Zambali Wa NBS TV Atuuyana: Kaija Akwatira Besigye Ensawo Yeekiise Mu Kkubo Lye e Nansana…

WADDE omugagga Dr. Kin Kariisa nannyini TV ya NBS yasiibudde musajjawe ow’eddoboozi Zambali Bulasio Mukasa mu butongole n’amwagaliza obuwanguzi mu byobufuzi bye yayingiddemu abeere wa ttutumu nga bw’abadde mu mawulire, wabula emiziziko mingi gyalina okubuuka okutuuka ku buwanguzi.

Timothy Nyanzi
2 Min Read
Harold Kaija and Zambaali Mukasa

WADDE omugagga Dr. Kin Kariisa nannyini TV ya NBS yasiibudde musajjawe ow’eddoboozi Zambali Bulasio Mukasa mu butongole n’amwagaliza obuwanguzi mu byobufuzi bye yayingiddemu abeere wa ttutumu nga bw’abadde mu mawulire, wabula emiziziko mingi gyalina okubuuka okutuuka ku buwanguzi.

Zambali okuva ku NBS, ng’amaze okulangirira nga bwagenda okuvuganya Wakayima Musoke ku kifo ky’omubaka wa Nansana Municipality ku kkaadi ya NUP.

Banne ba Zambali batukakasa nti omukulu okusuulawo omulimu gwabadde asasulwa buli mwezi ssente ezitakka wansi wa bukadde 3, kyaddiridde okusisinkana pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) n’amukakasa nga bwagenda okumuyiirawo omubiri okufuna kkaadi mu kalulu ka 2026.

Zambali alina okuteekawo embeera okusobola okusooka okuwangula John Bosco Sserunkuuma amanyiddwa ennyo nga ‘Kaana k’ambata’ eyatandika edda okwepikira kkaadi eno ng’alina obuwagizi bw’amaanyi okuva mu ba foot soldiers abagamba nti abadde ayiirawo ekibiina omubiri okuva ku ntandikwa nga n’ebipande yabikubisa dda nga ba Zambali tebannalowooza kwesimbawo.

Zambali olunaamala okuwangula Sserunkuma, olwo atandike okubalira Harold Kaija omu ku basajja b’omusibe Dr Kizza Besigye abamaze ekiseera nga bamukwatira ensawo mu situlago y’okugoba pulezidenti Museveni mu ntebe.

Kaija awaga nti mu bantu mwali era beetegefu okumuyira obululu nga kuno agasseeko n’okukunga banne bonna ku ludda oluvuganya okusimbawo omuntu omu ku bifo by’obukulembeze nga wano waayagalira ekisinde ky’ebyobufuzi ki People’s Front for Freedom (PFF) kyalimu okumusemba yeesimbewo e Nansana olwo Sserukuma oba Zambali beesimbewo ku bwakkansala ku disitulikiti e Wakiso.

TAGGED:
Share This Article