Bobi Akaabiridde Abazungu Okumutaasa Ku Muhoozi, Atabukidde e Bungereza Ku Ddiiru Za Trump ne M7 Ezimusembya…

PULEZIDENTI wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alagyanye bwabadde mu kafubo n’ababaka ba palamenti ya Bungereza ng’abeegayirira okubaako kyebakola ku Gen Muhoozi Kainerugaba awera ku yintanenti nga bwagenda okumutta.

Hadijja Namagembe
5 Min Read

PULEZIDENTI wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alagyanye bwabadde mu kafubo n’ababaka ba palamenti ya Bungereza ng’abeegayirira okubaako kyebakola ku Gen Muhoozi Kainerugaba awera ku yintanenti nga bwagenda okumutta.

Bobi Wine okugenda e Bungereza yabadde awerekeddwako ttiimu y’abakulembeze mu NUP okwabadde Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya mu palamenti, David Lewis Rubongoya ssaabawandiisi wa NUP n’abalala, yategeezezza nga bwali omuntu atya okufa naddala bwategeera nti omuntu amutiisatiisa alina obusobozi obumusanyawo nga Gen Muhoozi gweyagambye nti yakakasa dda ensi nga bwalina essasi erya ggolodi ly’aterese mukifo eky’enkizo nga wakuliggyayo mu kiseera ekituufu okusobola okulikozesa okumumaliriza.

Bobi Wine ategeezezza nti mu kusooka ebigambo bya Muhoozi yali abitwala ng’ebyokusaaga wabula bweyajjukira engeri gye yasimattukamu okufa mu 2017 mu kampeyinni z’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua Municipality ekyalimu Ibrahim Abiriga, n’akkiriza nti Muhoozi nga ye muduumizi wa UPDF byayogera abitegeeza.

BOBI AKYAWERA KUZOGANYA M7 WADDE BAMUTIISA OKUMUTTA

Bobi yategeezezza nti wadde atambulira mu kutya, naye tasobola kuva mu situlago y’okulwanyisa pulezidenti Museveni obwedda gw’ayita nakyemalira n’akakasa nti mu kalulu ka 2026 agenda kumuvuganya era embeera yonna emulagiddwa bannayuganda emumala okumutegeeza nti akalulu agenda kawangula mu ngeri yonna.

2026 AGENDA KUBEERA WA MUSAAYI NG’EGGAALI EBAYITAMU

Bobi Wine yamatizza Abangereza nti akalulu ka 2026 kagenda kubeera ka musaayi ng’abavubuka abakola ebitundu 75% ku muwendo gw’abalonzi okwetoloola eggwanga lyonna beetegefu okuyiwawo omubiri okusobola okununula eggwanga lyabwe.

Ono anyonyodde nga bwe batandise okutendeka abavubuka mu nkola gye baatuumye EGGAALI nga bano bagenda kutendekebwa engeri y’okunonya n’okukuumamu akalulu kaabwe mu 2026. Akakodyo kano baasoose kukagezesa mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North ne bakizuula nti esobolera ddala okukola.

Bobi Wine yabuulidde Abangereza nti ekyabalemesa okuteekawo embeera mu kalulu ka 2021 kwali kubeera nga baali tebeetegeese bulungi okulwanirira akalulu kaabwe nga kino akitadde ku kubeera nti yali yaakayingira eby’obufuzi naye kati abigundiriddemu ddala.

ATABUKIDDE TRUMP

Bobi Wine ategeezezza nti ekizubu ekinene kyebalina be bakulembeze b’amawanga g’Abazungu nga America abakutula ddiiru n’abakulembeze nga Museveni ne babawa ssente nga beekwese mu kubawa obuyambi n’emmundu zebakozesa okubatulugunya.

Ono olunwe asinze kulusonga mu Donald Trump owa America gwalumiriza nti talowooza ku nkola ya demokulasiya wabula kukola bugagga nga kino kizkyabalemeseza okukyusa obukulembeze mu Uganda, wano waasinzidde neyeebaza nyo pulezidenti Joe Biden eyawummula gwayogeddeko ng’eyabayamba enyo okunafuya Museveni.

Wine anyonyodde nti nnatti, America, Bungereza, Dubai n’amawanga mu mukago gwa Bulaaya ze gaateeka ku banene mu gavumenti ya pulezidenti Museveni n’okuwamba obugagga bwabwe bwe baali baakweka mu mawanga gaabwe zaabayambako okubanafuya era asabye Bungereza okugenda mu maaso ng’eteeka nnatti ku bantu abo.

ALINA PULAANI Y’EGGAALI BAKYAMUNONYA

Bambega mu bitongole by’eggwanga ebikessi bakakasizza nti emu ku nsonga eyatutte Bobi Wine e Bungereza kwe kwongera okunonya ssente z’okutambuza n’okuzimba obubinja bw’abavubuka bweyatuuma eggaali bwe bagenda okukozesa mu kalulu ka 2026.

Bano balumiriza nti eno y’ensonga lwaki Bobi yatambudde ne Brain Kavuma gwe bateebereza nti yaatambulirwako pulaani y’engeri eggaali gyegenda okuzimbibwamu n’okutendekebwa.

Ensonda zitegeezezza nti Kavuma y’omu ku basomesa ab’amaanyi ku ttendekero lya NUP e Kamwokya nga okuva securite bweyakola ebikwekweto ku ttendekero lino n’ewamba ebintu bye balumiriza okubeera nga byefaananyiriza eby’ebitongole by’ebyokwerinda ono taddangamu kulabikako okutuusa kati.

Kavuma ensonda zitubuulidde nti mutuuze w’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso nga securite eteebereza nti Bobi Wine yabadde amukwese ng’atya okumukwata nga tanamutwala mu Bazungu abasomeremu engeri enkola y’eggaali bwegenda okukola mu kalulu.

NUP KY’EGAMBA

Alex Waiswa Mufumbiro omumyuka w’omwogezi wa NUP ategezezeza nti abakozi baabwe bangi okuva securite bweyalumba ekitebe kyabwe n’ettendekero lyabwe baabulawo nga n’okutuusa kati tebamanyi gyebali nga balowooza nti abamu baakwatibwa nga bakuumibwa securite.

Mufumbiro agamba nti baabuulira famire z’abantu abaabulwako abaabwe okuggulawo emisango gy’okubula kwabwe ku poliisi nga nabo bwebakolagana ne balooya baabwe okubayigga.

POLIISI KY’ESIMBYEKO ESSIRA

Kituuma Rusoke ayogerera poliisi ategeezezza nti okunonyereza ku bikolwa by’obumenyi bw’amateeka ebyali bikolebwa ku NUP kukyagenda mu maaso era abo bonna abateeberezebwa okubyenyigiramu baakukwatibwa bavunaanibwe mu kkooti z’amateeka.

TAGGED:
Share This Article