Obunkenke Ewa Kabaka: Lwaki Mukulu We Omulangira Ggolooba Yafudde Akolima: Beene Agobye Abamutwalira Olugambo Agobe Mayiga…

OKUFA kw'omulangira Daudi Ssimbwa Ggolooba kwongedde omuliro mu butakkanya mu lulyo olulangira mu Buganda naddala mu nnyumba ya Ssekabaka Sir Edward Walugembe Mutesa nga waliwo abalumiriza Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi obutabafaako mu kiti kye ng’omusika wa kitaabwe.

Sengooba Alirabaki
8 Min Read

OKUFA kw’omulangira Daudi Ssimbwa Ggolooba kwongedde omuliro mu butakkanya mu lulyo olulangira mu Buganda naddala mu nnyumba ya Ssekabaka Sir Edward Walugembe Mutesa nga waliwo abalumiriza Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi obutabafaako mu kiti kye ng’omusika wa kitaabwe.

Omu ku balangira abadde ennyo ku lusegere lw’omulangira Ggolooba eyafiiridde mu ddwaliro e Nsambya okuva bweyava e Bugereza gye yamala emyaka emingi, atubuulidde nti omugenzi afudde akolima olw’okumulemesa okusisinkana mutowe Kabaka Mutebi omusika wa kitaawe Muteesasa.

LWAKI BABADDE BAMULEMESA OKULABA KABAKA

Ono ayongeddeko nti omugenzi enfunda nyingi agezezzaako okusisinkana Kabaka Mutebi okubaako ensonga ze boogerako ng’abooluganda abaawangaalira enyo mu buwang’anguse wabula abali kulusegere lwa Kabaka nga bamulemesa nga beekwasa ebiragiro by’abasawo bye baamuwa olw’obulwadde obwali bumuluma wadde nga ne bweyali omulamu nga tebabakkiriza kumulabako nga nabo balengera mulengere ku mikolo gy’Obwakabaka.

Obulwadde Kabaka bwatandika okumuluma mu 2019 ne bamujjanjabira mu malwaliro mu ggwanga ne wabweru waalyo.

MAYIGA AYOGEDDE

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yategeezezza Obuganda nti omugenzi Golooba yafudde bulwadde bwa ssukaali ne yeebaza bonna abamubeereddewo mu bulwadde.
Omulangira yaziikiddwa ggulo ku Lwokubiri mu masiro g’e Kasubi awaaterekebwa Ssekabaka Muteesa ne bajjajja be abalala. Enteekateeka z’okumuziika zaakulembeddwamu akakiiko Mayiga keyataddewo nga kakulemberwa omumyuka we pulofesa Twaha Kigongo Kaawaase nga bakwatagana ne famire y’omugenzi.

EBY’OMUMBEJJA ALI OBUBI

Omugenzi agenze okufa ng’abalangira abalala banoonya ssente okutwala muganda waabwe Omumbejja Diana Teyeggala Muggale e Bulaaya okwongera okufuna obujjanjabi obusingako bwafuna mu Uganda ng’okusinga batubuulidde nti beesigamye ku pulezidenti Museveni okubataasa.

Ensonda mu lulyo olulangira zitubuulidde nti omugagga mu Kampala akulira ekibiina ky’abagagga kwagalana era omubaka wa Namibia mu Uganda Dr Godfrey Kirumira yawaayo ssente ezijjanjaba omulwadde Teyeggala wadde ng’embeera ekyagaanye okutereera.

Ensonda zitubuulidde nti waliwo okuwanuzua nti obulwadde obuluma Omumbejja buganda nga bakakasa nti ng’abaana b’olulyo olulangira balina ennono gye baasobya nga y’ensonga lwaki abamu baagala bamutwaleko mu basawo b’ekinnansi ng’abasinga basonze Tanzania oba Namibia.

Bano okusalawo okutwala Omumbejja mu basawo b’ekinnansi, kwekubeera nti obulwadde obumuluma bufaananira ddala obwali buluma Kabaka Mutebi.
Omulangira atubuulidde nti embeera y’obulwadde obubaluma, yeebaleetedde okwagala okusisinkana Kabaka Mutebi okubaako ensonga ze boogerako ng’aba famire ekintu ekikyaganye okubaawo nga buli bwebagezaako babalemesa.

KABAKA TAMALA GALABWA

Mayiga yategeeza nti mu Buganda Kabaka tamala galabwa buli kiseera omuntu waayagaliira olw’obusukkulumu bwe nga Katikkiro we gw’abeera yeerondedde y’alina okumulaba waayagalidde nga kino kikolebwa okusobola okumutegeeza ebigenda mu maaso mu Bwakabaka bwe kubanga gweyakwasa obuyinza [Ddamula] okumulamulirako Obuganda.

N’EBYOBUGAGGA BYA MUTESA BITABUDDE FAMIRE YA KABAKA

Wabula kino Abalangira bakiwakanya nga baagala Kabaka akkirize bamusisinkane boogeere ne ku nsonga ezikwata ku bugagga kitaabwe Ssekabaka Mutesa bweyaleka ku nsi.
Bano balumiriza nti obugagga bwa kitaabwe bwonna bweyaleka ng’omuntu bwawandiisibwa mu kitongole kya Mutesa Foundation nga Kabaka Mutebi, mutowe Omulangira David Kintu Wasajja, Omumbejja Agness Naabaloga, Omumbejja Sarah Kagere be bokka ababuganyulwamu nga bo babatwala nga abatali baana ba Mutesa.

Bano banyonyodde nti eby’obugagga byabwe byawukana bulungi ku by’obugagga by’Obwakabaka bwa Buganda era bino tebasobola kubikaayanira, kati baagala ensonga eno Museveni agiyingiremu nga balumiriza n’akasiimo akalina okuva mugavumenti okuweebwa famire yaabwe olwokuba kitaabwe yaliko pulezidenti wa Uganda nako tekabatuukako bannaabwe ab’olubatu be bakatwala.

Bategeezezza nti eby’obugagga ebirala jjajja bwe Ssekabaka Daudi Chwa byeyagabanya mu baana be nalyo Kabaka ne banne mu kitongole kya Mutesa foundation balibatutteko nga bayambwako balooya ab’amaanyi mu gavumenti ya Museveni nga be bawolereza Kabaka ng’omuntu n’ekitongole kya Buganda Land Board ekyakwasibwa obuyinza bw’okuddukanya ettaka ly’Obwakabaka.
Omulangira atubuulidde nti bwe watabaawo ky’amangu kikolebwa abalangira n’abambejja bakyafa nga Golooba. Bongeddeko nti munnaabwe omulala Micheal Ndawula ali e Gomba obulwadde gye bwamufundiriza nga talina ssente za bujjanjabi ng’embeera eno yeeri ne ku bannaabwe abawangaalira mu mawanga g’Abazungu nga n’abamu bafiirayo ne babulwa ssente ezikomyawo emirambo nga bwegwali ku mugenzi Ttonto eyafiira e Canada.

BAAGALA KULONDA MULANGIRA ABAKULIRA

Abalangira baagala bakkaanye Kabaka Mutebi asigaze obuvunaanyizibwa bwe nga Ccuucu olwo bo abaana ba Mutesa bafune Omulangira omulala abakulembera nga bamutuukako essaawa yonna we bamwetaagira nga balumiriza nti ne Ssekabaka Daudi Chwa naye bweyakola. Bano balumiriza nti Ssekabaka Mutesa yalaamira Mutebi okumusikira Obwakabaka ate abaana be n’abalekera Omulangira Mawanda okubakulembera n’okukola ku bizibu byabwe eby’obuntu.

OBWAKABAKA BUTANGAAZIZZA

Wabula bano omwogezi w’Obwakabaka era minisita w’amawulire n’okukunga Owek. Israel Kitooke Kazibwe yabawadde amagezi ensonga zaabwe okuzitwala ew’omulangira David Kintu Wasajja ajja kubayamba kubanga ayambye bangi.

Ensonda e Mengo zitubuulidde nti abalangira n’abambejja abamu balimba nti Kabaka tabalabirira ne bategeeza nti omugenzi Golooba, Kabaka abadde amuwandiikira amabaluwa n’okumutuma ku buvunanyizibwa obw’enjawulo okumukiikirira ku mikolo gy’Obwakabaka.

KABAKA AGOBYE ABAMUTWALIRA OLUGAMBO KU MAYIGA N’ABANENE E MMENGO

Ng’abalangira bakyalaajana okubalemesa okusisinkana Kabaka, ensonda ez’omunda mu Lubiri zitubuulidde nti ku ntandikwa y’omwaka guno, Kabaka yatabuka n’agoba abagenyi be yali asiimye okumukyalirako mu Lubiri lwe e Bbanda.

Ensonda zitegeezezza nti abagenyi Kabaka beyagoba baali bavudde Bungereza ng’Omutanda yawangaala nyo nabo ng’akyali mu buwang’anguse. Okubagoba kyaddirira okutandika okumuwa olugambo nti Katikkiro we Mayiga n’abaami e Mmengo be yeerondera balina bye bakola ebizza Obwakabaka emabega.

Bano ensonda zitegeezezza nti bano baali batumiddwa abamu ku banene mu ggwanga abawalana Mayiga nga baagala Kabaka omugobe ku Bwakatikkiro wabula bwe baatandika ebiboozi byabwe Kabaka n’ava mu mbeera n’abategeeza nga bw’agoberera obutereevu ebigenda maaso mu Buganda nga teyeetaaga kuwabula kwabwe bwabeera aliko okusalawo kwonna kwakola mu bwakabaka bwe.

Ensonda zongeddeko nti waliwo enkiiko ezaatuuzibwa e Naalya mu maka g’omunene alwana Mayiga nga zeetabwamu bajjajja abakulu b’ebika mu Buganda, Abalangira mu Buganda ne bakatikkiro abaawummula okusala amagezi ku ngeri gye baweereza Kabaka obubaka obusobola okumumatiza okugoba Mayiga ne banne.
Bano bakkaanya okukozesa mikwano gya Kabaka egiwangaalira e Bulaaya okubatuusiza obubaka bwabwe wabula ensonda zitubuulidde nti omukulu yabagobesa ebiboozi byabwe.

NANGE KABAKA SIKYAMULABA -MULIIKA

Katikkiro eyawumula Owek. Dan Mulika yategeeza nga naye bwe baamulemesa okusisikana Kabaka wadde nga y’omu ku bawabuzi be ab’okuntkiko. Embeera eno ne bajjajja abakulu b’ebika, abalangira n’abambejja balumiriza nti ebatuukako.

Ensonda mu Lubiri zitubulidde nti abantu Kabaka baatera okusisikana kuliko Katikkiro eyawummula Owek.JB Walusimbi ng’ono yaateranga okumusisikana n’omugenzi Owek. Nelson Kawalya.

EBISINGA OKUNYIIZA KABAKA

Abali ku lusegere lwa Kabaka batubuulidde nti ekimu ku bintu ebinyiiza Kabaka kwekumulaga nti gwe omuwa amagezi agasalawo ku nsonga ye gy’alina okusalawo nga ye ng’eno y’ensonga lwaki abagenyi baateesaliddeewo kumukyalira takyabalaba.

Wabula omu ku baasooka okubeera abayambi ba Kabaka nga yaakalya Obwakabaka, atubuulidde nti mukama we yali omuntu eyeebuuza enyo nga buli kyakola abeebuuzaako n’anyonyola nti okutandika obuteebuuza n’obutatwala kuwabulwa kw’abantu abamu kyava ku mbeera eyaliwo mu kiseera weyalwalira ng’abantu bakola effujjo n’ebikolwa ebyamuswaza ng’omuntu ne famire ye.
Kabaka kennyini yavumirira nyo abantu bano n’anyonyola nti baamenya ennono y’ensi Buganda.

Abamu ku baanyiiza Kabaka be bataka abagenda e Namibia ku kifuba gyeyali atwaliddwa okuwumulako n’okwongera okufuna obujjanjabi ku bulwadde obwali bumuluma Katikkiro Mayiga bweyabuulira Obuganda nti bwali bwa Alaje obwaleetebwa empumbu y’ebimuli. Kabaka mu bukambwe yagamba ye tabeera na musigire ng’abamu ku bataka bwe baali bagenda basaasaanya.

TAGGED:
Share This Article