AKULIRA akakiiko k’ebyokulonda, omulamuzi Simon Byabakama, ategeezezza ONO BWINO ebimu ku bigenda okugobererwa mu kalulu ka 2026 okusobola okwewala vvulugu n’okuyiwa omusaayi ebyali mu kalulu ka 2021. Ono era ayogedde ne ku nnongosereza omukulembeze w’ekisinde Kya Democratic Alliance-DA Mathias Mpuuga Nsamba z’ayagala okuleeta.
Byabakama ategeezezza ng’ekitongole kye bwe kigenda okutuula n’ebitongole ebikuumaddembe omuli poliisi n’amagye bitegeezebwe ku ngeri gye balina okukolaganamu n’abeesimbyewo ku bifo ebyenjawulo… Byabakama ONO BWINO yamusanze ku kitebe ky’akakiiko ky’ebyokulonda mu ‘Industrial Area’ mu Kampala.
ONO BWINO: Bannabyabufuzi abamu abazze beesimba ku bwa pulezidenti nga Bobi Wine bagamba nti akakiiko k’ebyokulonda kalina kyekubiira, kuba bakwatibwa ne basibibwa awatali misango, enkung’aana zaabwe ezisinga ne zigaanibwa nga Poliisi yeekwasa obusongasonga, kyokka nga pulezidenti Museveni n’abalala aba NRM be bavuganya nabo ne bakuyega nga tewali abalemesa, kati basuubire ki mu kulonda okujja?
BYABAKAMA: Omanyi ebintu ebyo naffe ng’akakiiko tubiraba era ne bitukola bubi kuba akakiiko kaffe ka mirembe, era kiri mu mateeka buli eyeesimbyewo okuweebwa eddembe okunoonya akalulu n’okwogerako eri abantu nga ssemateeka wa Uganda bwalagira, wabula akalulu akawedde naffe ng’ekitongole ky’ebyokulondesa twafunamu okusomozebwa olw’ekirwadde Kya COVID-19 ekyatuyingirira era ekyataataaganya nnyo pulogulaamu zaffe ng’akakiiko k’ebyokulonda nga tutya ekirwadde okusaasaanira mu bantu, kati tusaba Katonda omulundi guno kireme kubeera nga bwe kyali.
TUGENDA KUSISINKANA ABA SECULITE
Omulundi guno, tukoze enteekateeka okusooka okusisinkana ebitongole by’ebyokwerinda byonna omuli poliisi n’amagye kuba nabo banna Uganda ng’abantu abalala, sso ng’omulimu gwabwe gwa kukuuma mirembe nga bagoberera amateeka ssi kulabika ng’abaliko gwe bakolera, nga balemesa abeesimbyeewo abalala okugoberera pulogulaamu yaffe gye balina okutambulirako. Embeera ezo aba opozisioni bazze bazitutegeezaako naye ssi kigendererwa kyaffe nti tubalemese, wabula nabo bagoberere ki ssemateeka ky’abalagira okukola.
EBY’OKUJJUZA EKIFO KYA SSEGIRINYA BIRI MU GGIYA
ONO BWINO: Okujjuza ekifo ekyalimu omubaka wa Kawempe North eyafa Muhammad Ssegirinya kugenda kubeerawo ddi?
BYABAKAMA: Olunaku olwo tugenda kulutegeeza abantu be Kawempe nga tumaze okusisinkana bonna abeegwanyiza ekifo kino ku bbalaza ya wiiki ejja, ku lunaku luno, kwe tugenda okutegeeza bonna abeegwanyiza ekifo kino obukwakkulizo n’amateeka ge balina okugoberera nga banoonya obululu.
ONO BWINO: Abalonzi bameka abaakeewandiisa mu kulonda okujja?
BYABAKAMA: Omuwendo gw’abalonzi tegunaba kukakasibwa okuggyako nga tumaze omutendera gwe tuliko ogw’okuwandisibwa, olwo lwe tujja okusobola okutegereza eggwanga Omuwendo omutuufu ogugenda okulonda, naye njagala abantu bakimanye nti okuwandiisa abalonzi kukomekkerezebwa nga 10 omwezi ogujja awatali kwongezebwayo, ng’abantu abamu bwe batandise okutukaka.
ONO BWINO: Mu kaweefube w’okutereeza enkalala, abantu bagamba nti omulimu gutambula mpola olw’obuuma okubeera obutono…
BYABAKAMA: Kituufu abantu bazze beemulugunya nti obuuma butono nti era bukola kasoobo n’obulala okubeera nga tebukola, gavumenti yatuwadde obuuma obulala obubadde bukozesebwa mu kubala abantu mu ggwanga era tuyungudde ne ttiimu ya bamakanika egenda okulaba ng’ebutereeza ng’okulonda tekunatuuka. Twakozeemu enkyukakyuka era buli kitundu ne tuwaayo obuuma obulala okusobola okwanguyiza mu mulimu g’okutereeza enkalala.,
ONO BWINO: Abalonzi bameka abasuubirwa mu kulonda okujja?
BYABAKAMA: Tulina okusooka okumalirira omutendera gwe tuliko okusooka okuwandiisa abantu bonna, olwo ng’akakiiko lwe tujja okusobola okufuna omuwendo omutuufu. Abantu baffe balina okumanya nti banna Uganda abatanaba kwewandiisa balina okukikola nga 10/02/2026 tezinatuuka.
KITUUFU OBBIRA M7 OBULULU?
ONO BWINO: Nga ssentebe w’akakiiko, owulira otya nga pulezidenti wa NUP Bobi Wine, Joel Ssenyonyi, Ssemujju Nganda n’aba opposition abalala nga bakulumiriza okubeera omubbi w’akakulu, nti era tosobola kulangirira wa opposition ku bwapulezidenti okuggyako Museveni eyakulonda?
BYABAKAMA: Eby’okulangirira ebivudde mu kulonda tukikola tugoberera ssemateeka nga bw’atulagira sso ssi nze asalawo ku muntu gwenjagala, olw’okuba nti pulezidenti Museveni y’alonda akakiiko, tekitegeeza nti gwe tulina okulangirira, endowooza eyo abantu basaana okujeggyamu kuba okulangirira kutandikira ku bifo awalondebwa ne bituweerezebwa nga ne ba agenti b’abeesimbyewo nga babitaddeko omukono, kati ate otuwaayiriza otya nti tuli babbi nti era tulangirira muntu mukyamu, bbo ssi be baliko ekikyamu!!
ONO BWINO: Abantu beemulugunya nti, obuuma obukozesebwa mu kutereeza enkalala ne mu kulonda nti bukadde nnyo mwemuyita okubba obululu, mugenda kubukola mutya obutabaswaza?
BYABAKAMA: Waliwo obuuma obubadde bukozesebwa mu kubala abantu mu ggwanga, obwo nga bwakolebwa nti okubala nga kuwedde bwakuweebwa ekitongole ky’ebyokulondesa, tugenda kuleeta abakugu abagenda okubutereeza nga bulina ekizubu kye bunaabeera bufunyeemu.
ONO BWINO: Lwaki mu kulonda okuwedde, ekitongole tekyalangirira byava mu disitulikiti ye Wakiso kubwa pulezidenti ate ng’eri kumpi n’ekitebe we mwabaliranga?
BYABAKAMA: Kituufu waliwo obululu obutaabalibwa okuva mu disitulikiti ye Wakiso oluvannyuma lw’essaawa 48 obudde obutuweebwa okulangira omuwanguzi okutuggwako. Ng’ekitongole, tulina ebintu ebitusomooza omuli okubeera n’obudde obutono obutuweebwa. Naye ng’ekitongole tugenda okulangirira nga tumaze okumanya nti obululu obwo obutabaliddwa tebulina kye buyinza kukyusa ku abeera agenda okulangirira okusinziira ku muwendo gw’abalonzi abali mu kitundu ekyo.
ONO BWINO: Okkirizigamya n’enkyukakyuka Omubaka Mathius Mpuuga Nsamba zaayagala zikolebwe mu by’okulonda?
BYABAKAMA: Mwami Mpuuga yajja wano ku kitongole n’atusisinkana era n’ayogera ku nnongosereza z’ayagala zikolebwe mu mateeka, ffe ne tumugamba nti, ssebo Mwami Mpuuga ssi mulimu gwange okukkiriza oba okugaana, omulimu gwaffe gwa kuteekesa mu nkola amateeka g’ebyokulonda agabeera gayisiddwa.
OBUBAKA ERI ABEESIMBYEWO
ONO BWINO: Nga tusemberera okulonda, bubala ki bw’owa Bobi Wine obutabeerako nsonga yonna gye yeekwasa nga kawedde?
BYABAKAMA: Amagezi ngawa buli agenda okwesimba ku bwa pulezidenti n’abagenda okwesimba ku bifo ebirala byonna nti, babeere n’empisa era bakozese olulimi olukkakkamu nga banoonya obululu, tekigasa eyeesimbyewo yenna okukozesa olulimi olukuma omuliro mu bantu kuba kibeera kizza eggwanga lyaffe emabega ate n’abantu okubeera ku bunkenke.
ONO BWINO: Ng’ekitongole, mwalina kigendererwa ki okutimba ekikomera ky’ekitongole n’ebifaananyi bya Bobi Wine ebikadde ebyali bimulaga ng’anywa enjaga, tekwali kumuweebuula mu bantu?
BYABAKAMA: Ssi ffe twatimba ebifaananyi ebyo ku kikomera kyaffe, wabula waliwo omuntu eyakikola n’ekigendererwa eky’okutuswaza ng’ekitongole, era ekikolwa ekyo twakivumirira ne tulagira ebifaananyi okuggyibwako, kuba byali bituswazizza nnyo nga biraga nti ffe twali tubitaddeko, ekintu ekitali kituufu kuba abantu abakola mu kitongole kino balina empisa tebasobola kumala gakola kikolwa ng’ekyo. Mu kulonda okujja, omuntu yenna anaakwatibwa ng’asaasaanya ebifaananyi by’omuntu yenna ababeera yeesimbyewo nga bimusawaza n’okumuweebuula kaakumujjuutuka.
OMUSAAYI TEGUDDEMU OKUYIIKA MU KALULU?
ONO BWINO: Akalulu akawedde mwalimu nnyo okuyiwa omusaayi n’eggwanga okubeera ku bunkenke naddala bwe baali bakutte pulezidenti wa NUP Kyagulanyi, mulina nteekateeka ki okulaba ng’embeera eyo teddamu kubeera mu kalulu?
BYABAKAMA: Abantu bwe balaba ebintu ebyo bagamba nti akakiiko kalemereddwa akalulu, naye mbuuza nti, baani abakola effujjo eryo, babeera bakozi baffe mu kakiiko? Abantu abakola effujjo mu kalulu babeera bawagizi b’abeesimbyewo sso ssi ffe ng’ekitongole, era balina okubakomako kuba embeera ey’okuyiwa omusaayi yateekawo ekifaananyi ekibi ennyo mu kalulu akandibadde ak’emirembe n’obwenkanya. Embeera eyo tugyetegekedde era tegenda kubeerawo mu kalulu ka 2026.


