga ne banne okuli eyali omubaka wa Lubaga North Moses Kasibante, omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda baamuyambako okutuuka waatuuse wabula kino si ky’ekiseera ekituufu okutandika okumulangira olwokuba yayogedde ku bufere bwebakola obulemesa situlago.

‘MPUUGA TONNEESOMERAKO NAAWE NNAKUYAMBA’

Kivumbi atubuulidde nti naye yayamba nyo Mpuuga okutuuka waatuuse nga wadde ye mu kiseera kino yeetwala nga ow’omutawaana n’anyonyola nti okumuwa ekifo ky’akulira oludda oluvuganya mu palamenti y’omu ku baamusemba ewa Bobi Wine era bwe baafuna obutakkaanya yatuukirira abakulembeze abawera ng’abeegayirira okuyingira mu nsonga zaabwe babatabaganye.

Kivumbi ategeezezza nti ng’omuntu alwana okuleeta obwenkanya mu Uganda tasobola kuwagira Mpuuga ng’alya ssente yomuwi w’omusolo mu bufere ng’obukadde 500 obwamuweebwa ng’akasiimo olw’okukolagana obulungi ne pulezidenti Museveni ng’akyakulira oludda oluvuganya nga kino bwekibeera nga kyekyanyiiza banne tagenda kubeetondera.

Kasibante ategeezezza nti Kivumbi bweyalangirira okwesimbawo ku kifo ky’obubaka bwapalamenti e Butambala, bakkaanya Ssemujju n’akulemberamu okumunonyeza ssente z’okuwagira kampeyini ze nga kibeera kyabuli bwa nkwe ate kati okutandika okulwanyisa banne olwokuba ayagala obufo obumuweereddwa Bobi Wine ate ng’essaawa yonna agenda kumugoba nga bweyagoba banne abaasooka.

Ono awagiddwa omubaka w’abalema mu palamenti Mpindi Bumaali ategeezezza nti Kivumbi alinga Nambooze abakkiriza okubakozesa ebintu ebibaswaza olwokuba baagala kkaadi okusigaala mu palamenti.

Ono Nambooze amwambalidde n’amutegeeza nga bwatamwegerageranyako kubanga ye aleese ensonga ez’omuggundu mu palamenti ezikyusizza obulamu bwa Bannayuganda obutafaananako ye akoze ogw’okuweeweeta ababaka abakazi mu palamenti.

Kasibante ategeezezza nti baatandika ekisinde ky’ebyobufuzi Ssuubi nga bayambwako eyali Katikkiro wa Buganda Joseph Mulwanya Ssemogerere ng’ekigendererwa kyabwe ekikulu kutendeka bakulembeze b’amaanyi mu Buganda, wabula mu kiseera kino kimwewunyisa okulaba ng’abamu ku bannaabwe bwe baali mu nteekateeka eno okuli Nambooze ne Kivumbi ate babeefuulidde nga balwanyisa abakulembeze be baazimba nga Mpuuga.

Share This Article