Abayimbi Abagenda Okwetikka 2025: Kafulu W’okuyimba Anokoddeyo Owa Kinawolovu, Ava Peace, Kapeke, Dax Vibez, Recho Ray, Joshua Baraka…

Newankubadde nga bangi beeyuna ensiike y’okuyimba olwekitone, ebibalemesa bingi era y’ensonga lwaki omuyimbi wo akusingidde omwaka oguwedde oyinza obutaddamu kumuwuliza. Wadde biri bityo, waliwo abayimbi abazze nga balaga amaanyi era ng’okusinziira ku mukugu mu kwekennenya ennyimba KASIRYE ADAM, ategeezezza ONO BWINO mu mboozi ey’akafubo nti bano wammanga be bayimbi betulina okutunuulira omwaka guno, era abayinza okukikuba era n’ensonga lwaki.

Doreen Menezer
8 Min Read
Abayimbi Ava Peace ne Nandor Love owa Kinnawolovu

KATONDA mu bimu ku bitone bye yawa Bannayuganda, kwe kuyimba era buli lukya wawulikikayo omuyimbi omupya aba yeegasse ku lukunkumuli lw’abayimbi betulina.

Newankubadde nga bangi beeyuna ensiike y’okuyimba olwekitone, ebibalemesa bingi era y’ensonga lwaki omuyimbi wo akusingidde omwaka oguwedde oyinza obutaddamu kumuwuliza. Wadde biri bityo, waliwo abayimbi abazze nga balaga amaanyi era ng’okusinziira ku mukugu mu kwekennenya ennyimba KASIRYE ADAM, ategeezezza ONO BWINO mu mboozi ey’akafubo nti bano wammanga be bayimbi betulina okutunuulira omwaka guno, era abayinza okukikuba era n’ensonga lwaki.

Kasirye agamba nti okusinziira myuziki bwatambula mu nsi yonna, ensi yava ku talanta era bwotunuulira omutindo gw’ennyimba ezifulumizibwa mu ggwanga, ojja kwesanga ng’amawanga amalala nga batusinga kimu kukola maloboozi-sawundi mulungi naye bwekituuka ku mutindo gwenyimba nga bwezaali ng’edda nga oluyimba oluwulira kigambo ku kigambo weesanga nga tebikyakola nnyo.

ABAYIMBI BASAANYE BABEERE BAYIIYA
Ono agamba nti omuyimbi aba alina okugattako ebintu ebyenjawulo era kitegeeza okuwangala kwe mu nsiike y’okuyimba tekukyaliwo lwa talanta gyalina yokka wabula n’ebintu ebirala byatundira ku linnya lye nga omuyimbi n’engeri gye yeetegera mu emikutu gi mugatta bantu.

BAD BOY KAPEKE ANAAKIKUBA? Mu Uganda wano bw’otunuulira abayimbi abapya abali mu kujja, waliwo omuvubuka gwebayita Bad boy Kapeke. Ono yajja mu yindasitule ng’akozesa omukutu gwa TikTok era gwe gwamusindika paka bweyatuuka ku zi Leediyo ne TV. Ng’oggyeko eky’okuba nti muyimbi, Kapeke alina sitayiro ey’enjawulo ku z’abalala ekitegeeza nti buli ayagala okuwulira ku kyenjawulo asobola okumuwulira. Alina sitayiro yiye ey’enyambala kitegeeza era omuntu asobola okumukoppako enyambala, alina sitayiro y’amazina eyenjawulo ku y’abalala kitegeeza engeri gye yeseengekamu eyanguyira abavubuka ab’omulembe guno okumwettanira. Ate n’aba ng’akolagana nnyo ne leediyo ne TV ebya Galaxy ebikwatagana ennyo n’abavubuka.

Bw’otunulira omuwendo gw’abagoberezi be ssaako n’abalaba enyimba ze ku mikutu nga YouTube olaba ng’omuwendo gweyongera buli lunaku.

Yatandika afuna emitwalo ebiri egyabalabi naye oluvanyuma lw’okukola oluyimba ne Rickman, omuwendo gwagenda gulinnya nga kati era lwaweza obukadde bubiri, ne kuddako lweyakola ne Fik Fameica era nalwo lwakola kyekimu era n’enyimba ze ezizzeeko zikoze kyekimu.

AVA PEACE WA JEFF ALI LUNO!
Ava Peace nga mu kaseera kano akwasaganyizibwa Jeff Kiwa. Jeff Kiwa y’omu ku basajja abagezi bwekituuka ku by’okuyimba era abatambula n’omulembe nga basinziira ku kiba kiriwo. Ekyokulabirako byebiseera mweyaletera abayimbi ba Goodlyfe. Mu biseera ebyo yatuuzanga enkiiko ne banamawulire abaaliko ng’abasaba batutumule ebitone by’abayimbi be.

JOWY LANDA, RECHO RAY KOLABA YAABWE YAKWATAYO
mu kaseera kano ng’alina Ava Peace akimanyi nti TikTok ekola era alina abawala abayimbi beyakung’anya emabegako okwali Nandor Love, Jowy Landa, Ava Peace, Nina Rose ne Recho Ray eyayimba BIWATO ne bakola oluyimba lwa Kukyakala na kkubwa. Enkolagana gyebatandikawo eyambako omuyimbi we okututumuka kuba abayimbi abo batuula mu nyimba za Ava Peace nga tabasabye wabula nga bakikola ku lw’omukwano gwabwe. Awo abalala ababagoberera bonna webajjiramu.

LWAKI JEFF AKOZESA NYO OBUWALA OBUNYIRIRA
Jeff Kiwa akimanyi nti enyimba zitambulira nnyo ku kitonde ky’omuyimbi naddala nga mukyala era enyambala gy’amwambaza, vidiyo z’enyimba z’amukolera, n’engeri gyamuteekateeka bwomutunulira olaba nga bwomutunulira akuwa ebifananyi bibiri. Akuwa ekifaananyi ky’omuyimbi n’ekifananyi ky’akawala akanyirira era akeegomba okulabako n’okwebaka nako-nga kali sexy. Kati ekyo kisikiriza abasajja ate bawala banne ne bamuwagira olwenyambala, endabika n’ebirala. Kati kwebyo nga ayongerezaako enyimba ate n’okuba nga akozesa bulungi omukutu gwa TikTok.

Ate ekyokuba nga maneja wa Ava Peace w’amaanyi nnyo ku leediyo ne TV era amanyi wa awatuufu aw’okumutunda ate n’ekirala Ava Peace bamutundira mu kifaananyi ky’omuyimbi ow’amaanyi Jeff gweyali atutumudde- Sheebah ekyo kiteeka Ava Peace ku mwanjo nnyo mu bayimbi b’olina okutunulira omwaka guno.

NANDOR LOVE OWA KINNAWOLOVU Ye muyimbi gwogamba nti ye ayimireddewo ku talanta. Ono asobodde okuwangula emitima gy’abantu nga takozesa ndabika wabula ekitone kye ekyokuyimba n’okuwandiika Enyimba, era oluyimba lwe olwa KINNAWOLUVU lwe luliko, nga kati yaleese n’olupya lwe yatuumye Embalaasi.

Ekisooka y’omu ku bawala abatono ddala abasobola okuwandiika enyimba ezize ate n’awandikira n’abalala ate gattako okuba ng’ayimba bulungi ate nga n’emikutu gimugatta bantu agikozesa bulungi ssaako n’aba Ghost Empire abamuteekamu ku ssente. Eno y’ensonga lwaki omwaka oguwedde yakuba enyimba ez’amaanyi bbiri nga kuno kuliko mpologoma ne Kinawolovu. Singa abamukwasaganya bakwata talanta ye ne bongereramu ddala amaanyi, ebirala bisobola okwekola byokka n’afuuka nga Vinka gwebatandika boogerera olwendabika ye naye nga kati bamwegomba mu buli kimu omuli ne Nyash gye yafuna.

DAX VIBEZ , MUTO WA BOBI
Naye ekyetaaga okubotola era nga yandikikola omwaka guno. Wakati mu kaseera ng’abantu abasinga abayimbi naddala abalemeddwa yindasitule baagala nnyo okwekweka mu mugongo gwa Bobi Wine okuba nti y’abatambuza, Dax Vibez alaze nti asobola okugenda ne yeeyiggira nga takozesezza linnya lya muganda we naye n’asindika endongo ye n’eba ng’etambula, n’azimba emikwano, nafuna abantu basobola okuyimba nabo, n’azimba enkolagana ze ku mikutu migatta bantu n’ategeera kolabo zaasobola okukola na baani baasobola okukola nabo kolabo ne zitambula.

KOLABO YE NE VINKA YAKIKUBA
Mu 2023, Dax yayimba ne Vinka, oguwedde n’ayimba ne Ava Peace ate guno n’agutandika na maanyi n’oluyimba era lukolera ddala bulungi. Bwafulumya oluyimba anoonya abaana abatutumufu ku mukutu gwa TikTok ate tabawa buwi ssente bamukolere kyalengi wabula akola nabo. Kino kimuyambako okuba ng’ayongera okutunda ffeesi ye mu bantu, n’okwongera okuba nga bamulaba.

Kati bwogattako ekitone kyalina kuba muwandiisi ate muyimbi mulungi, yandibotola omwaka guno.

DOCTOR BRAIN AKIKUBA NE KATALEYA & CANDLE
Brain aludde nnyo mu yindasitule naye asinze kumanyika nnyo nga omuwandiisi w’enyimba era amanyikiddwa nnyo mu bantu abali munda mu yindasitule kuba muwandiisi mulungi ate muyimbi mulungi okuviira ddala ku nyimba z’azze awandiika nga musawo, Juice wa Mango n’endala. Kyokka omwaka oguwedde yayongera n’ateeka amaanyi mu kuyimba kwe oluvanyuma lw’okwawukana ne munne Hatim era yakola oluyimba ne baana bawala aba Kataleya and Kandle olwa Nkuwulira, ne Sijja enyimba ezaamufulumya omwaka nga zikubye bulungi. Guno omwaka yagutandise n’oluyimba go mama nga luno yaluyimba n’omuyimbi Rema Namakula era nga lutambula bulungi. Mu kaseera kano agezaako kunonya manegimenti emuyambako ey’abantu abategeera obulungi yindasitule okulaba nga emirimu agigussa bulungi era okusinzira ku manyi gebali mukutekamu wamu n’ekitone kye, omwaka guno gwakumutambulira bulungi.

JOSHUA BARAKA
Kasirye yasiimye n’omuyimbi Joshua Baraka. Joshua Baraka bano abayimbi waggulu byona byebali mu kukola ye abikola naye ng’abikolera ku mutendera gwa nsi yonna. Akoze kolabo n’abasajja nga ba Kriz BeatZ, ba DJ Neptune, nga bano basajja ba Nigeria naye nga batambuza endongo ku ddaala lya nsi yonna.

Omwaka oguwedde Joshua Baraka yafuna ekivulu kye ekisooka e London.
Omwaka guno okutandika ng’erinnya lye liri mu mpaka z’engule za Trace Awards ng’omuyimba asinga okuba ow’akabi mu buvanjuba bwa Afirika era engule abalala abagyetaaga kuliko Diamond Platinumz okuva e Tanzania, Bien okuva e Kenya, Harmonize okuva e Tanzania ne Rophnan okuva e Ethiopia.

Share This Article